Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
MAAKI 1-7
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 7-8
“Bye Tuyigira ku Ngeri Abayisirayiri Gye Baali Bategekeddwamu”
it-1-E lup. 497 ¶3
Ekibiina
Mu Isirayiri waaliwo abasajja abaalondebwanga okukiikirira abantu. (Ezr 10:14) Bwe kityo, weema entukuvu bwe yamala okuteekebwawo “abakulu b’ebika” baawaayo ebiweebwayo. (Kbl 7:1-11) Ne mu kiseera kya Nekkemiya, abo abaakakasa “endagaano ey’enkalakkalira” nga bagiteekako akabonero kaabwe baali bakabona, Abaleevi, n’abo “abaali bakulira abantu.” (Nek 9:38–10:27) Abayisirayiri bwe baali mu ddungu, waaliwo abasajja 250 ‘abaali abakulu mu kibiina era abaali abalonde, era nga basajja batutumufu,’ abeegatta ku Koola, Dasani, Abiraamu, ne Oni okuwakanya Musa ne Alooni. (Kbl 16:1-3) Ng’akolera ku magezi agaamuweebwa, Musa yalonda abasajja 70 ku bakadde b’Abayisirayiri ‘bamuyambeko okwetikka omugugu gw’abantu’ gwe yali tasobola kwetikka yekka. (Kbl 11:16, 17, 24, 25) Eby’Abaleevi 4:15 woogera ku ‘bakadde b’ekibiina,’ era kirabika abo abaali bakiikirira abantu baali abakadde baabwe, abakulu b’ebika byabwe, abalamuzi baabwe, n’abaami baabwe.—Kbl 1:4, 16; Yos 23:2; 24:1.
it-2-E lup. 796 ¶1
Lewubeeni
Mu lusiisira lw’Abayisirayiri, olusiisira lw’ab’ekika kya Lewubeeni lwabeeranga wakati w’ensiisira z’abazzukulu ba Simiyoni ne Gaadi ezaali ku luuyi olw’ebukiikaddyo olwa weema entukuvu. Bwe baasitulanga okweyongerayo, ekibinja ekyo eky’ebika ebisatu ekyakulemberwanga ab’ekika kya Lewubeeni kyagobereranga ekibinja eky’ebika ebisatu ekya Yuda, Isakaali, ne Zebbulooni. (Kbl 2:10-16; 10:14-20) Era enteekateeka y’emu ye yagobererwa, ebika bwe byali biwaayo ebiweebwayo byabyo ku lunaku weema entukuvu lwe yatongozebwa.—Kbl 7:1, 2, 10-47.
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala
8:25, 26. Okusobola okukakasa nti Abaleevi abaalina amaanyi be baaweerezanga, abo abaabanga bakaddiye baalagirwanga okuwummula obuweereza bwabwe. Kyokka, baalinga basobola okuyamba Abaleevi abalala. Wadde ng’omuweereza wa Yakuwa leero tasobola kuwummula mulimu gwa kubuulira, omusingi oguli mu tteeka lino gulina kye gutuyigiriza. Singa Omukristaayo aba takyasobola kutuukiriza buvunaanyizibwa obumu olw’okukaddiwa, asobola okwenyigira mu buweereza obulala bw’asobola.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 835
Omwana Omubereberye, Ensolo Embereberye
Okuva bwe kiri nti abaana ab’obulenzi ababereberye ab’Abayisirayiri baali basobola okufuuka abakulu b’ennyumba za bakitaabwe, baakiikiriranga eggwanga lyonna. Mu butuufu, Yakuwa yayogera ku ggwanga lyonna ‘ng’omwana we omubereberye,’ olw’okuba lye ggwanga lye eryasooka olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu. (Kuv 4:22) Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye yawonyaawo abaana ab’obulenzi ab’Abayisirayiri, yabalagira nti ‘buli mwana ow’obulenzi omubereberye wange, era n’ensolo ennume esooka okuzaalibwa yange.’ (Kuv 13:2) N’olwekyo, abaana ab’obulenzi ababereberye baali ba kwawulibwawo okuweereza Yakuwa.
MAAKI 8-14
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 9-10
“Engeri Yakuwa gy’Akulemberamu Abantu Be”
it-1-E lup. 398 ¶3
Olusiisira
Engeri abantu abangi bwe batyo gye baatambulangamu okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nakyo kiraga nti baali bategekeddwa bulungi (mu Okubala 33 Musa alaga nti baasiisira mu bifo nga 40). Ekire bwe kyasigalanga waggulu ku weema, baasigalanga mu kifo kye baabanga basiisiddemu. Ekire bwe kyavanga ku weema, baasitulanga ne beeyongerayo. “Baasitulanga nga Yakuwa amaze kubalagira era baasiisiranga nga Yakuwa amaze kubalagira.” (Kbl 9:15-23) Amakondeere abiri agaakolebwa mu ffeeza gaafuuyibwanga okulagira abantu okusiisira oba okusitula okweyongerayo. (Kbl 10:2, 5, 6) Bwe baagafuuwanga nga bakyusakyusa mu nvuga yaago kyalaganga nti ekiseera kituuse eky’okusitula okweyongerayo. Olunaku ekyo lwe kyasooka okukolebwa lwali ku “lunaku olw’abiri olw’omwezi ogw’okubiri mu mwaka ogw’okubiri [1512 E.E.T.].” Ng’essanduuko y’endagaano ebakulembeddemu, ab’ekibinja eky’ebika ebisatu ekyasooka, ekyali kikulemberwa ab’ekika kya Yuda ne kuddako ab’ekika kya Isakaali, n’ab’ekika kya Zebbulooni, be baasooka okusimbula. Baddirirwa Abagerusoni n’Abamerali abaali basitudde ebintu bya weema entukuvu bye baalina okusitula. Abo baddirirwa ekibinja eky’ebika ebisatu ekyali kikulemberwa ab’ekika kya Lewubeeni, ne bagobererwa ab’ekika kya Simiyoni n’ab’ekika kya Gaadi. Oluvannyuma kwaddako Abakokasi abaali basitudde weema entukuvu, ne baddirirwa ekibinja eky’okusatu eky’ebika ebisatu ekya Efulayimu ne baddirirwa ab’ekika kya Manase n’ab’ekika kya Benyamini. Ekibinja eky’ebika ebisatu ekyali kikulemberwa ab’ekika kya Ddaani, ne kuddako ab’ekika kya Aseri n’ab’ekika kya Nafutaali, kye kyasembayo okusimbula, ne kiba nga kye kikuuma ensiisira zonna ku luuyi olw’emabega. Bwe kityo, ebibinja ebibiri ebyali bisinga okubaamu abantu abangi era ab’amaanyi bye byabanga mu maaso n’emabega.—Kbl 10:11-28.
