Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAYI 7-13
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 7-8
“Situla Omuti Gwo ogw’Okubonaabona Ongobererenga”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 8:34
alekere awo okwetwala yekka: Oba “yeggyeko eddembe lye lyonna.” Kino kiraga nti omuntu aba mwetegefu okwerekereza oba okweweerayo ddala eri Katonda. Ebigambo by’Oluyonaani era bisobola okuvvuunulwa nti “alina okwegamba nti nedda.” Kiri bwe kityo kubanga kiyinza okuzingiramu omuntu okwerekereza bye yeegomba, n’ebiruubirirwa bye. (2Ko 5:14, 15) Makko bwe wandiika nti Peetero yeegaana Yesu, yakozesa ekigambo kye kimu eky’Oluyonaani.—Mak 14:30, 31, 72.
w93 4/1 lup. 11 ¶14
Odduka Otya mu Mpaka ez’Obulamu?
Yesu Kristo yagamba abayigirizwa be n’abalala abaali bamuwuliriza nti “Omuntu yenna bw’ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka (oba, “ateekwa okwegamba nti, ‘Nedda,’” Charles B. Williams) asitule omuti gwe ogw’okubonaabona, angobererenga.” (Makko 8:34) Bwe tusalawo okugoberera Kristo, tulina okweyongera okumugoberera, si lwa kuba nti tulina eky’enjawulo kye tufuna, naye bwe tuddirira kiyinza okutuviiramu obutafuna obulamu obutaggwaawo. Omuntu akulaakulana mpola mpola mu by’omwoyo, naye kyangu nnyo okuddirira!
Oli Mwetegefu Kuwaayo Ki Okufuna Obulamu Obutaggwaawo?
Yesu yabuuza ebibuuzo eby’amakulu ennyo bibiri, ekisooka: “Ddala kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe?” n’eky’okubiri, “Kiki ddala omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?” (Makko 8:36, 37) Ekibuuzo ekisooka si kizibu kuddamu. Tekirina kye kigasa muntu kufuna nsi yonna ate n’afiirwa obulamu bwe. Eby’obugagga biba bya mugaso ng’omuntu mulamu era ng’abyeyagaliramu. Ekibuuzo kya Yesu eky’okubiri: “Kiki ddala omuntu ky’ayinza okuwaayo okununula obulamu bwe?” kiyinza okuba nga kyajjukiza abaali bamuwuliriza ebigambo Sitaani bye yayogera mu kiseera kya Yobu nti: “Omuntu anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Eri abo abatali baweereza ba Yakuwa, ebigambo bya Sitaani ebyo biyinza okuba ebituufu. Bangi beetegefu okukola kyonna, oba okumenya etteeka lyonna, okusobola okuwonya obulamu bwabwe. Kyokka, Abakristaayo bo ebintu babitunuulira mu ngeri ndala.
Tukimanyi nti Yesu bwe yajja ku nsi, teyajja kutuyamba tube balamu nga tetutwala oba tuwangaale nnyo mu nsi eno. Yajja okutulaga kye tusobola okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya, era ekyo kye kisinga obukulu. (Yokaana 3:16) Eri Omukristaayo, ekibuuzo kya Yesu ekisooka kiyinza okutegeeza nti, “Kigasa ki omuntu okufuna ensi yonna ne yeefiiriza okufuna obulamu obutaggwaawo?” Eky’okuddamu kiri nti, Tekigasa n’akatono. (1 Yokaana 2:15-17) Okusobola okuddamu ekibuuzo kya Yesu eky’okubiri, tuyinza okwebuuza, ‘Ndi mwetegefu kwefiiriza kyenkana wa, nsobole okufuna obulamu mu nsi empya?’ Kye tuddamu mu kibuuzo ekyo, kisinziira ku ngeri gye tukozesaamu obulamu bwaffe kati, era kiraga obanga essuubi eryo lya ddala mu mitima gyaffe.—Geraageranya Yokaana 12:25.
Omwana w’Omuntu y’Ani?
