LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w00 7/1 lup. 8-13
  • Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obutassa Kitiibwa mu Balala Kiviirako Obutasiimibwa
  • Okubassaamu Ekitiibwa Wadde nga Tebatuukiridde
  • Ossaamu Abalala Ekitiibwa?
  • Ssa Ekitiibwa mu Abo Abatwala Obukulembeze
  • Lwaki Tusaanidde Okussa Ekitiibwa mu Abo Abatukulembera?
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Owa Abalala Ekitiibwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Lwaki Tusaanidde Okugondera Abo Abatukulembera?
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Okussa Ekitiibwa mu b’Obuyinza Lwaki Kyetaagisa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
w00 7/1 lup. 8-13

Musse Ekitiibwa mu Baweereddwa Obuyinza ku Mmwe

“Mussengamu ekitiibwa abantu bonna. Mwagalenga ab’oluganda. Mutyenga Katonda. Mussengamu ekitiibwa kabaka.”​—1 PEETERO 2:17.

1, 2. Abantu batunuulira batya abali mu buyinza leero? Lwaki?

“ABAANA balina eddembe okukola kyonna. Tebassa kitiibwa mu bazadde,” bw’atyo maama omu bw’agamba. “Wakanya Obuyinza” bwe kityo ekipande ekimu bwe kigamba. Bino bintu bibiri ebyoleka embeera gy’oteekwa okuba ng’omanyi nti weeri leero. Obutassa kitiibwa mu bazadde, abasomesa, abakozesa, n’abakungu ba gavumenti bicaase nnyo mu nsi.

2 Abamu bayinza okugamba nti, ‘Abo abali mu buyinza tekiŋŋwanidde kubassaamu kitiibwa.’ Emirundi egimu, kizibu okuwakanya ebigambo ebyo. Buli kiseera tuwulira ebikwata ku bakungu ba gavumenti abalyi b’enguzi, abakozesa ab’omululu, abasomesa ababi, n’abazadde abayisa obubi abaana baabwe. Eky’essanyu, Abakristaayo batono nnyo abatunuulira abalina obuyinza mu kibiina mu ngeri eyo.​—Matayo 24:45-47.

3, 4. Lwaki Abakristaayo basaanidde okussa ekitiibwa mu abo abali mu bifo eby’obuyinza?

3 Ng’Abakristaayo, ‘tulina ensonga etuleetera’ okussa ekitiibwa mu b’obuyinza mu nsi. Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo ‘okuwulira ab’obuyinza abafuga, kubanga tewali buyinza butava eri Katonda; ab’obuyinza abaliwo bali mu bifo byabwe eby’ekiseera ebyalagirwa.’ (Abaruumi 13:1, 2, 5, NW; 1 Peetero 2:13-15) Pawulo era yawa ensonga ennungi lwaki twandigondedde ab’obuyinza mu maka: “Abakazi, muwulirenga babbammwe, nga bwe kiri ekirungi mu Mukama waffe. Abaana abato, muwulirenga bakadde bammwe mu byonna, kubanga ekyo kye kisiimibwa mu Mukama waffe.” (Abakkolosaayi 3:18, 20) Abakadde mu kibiina bagwanidde okussibwamu ekitiibwa kubanga ‘omwoyo omutukuvu yabalonda okubeera abalabirizi, okulundanga ekibiina kya Katonda.’ (Ebikolwa 20:28) Olw’okussa ekitiibwa mu Yakuwa kye tuva tussa ekitiibwa mu bantu abalina obuyinza. Kyokka, okussa ekitiibwa mu buyinza bwa Yakuwa kye kikulembera bulijjo mu bulamu bwaffe.​—Ebikolwa 5:29

4 Nga tulowooza ku buyinza bwa Yakuwa obw’oku ntikko, ka twekenneenye ebyokulabirako eby’abo abatassa kitiibwa mu abo abali mu bifo eby’obuyinza n’abo abaabassaamu ekitiibwa.

Obutassa Kitiibwa mu Balala Kiviirako Obutasiimibwa

5. Mu ngeri ki Mikali gy’atateeka kitiibwa mu Dawudi, era ekyo kyavaamu ki?

5 Okuva ku byafaayo bya Kabaka Dawudi, tuyinza okulaba engeri Yakuwa gy’atunuuliramu abo abanyooma Katonda b’awadde obuyinza. Dawudi bwe yaleeta esanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi, mukyala we Mikali “n’alaba kabaka Dawudi ng’abuuka ng’azinira mu maaso ga Mukama; n’amunyooma mu mutima gwe.” Mikali yandikitegedde nti Dawudi teyali mutwe gw’amaka kyokka naye era kabaka w’eggwanga. Kyokka yayoleka enneewulira ye mu ngeri ekiina: “Kabaka wa Isiraeri ng’abadde wa kitiibwa leero, eyeebikkulidde leero mu maaso g’abazaana b’abaddu be, ng’omu ku basajja abataliiko kye bagasa bwe yeebikkula nga talina nsonyi!” Ekyava mu kino kyali nti Mikali teyazaala baana.​—2 Samwiri 6:14-23.

