Yakuwa Atukuuma Tusobole Okufuna Obulokozi
“[Mukuumibwa] amaanyi ga Katonda okuyitira mu kukkiriza musobole okufuna obulokozi obugenda okubikkulwa mu kiseera eky’enkomerero.”—1 PEET. 1:5.
WANDIZZEEMU OTYA?
Yakuwa atuleeta atya mu kusinza okw’amazima?
Tuyinza tutya okukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi?
Yakuwa atuzzaamu atya amaanyi?
1, 2. (a) Bayibuli eraga etya nti Katonda ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali okutuuka ku nkomerero? (b) Kiki ekiraga nti Yakuwa atumanyi bulungi?
“OYO agumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.” (Mat. 24:13) Ebigambo bya Yesu ebyo biraga nti bwe tuba ab’okuwonawo nga Yakuwa azikiriza ensi ya Sitaani, tulina okusigala nga tuli beesigwa gy’ali okutuukira ddala ku nkomerero. Naye ekyo kitegeeza nti Yakuwa atusuubira kwesigama ku magezi gaffe oba ku maanyi gaffe gokka? Nedda. Bayibuli egamba nti: “Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.” (1 Kol. 10:13) Ebigambo ebyo birina makulu ki gye tuli?
2 Yakuwa tasobola kutuleka kukemebwa kusukka ku ekyo kye tuyinza okugumira. Ekyo kiri bwe kityo kubanga Yakuwa amanyi buli kimu ekitukwatako, nga mw’otwalidde obunafu bwaffe, ebizibu bye tufuna, n’ebintu bye tusobola okugumira. Ddala Katonda atumanyi bulungi bw’atyo? Yee. Ebyawandiikibwa biraga nti buli omu ku ffe Yakuwa amumanyi bulungi. Amanyi ebintu byonna bye tukola buli lunaku. Ategeera bulungi ebirowoozo n’ebiruubirirwa eby’omutima gwaffe.—Soma Zabbuli 139:1-6.
3, 4. (a) Engeri Yakuwa gye yalaga nti yali afaayo ku Dawudi eraga etya nti afaayo ku buli omu ku ffe? (b) Yakuwa alaga atya nti afaayo ku bantu leero?
3 Ddala Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna afaayo nnyo bw’atyo ku bantu? Oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku nsonga eyo, omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba Yakuwa nti: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira?” (Zab. 8:3, 4) Dawudi ayinza okuba nga yeebuuza ekibuuzo ekyo oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yali alaze nti amufaako. Dawudi, mutabani wa Yese eyali asembayo obuto, bwe yali akyali mulenzi muto era nga mulunzi wa ndiga, Yakuwa yamutwala ng’omusajja asanyusa omutima gwe era yamulonda okuba omukulembeze wa Isiraeri. (1 Sam. 13:14; 2 Sam. 7:8) Omutonzi w’ebintu byonna yali amanyi bulungi ebintu Dawudi bye yali alowooza wadde nga yali akyali mulenzi muto. Lowooza ku ngeri Dawudi gye yawuliramu ng’akitegedde nti Yakuwa yali amufaako nnyo bw’atyo!
4 Ne leero Yakuwa afaayo nnyo ku bantu. Akuŋŋaanya abantu okuva mu ‘mawanga gonna,’ b’atwala ‘ng’ebyegombebwa’ n’abayamba okufuuka abaweereza be. (Kag. 2:7) Era ayamba abo abamuweereza okusigala nga beesigwa gy’ali. Ekyo Yakuwa akikola atya? Nga tetunnaba kuddamu kibuuzo ekyo, ka tusooke tulabe engeri Yakuwa gy’aleetamu abantu mu kusinza okw’amazima.