Mu butuufu, okusobola okusanyusa Yesu, abagoberezi be balina okubeera abavumu n’okwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. Yesu agamba nti: “Buli ankwatirwa ensonyi era n’ebigambo byange n’abikwatirwa ensonyi mu mulembe guno omwonoonyi era ogutali mwesigwa eri Katonda, n’Omwana w’omuntu alimukwatirwa ensonyi bw’alijjira mu kitiibwa kya Kitaawe ng’ali wamu ne bamalayika abatukuvu.” (Makko 8:38) Mu butuufu, Yesu bw’alijja, “alisasula buli omu okusinziira ku bikolwa bye.”—Matayo 16:27.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebibuuzo Ebiva Mu Basomi
Lwaki abalabe ba Yesu baakuliriza ensonga ey’okunaaba mu ngalo?
Okunaaba mu ngalo kye kimu ku bintu abalabe ba Yesu kye baakozesa okunoonya ensobi mu Yesu awamu n’abayigirizwa be. Amateeka ga Musa gaalimu ebiragiro ebitali bimu ebikwata ku kwetukuza, gamba ng’omuntu alwadde obulwadde bw’ekikulukuto, ebigenge, oba ng’akutte ku mulambo, oba ku nsolo efudde. Ate era gaalimu n’obulagirizi obukwata ku ngeri y’okumalawo obutali bulongoofu. Ekyo kyali kisobola okukolebwa okuyitira mu kuwaayo ssaddaaka, okwoza, okunaaba, oba okumansira.—Leev., sul. 11-15; Kubal., sul. 19.
Abayudaaya balabbi baazimbulukusanga amateeka ago nga bongeramu ebyabwe. Ekitabo ekimu kigamba nti, ku buli kintu ekyali kiyinza okuviirako omuntu oba ekintu obutaba kirongoofu, balabbi “bajjangayo kalonda yenna akwata ku ngeri obutali bulongoofu gye bwali buyinza okujjamu, ku ngeri gye bwali buyinza okusaasaanamu, ekigero kye bwali buyinza okusaasaanirako, ne ku bintu ebyali bisobola okufuuka ebirongoofu oba ne ku ebyo ebyali bitasobola kufuuka birongoofu. Ate era, bajjangayo kalonda yenna akwata ku bulombolombo obwali bulina okukolebwa okutukuza omuntu oba ekintu.”
Abalabe ba Yesu baamubuuza nti: “Lwaki abayigirizwa bo tebagoberera bulombolombo bwa bajjajjaffe naye ne balya emmere n’engalo ezitali nnongoofu?” (Makko 7:5) Abakulembeze b’eddiini abo baali teboogera ku kabi akali mu kulya emmere ng’omuntu tanaabye mu ngalo. Balabbi baalina akalombolombo ak’okuyiwa amazzi ku ngalo zaabwe nga bagenda okulya. Ekitabo ekyogeddwako waggulu kigattako nti: ‘Ate era baafangayo nnyo ku bintu ki ebyalina okukozesebwa okufukirira amazzi, amazzi agaali amatuufu okukozesebwa, ani eyali asaanidde okufukirira amazzi, na kitundu kyenkana wa eky’emikono ekyalina okufukirirwa.’
Ng’ayogera ku mateeka ago abantu ge baali bataddewo, Yesu yagamba nti: “Isaaya bye yayogera ku mmwe bannanfuusi bituufu, nga bwe kyawandiikibwa nti, ‘Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa, naye emitima gyabwe gindi wala. Batawaanira bwereere okunsinza, kubanga bayigiriza biragiro bya bantu.’ Muleka amateeka ga Katonda ne mugoberera obulombolombo bw’abantu.”—Makko 7:6-8.
Olina “Endowooza ya Kristo”?