Olaba Obukakafu Obulaga nti Katonda Awa Abantu Be Obulagirizi?
Tuyinza tutya okulaga nti tukkiriza obulagirizi Katonda bw’atuwa? Omutume Pawulo yagamba nti: “Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.” (Beb. 13:17) Kino oluusi tekiba kyangu. Okugeza: Kuba akafaananyi ng’oli omu ku Bayisirayiri abaaliwo mu kiseera kya Musa. Oluvannyuma lw’okumala ennaku eziwerako nga mutambula, empagi eyimirira. Eneemalawo bbanga ki? Lunaku lumu? Wiiki emu? Oba myezi egiwerako? Otandika okwebuuza, ‘Nsumulule emigugu gyange gyonna?’ Mu kusooka, oyinza okuggyamu ebintu ebitonotono bye weetaaga okukozesa. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, okoowa okukeberanga mu migugu gyo ng’oliko by’onoonya, era osalawo okugisumulula gyonna. Naye oba omaliriza bw’oti okugisumulula, ogenda okulaba ng’ekire kitandika okutambula—era nga kikwetaagisa okuddamu okugisiba! Ekyo tekiba kyangu kukola era kiyinza n’okukukaluubirira. Wadde kyali kityo, Abayisirayiri baalinanga okusitula amangu ago “okugenda.”—Kubal. 9:17-22.
Tweyisa tutya singa waliwo obulagirizi Katonda bw’atuwadde? Tufuba okubukolerako ‘mu bwangu ddala nga bwe kisoboka,’ oba tugenda mu maaso okukola ebintu nga bwe tubadde tubikola? Tufuba okukolera ku bulagirizi obutuweebwa ku bintu gamba ng’okuyigiriza abantu Bayibuli, okubuulira abantu aboogera olulimi olulala, okuba n’okusinza kw’amaka obutayosa, okukolagana n’Akakiiko Akakwataganya eby’Eddwaliro, ne ku ngeri gye tusaanidde okweyisaamu nga tugenze mu nkuŋŋaana zaffe ennene? Tulaga nti tukkiriza obulagirizi Katonda bw’atuwa nga tukolera ku magezi agatuweebwa. Bwe tubaako ebintu ebikulu bye tusalawo, tetukolera ku magezi gaffe naye tugoberera amagezi agava eri Yakuwa awamu n’ekibiina kye. Ng’omwana omuto bw’addukira eri bazadde be okusobola okufuna obukuumi nga waliwo obuzibu, naffe tuddukira mu kibiina kya Yakuwa nga tufunye ebizibu.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 199 ¶3
Olukuŋŋaana
Obukulu bw’Okukuŋŋaana. Obukulu bw’okukuŋŋaana awamu okuyigirizibwa Yakuwa tubulabira ku Mbaga ey’Okuyitako Abayisirayiri gye baabanga nayo buli mwaka. Omusajja yenna eyabanga omulongoofu era nga tali ku lugendo naye n’atakwata Kuyitako yalinanga okuttibwa. (Kbl 9:9-14) Kabaka Keezeekiya bwe yayita abantu b’omu Yuda ne mu Isirayiri okubaawo ku Mbaga ey’Okuyitako eyali ey’okuba mu Yerusaalemi yabagamba nti: “Mmwe abantu ba Isirayiri, mukomeewo eri Yakuwa . . . temuba bakakanyavu nga bajjajjammwe. Mugondere Yakuwa mujje mu kifo kye ekitukuvu kye yatukuza emirembe gyonna, era muweereze Yakuwa Katonda wammwe, obusungu bwe obubuubuuka busobole okubavaako. . . . Yakuwa Katonda wammwe wa kisa era musaasizi. Tajja kukyuka kubaggyako maaso ge, bwe munaakomawo gy’ali.” (2By 30:6-9) Omuntu bwe yandigaanye okugenda ku mbaga eyo kyandiraze nti avudde ku Katonda. Wadde ng’Abakristaayo tebakwata mbaga gamba ng’Okuyitako, omutume Pawulo yabakubiriza obutalekangayo kubaawo ku nkuŋŋaana z’abantu ba Katonda. Yagamba nti: “Ka buli omu ku ffe alowoozenga ku munne, okumukubiriza okwagala n’okukola ebikolwa ebirungi, nga tetulekaayo kukuŋŋaananga wamu ng’abamu bwe bakola, naye nga tuzziŋŋanamu amaanyi, naddala nga bwe mulaba nti olunaku lusembedde.”—Beb 10:24, 25; laba CONGREGATION.