6. Yakuwa yatunuulira atya ekya Koola obutassa kitiibwa mu be Yafukako amafuta?

6 Ekyokulabirako ekibi ennyo eky’obutassa kitiibwa mu bukulembeze bwa teyokulase obwateekebwawo Katonda kye kya Koola. Ng’Omukokasi, nga yalina enkizo ya maanyi okuweereza Yakuwa mu weema! Wadde kyali kityo, yanoonya ensobi ku Musa ne Alooni, abakulembeze ba Isiraeri Katonda be yafukako amafuta. Koola yeegatta wamu n’abakulu b’ebika abalala mu Isiraeri era mu bunyoomi obungi n’ategeeza Musa ne Alooni: “Ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?” Yakuwa yatwala atya endowooza ya Koola n’abawagizi be? Katonda yatwala ekikolwa kyabwe okuba obutamussaamu kitiibwa Ye kennyini. Oluvannyuma lw’okulaba ng’ettaka limira bonna abaali ku ludda lwabwe, Koola n’abakulu b’ekika 250 Yakuwa yabazikiriza n’omuliro.​—Okubala 16:1-3, 28-35.

7. Abaali beetwala okuba ‘abatume ab’ekitalo’ baalina ensonga yonna okuvumirira obuyinza bwa Pawulo?

7 Mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka, waliwo abatassa kitiibwa mu buyinza bwa teyokulase. Abeetwala okuba ‘abatume ab’ekitalo’ mu kibiina ky’e Kkolinso tebassa kitiibwa mu Pawulo. Baavumirira engeri gye yayogeramu, nga bagamba: “Bw’abeera naffe mu mubiri aba munafu era n’okwogera kwe kunyoomebwa.” (2 Abakkolinso 10:10; 11:5, NW) Ka kibe nti Pawulo yali mwogezi mulungi oba nedda yali agwanidde okussibwamu ekitiibwa ng’omutume. Naye ddala okwogera kwa Pawulo kwali kunyoomebwa? Emboozi ze eziri mu Baibuli ziwa obujulizi nti yali mwogezi omulungi. Oluvannyuma lw’okwogera ne Kerode Agulipa II, “omukugu mu . . . nkaayana z’Abayudaaya,” Pawulo yaleetera kabaka n’okutuuka okwogera nti: “Mu bbanga ttono wandinsenzesenze okufuuka Omukristaayo”! (Ebikolwa 13:15-43; 17:22-34; 26:1-28, NW) Kyokka, abeetwala okubeera abatume ab’ekitalo mu Kkolinso baamugamba nti okwogera kwe kunyoomebwa! Yakuwa yatwala atya endowooza yaabwe? Mu bubaka bwe yaweereza mu kibiina kya Efeso, Yesu Kristo yayogera bulungi ku abo abaagaana okutwalirizibwa abo ‘abeeyita abatume, ng’ate tebaali.’​—Okubikkulirwa 2:2.

Okubassaamu Ekitiibwa Wadde nga Tebatuukiridde

8. Dawudi yalaga atya nti yassa ekitiibwa mu buyinza Yakuwa bwe yawa Sawulo?

8 Waliwo ebyokulabirako bingi mu Baibuli eby’abo abassa ekitiibwa mu bantu abalina obuyinza, wadde nga bano baakozesa bubi obuyinza bwabwe. Dawudi yali omu ku abo abassaawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eyo. Kabaka Sawulo, gwe yaweereza, yakwatibwa obuggya olw’ebyo Dawudi bye yatuukako era n’agezaako okumutta. (1 Samwiri 18:8-12; 19:9-11; 23:26) Wadde yalina omukisa okutta Sawulo, Dawudi yagamba: “Tekiyinzika n’akamu, nze, okusinziira ku ndowooza ya Yakuwa, okugolola omukono gwange eri Yakuwa gwe yafukako amafuta.” (1 Samwiri 24:3-6; 26:7-13, NW) Dawudi yali amanyi nti Sawulo mukyamu, naye yakirekera Yakuwa okumusalira omusango. (1 Samwiri 24:12, 15; 26:22-24) Teyayogera bubi ku Sawulo.

9. (a) Dawudi yawulira atya bwe yali ng’ayisibwa bubi Sawulo? (b) Tuyinza tutya okumanya nti ekitiibwa Dawudi kye yassa mu Sawulo kyali kya nnamaddala?