Omusajja yali kiggala era nga tasobola kwogera bulungi. Yesu ayinza okuba yakiraba nti omusajja ono yali yeetya. Awo Yesu n’amusaasira n’amuggya mu kibiina ky’abantu n’amuzza ebbali. Yesu n’akozesa obubonero okulaga omusajja kye yali agenda okukola. “N’ateeka engalo ze mu matu g’omusajja, era bwe yamala okuwanda amalusu n’akwata ku lulimi lwe” (Makko 7:33) Ekyaddako, Yesu yatunula waggulu n’asaba. Ebikolwa ebyo byandiraze
omusajja oyo nti, ekyo Yesu kye yali agenda okukola kyali kyesigamye ku maanyi ga Katonda. Oluvannyuma Yesu yagamba nti: “Zibuka.” (Makko 7:34) Awo, amatu g’omusajja oyo ne gazibukuka, era n’atandika okwogera mu ngeri eya bulijjo.
Nga Yesu yali afaayo nnyo ku balala! Yali afaayo nnyo ku ngeri gye baali beewuliramu, era okufaayo kuno kwamuleetera okweyisa mu ngeri etabalumya. Ng’Abakristaayo, kiba kirungi singa tukulaakulanya era ne twoleka endowooza ya Kristo mu nsonga eno. Bayibuli etukubiriza: “Mmwenna mubeere n’endowooza emu, buli omu alumirirwe munne, mwagalane ng’ab’oluganda, musaasiragane, era mube beetoowaze.” (1 Peetero 3:8) Mazima ddala kino kitwetaagisa okwogera n’okweyisa mu ngeri eraga nti tufaayo ku balala.
Mu kibiina, tuyinza okukiraga nti tufaayo ku balala nga tubassaamu ekitiibwa, era nga tubayisa mu ngeri gye twandyagadde tuyisibwemu. (Matayo 7:12) Ekyo kyanditwaliddemu okwegendereza bye twogera awamu n’engeri gye tubyogeramu. (Abakkolosaayi 4:6) Jjukira nti, ‘ebigambo ebyogerwa nga tetusoose kulowooza bifumita ng’ekitala.’ (Engero 12:18) Ate kiri kitya mu maka? Omwami n’omukyala abaagalana buli omu bafaayo ku nneewulira ya munne. (Abeefeso 5:33) Beewala ebigambo ebisongovu, okuvumirira, okwerondalonda, n’okukiina—ebyo byonna bisobola okukosa enneewulira ya munno era obulumi obwo buyinza okulwawo okuggwaawo. Abaana nabo balina enneewulira, era abazadde abalina okwagala bafaayo ku nneewulira ezo. Bwe kiba kyetaagisa okubawabula, abazadde bandikikoze mu ngeri etamalaamu baana baabwe kitiibwa n’okubaswaza. (Abakkolosaayi 3:21) Bwe kityo, bwe tulaga okufaayo eri abalala, kiraga nti tulina endowooza ya Kristo.
MAAYI 14-20
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 9-10
“Banywezebwa Okwolesebwa okw’Obunnabbi”
Kristo—Oyo Obunnabbi Gwe Bwali Busongako
Wali wayise ebbanga erisukka mu mwaka bukya Yesu awa obukakafu obulaga nti ye Masiya. Embaga ey’Okuyitako ey’omwaka 32 C.E. yali ewedde. Bangi ku baali bamukkirizza baali balekedde awo okumugoberera, oboolyawo olw’okuyigganyizibwa, okuluubirira eby’obugagga, oba olw’okweraliikirira eby’omu bulamu. Abalala bayinza okuba nga baali basobeddwa oba baali banyiivu olw’okuba Yesu yagaana okumufuula kabaka. Abakulu b’eddiini y’Ekiyudaaya bwe baamugamba okukola akabonero okuva mu ggulu, yagaana kubanga kandimuleetedde okugulumizibwa. (Matayo 12:38, 39) Abantu abamu bayinza okuba nga baasoberwa Yesu bwe yagaana okukola akabonero ako. Ate era, Yesu yabuulira abayigirizwa be ekintu ekyabazibuwalira okutegeera. Yabagamba nti: “Kimugwanira okugenda e Yerusaalemi, okubonyaabonyezebwa ennyo abakadde ne bakabona abakulu n’abawandiisi, n’okuttibwa.”—Matayo 16:21-23.
