LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 11/1 lup. 3-6
  • Ekinaaleeta Essanyu mu Nsi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekinaaleeta Essanyu mu Nsi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abantu Bayinza Okwefuga Bokka?
  • Omufuzi w’Ensi Atamanyiddwa
  • Gavumenti Eneereeta Essanyu
  • Bufuzi bw’Ani bw’Onoolondawo?
  • Emikisa Eginaafunibwa Abo Abanaafugibwa Obwakabaka
  • Obwakabaka bwa Katonda—Obufuzi bw’Ensi Obuppya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Obwakabaka “Obutalizikirizibwa Emirembe Gyonna”
    Sinza Katonda Omu ow’Amazima
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 11/1 lup. 3-6

Ekinaaleeta Essanyu mu Nsi

“OMUNTU akyasingidde ddala okubaako eky’amaanyi ky’akola ku bantu, si mu myaka enkumi ebbiri egiyise gyokka, naye ne mu byafaayo by’abantu byonna, abadde Yesu Omunazaaleesi,” bw’etyo magazini eyitibwa Time bwe yagamba. Bwe yali ku nsi, enkumi n’enkumi z’abantu ab’emitima emyesigwa tebaamanya bukulu bwe kyokka, naye era n’engeri gye yafangayo ku balala. N’olwekyo tekyewuunyisa nti baayagala okumufuula kabaka. (Yokaana 6:10, 14, 15) Kyokka, Yesu yagaana okwenyigira mu by’obufuzi.

YESU obuteenyigira mu by’obufuzi yeesigama ku nsonga nga ssatu: engeri Kitaawe gy’atunuuliramu abantu okuba nga beesalirawo bokka, nga kino kizingiramu obufuzi bw’abantu; Yesu okukimanya nti waliwo bamalayika ababi ab’amaanyi abatalabika abaziyiza ebigendererwa by’abantu eby’okufuga n’ebyo ebyandibadde ebirungi; n’ekigendererwa kya Katonda eky’okussaawo gavumenti ey’omu ggulu okufuga ensi yonna. Nga twekenneenya ensonga ezo essatu, tujja kulaba ensonga lwaki omuntu alemereddwa okufuula ensi ekifo ekirungi. Era tujja kulaba engeri obuwanguzi gye bujja okutuukibwako.

Abantu Bayinza Okwefuga Bokka?

Katonda bwe yatonda abantu yabawa obuyinza ku bisolo. (Olubereberye 1:26) Naye abantu baali wansi w’obufuzi bwa Katonda. Omusajja n’omukazi abaasooka, baali ba kulaga obuwulize bwabwe eri Katonda nga tebalya bibala okuva ku muti ogumu, “omuti ogw’okumanya obulungi n’obubi.” (Olubereberye 2:17) Eky’ennaku, Adamu ne Kaawa baakozesa bubi eddembe lye baalina ery’okwesalirawo era bwe batyo ne bajeemera Katonda. Okulya ekibala ekyagaanibwa tekwali kubba kyokka, naye era kyatwaliramu okujeemera obufuzi bwa Katonda. Obugambo obutono obuli wansi obukwata ku Olubereberye 2:17 mu The New Jerusalem Bible bugamba nti Adamu ne Kaawa baayagala “okwefuga bokka mu bujjuvu mu ngeri eyo ne kiraga nti omuntu yali takyategeera kifo kye nga eyatondebwa obutondebwa . . . Ekibi ekyasooka bwali bulumbaganyi ku bufuzi bwa Katonda.”

Olw’ensonga enkulu ezizingirwamu, Katonda yakkiriza Adamu ne Kaawa n’abaana baabwe okweronderawo engeri y’obulamu bwe baali baagala, era ne beeteerawo emitindo gyabwe egy’ekirungi n’ekibi. (Zabbuli 147:19, 20; Abaruumi 2:14) Bwe kityo, omuntu n’atandika okwefuga yekka. Kivuddemu ebirungi? Okusinziira ku nkumi n’enkumi z’emyaka egiyiseewo, tuyinza okugamba nti nedda! Omubuulizi 8:9 wagamba: ‘Omuntu abadde n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukola obubi.’ Ebyafaayo ebyo ebinakuwaza eby’abantu okwefuga bokka biggumiza obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Yeremiya 10:23 awagamba: “Ai Mukama, mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.” Ebyafaayo biraze nti abantu tebalina busobozi bwa kufuga bulungi awatali bulagirizi bwa Mutonzi waabwe.