KATONDA Y’ALEETA ABANTU MU KUSINZA OKW’AMAZIMA
5. Yakuwa aleeta atya abantu eri Omwana we? Waayo ekyokulabirako.
5 Yesu yagamba nti: “Tewali muntu ayinza kujja gye ndi okuggyako nga Kitange eyantuma y’amusise.” (Yok. 6:44) Ebigambo ebyo biraga nti Katonda y’ayamba abantu abali ng’endiga okufuuka abayigirizwa ba Kristo. Ekyo akikola atya? Akikola ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi era ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Ng’ekyokulabirako, Pawulo ne baminsani banne bwe baali mu Firipi, baasanga omukazi ayitibwa Lidiya ne bamubuulira amawulire amalungi. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Yakuwa yaggula omutima gwe n’assaayo omwoyo ku bintu Pawulo bye yali ayogera.” Katonda yakozesa omwoyo gwe okuyamba Lidiya okutegeera ebintu Pawulo bye yayogera era n’abikkiriza. N’ekyavaamu, Lidiya n’ab’omu maka ge baabatizibwa.—Bik. 16:13-15.
6. Katonda yatuleeta atya mu kusinza okw’amazima?
6 Lidiya ye muntu yekka Yakuwa gwe yayamba okuyiga amazima? Nedda. Bw’oba ng’oli Mukristaayo eyeewaayo eri Katonda, osaanidde okukijjukira nti Katonda ye yakuleeta mu kusinza okw’amazima. Nga Kitaffe ow’omu ggulu bwe yalina ekirungi kye yalaba mu mutima gwa Lidiya, naawe alina ekirungi kye yakulabamu. Amawulire amalungi bwe gaakutuukako, Yakuwa yakozesa omwoyo gwe omutukuvu n’akuyamba okugategeera. (1 Kol. 2:11, 12) Bwe wali ofuba okuteeka mu nkola ebyo bye wayiganga, Yakuwa yakuyamba n’osobola okukola by’ayagala. Bwe weewaayo gy’ali, ekyo kyamusanyusa nnyo. Mu butuufu, okuviira ddala ku lunaku olwo Yakuwa abadde akuyamba era ajja kweyongera okukuyamba.
7. Kiki ekiraga nti Katonda asobola okutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali?
7 Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yatuyamba okutandika okumuweereza, tuli bakakafu nti ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Akimanyi nti si ffe twereeta mu mazima era bwe kityo tetusobola kuganywereramu ku lwaffe. Bwe yali awandiikira Abakristaayo abaafukibwako amafuta, omutume Peetero yabagamba nti: “[Mu]kuumibwa amaanyi ga Katonda okuyitira mu kukkiriza musobole okufuna obulokozi obugenda okubikkulwa mu kiseera eky’enkomerero.” (1 Peet. 1:5) Ebigambo bya Peetero ebyo bikwata ne ku Bakristaayo ab’endiga endala. Lwaki? Kubanga ffenna twetaaga obuyambi bwa Katonda okusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.
KATONDA ATUYAMBA OKWEWALA OKUKOLA ENSOBI EZ’AMAANYI
8. Lwaki ebiseera ebimu tukola ensobi?
8 Ebizibu bye tufuna awamu n’obutali butuukirivu bwaffe bisobola okutulemesa okulaba ebintu nga Yakuwa bw’abiraba. Ekyo kiyinza okutuleetera okukola ensobi ez’amaanyi oluusi nga tetukitegedde. (Soma Abaggalatiya 6:1.) Ekyo lumu ne Dawudi kyamutuukako.
9, 10. Yakuwa yayamba atya Dawudi obutakola nsobi ya maanyi, era Yakuwa atuyamba atya leero?
9 Dawudi yafuba okwefuga nga Kabaka Sawulo amunoonya okumutta. Yafuna n’akakisa okutta Sawulo, naye ekyo n’atakikola. (1 Sam. 24:2-7) Naye nga wayise ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo, Dawudi yalemererwa okwefuga. Dawudi n’abasajja be baali beetaaga emmere n’amazzi. Dawudi yasalawo okusaba Muisiraeri munne Nabali amuyambe. Nabali bwe yamuddamu obubi era n’agaana okumuyamba, Dawudi yanyiiga nnyo era n’asalawo okugenda okutta Nabali n’abasajja bonna abaali mu nnyumba ye. Dawudi yali yeerabidde nti okuyiwa omusaayi ogutaliiko musango kyandimuleetedde okuvunaanibwa mu maaso ga Yakuwa. Naye Abbigayiri, mukazi wa Nabali, yayamba Dawudi obutakola nsobi eyo ey’amaanyi. Dawudi bwe yakiraba nti Yakuwa yali akozesezza Abbigayiri okumuyamba obutakola nsobi eyo, yagamba Abbigayiri nti: “Atenderezebwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, akutumye leero okusisinkana nange: era gatenderezebwe n’amagezi go, naawe otenderezebwe ankuumye leero, obutabaako musango gwa musaayi n’obuteewalanira ggwanga n’omukono gwange nze.”—1 Sam. 25:9-13, 21, 22, 32, 33.