MAAKI 15-21
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 11-12
“Lwaki Tusaanidde Okwewala Okwemulugunya?”
Temufuuka Bawulizi Abeerabira
Abakristaayo abasinga obungi tebeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Kyokka, tulina okwegendereza obuteemulugunya ne kituviiramu obutasiimibwa Katonda. Pawulo atukubiriza nti: “Tetugezesanga Yakuwa ng’abamu ku [Bayisirayiri] bwe baamugezesa emisota ne gibazikiriza. Era temwemulugunyanga ng’abamu ku bo bwe beemulugunya, ne bazikirizibwa omuzikiriza.” (1 Abakkolinso 10:9, 10) Abayisirayiri beemulugunyiza Musa ne Alooni, era ne Katonda kennyini, olw’emaanu eyabaweebwa mu ngeri ey’ekyamagero. (Okubala 16:41; 21:5) Okwemulugunya okwo nakwo kwanyiiza nnyo Yakuwa okufaananako ekikolwa eky’obugwenyufu kye beenyigiramu. Bayibuli eraga nti bangi ku beemulugunya battibwa emisota. (Okubala 21:6) Emabegako, abajeemu abeemulugunya abasukka mu 14,700 baazikirizibwa. (Okubala 16:49) N’olwekyo, tetugezesanga Yakuwa nga tunyooma ebyo by’atuwa.
‘Teweemulugunya’
Ng’endowooza y’Abayisirayiri yali ekyuse nnyo! Yakuwa bwe yabanunula e Misiri ne mu Nnyanja Emmyufu, mu kusooka baakiraga nti baali basiimye nnyo era ne bayimba nga bamutendereza. (Okuva 15:1-21) Kyokka, olw’embeera embi gye baalimu mu ddungu era n’olw’okutya Abakanani, baalekera awo okusiima Yakuwa ne batandika okwemulugunya. Mu kifo ky’okusiima Katonda olw’okubanunula, baamunenya nga bakitwala nti alina ebintu by’atabawadde. N’olwekyo, okwemulugunya kwalaga nti baali tebasiima ebyo Yakuwa bye yali abawadde. Tekyewuunyisa nti yabagamba nti: “Ekibiina kino ekibi kirituusa wa okunneemulugunyaako?”—Okubala 14:27; 21:5.
it-2-E lup. 719 ¶4
Okuyomba
Okwemulugunya. Okwemulugunya kumalamu abalala amaanyi. Nga wayiseewo ekiseera kitono oluvannyuma lw’Abayisirayiri okuva e Misiri, baatandika okwemulugunya ku Yakuwa n’obutassa kitiibwa mu Musa ne Alooni Yakuwa be yali alonze okubakulembera. (Kuv 16:2, 7) Oluvannyuma okwemulugunya kwabwe kwamalamu nnyo Musa amaanyi n’atuuka n’okusaba afe. (Kbl 11:13-15) Okwemulugunya kusobola okuba okw’obulabe eri oyo eyeemulugunya. Yakuwa yakitwala nti ebyo bye baayogera nga beemulugunya ku Musa, baali babyogera ku ye kennyini. (Kbl 14:26-30) Bangi baafiirwa obulamu bwabwe olw’okunoonya ensobi mu balala.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 309
Emaanu
Engeri gye yali efaananamu. Emaanu yali ‘ng’obusigo bwa koliyanda obweru’ era ng’efaanana ng’amasanda agaggibwa mu miti egimu agayitibwa bedola. Yali ewoomerera ‘ng’obugaati obubyabyatavu obulimu omubisi gw’enjuki’ oba ‘ng’obugaati obuwoomerera obulimu amafuta.’ Bwe baamalanga okugiseera ku lubengo oba okugisekulira mu kinu, baagifumbanga oba baagikolangamu obugaati.—Kuv 16:23, 31; Kbl 11:7, 8.
MAAKI 22-28
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 13-14
“Engeri Okukkiriza Gye Kutuyamba Okuba Abavumu”
Okufuna Obuvumu Okuyitira mu Kukkiriza n’Okutya Katonda
Kyokka, abakessi ababiri Yoswa ne Kalebu, baali baagala nnyo okuyingira Ensi Ensuubize. Baagamba nti, Abakanani “tujja kubasaanyaawo. Tebakyalina bukuumi, naye ffe Yakuwa ali naffe. Temubatya.” (Okubala 14:9) Yoswa ne Kalebu baalina kyonna kye baali basinziirako obutatya Bakanani? Yee. Bo n’Abayisirayiri abalala, baalaba engeri Yakuwa gye yafeebyamu Misiri eyali ey’amaanyi awamu ne bakatonda baayo, bwe yaleeta Ebibonyoobonyo Ekkumi. Ate oluvannyuma, baalaba nga Yakuwa azikiriza Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emmyufu. (Zabbuli 136:15) Kya lwatu, abakessi abo ekkumi awamu n’abalala tebaalina nsonga yonna yandibaleetedde kutya balabe baabwe. Nga munakuwavu nnyo, Yakuwa yagamba nti: “Balituusa wa obutanneesiga wadde nga nkoze obubonero bungi mu bo?”—Okubala 14:11.