Oluvannyuma lw’emyezi nga mwenda oba kkumi, Yesu yali wa ‘kuva mu nsi agende eri Kitaawe.’ (Yokaana 13:1) Olw’okuba yali afaayo nnyo ku bayigirizwa be abeesigwa, yasuubiza okukolera abamu ku bo ekintu kye yagaana okukolera Abayudaaya abatalina kukkiriza—akabonero okuva mu ggulu. Yagamba nti: “Ddala mbagamba nti Waliwo ku bano abayimiridde wano, abatalirega ku kufa n’akatono, okutuusa lwe baliraba Omwana w’omuntu ng’ajja mu bwakabaka bwe.” (Matayo 16:28) Kya lwatu, Yesu yali tategeeza nti abamu ku bayigirizwa be bandibaddewo okutuusa obwakabaka bwa Masiya lwe bwanditandise okufuga mu 1914. Yesu yali ayogera ku kwolesebwa kwe yali agenda okuwa abayigirizwa be abasatu ab’oku lusegere okubalaga ekitiibwa kye yali ajja okuba nakyo ng’afuga mu Bwakabaka bwe. Okwolesebwa kuno kuyitibwa okufuusibwa kwa Yesu.
Kristo—Oyo Obunnabbi Gwe Bwali Busongako
Oluvannyuma lw’ennaku mukaaga, Yesu yatwala Peetero, Yakobo ne Yokaana ku lusozi waggulu—kirabika ku Lusozi Kerumooni. Nga bali eyo, Yesu ‘yafuusibwa nga balaba: amaaso ge ne gamasamasa ng’enjuba, ebyambalo bye ne bitukula ng’omusana.’ Nnabbi Musa ne Nnabbi Eriya nabo baalabika era baali banyumya naye. Kirabika okufuusibwa kuno okwewuunyisa ennyo kwaliwo kiro ne kusobola okulabikira ddala obulungi. Mu butuufu kwali kwa ddala gye bali ne kiba nti Peetero yasaba okuzimba ensiisira ssatu—emu ya Yesu, endala ya Musa, ate endala ya Eriya. Peetero bwe yali akyayogera, ekire ne kibasiikiriza era eddoboozi ne liva mu kire nga ligamba: “Ono ye mwana wange omwagalwa, gwe nsiima. Mumuwulire.”—Matayo 17:1-6.
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 9:7
eddoboozi: Guno gwe mulundi ogw’okubiri ku mirundi esatu egiragibwa mu bitabo by’Enjiri, nga Yakuwa ayogera butereevu n’abantu.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 1:11; Yok 12:28.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Makko
10:6-9. Katonda tayagala bafumbo kwawukana. N’olwekyo mu kifo ky’okusalawo okugattululwa, abafumbo basaanidde okufuba okussa mu nkola emisingi gya Baibuli okusobola okuvvuunuka ebizibu ebibaawo mu bufumbo.—Mat. 19:4-6
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 10:17, 18
Omuyigiriza Omulungi: Kirabika omusajja oyo yakozesa ebigambo “Omuyigiriza Omulungi” mu ngeri y’okuwaanawaana Yesu okuva bwe kiri nti abakulembeze b’eddiini baayagalanga abantu okubayita bwe batyo. Wadde nga Yesu teyagaananga bantu kumuyita “Omuyigiriza” oba “Mukama” waffe (Yok 13:13), ekitiibwa n’ettendo yabizzanga eri Kitaawe.
Teri mulungi, okuggyako Katonda: Wano Yesu alaga nti Yakuwa yekka y’alina obuyinza obw’enkomeredde okusalawo ekirungi n’ekibi. Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda ne balya ku muti ogw’okumanya ekirungi n’ekibi, baali ng’abaagala okweddiza obuyinza obwo. Obutafaananako bo, Yesu ye obuyinza obw’okusalawo ekirungi n’ekibi yabulekera Kitaawe. Okuyitira mu kigambo kye, Katonda atuyamba okumanya ekirungi n’ekibi.—Mak 10:19.