10 Ebyo ebyaliwo bituyigiriza ki? Yakuwa asobola okutuyamba okwewala okukola ensobi ey’amaanyi. Kyokka tetusaanidde kulowooza nti buli lwe tunaaba tugenda okukola ensobi ey’amaanyi, Katonda ajja kusindika omuntu atuziyize okugikola. Ate era tetusobola kumanya ekyo kyennyini Yakuwa ky’anaakola nga waliwo embeera enzibu ezzeewo, oba ekyo ky’anakkiriza okubaawo okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye. (Mub. 11:5) Wadde kiri kityo, tuli bakakafu nti Yakuwa amanyi bulungi embeera yonna gye tubaamu era ajja kutuyamba okusigala nga tuli beesigwa gy’ali. Yakuwa atugamba nti: “N[n]aakuyigirizanga n[n]aakulaganga mu kkubo ly’onooyitangamu: n[n]aakuteesezanga ebigambo eriiso lyange nga liri ku ggwe.” (Zab. 32:8) Yakuwa atuwa atya obulagirizi? Tusobola tutya okubuganyulwamu? Era lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa awa abantu be obulagirizi leero? Weetegereze engeri ebibuuzo ebyo gye biddibwamu mu kitabo ky’Okubikkulirwa.
KATONDA ATUKUUMA NG’ATUWA OBULAGIRIZI
11. Kiki ekiraga nti Yakuwa amanyi buli kimu ekigenda mu maaso mu bibiina by’abantu be?
11 Okwolesebwa okuli mu Okubikkulirwa essuula 2 ne 3 kulaga nti Kabaka Yesu Kristo yali amanyi bulungi buli kimu ekyali kigenda mu maaso mu bibiina omusanvu ebyali mu Asiya Omutono. Kristo yali amanyi ebikwata ku bibiina ebyo byonna okutwalira awamu, era ng’amanyi n’ebyo ebikwata ku bantu kinnoomu abaabirimu. Mu kwolesebwa okwo, Yesu yayogera ku bintu ebyali bikolebwa mu bibiina ebyo ne ku bantu abamu abaabirimu. Yasiima ebibiina ebyo olw’ebintu ebirungi bye byali bikola era n’abiraga we byali byetaaga okulongoosaamu. Ekyo kituyigiriza ki? Ebibiina omusanvu bikiikirira Abakristaayo abaafukibwako amafuta ababaddewo okuva mu 1914. Wadde ng’okubuulirira Yesu kwe yawa ebibiina omusanvu okusingira ddala kukwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta, ebibiina by’abantu ba Katonda byonna ebiri ku nsi birina kye biyigira ku kubuulirira okwo. Okwolesebwa okwo kulaga nti Yakuwa akozesa Omwana we okuwa abantu be obulagirizi leero. Tuyinza tutya okukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi?
