LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 15 lup. 18
  • Okwogera nga Weekakasa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera nga Weekakasa
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okwogera nga Weekakasa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwogera ng’Anyumya
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Ebiganyula Abakuwuliriza
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 15 lup. 18

ESSOMO 15

Okwogera nga Weekakasa

Ekyawandiikibwa

1 Abassessalonika 1:5

MU BUFUNZE: Laga nti ky’oyogerako okkiriza nti kituufu era nti kikulu.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Tegeka bulungi. Weekenneenye by’ogenda okuyigiriza okutuusa lw’otegeera ensonga enkulu ezirimu n’engeri ebyawandiikibwa gye biwagiramu ensonga ezo. Gezaako okunnyonnyola ensonga enkulu mu bigambo bitonotono era ebyangu okutegeera. Essira lisse ku ngeri abanaakuwuliriza gye banaaganyulwamu. Saba Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu.

    Eky’okukola

    Weegezeemu mu ddoboozi eriwulikika kikusobozese okwekakasa obulungi by’ogenda okuyigiriza, n’okulongoosaamu we kiba kyetaagisizza.

  • Kozesa ebigambo ebiraga nti weekakasa. Mu kifo ky’okukozesa ebigambo byennyini ebiri mu kitabo oba mu kiwandiiko, kozesa ebigambo byo. Yogera mu ngeri eraga nti by’oyogerako obikakasa.

  • Yogera mu bwesimbu. Yogera mu ddoboozi erisaanira. Tunuulira abakuwuliriza bwe kiba nga kisaanira mu kitundu kyammwe.

    Eky’okukola

    Okwogera nga weekakasa tekitegeeza kwogera nga teweefiirayo, oba okukakaatika endowooza yo ku balala. Ne bw’oba ng’oliko ky’okubiriza abakuwuliriza okukola, bakubirize mu ngeri ey’okwagala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share