MAAYI 21-27
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 11-12
“Ataddemu Kingi Okusinga Abalala Bonna”
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 12:41, 42
obusanduuko omusuulibwa ssente: Okusinziira ku biwandiiko by’Abayudaaya eby’edda, obusanduuko obwo bwali bwakula ng’amakondeere oba ng’amayembe g’ente. Abantu baabuteekangamu ssente ez’ebiweebwayo eby’enjawulo. Ekigambo kye kimu eky’Oluyonaani kikozesebwa ne mu Yok 8:20, era nga kivvuunulwa nti “eggwanika.” Ekifo ekyo kyali mu kifo kya yeekaalu ekyali kiyitibwa Oluggya lw’Abakazi. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Mat 27:6 ne Ebyong. B11.) Okusinziira ku biwandiiko bya balabbi, ekifo ekyo kyalimu obusanduuko13 obwali buteekeddwa ku kisenge. Kigambibwa nti mu yeekaalu mwalimu eggwanika eddene mwe baateekanga ssente ezaabanga ziggiddwa mu busanduuko.
obusente bubiri: Obut., “leputoni bbiri.” Kiva mu kigambo ky’Oluyonaani le·ptonʹ, ekitegeeza akantu akatono ennyo. Leputoni kaali kanusu akenkana 1/128 ekya ddinaali era nga kye kyali ekinusu ky’ekikomo ekisingayo obutono mu ssente Abayisirayiri ze baakozesanga.—Laba Awanny., “Leputoni,” ne Ebyong. B14.
obw’omuwendo omutono ennyo: Obut., “nga ye kwodulansi emu.” Ekigambo ky’Oluyonaani ko·dranʹtes (ekiva mu ky’Olulattini quadrans) kitegeeza ekinusu ky’Abaruumi eky’ekikomo ekyali kibalirirwamu 1/64 ekya ddinaali. Wano Makko akozesa ssente z’Abaruumi okunnyonnyola omuwendo gwa ssente Abayudaaya ze baateranga okukozesa.—Laba Ebyong. B14.
w97 10/15 lup. 16-17 ¶16-17
Yakuwa Asiima Nnyo Abo Abamuweereza n’Omutima Gwabwe Gwonna
Oluvannyuma lw’ennaku ntono, nga Nisaani 11, Yesu yamala olunaku lulamba mu yeekaalu. Baamubuuza gye yali aggya obuyinza okukola ebyamagero, era ne bamubuuza n’ebikwata ku kusasula omusolo, ku kuzuukira, n’ebirala. Yavumirira abawandiisi n’Abafalisaayo abaali “banyaga ebintu bya bannamwandu” nga kw’otadde n’okukola ebintu ebirala ebibi. (Makko 12:40) Oluvannyuma Yesu yatuula, kirabika mu Luggya lw’Abakazi, era okusinziira ku biwandiiko by’Abayudaaya eby’edda, ekifo ekyo kyalimu obusanduuko 13 omwasuulibwanga ssente. Yatuulawo okumala akaseera nga bwe yeetegereza abantu abaali basuula ssente mu busanduuko. Waaliwo abagagga bangi abaali basuulamu ssente, era nga kirabika abamu baali beetwala okuba abatuukirivu. (Geraageranya Matayo 6:2.) Kyokka waaliwo omukazi omu Yesu gwe yeetegereza ennyo. Abantu abalala bayinza okuba nga tebalina kya njawulo kye baalaba ku mukazi oyo. Naye Yesu eyali asobola okumanya ekiri mu mitima gy’abantu, yakimanya nti omukazi oyo yali ‘nnamwandu era nga mwavu.’ Ate era Yesu yamanya n’omuwendo gwa ssente omukazi oyo ze yawaayo—“obusente bubiri obw’omuwendo omutono ennyo.”—Makko 12:41, 42.