12. Tuyinza tutya okukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi?
12 Engeri emu gye tuyinza okukkiriza Yakuwa okutuwa obulagirizi kwe kwesomesa. Yakuwa atuwa obulagirizi okuyitira mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era ow’amagezi. (Mat. 24:45) Naye bwe tuba ab’okuganyulwa mu bulagirizi obwo tulina okufuba okusoma ebitabo ebyo era n’okukolera ku ebyo bye tuba tusomye. Bwe tufuba okwesomesa, tuba tulaga nti twagala Yakuwa ‘atukuume tuleme kwesittala.’ (Yud. 24) Wali osomyeko ekintu mu bitabo byaffe n’owulira ng’ekintu ekyo kiringa kye baawandiikidde ggwe? Kikulu nnyo okukijjukira nti amagezi ago gaba gavudde eri Yakuwa. Nga mukwano gwaffe bw’ayinza okutukoona ku kibegaabega ng’ayagala tusseeyo omwoyo ng’aliko ekintu ky’ayagala okutugamba, ne Yakuwa asobola okukozesa omwoyo gwe okutuyamba okukiraba nti waliwo we twetaaga okulongoosaamu mu nneeyisa yaffe. Bwe tukkiriza obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu, tuba tukkirizza Yakuwa okutuluŋŋamya. (Soma Zabbuli 139:23, 24.) Kati ka tulowooze ku biseera bye tumala nga twesomesa.
13. Lwaki tulina okulowooza ku biseera bye tumala nga twesomesa?
13 Singa tumalira ebiseera bingi ku by’okwesanyusaamu, ekyo kiyinza okutumalako ebiseera bye twandimaze nga twesomesa. Lwaki? Ow’oluganda omu yagamba nti: “Leero waliwo eby’okwesanyusaamu bingi nnyo okusinga bwe kyali edda, era okwesanyusaamu tekukyetaagisa ssente nnyingi nga bwe kyali edda. Kino kiri kityo olw’okuba abantu bangi balina ttivi, kompyuta, n’amasimu ag’omu ngalo. Eby’okwesanyusaamu biri buli wamu.” Bwe tuteegendereza, tuyinza okwesanga ng’eby’okwesanyusaamu bitumaliddeko ddala ebiseera eby’okwesomesa. (Bef. 5:15-17) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ntera okufuna ebiseera okwesomesa ebintu eby’ebuziba ebiri mu Kigambo kya Katonda? Kyandiba nti olwo lwokka lwe mba nnina emboozi oba ekitundu eky’okukubiriza mu lukuŋŋaana lwe nfuna ekiseera okwesomesa?’ Kiba kya magezi okukozesa ekiseera kye twateekawo okwesomesa oba okusinza ng’amaka, okusoma ku bintu eby’ebuziba ebiri mu Bayibuli tusobole okufuna amagezi agava eri Yakuwa, aganaatuyamba okusigala nga tuli beesigwa okutuukira ddala ku nkomerero.—Nge. 2:1-5.
KATONDA ATUKUUMA NG’ATUZZAAMU AMAANYI
14. Ebyawandiikibwa biraga bitya nti Yakuwa ategeera bulungi ebitweraliikiriza?
14 Dawudi yayolekagana n’embeera enzibu nnyingi. (1 Sam. 30:3-6) Bayibuli eraga nti Yakuwa yali amanyi bulungi ebintu ebyali byeraliikiriza Dawudi. (Soma Zabbuli 34:18; 56:8.) Naffe Katonda amanyi bulungi ebintu ebitweraliikiriza. Bwe tuba ‘n’omutima ogumenyese,’ Yakuwa aba kumpi naffe. Ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi nga bwe kyazzaamu Dawudi amaanyi. Dawudi yagamba nti: ‘Nnaasanyukanga, nnaajaguzanga olw’okusaasira kwo: kubanga walaba ebibonoobono byange; wamanya emmeeme yange mu kulaba ennaku.’ (Zab. 31:7) Yakuwa amanyi bulungi ebitweraliikiriza. Atukuuma ng’atubudaabuda era ng’atuzzaamu amaanyi. Yakuwa atuzzaamu amaanyi okuyitira mu nkuŋŋaana zaffe.
