LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • rr lup. 47
  • 4A “Nnali Ntunuulira Ebiramu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 4A “Nnali Ntunuulira Ebiramu”
  • Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Similar Material
  • ‘Ebiramu eby’Obwenyi Obuna’ Be Baani?
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • ‘Bategeeze Kalonda Yenna Akwata ku Yeekaalu’
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • ‘Nnalaba Okwolesebwa kwa Katonda’
    Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Engeri Yakuwa gy’Atuyamba Okutuukiriza Obuweereza Bwaffe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
rr lup. 47
Ekibumbe eky’ente ennume erina ebiwaawaatiro n’omutwe ng’ogw’omuntu

AKASANDUUKO 4A

‘Nnali Ntunuulira Ebiramu’

Ezeekyeri ateekwa okuba nga yali alabye emiryango gy’embiri ne yeekaalu ez’enjawulo ebiriko agabumbe aganene ag’ente ennume ezirina ebiwaawaatiro n’ag’empologoma ezirina emitwe ng’egy’abantu. Agabumbe ng’ago gaali gasangibwa mu bitundu bingi mu Bwasuli ne mu Babulooni eby’edda. Okufaananako abantu abalala, Ezeekyeri bwe yatunuuliranga agabumbe ago aganene, agamu agaali gaweza ffuuti nga 20, ateekwa okuba nga yeewuunyanga nnyo. Naye wadde ng’agabumbe ago gaali ganene nnyo, tegaalina bulamu, kubanga gaali gaakolebwa mu mayinja.

ENTE ENNUME ERINA EBIWAAWAATIRO N’OMUTWE NG’OGW’OMUNTU

Bw’ogeraageranya obuwanvu bw’omuntu n’obwekibumbe ekyo

Ekibumbe kino eky’ente ennume erina ebiwaawaatiro n’omutwe ng’ogw’omuntu kyali ku mulyango ogwali guyingira mu kibuga Khorsabad eky’omu Bwasuli ey’edda. Ekibumbe ekyo kyateekebwawo nga kirowoozebwa nti kyandiziyizza ebintu ebibi okutuuka ku bantu b’omu kibuga ekyo.

Okwawukana ku gabumbe ago, ebitonde Ezeekyeri bye yalaba byali ‘biramu.’ Eyo nga yali njawulo ya maanyi nnyo! Ezeekyeri bwe yabiraba yakwatibwako nnyo ne kiba nti yaddiŋŋana ekigambo “ebiramu” emirundi 10 mu ssuula esooka. (Ezk. 1:5-22) Ate era okwolesebwa okukwata ku biramu ebina ebitambulira okumu wansi w’entebe ya Katonda, kuteekwa okuba nga kwayamba Ezeekyeri okukitegeera nti Yakuwa alina obuyinza ku butonde bwe bwonna. Leero okwolesebwa okwo kutuyamba okukiraba nti Yakuwa asukkulumye mu buyinza n’ekitiibwa era nti obufuzi bwe bwe bw’oku ntikko.​—1 Byom. 29:11.

Ekimu ku biramu ebina Ezeekyeri bye yalaba mu kwolesebwa

Genda ku ssuula 4, akatundu 4

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share