Yesu ebigambo ebyo yakkiriziganya nabyo mu bujjuvu. Yakitwala nga kya muzizo okwewaggula ku Katonda. Yagamba nti “siriiko kye nkola ku bwange.” “Nkola bulijjo [Katonda] by’asiima.” (Yokaana 4:34; 8:28, 29) N’olw’ensonga eyo, olw’okuba teyafuna lukusa lwonna okuva eri Katonda okukkiriza obufuzi okuva eri abantu, Yesu kye yava tabukkiriza. Kyokka, ekyo tekitegeeza nti yali tayagala kuyamba bantu. Okwawukana ku ekyo, yakola kyonna ekisoboka okuyamba abantu okufuna essanyu mu kiseera ekyo ne mu kiseera ekyali kijja mu maaso. Yawaayo n’obulamu bwe ku lw’abantu. (Matayo 5:3-11; 7:24-27; Yokaana 3:16) Naye Yesu yamanya nti “buli kintu kiriko entuuko yaakyo,” ng’ekyo kitwaliramu ekiseera Katonda lw’aliteekawo obufuzi bwe okufuga abantu bonna. (Omubuulizi 3:1; Matayo 24:14, 21, 22, 36-39) Naye kijjukire nti mu lusuku Adeni, bazadde baffe abaasooka bakkiriza okukola ekyo ekitonde eky’omwoyo ekibi ekyayogerera mu musota, kye kyali kyagala. Ekyo kitutwala ku nsonga ey’okubiri lwaki Yesu teyeenyigira mu byabufuzi.

Omufuzi w’Ensi Atamanyiddwa

Baibuli etutegeeza nti Setaani yawa Yesu ‘obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo’ nga ky’ayagala kwe kumuvuunamira amusinze. (Matayo 4:8-10) Kwe kugamba, Yesu yaweebwa obufuzi bwonna obw’ensi, naye nga Setaani y’abumuwa. Yesu teyatwalirizibwa kikemo ekyo. Naye ddala kyali kikemo? Ddala Setaani yali asobola okumuwa ekintu eky’amaanyi bwe kityo? Yee, kubanga Yesu kennyini yayita Setaani ‘omufuzi w’ensi,’ ate omutume Pawulo yamwogerako nga “katonda ow’emirembe gino.”​—Yokaana 14:30; 2 Abakkolinso 4:4; Abaefeso 6:12.

Kya lwatu, Yesu yamanya nti Omulyolyomi tafaayo ku nsonga ezikwata ku bantu. Yayogera ku Setaani nga “omussi” era nga ‘kitaawe w’obulimba ne buli kyonna ekitali kituufu.’ (Yokaana 8:44, The Amplified Bible) Awatali kubuusabuusa, ensi ‘eri mu buyinza’ bw’ekitonde eky’omwoyo omubi, teyinza kubeeramu ssanyu. (1 Yokaana 5:19) Naye Omulyolyomi tajja kubeera na buyinza obwo emirembe gyonna. Yesu, nga kati kitonde eky’omwoyo eky’amaanyi, mangu ddala ajja kuggyawo Setaani n’enteekateeka ze zonna.​—Abaebbulaniya 2:14; Okubikkulirwa 20:1-3.

Setaani yennyini akimanyi nti ebiseera bye ng’omufuzi ow’ensi binaatera okuggwako. N’olwekyo, akola kyonna ky’asobola okukyamiza ddala abantu nga bwe yakola mu kiseera kya Nuuwa, ng’amataba tegannabaawo. (Olubereberye 6:1-5; Yuda 6) Okubikkulirwa 12:12 wagamba: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.” Obunnabbi bwa Baibuli awamu n’ebiri mu nsi biraga nti tuli ddala ku nkomerero ‘y’akaseera ako akatono.’ (2 Timoseewo 3:1-5) Tuli kumpi okufuna obuweerero.

Gavumenti Eneereeta Essanyu

Ensonga ey’okusatu lwaki Yesu teyeenyigira mu by’obufuzi eri nti yamanya nti mu biseera eby’omu maaso, Katonda yandisizzaawo gavumenti ey’omu ggulu okufuga ensi yonna. Baibuli eyita gavumenti eyo Obwakabaka bwa Katonda, era nga gwe gwali omutwe omukulu ogw’okuyigiriza kwa Yesu. (Lukka 4:43; Okubikkulirwa 11:15) Yesu yayigiriza abayigirizwa be okusaba Obwakabaka obwo okujja, kuba bwe bwokka obwandireetedde ‘Katonda by’ayagala okukolebwa ku nsi nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ (Matayo 6:9, 10) Oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti Obwakabaka obwo bugenda kufuga ensi yonna, kiki ekinaatuuka ku gavumenti z’ensi?’

Eky’okuddamu kisangibwa mu Danyeri 2:44: ‘Mu mirembe gya bakabaka abo [abafuga ku nkomerero y’enteekateeka z’ebintu bino], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obw’abantu], era bunaabeereranga emirembe gyonna.’ Lwaki Obwakabaka bwa Katonda ‘bulimenyaamenya’ obufuzi bw’ensi? Kubanga bakyagugubidde ku nteekateeka ey’okwefuga ewakanya Katonda eyatandikibwawo Setaani mu lusuku Adeni. Okugatta ku ky’okuba nti tebasobola kukola ku byetaago by’abantu, abo abagoberera enteekateeka eyo Omutonzi ajja kubazikiriza. (Zabbuli 2:6-12; Okubikkulirwa 16:14, 16) N’olwekyo tuteekwa okwebuuza, ‘tuli ku ludda lwa Katonda oba ku ludda olumuwakanya?’