15. Ebyo bye tusoma ku Asafu bituyigiriza ki?
15 Ebyo bye tusoma ku muwandiisi wa Zabbuli Asafu biraga ensonga lwaki kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana. Bwe yalaba abatuukirivu nga babonaabona ate ng’ababi balabika ng’abali obulungi, ekyo kyamumalamu nnyo amaanyi. Asafu yatandika okulowooza nti yali atawaanira bwereere okuweereza Katonda. Yagamba nti: “Omutima gwange gwannuma, n’emmeeme yange yanfumita.” Asafu yabulako katono okulekera awo okuweereza Yakuwa. Naye kiki ekyamuyamba okutereeza endowooza ye? Yagamba nti: “Nnagenda mu watukuvu wa Katonda.” Asafu yasobola okutereeza endowooza ye bwe yakuŋŋaana awamu n’abo abaali basinza Yakuwa. Asafu yakiraba nti obulamu obweyagaza abantu ababi bwe baalimu bwali bwa kaseera buseera, era nti Yakuwa yandikakasizza nti wabaawo obwenkanya mu kiseera kye ekituufu. (Zab. 73:2, 13-22) Naffe ebiseera ebimu tuyinza okuwulira nga Asafu. Obutali bwenkanya obuli mu nsi ya Sitaani buyinza okutuleetera ennaku ey’amaanyi oba okutumalamu amaanyi. Okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe kituzzaamu amaanyi era kituyamba okweyongera okuweereza Yakuwa nga tuli basanyufu.
16. Ekyokulabirako kya Kaana kituyigiriza ki?
16 Watya singa waliwo embeera mu kibiina kyo ekifuula ekizibu gy’oli okubaawo mu nkuŋŋaana? Kiyinzika okuba nti waliwo enkizo eyakuggibwako era nga kati owulira obuswavu, oba oyinza okuba nga wafuna obutategeeragana ne mukkiriza munno. Bwe kiba kityo, okulowooza ku kyokulabirako kya Kaana kisobola okukuzzaamu amaanyi. (Soma 1 Samwiri 1:4-8.) Muggya we, Penina, yakolanga ebintu ebimunyiiza ng’ayagala okumunakuwaza. Ennaku ya Kaana yeeyongeranga bwe baagendanga mu Siiro buli mwaka okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa. Kaana yayisibwanga bubi nnyo ‘n’akaabanga amaziga era n’agaananga n’okulya.’ Kyokka ekyo tekyamulemesanga kugenda Siiro kusinza Yakuwa. Yakuwa yakiraba nti Kaana yali mwesigwa era n’amuwa emikisa.—1 Sam. 1:11, 20.
17, 18. (a) Tuzibwamu tutya amaanyi nga tugenze mu nkuŋŋaana? (b) Okukimanya nti Yakuwa atukuuma okusobola okulokolebwa kikuleetera kuwulira otya?
17 Abakristaayo leero basaanidde okukoppa ekyokulabirako kya Kaana. Tusaanidde okufuba okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Enkuŋŋaana z’ekibiina ffenna zituzzaamu nnyo amaanyi. (Beb. 10:24, 25) Ffenna tubudaabudibwa baganda baffe bwe batulaga okwagala nga tugenze mu nkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, ebintu bye tuwulira mu mboozi oba mu ebyo bakkiriza bannaffe bye baddamu bituzzaamu nnyo amaanyi. Bwe tuba tunyumya ne bakkiriza bannaffe ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde, mukkiriza munnaffe ayinza okutuwuliriza oba n’abaako ekintu ky’ayogera, ekyo ne kituzzaamu amaanyi. (Nge. 15:23; 17:17) Okuyimbira Yakuwa nga tuli wamu ne bakkiriza bannaffe nakyo kituzzaamu amaanyi era kituleetera essanyu. Okusingira ddala twetaaga okuzzibwamu amaanyi bwe tuba n’ebintu ebitweraliikiriza. Bwe tubaawo mu nkuŋŋaana, Yakuwa atubudaabuda era n’atuzzaamu amaanyi ne tusobola okusigala nga tuli beesigwa gy’ali.—Zab. 94:18, 19.
18 Okwagala Yakuwa kw’atulaga kutuleetera okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli Asafu, eyagamba Yakuwa nti: “Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go.” (Zab. 73:23, 24) Nga kitusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa atukuuma tusobole okulokolebwa!
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Naawe Yakuwa ye yakuleeta mu kusinza okw’amazima
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]
Okukolera ku bulagirizi bwa Katonda kitukuuma
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]
Bakkiriza bannaffe batuzzaamu amaanyi