Yakuwa yalaga ekyo ekyabaviirako ekizibu—okutya kwe baalina kwalaga nti tebaalina kukkiriza. Waliwo akakwate ka maanyi wakati w’okukkiriza n’obuvumu. Omutume Yokaana bwe yali awandiika ku bikwata lutalo olw’eby’omwoyo Abakristaayo lwe balimu yagamba nti: “Okukkiriza kwaffe kwe kutusobozesezza okuwangula ensi.” (1 Yokaana 5:4) Leero, okukkiriza okufaananako okwa Yoswa ne Kalebu kuviiriddeko Abajulirwa ba Yakuwa abasukka mu bukadde mukaaga, abato n’abakulu, abalina amaanyi n’abakosefukosefu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Tewali mulabe asobodde okulemesa eggye lino ery’amaanyi.—Abaruumi 8:31.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 740
Ensi Katonda Gye Yawa Abayisirayiri
ENSI Katonda gye yawa Abayisirayiri yali nnungi nnyo. Musa bwe yatuma abakessi okugenda okuketta Ensi Ensuubize, baakomawo n’ebimu ku bibala byayo. Baaleeta ebibala by’omutiini, enkomamawanga, n’ekirimba ky’ezzabbibu ekinene ennyo nga kyetaagisa abasajja babiri okukisitulira ku muti! Wadde nga baatya okuyingira mu Nsi Ensuubize olw’obutaba na kukkiriza, baagamba nti: “Mazima ddala ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”—Kbl 13:23, 27.
MAAKI 29–APULI 4
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 15-16
“Weewale Amalala n’Okwekakasa Ekisukkiridde”
Yakuwa Akumanyi?
Naye Abayisirayiri bwe baali ku lugendo nga bagenda mu Nsi Ensuubize, Koola yatandika okulowooza nti engeri Katonda gye yali akulemberamu abantu be teyali ntuufu. Abasajja abalala 250 abaali abakulu mu ggwanga lya Isirayiri badda ku ludda lwa Koola nga nabo baagala wabeewo enkyukakyuka. Koola ne banne bateekwa okuba nga baali balowooza nti baalina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Baagamba Musa nti: “Tubeetamiddwa. Ab’omu kibiina bonna batukuvu era Yakuwa ali mu bo.” (Kubal. 16:1-3) Nga baalina amalala era nga baali beekakasa ekisukkiridde! Musa yabagamba nti: “Yakuwa ajja kutumanyisa owuwe.” (Soma Okubala 16:5.) We bwakeerera, Koola ne banne bonna baali bafu.—Kubal. 16:31-35.
Yakuwa Akumanyi?
Musa ne Koola beeyisa mu ngeri ya njawulo bwe kyatuuka ku kussa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa ne mu ebyo bye yabanga asazeewo. Engeri gye beeyisaamu erina kinene kye yakola ku ngeri Yakuwa gye yabatwalamu. Koola yali Muleevi Omukokasi. Oboolyawo yafuna omukisa okulaba engeri ey’ekitalo Yakuwa gye yanunulamu Abayisirayiri n’abayisa mu Nnyanja Emmyufu. Koola era yawagira ekyo Yakuwa kye yakola okubonereza Abayisirayiri abajeemu ku Lusozi Sinaayi, ate era yali omu ku abo abaasitulanga ssanduuko y’endagaano. (Kuv. 32:26-29; Kubal. 3:30, 31) Yali amaze emyaka mingi nga mwesigwa eri Yakuwa, era ng’ekyo kyali kireetedde Abayisirayiri bangi okumussaamu ekitiibwa.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w98-E 9/1 lup. 20 ¶1-2
Kulembeza Ebintu Ebisinga Obukulu!
Ensonga eyo Yakuwa yagitwala nga nkulu nnyo. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa n’agamba Musa nti: ‘Omusajja oyo attibwe.’” (Okubala 15:35) Lwaki ekyo omusajja oyo kye yakola, Yakuwa teyakibuusa maaso?
Abantu baalina ennaku mukaaga ez’okukoleramu emirimu, gamba ng’okussennya enku, okufuna emmere, n’okukola ku byetaago byabwe ebirala ebikwata ku by’okwambala n’aw’okusula. Olunaku olw’omusanvu baalina okuluwaayo okukola ku byetaago byabwe eby’eby’omwoyo. Wadde nga tekyali kikyamu kussennya nku, kyali kikyamu okukikolera mu budde obw’okusinzizaamu Yakuwa. Wadde ng’Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka, ekyatuuka ku musajja oyo tekituyigiriza obukulu bw’okukulembeza ebintu ebisinga obukulu?—Abafiripi 1:10.
APULI 5-11
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 17-19
“Nze Busika Bwo”
Okkiriza Yakuwa Okuba Omugabo Gwo?
Lowooza ku Baleevi abataaweebwa busika mu nsi. Olw’okuba baali balina okutwala obukulembeze mu kusinza okw’amazima, baalinanga okwesiga Yakuwa okubalabirira kubanga yabagamba nti: “Nze mugabo gwo.” (Kubal. 18:20) Wadde nga tetuweerereza mu yeekaalu nga bakabona n’Abaleevi mwe baaweererezanga, tusobola okubakoppa nga twesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira. Nga bwe tweyongera okusemberera enkomerero, tusuubira nti obulamu bujja kwongera okutuzibuwalira ffe abagaana okuteekebwako “akabonero” k’ensolo. N’olwekyo, kikulu nnyo okwongera okwesiga Yakuwa nti ajja kutulabirira.—Kub. 13:17.