Bufuzi bw’Ani bw’Onoolondawo?

Okusobola okuyamba abantu okusalawo nga basinziira ku kumanya okutuufu okukwata ku bufuzi, Yesu yawa abayigirizwa be omulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’obwakabaka . . . mu nsi yonna etuuliddwamu okuba obujulirwa eri amawanga gonna” ng’enkomerero y’omulembe guno tennajja. (Matayo 24:14, NW) Baani leero abamanyiddwa mu nsi yonna olw’okubuulira Obwakabaka bwa Katonda? Be Bajulirwa ba Yakuwa. Okumala ekiseera kiwanvu, ku lupapula lwa magazini eno olusooka kubaddeko ebigambo “[Oku]langirira Obwakabaka bwa Yakuwa.” Leero, Abajulirwa obukadde mukaaga mu nsi ezisukka 230 bayamba abantu okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Bwakabaka obwo.a

Emikisa Eginaafunibwa Abo Abanaafugibwa Obwakabaka

Bulijjo, Yesu yakolanga ebintu nga Katonda bw’ayagala. N’olwekyo, mu kifo ky’okukola nga bw’ayagala n’okulongoosa embeera y’ebintu eyaliwo okuyitira mu by’obufuzi, yakola nnyo okubuulira Obwakabaka bwa Katonda, nga kye kyokka ekinaagonjoola ebizibu by’abantu. Olw’obwesigwa bwe, yatuuzibwa ku nnamulondo ey’ekitiibwa mu ggulu ng’era ye Kabaka w’Obwakabaka obwo. Nga yafuna ekirabo kya kitalo olw’okugondera Katonda!​—Danyeri 7:13, 14.

Obukadde n’obukadde bw’abantu leero abakoppa Yesu mu kukulembeza Obwakabaka bwa Katonda era n’okukola by’ayagala, nabo bajja kufuna ekirabo eky’ekitalo eky’okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda. (Matayo 6:33) Nga bali wansi w’obufuzi obwo obw’okwagala, bajja kufuulibwa abatuukirivu era nga balina essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Mu 1 Yokaana 2:17 tusoma nti: “Ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” Setaani n’abagoberezi be nga bamaze okumalibwawo era nga n’ensi yonna emaze okufuulibwa olusuku lwa Katonda olutaliimu njawukana mu mawanga, obutali bwesigwa mu by’obusubuzi n’amaddiini ag’obulimba, nga linaaba ssanyu lya nsusso okubeera wano emirembe gyonna!​—Zabbuli 37:29; 72:16.

Yee, Obwakabaka bwa Katonda bwe bujja okuleeta essanyu erya nnamaddala mu nsi, era n’obubaka obubwogerako kyebuvudde buyitibwa amawulire amalungi. Bw’oba nga tonnaba kugawulira, omulundi omulala Abajulirwa ba Yakuwa lwe banajja mu maka go, lwaki towuliriza amawulire gano amalungi ge banaaba bakuleetedde?

[Obugambo obuli wansi]

a Mu kulangirira Obwakabaka bwa Katonda, Abajulirwa ba Yakuwa tebeenyigira mu bya bufuzi oba okujeemera gavumenti ez’ensi, wadde ne mu nsi Abajulirwa gye bayigganyizibwa oba gye baawerebwa. (Tito 3:1) Mu kifo ky’ekyo, bagezaako okubaako ebirungi bye bakola mu by’omwoyo nga Yesu n’abayigirizwa be ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakola. Abajulirwa bafuba nnyo okuyamba abantu abaagala eby’obutuukirivu abali mu bifo ebitali bimu okutegeera emitindo gy’omu Baibuli, gamba ng’okwagala ab’omu maka, obwesigwa, empisa ennungi, n’okweyisa obulungi ku mulimu. Okusingira ddala, babayigiriza engeri y’okugobereramu emitindo gya Baibuli era n’okutunuulira Obwakabaka bwa Katonda ng’essuubi erya nnamaddala abantu lye balina.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Ebyafaayo biwa obukakafu nti abantu tebayinza kwefuga bokka awatali buyambi bwa Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Kubanga y’afuga ‘enteekateeka z’ebintu bino,’ Setaani yali asobola okuwa Yesu ‘obwakabaka bwonna obw’ensi’

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 6]

Yesu yayigiriza nti mu nteekateeka y’Obwakabaka bwa Katonda, ensi ejja kuba kifo kirungi nnyo okubeeramu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share