OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okwagala Okwa Nnamaddala Okumanyira ku Ki?
Yakuwa yatandikawo obufumbo nga bulina kuba bwa lubeera, wakati w’omusajja n’omukazi. (Lub 2:22-24) Obwenzi ye nsonga yokka eyandisinziddwako okugattululwa. (Mal 2:16; Mat 19:9) Olw’okuba Yakuwa ayagala tube basanyufu, atuwadde obulagirizi obusobola okutuyamba okulonda n’amagezi oyo gwe tunaafumbiriganwa naye era n’okuba abasanyufu mu bufumbo bwaffe.—Mub 5:4-6.
MULABE VIDIYO ERINA OMUTWE, WHAT IS TRUE LOVE? (OKWAGALA OKWA NNAMADDALA OKUMANYIRA KU KI?), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Engeri bazadde ba Liz gye baamuwabulamu yayoleka etya amagezi n’okwagala?
Lwaki si kya magezi kulowooza nti osobola okukyusa omuntu gw’oyogerezeganya naye?
Magezi ki amalungi Paul ne Priscilla ge baawa Liz?
Lwaki obufumbo bwa Zach ne Megan bwalimu ebizibu?
Biruubirirwa ki eby’omwoyo John ne Liz bye baali bafaanaganya?
Lwaki kikulu okumanya ‘omuntu ow’ekyama ow’omu mutima’ gw’omuntu nga tonnasalawo kufumbiriganwa n’omuntu oyo? (1Pe 3:4)
Okwagala okwa nnamaddala okumanyira ku ki? (1Ko 13:4-8)