Yakuwa Gwe Mugabo Gwange
Yakuwa bwe yalonda Abaleevi okumuweereza, yafuuka atya omugabo gwabwe? Mu kifo ky’okubawa obusika mu nsi, Yakuwa yabawa ekintu eky’omuwendo ennyo, omulimu omukulu ennyo ogw’okukola. “Obwakabona bwa Yakuwa” bwe bwali obusika bwabwe. (Yos. 18:7) Okubala essuula 18 etuyamba okulaba nti Abaleevi bandisobodde okufuna ebyetaago byabwe eby’omubiri. (Soma Okubala 18:19, 21, 24.) Abaleevi baalinanga okuweebwa “buli kimu eky’ekkumi mu Isirayiri ng’obusika olw’emirimu gye bakola.” Baaweebwanga ekimu eky’ekkumi ku bintu Abayisirayiri bye baakungulanga ne ku muwendo gw’ebisolo ebyazaalibwanga. Abaleevi nabo baalinanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi ku bintu bye baafunanga, “ku birabo byonna ebisingayo obulungi,” okusobola okuwagira obwakabona. (Kubal. 18:25-29) Ate era bakabona baaweebwanga ‘ebintu byonna ebitukuvu’ abaana ba Isirayiri bye baawangayo eri Katonda mu kifo gye baamusinzizanga. Bwe kityo, bakabona baali bakakafu nti Yakuwa yali asobola bulungi okubalabirira.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
g02-E 6/8 lup. 14 ¶2
Omunnyo—Ekintu eky’Omuwendo
Omunnyo era gwakozesebwanga ng’akabonero akategeeza ekintu eky’enkalakkalira era ekitakyuka. N’olwekyo, mu Bayibuli endagaano etakyuka yayitibwanga “ndagaano ey’omunnyo ey’olubeerera,” era abaabanga mu ndagaano eyo baalyanga ekijjulo ekyabangamu omunnyo okukakasa endagaano eyo. (Okubala 18:19) Mu Mateeka ga Musa, omunnyo gwalinanga okuteekebwa mu ssaddaaka ezaaweebwangayo ku kyoto okukiikirira obutavunda oba obutayonooneka.
APULI 12-18
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 20-21
“Sigala ng’Oli Muwombeefu ng’Oyolekaganye n’Embeera Esoomooza”
Noonya Obuwombeefu Osanyuse Yakuwa
Kituyamba okwewala okukola ensobi. Ka tulowooze nate ku Musa. Musa yasigala nga muwombeefu okumala emyaka mingi era yasanyusa Yakuwa. Naye ng’emyaka 40 Abayisirayiri gye baamala mu ddungu nga batambula ginaatera okuggwaako, Musa yalemererwa okwoleka obuwombeefu. Mwannyina, Miriyamu, oboolyawo nga ye yayambako nnyina okutaasa obulamu bwa Musa nga bali e Misiri yali yaakafa, era ng’aziikiddwa e Kadesi. Mu kiseera ekyo Abayisirayiri baddamu okwemulugunya nti baali tebafiibwako. ‘Baayombesa Musa’ olw’obutaba na mazzi. Wadde nga Yakuwa yali abakoledde ebyamagero bingi okuyitira mu Musa, era nga ne Musa amaze ekiseera kiwanvu ng’abakulembera bulungi, abantu abo beemulugunya. Tebaakoma kwemulugunya ku kya butaba na mazzi kyokka, naye era beemulugunya ne ku Musa nga gy’obeera nti ye yali abaleetedde okulumwa ennyonta.—Kubal. 20:1-5, 9-11.
Noonya Obuwombeefu Osanyuse Yakuwa
Musa yasunguwala nnyo era n’alemererwa okwoleka obuwombeefu. Mu kifo ky’okwoleka okukkiriza n’ayogera eri olwazi nga Yakuwa bwe yamulagira, Musa yayogera eri abantu n’obusungu era engeri gye yayogeramu yali ng’eraga nti ye yali agenda okukola ekyamagero ekyo. Oluvannyuma yakuba ku lwazi emirundi ebiri ne lufukumula amazzi. Amalala n’obusungu bye byamuleetera okukola ensobi eyo. (Zab. 106:32, 33) Olw’okuba Musa yalemererwa okwoleka obuwombeefu mu kiseera ekyo, teyakkirizibwa kuyingira mu Nsi Ensuubize.—Kubal. 20:12.
Tulina ebintu ebikulu bye tuyigira ku ebyo ebyaliwo. Ekisooka, buli kiseera tulina okufuba okulaba nga tusigala nga tuli bawombeefu. Bwe tulekera awo okuba abawombeefu wadde okumala akaseera akatono, kiba kyangu okufuna amalala ne twogera oba ne tukola ebintu ebitali bya magezi. Eky’okubiri, bwe tuba n’ebintu ebitutawaanya oba ebitweraliikiriza, kyangu obutaba bawombeefu. N’olwekyo tusaanidde okufuba ennyo okusigala nga tuli bawombeefu mu mbeera eyo.
w09-E 9/1 lup. 19 ¶5
Omulamuzi Anywerera ku Kituufu
Ensonga esooka, Katonda yali tagambye Musa kwogera eri abantu, ate oluvannyuma abasalire omusango ng’abayita abajeemu. Ey’okubiri, Musa ne Alooni baalemererwa okugulumiza Katonda. Katonda yabagamba nti: ‘Temuntukulizza mu maaso g’Abayisirayiri.’ (Olunyiriri 12) Musa bwe yagamba nti: “Mu lwazi luno mwe tunaabaggira amazzi?” yali ng’agamba nti ye ne Alooni be baali bagenda okuwa abantu amazzi, so si Katonda. Ey’okusatu, ekibonerezo Katonda kye yabawa kyali tekyawukana n’ekyo kye yali yawa abantu emabegako. Katonda yali yagaana abantu abaamujeemera okuyingira mu nsi ya Kanani, era yakola kye kimu ku Musa ne Alooni. (Okubala 14:22, 23) Ey’okuna, Musa ne Alooni baali bakulembeze mu Isirayiri. Abo Katonda b’awa obuvunaanyizibwa obungi baba bavunaanyizibwa kinene nnyo gy’ali.—Lukka 12:48.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Obunafu bw’Abalala Obutunuulira nga Yakuwa bw’Abutunuulira?
