EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MATAYO 6-7
Musooke Munoonyenga Obwakabaka
Mu ssaala Yesu gye yawa ng’ekyokulabirako, yalaga nti ebintu ebikwata ku kigendererwa kya Yakuwa ne ku Bwakabaka bye tusaanidde okukulembeza.
Erinnya lya Katonda
Obwakabaka bwa Katonda
Katonda by’ayagala
Emmere yaffe eya buli lunaku
Okusonyiyibwa ebibi byaffe
Obutatuleka kukemebwa
Ebimu ku bintu ebikwata ku Bwakabaka bye nnyinza okuteeka mu ssaala zange:
Omulimu gw’okubuulira gweyongere mu maaso
Omwoyo omutukuvu guyambe abo abayigganyizibwa
Katonda awe omukisa omulimu gw’okuzimba ebizimbe by’obwakabaka oba kaweefube ow’okubuulira
Katonda awe abo abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina amagezi n’amaanyi okubutuukiriza obulungi
Ebirala