Yesu yayita abayigirizwa be, olw’okuba yali ayagala babeeko kye bayigira ku nnamwandu oyo. Yesu yagamba nti nnamwandu oyo yali ‘ataddemu kingi okusinga abalala bonna abaali batadde ssente mu busanduuko.’ Okusinziira ku ndaba ya Yesu, nnamwandu oyo yali ataddemu ssente nnyingi okusinga ez’abalala bonna ng’ozigasse wamu. Yawaayo ‘byonna bye yali alina.’ Mu kukola bw’atyo, yakiraga nti yeesiga Yakuwa okumulabirira. Wadde nga kye yawaayo kyali kitono nnyo, mu maaso ga Yakuwa kye kyali kisingayo okuba eky’omuwendo!—Makko 12:43, 44; Yakobo 1:27.
w97 10/15 lup. 17 ¶17
Yakuwa Asiima Nnyo Abo Abamuweereza n’Omutima Gwabwe Gwonna
Yesu yayita abayigirizwa be, olw’okuba yali ayagala babeeko kye bayigira ku nnamwandu oyo. Yesu yagamba nti nnamwandu oyo yali ‘ataddemu kingi okusinga abalala bonna abaali batadde ssente mu busanduuko.’ Okusinziira ku ndaba ya Yesu, nnamwandu oyo yali ataddemu ssente nnyingi okusinga ez’abalala bonna ng’ozigasse wamu. Yawaayo ‘byonna bye yali alina.’ Mu kukola bw’atyo, yakiraga nti yeesiga Yakuwa okumulabirira. Wadde nga kye yawaayo kyali kitono nnyo, mu maaso ga Yakuwa kye kyali kisingayo okuba eky’omuwendo!—Makko 12:43, 44; Yakobo 1:27.
w87 12/1 lup. 30 ¶1
Owaayo Ekyo kye Weefiirizza?
Tulina bingi bye tusobola okuyigira ku nnamwandu omwavu. Eky’okuyiga ekisinga kiri nti, wadde nga ffenna tulina enkizo ey’okuwagira okusinza okw’amazima nga tukozesa ebintu byaffe, ekikulu mu maaso ga Katonda kwe kwefiiriza eky’omuwendo gye tuli ne tukiwaayo eri Yakuwa, so si kuwaayo ekyo kye tuba tufissizzaawo. Kikulu okwebuuza nti, ‘Kye ŋŋenda okuwaayo nkyefiirizza?
Amagezi Agali mu ‘Kigambo kya Katonda’
Tekyewuunyisa nti mu bantu bonna abajja mu yeekaalu ku lunaku olwo, nnamwandu ono ye yekka eyayogerwako bw’atyo mu Bayibuli? Okuyitira mu kyokulabirako kino, Yakuwa atuyigiriza nti asiima nnyo. Akkiriza bye tumuwa n’omutima gwaffe gwonna, ka bibe nga byenkana wa ng’obigeraageranyizza n’eby’abalala. Kino nga kyakulabirako kirungi nnyo Yakuwa kye yakozesa okutuyigiriza amazima ago!
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Mak 11:17
nnyumba ya kusabirwamu amawanga gonna: Ku bawandiisi b’Enjiri abasatu abaajuliza ebigambo ebiri mu Is 56:7, Makko yekka ye yakozesa ebigambo “amawanga gonna.” (Mat 21:13; Luk 19:46) Yeekaalu eyali mu Yerusaalemi kyali kifo Abayisirayiri n’abantu ab’amawanga amalala gye baalinanga okugenda okusinza Yakuwa n’okumusaba. (1Ki 8:41-43) Yesu yali mutuufu okuvumirira Abayudaaya abaali bafudde yeekaalu ekifo eky’okukoleramu bizineesi, era nga bagifudde mpuku ya banyazi. Ebikolwa byabwe ebyo byalemesa abantu b’amawanga gonna okugenda mu nnyumba ya Yakuwa okusaba, n’okuyiga ebimukwatako basobole okumumanya.
Akozesa Omuti gw’Omutiini Okuyigiriza Ebikwata ku Kukkiriza
Wayita ekiseera kitono, Yesu n’abayigirizwa be ne batuuka e Yerusaalemi. Ng’enkola ye bw’eri, Yesu agenda mu yeekaalu n’atandika okuyigiriza. Bakabona abakulu n’abakadde, oboolyawo nga bajjukira ekyo Yesu kye yakoze abo ababadde bavungisa ssente mu yeekaalu olunaku lwa jjo, basoomooza Yesu nga bagamba nti: “Olina buyinza ki okukola ebintu bino? Era ani eyakuwa obuyinza okubikola?”—Makko 11:28.
