OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Ekigambo kya Katonda Okyagala Kwenkana Wa?
Bayibuli erimu ebirowoozo n’ebigambo bya Yakuwa Katonda, oyo eyawandiisa ekitabo ekyo ekitukuvu. (2Pe 1:20, 21) Bayibuli bw’eyogera ku ky’okuba nti Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna okuyitira mu Bwakabaka, eba ewa abantu essuubi nti mu kiseera ekitali kya wala obulamu bujja kutereera. Bayibuli era eraga engeri ennungi Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu z’alina.—Zb 86:15.
Buli omu ku ffe alina ensonga ez’enjawulo ezimuleetera okwagala Ekigambo kya Katonda. Naye tulaga nti twagala Ekigambo kya Katonda nga tukisoma buli lunaku era nga tukolera ku ebyo bye tuyiga? Ebyo bye tukola bisaanidde okulaga nti tulina endowooza y’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Amateeka go nga ngaagala nnyo!”—Zb 119:97.
MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO, BAAYAGALA NNYO BAYIBULI (WILLIAM TYNDALE), OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki William Tyndale yavvuunula Bayibuli?
Kusomoozebwa ki kwe yayolekagana nakwo ng’avvuunula Bayibuli?
Bayibuli Tyndale gye yavvuunula yatuuka etya mu Bungereza?
Buli omu ku ffe ayinza atya okulaga nti ayagala Ekigambo kya Katonda?