Mu mbeera ezo zonna, Yakuwa yali asobola okubonererezaawo Alooni. Naye Yakuwa yakiraba nti Alooni teyali musajja mubi. Kirabika nti Alooni yakkiriza abalala oba embeera eyali emwetoolodde okumulemesa okunywerera ku kituufu. Naye, bwe baamulaganga ensobi ze, yazikkirizanga era n’akkiriza n’ekyo Yakuwa kye yabanga asazeewo. (Kuv. 32:26; Kubal. 12:11; 20:23-27) Yakuwa yakiraba nti Alooni yalina okukkiriza okw’amaanyi era nti yali yeenenyezza mu bwesimbu, bw’atyo n’amusonyiwa. Eyo ye nsonga lwaki Alooni ne bazzukulu be Ebyawandiikibwa biboogerako ng’abantu abaali batya Yakuwa.—Zab. 115:10-12; 135:19, 20.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
g-E 1/15 lup. 9
Engeri gy’Oyinza Okufugamu Obusungu Bwo
Beera n’ekiruubirirwa. Mu kifo ky’okugamba nti, “Nze bwe ntyo bwe ndi,” gezaako okukola enkyukakyuka mu bbanga eggere—oboolyawo oyinza okwewa ebbanga lya myezi mukaaga. Mu kiseera ekyo gezaako okulaba w’otuuse. Buli lw’osunguwala, wandiika (1) ekikuviiriddeko okusunguwala, (2) engeri gye weeyisizzaamu, ne (3) engeri esingako obulungi gye wandyeyisizzaamu, n’ensonga lwaki wandyeyisizza bw’otyo. Kifuule kiruubirirwa kyo okweyisa obulungi omulundi omulala nga waliwo akunyiizizza. Ky’oyinza okukola: Wandiikanga n’ebirungi by’oba otuuseeko! Wandiika engeri gy’owuliramu ng’ofuze obusungu.—Amagezi okuva mu Bayibuli: Abakkolosaayi 3:8.
Sookanga kufumiitiriza nga tonnabaako ky’oyogera oba ky’okola. Bwe wabaawo akunyiizizza, weewale okwogera ekyo ekisoose okukujjira mu birowoozo. Mu kifo ky’ekyo, sooka ofumiitirize. Ssa ekikkowe bwe kiba kyetaagisa. Erik ow’emyaka 15 agamba nti: “Bwe nzissa ekikkowe, kinnyamba okufumiitiriza nga sinnaba kwogera oba kukola kintu kye nnyinza okwejjusa oluvannyuma.”—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 21:23.
Lowooza ku byonna ebizingirwamu. Oluusi oyinza okunyiiga amangu olw’okuba olowoozezza ku kintu kimu kyokka—engeri ekyo ekyogeddwa oba ekikoleddwa gye kikukutteko. Gezaako okulowooza ku birala ebizingirwamu. Omuwala ayitibwa Jessica agamba nti: “Omuntu ne bw’aba akoze ekinnyiiza, ebiseera ebisinga wabaawo ensonga endeetera obutasunguwala mangu.”—Amagezi okuva mu Bayibuli: Engero 19:11.
Bwe kiba kyetaagisa, vaawo. Bayibuli egamba nti: “Ovangawo ng’oluyombo terunnabalukawo.” (Engero 17:14) Ng’ekyawandiikibwa ekyo bwe kiraze, oluusi kiba kya magezi okuvaawo ng’embeera tennasajjuka. Oluvannyuma, mu kifo ky’okweyongera okulowooza ku ebyo ebibaddewo, ekiyinza okukuviirako okusunguwala, baako ebirala by’okola. Omuwala ayitibwa Danielle agamba nti: “Nkirabye nti okukola dduyiro kinnyamba okukkakkana n’okufuga obusungu.”
Yiga okwesonyiwa ebintu ebimu. Bayibuli egamba nti: “Bwe musunguwala temwonoona. Mwogerere mu mitima gyammwe, . . . era musirike.” (Zabbuli 4:4) Weetegereze nti si kikyamu kusunguwala. Naye ekyebuuzibwa kiri nti, Weeyisa otya ng’osunguwadde? Omuvubuka ayitibwa Richard agamba nti: “Bw’oleka abalala okukuleetera obutafuga busungu bwo, baba bakuwangudde. Lwaki togezaako okwesonyiwa ensonga?” Bw’okola bw’otyo ojja kuba ofuga obusungu bwo, mu kifo ky’okubuleka okukufuga.