MAAYI 28–JJUUNI 3
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | MAKKO 13-14
“Weewale Akatego k’Okutya Abantu”
Yayigira ku Mukama We Okusonyiwa
Peetero bwe yagenda ng’agoberera okulaba Yesu gye baali bamutwala, yeesanga atuuse ku mulyango gw’ennyumba ya Kayaafa kabona asinga obukulu. Kayaafa yali musajja mugagga nnyo era yalina n’obuyinza bungi. Amaka g’omuntu nga Kayaafa gaabanga n’oluggya olunene era nga galiko n’ekisaakaate. Peetero bwe yatuuka ku mulyango baamugaana okuyingira. Yokaana eyali yayingidde edda yajja n’agamba omukuumi eyali ku mulyango akkirize Peetero ayingire. Kirabika Peetero teyasigala kumpi ne Yokaana, ate era teyayingira mu nnyumba awaali Mukama we. Yasigala mu luggya awaali aboota omuliro, ng’alaba abo abaali batwalibwa mu nnyumba okuwa obujulizi obw’obulimba ku Yesu.—Makko 14:54-57; Yokaana 18:15, 16, 18.
it-2 lup. 619 ¶6
Peetero
Peetero yali wamu n’omuyigirizwa omulala, oboolyawo eyamuwerekerako mu maka ga kabona asinga obukulu. Bwe baatuukayo, Peetero yayingira butereevu mu luggya lwa kabona oyo. (Yok 18:15, 16) Teyeekweka mu nzikiza, wabula yagenda n’ayota omuliro gwe baali bakumye mu luggya. Ekitangaala ky’omuliro ky’asobozesa abalala okumutegeera nti y’omu ku abo abaali ne Yesu, era olw’okuba yali w’e Ggaliraaya, enjogera ye yayongera okumuwaayo. Bwe baatandika okumulumiriza, Peetero yeegaana Yesu emirundi esatu nti tamumanyi. Enkoko bwe yakookolima omulundi ogw’okubiri, Yesu ‘yakyuka n’atunuulira Peetero.’ Peetero yafuluma ebweru n’akaaba nnyo. (Mat 26:69-75; Mak 14:66-72; Luk 22:54-62; Yok 18:17, 18; laba COCKCROWING; OATH.) Kyokka essaala Yesu gye yali asabidde Peetero yaddibwamu, kubanga okukkiriza kwa Peetero tekwasaanawo.—Luk 22:31, 32.
Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Makko
14:51, 52—Mulenzi ki ‘eyadduka obwereere’? Makko yekka y’ayogera ku kintu kino, n’olwekyo tuyinza okugamba nti yali yeeyogerako.
Yesu Atwalibwa eri Anaasi n’Oluvannyuma eri Kayaafa
Kayaafa akimanyi nti Abayudaaya tebaagalira ddala muntu yenna kweyita Mwana wa Katonda. Emabegako Yesu bwe yagamba nti Katonda ye Kitaawe, Abayudaaya baali baagala kumutta nga bagamba nti “yeefuula eyenkanankana ne Katonda.” (Yokaana 5:17, 18; 10:31-39) N’olwekyo, Kayaafa agamba Yesu nti: “Nkulayiza mu maaso ga Katonda omulamu otubuulire oba nga ggwe Kristo Omwana wa Katonda!” (Matayo 26:63) Kya lwatu, Yesu yakyogera dda nti Mwana wa Katonda. (Yokaana 3:18; 5:25; 11:4) Bw’atakyogera kati, kiyinza okutwalibwa nti yeegaana nti si Mwana wa Katonda era nti si ye Kristo. N’olwekyo Yesu agamba nti: “Ye nze; era mugenda kulaba Omwana w’omuntu ng’atudde ku mukono ogwa ddyo ogw’Oyo ow’Amaanyi era ng’ajjira ku bire eby’eggulu.”—Makko 14:62.