LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb17 Jjulaayi lup. 8
  • Engeri Gye Tusaanidde Okweyisaamu nga Tutuuse ku Mulyango Gw’omuntu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Gye Tusaanidde Okweyisaamu nga Tutuuse ku Mulyango Gw’omuntu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Similar Material
  • Okuyigiririza Abantu Baibuli ku Mulyango oba ku Ssimu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandikirawo Okuyigiriza Omuntu Bayibuli ng’Okozesa Brocuwa Amawulire Amalungi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2015
  • Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli, nga Muyimiridde ku Mulyango, ng’Okozesa Essimu oba Okuyitira mu Bbaluwa
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Abantu Abatya Katonda Baba n’Empisa Ennungi
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
mwb17 Jjulaayi lup. 8

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Engeri Gye Tusaanidde Okweyisaamu nga Tutuuse ku Mulyango gw’Omuntu

Nga batuuse ku mulyango gw’omuntu, ow’olugada omu alingiza mu ddirisa, omulala alya omugaati, ate omulalala aweereza mesegi

Abakristaayo tuli ‘kyerolerwa eri ensi.’ (1Ko 4:9) N’olwekyo, tekyanditwewunyisizza nti bwe tuba tubuulira, abantu abamu batulingiririza mu madirisa oba bagaana okutuggulirawo enzigi zaabwe. Amayumba agamu galiko ne kamera mwe basobola okutulabira, oba obuzindaalo obubasobozesa okuwulira bye twogera n’okubikwata ku butambi. Ka tulabe engeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tutuuse ku mulyango gw’omuntu.​—2Ko 6:3.

WEEGENDEREZE BY’OKOLA (Baf 1:27):

  • Tolingiza mu nnyumba ya muntu. Ate era si kirungi kuliirawo, kunywerawo, kukubirawo ssimu oba kuweereza mesegi

WEEGENDEREZE BY’OYOGERA (Bef 4:29):

  • Toyogera kintu kyonna ky’otandyagadde nnannyini nnyumba kuwulira. Ababuulizi abamu basalawo n’okulekera awo okunyumya nga batuuse ku nnyumba y’omuntu, basobole okulowooza ku bye bagenda okwogera

Ab’oluganda babiri bayimiridde ku mulyango gw’omuntu, nnyinimu abalingiririza mu katuli k’oluggi

Biki ebirala by’oyinza okwewala ng’otuuse ku mulyango gw’omuntu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share