APULI 19-25
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 22-24
“Ekikolimo Yakuwa Akifuula Omukisa”
bt-E lup. 53 ¶5
Okubuulira “Amawulire Amalungi Agakwata ku Yesu”
Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ne leero okuyigganyizibwa tekulemesezza bantu ba Katonda kubuulira. Ebiseera ebisinga, okuwaliriza Abakristaayo okuva mu kitundu ekimu okugenda mu kirala, gamba nga mu kkomera oba mu nsi endala, kiyambye buyambi okutuusa amawulire amalungi mu bitundu ebirala. Ng’ekyokulabirako, mu kiseera kya Ssematalo ow’Okubiri, Abajulirwa ba Yakuwa baasobola okubuulira mu nkambi z’Abanazi. Omuyudaaya eyasisinkana Abajulirwa ba Yakuwa mu emu ku nkambi ezo yagamba nti: “Obuvumu abasibe Abajulirwa ba Yakuwa bwe baayoleka bwankakasa nti bye bakkiririzaamu byesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Eyo ye nsonga lwaki nange nnafuuka Omujulirwa.”
it-2-E lup. 291
Eddalu
Si kya Magezi Okuwakanya Yakuwa. Nnabbi Balamu yayagala okukolimira Abayisirayiri asobole okufuna ssente okuva ku kabaka wa Mowaabu ayitibwa Balaki, naye Yakuwa yamulemesa okutuuka ku kiruubirirwa kye. Omutume Peetero bwe yali ayogera ku Balamu, yagamba nti: “Endogoyi etayogera bwe yayogera mu ddoboozi ly’omuntu, n’eziyiza nnabbi oyo okukwata ekkubo eritali lya magezi.” Peetero yakozesa ekigambo pa·ra·phro·niʹa eky’Oluyonaani, ekitegeeza “okugwa eddalu,” ng’ayogera ku kkubo eritali lya magezi Balamu lye yali ayagala okukwata.—2Pe 2:15, 16; Kbl 22:26-31.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Ebikulu Okuva mu Kitabo ky’Okubala
22:20-22—Lwaki Yakuwa yanyiigira Balamu? Yakuwa yali agaanye nnabbi Balamu okukolimira Abayisirayiri. (Okubala 22:12) Kyokka, nnabbi oyo yagenda n’abasajja ba Balaki ng’alina ekigendererwa eky’okukolimira Abayisirayiri. Balamu yali ayagala okusanyusa kabaka wa Mowaabu era amufuneko empeera. (2 Peetero 2:15, 16; Yuda 11) Wadde nga Balamu yawalirizibwa okusabira Abayisirayiri omukisa mu kifo ky’okubakolimira, yayagala okusiimibwa kabaka era n’aleeta ekiteeso nti abakazi abasinza Bbaali bakozesebwe okusendasenda abasajja Abayisirayiri. (Okubala 31:15, 16) N’olwekyo, ensonga lwaki Katonda yanyiigira Balamu eri nti, nnabbi oyo yalina omulugube.
APULI 26–MAAYI 2
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OKUBALA 25-26
“Ekikolwa ky’Omuntu Omu Kisobola Okuganyula Abangi”
“Muddukenga Ebikolwa eby’Obugwenyufu!”
OMUVUBI agenda mu kifo w’amanyi nti w’ajja okukwasa ekyennyanja ky’ayagala. Afuna ekintu ekisobola okusikiriza ekyennyanja n’akiteeka ku ddobo era eddobo eryo n’alisuula mu mazzi. Alindirira okumala akaseera era bw’alaba ng’eddobo likwasizza, alisikayo n’aggyako ekyennyanja.
Abantu nabo basobola okukwasibwa mu ngeri y’emu. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baali banaatera okutuuka mu Nsi Ensuubize, baasiisira mu Ddungu lya Mowaabu. Kabaka wa Mowaabu yasuubiza okuwa omusajja ayitibwa Balamu ssente nnyingi bwe yandikolimidde Abayisirayiri. Balamu yanoonya engeri y’okuleeteramu Abayisirayiri okwereetako ekikolimo. Yalondayo ekintu ekyali kiyinza okubasikiriza. Yagamba abakazi Abamowaabu okugenda mu lusiisira lw’Abayisirayiri basendesende abasajja Abayisirayiri.—Okubala 22:1-7; 31:15, 16; Okubikkulirwa 2:14.
“Muddukenga Ebikolwa eby’Obugwenyufu!”
Lwaki akatego ka Balamu kaakwasa Abayisirayiri bangi? Abayisirayiri abo ebirowoozo baabissa ku ebyo bo bye baali baagala ne beerabira ebirungi byonna Yakuwa bye yali abakoledde. Waaliwo ensonga nnyingi ezandireetedde Abayisirayiri okuba abeesigwa eri Katonda. Katonda yali abanunudde mu buddu e Misiri, ng’abawadde emmere mu ddungu, era ng’abatuusizza ku njegoyego y’Ensi Ensuubize. (Abebbulaniya 3:12) Wadde kyali kityo, baatwalirizibwa ebikolwa eby’obugwenyufu. Omutume Pawulo yagamba nti: “Tetwendanga ng’abamu ku bo bwe baayenda, . . . ne bafa.”—1 Abakkolinso 10:8.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 359 ¶1-2
Olusalosalo
N’olwekyo, kirabika nti ensi bwe yali egabanyizibwamu, baasinziira ku bintu bibiri: ebyo ebyabanga bivudde mu kalulu, n’obunene bw’ekika. Akalulu kalabika kaalaganga ekitundu ky’ensi ensuubize buli kika gye kyandifunye obusika. Kwe kugamba, ebukiikakkono oba ebukiikaddyo, ebuvanjuba oba ebugwanjuba, mu kitundu eky’omuseetwe oba mu kitundu eky’ensozi. Ebyo ebyabanga bivudde mu kalulu byabanga bisaliddwawo Yakuwa. Ekyo kyayamba ebika okwewala okukwatirwagana obuggya oba okuyombagana. (Nge 16:33) Ate era mu ngeri eyo, Katonda yakakasa nti buli kika kifuna obusika okusinziira ku bunnabbi Yakobo bwe yayogera ng’anaatera okufa, obuli mu Olubereberye 49:1-33.
Oluvannyuma lw’akalulu okulaga ekitundu ekika ekimu gye kyandifunye obusika, baasalangawo obunene bw’ettaka ekika ekyo lye kyandiweereddwa nga basinziira ku nsonga ey’okubiri, nga bwe bunene bw’ekika ekyo. Katonda yabagamba nti: “Ensi mujja kugigabana nga mukuba kalulu okusinziira ku mpya zammwe. Ekibinja ekirimu abantu abangi mujja kukiwa ekitundu kinene okuba obusika, ate ekirimu abatono mujja kukiwa ekitundu kitono okuba obusika. Buli omu akalulu we kanaamuteeka we wajja okuba obusika bwe.” (Kbl 33:54) Ebyabanga bivudde mu kalulu ebiraga ekitundu ekika ekimu gye kyandifunye obusika tebyakyusibwanga. Naye obunene bw’ettaka eryandiweereddwa ekika ekimu oba ekirala, bwo bwakyusibwanga. Bwe kityo, bwe kyazuulibwa nti ekitundu ekyali kiweereddwa ekika kya Yuda kyali kinene nnyo, ebitundu ebimu byaggibwako ne biweebwa ekika kya Simiyoni.—Yos 19:9.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
w04-E 4/1 lup. 29
Lwaki 1 Abakkolinso 10:8 wagamba nti Abayisirayiri 23,000 be baafa olw’okwenyigira mu bugwenyufu, ate nga Okubala 25:9 wagamba nti 24,000 be baafa?
Waliwo ensonga eziwerako lwaki omuwendo oguli mu nnyiriri ezo ebbiri gwawukana. Ensonga esooka eri nti omuwendo omutuufu guyinza okuba nga gwali wakati w’abantu 23,000 ne 24,000, ne kiba nga kisoboka okugambibwa nti okutwalira awamu baali abantu 23,000 oba 24,000.
Lowooza ku nsonga endala. Omutume Pawulo yayogera ku ebyo ebyatuuka ku Bayisirayiri mu Sitimu ng’okulabula eri Abakristaayo abaali mu kibuga Kkolinso ekyali kijjuddemu ebikolwa eby’obugwenyufu. Yabagamba nti: “Tetwendanga ng’abamu ku bo bwe baayenda, abantu 23,000 ne bafa ku lunaku lumu.” Bwe yali ayogera ku abo Yakuwa kennyini be yatta ng’akozesa ekirwadde olw’okwenyigira mu bugwenyufu, Pawulo yagamba nti baali abantu 23,000.—1 Abakkolinso 10:8.
Kyokka Okubala essuula 25, walaga nti ‘Isirayiri yeetaba mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli; Yakuwa n’asunguwalira Isirayiri.’ Oluvannyuma Yakuwa yalagira Musa okutta abo bonna ‘abaakulemberamu abantu.’ Musa yagamba abalamuzi okutuukiriza ekiragiro ekyo. Ku nkomerero, Fenekaasi bwe yatta Omuyisirayiri eyali aleese omukazi Omumidiyaani mu lusiisira, ‘ekirwadde kyakomezebwa.’ Bayibuli egamba nti: “Abo abaafa ekirwadde baali 24,000.”—Okubala 25:1-9.
Omuwendo oguweebwa mu Okubala guyinza okuba nga guzingiramu abo ‘abaakulemberamu abantu’ abalamuzi be batta, n’abo Yakuwa kennyini be yatta ng’akozesa ekirwadde. Abo abalamuzi be batta bayinza okuba nga baali 1000, abantu bonna abaafa ne baba nga baawera 24,000. Ka kibe nti abo abaakulemberamu abantu nabo beenyigira mu bugwenyufu, beetaba mu kusaaddaakira katonda ow’obulimba, oba baawagira abo abaabyenyigiramu, nabo baali ‘beetabye mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli.’
Ekitabo ekimu ekinnyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti ekigambo ‘okwetaba’ ekikozesebwa mu Okubala 25:3 kiyinza okutegeeza “omuntu omu okunywerera ku mulala.” Abayisirayiri baali beewaayo eri Yakuwa, naye bwe ‘beetaba mu kusinza Bbaali ow’e Pyoli,’ baayonoona enkolagana yaabwe ne Yakuwa. Oluvannyuma lw’emyaka nga 700, Yakuwa ng’ayitira mu nnabbi Koseya, yayogera bw’ati ku Bayisirayiri: “Baagenda eri Bbaali ow’e Pyoli; beewaayo eri ekintu ekiswaza, ne bafuuka ekyenyinyaza okufaananako ekintu kye baayagala.” (Koseya 9:10) Abo bonna abaakola ekintu ekyo baali basaana okubonerezebwa. N’olwekyo, Musa yajjukiza Abayisirayiri nti: “Amaaso gammwe gaalaba ebyo Yakuwa bye yakola ebikwata ku Bbaali ow’e Pyoli. Buli muntu eyagoberera Bbaali ow’e Pyoli Yakuwa Katonda wammwe yamuzikiriza n’amuggya mu mmwe.”—Ekyamateeka 4:3.