9 Dawudi yanakuwala bwe yali ng’ayisibwa obubi? “Waliwo . . . bannakyemalira abanoonya emmeeme yange,” bw’atyo Dawudi bwe yagamba Yakuwa. (Zabbuli 54:3, NW) Yategeeza Yakuwa ekyamuli ku mutima: “Ondokole mu balabe bange, ai Katonda wange . . . Ab’amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama. Baddukana, beeteekateeka nga sikoze bubi: ozuukuke onnyambe, olabe.” (Zabbuli 59:1-4) Wali owuliddeko bw’otyo​—nga tolina kibi ky’okoze muntu ali mu buyinza, naye n’akuyisa obubi? Dawudi teyalemererwa kussa kitiibwa mu Sawulo. Sawulo bwe yafa, mu kifo ky’okusanyuka, Dawudi yayiiya oluyimba olw’okukungubaga: “Sawulo ne Yonasaani baali balungi era ba kusanyusa mu bulamu bwabwe . . . Baali ba mbiro okusinga empungu, baali ba maanyi okusinga empologoma. Mwe abawala ba Isiraeri, mukaabire Sawulo.” (2 Samwiri 1:23, 24) Nga yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’okussa ekitiibwa ekya nnamaddala mu oyo Yakuwa gwe yafukako amafuta, wadde nga Sawulo yayisa bubi Dawudi!

10. Kyakulabirako ki ekirungi Pawulo kye yassaawo mu kussa ekitiibwa mu kakiiko akafuzi Katonda ke yawa obuyinza, era kino kyavaamu ki?

10 Ne mu kiseera ky’Ekikristaayo tusanga ebyokulabirako eby’enkukunala eby’abo abassa ekitiibwa mu buyinza obuva eri Katonda. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Pawulo. Yassa ekitiibwa mu kusalawo kw’akakiiko akafuzi ak’ekibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Mu lukyala lwa Pawulo olwasembayo mu Yerusaalemi, akakiiko akafuzi kaamuwa amagezi okukola emikolo gy’okwetukuza okulaga abalala nti teyali wa bulabe eri Amateeka ga Musa. Pawulo yandisobodde okugamba: ‘Ab’oluganda abo mu kusooka baŋŋamba okuva mu Yerusaalemi obulamu bwange bwe bwali mu kabi. Kati baagala nkyoleke mu lujjudde nti nzissa ekitiibwa mu Mateeka ga Musa. Mazze okuwandiikira Abaggalatiya ebbaluwa nga mbawa amagezi okulekera awo okukwata Amateeka. Singa ŋŋenda mu yeekaalu, abalala bayinza okuntegeera obubi, nga balowooza nti nnekkiriranyiza eri abaakomolebwa.’ Kyokka, Pawulo teyalowooza bw’atyo. Okuva bwe wataaliiwo misingi gya Kikristaayo gimenyeddwa, yassa ekitiibwa era n’agoberera okubuulirira kw’akakiiko akafuzi ak’omu kyasa ekyasooka. Ekyava mu ekyo kyali nti Pawulo yalina okuwonyezebwa okuva ku kibinja ky’Abayudaaya era n’asibibwa mu kkomera okumala emyaka ebiri. Mu nkomerero Katonda by’ayagala byakolebwa. Pawulo yawa obujulirwa mu maaso g’abakungu abakulu mu Kayisaaliya era ab’obuyinza ne bamutwala mu Rooma okuwa obujulirwa mu maaso ga Kayisaali yennyini.​—Ebikolwa 9:26-30; 21:20-26; 23:11; 24:27; Abaggalatiya 2:12; 4:9, 10.

Ossaamu Abalala Ekitiibwa?

11. Tuyinza tutya okussa ekitiibwa mu b’obuyinza abafuga?

11 Ossa ekitiibwa mu abo abalina obuyinza? Abakristaayo balagirwa nti “musasulenga bonna amabanja, . . . ab’ekitiibwa kitiibwa.” Mazima ddala, ffe okugondera “ab’obuyinza abafuga” tekitwaliramu kusasula misolo kyokka naye era n’okussa ekitiibwa mu b’obuyinza mu ngeri gye tweyisaamu ne gye twogeramu. (Abaruumi 13:1-7) Tweyisa tutya nga twolekaganye n’abakungu ba gavumenti abakambwe? Mu Chiapas State, Mexico, ab’obuyinza mu kitundu ekimu baali bawambye ettaka ly’amaka g’Abajulirwa ba Yakuwa 57 kubanga Abakristaayo bano tebeenyigira mu mikolo egimu egy’eddiini. Mu nkuŋŋaana ezaaliwo okugonjoola ensonga, Abajulirwa abaali bambadde obulungi, baayogeranga nga bassaamu abalala ekitiibwa. Nga wayiseewo omwaka gumu, omusango baaguwangula. Enneeyisa yaabwe yaleetera abalabi okubassaamu ekitiibwa ne batuuka n’okwagala okufuuka abamu ku Bajulirwa ba Yakuwa!

12. Lwaki kikulu nnyo ‘okussa ekitiibwa’ mu mwami atali mukkiriza?

12 Oyinza otya okussa ekitiibwa mu buyinza obuva eri Katonda mu maka? Oluvannyuma lw’okwogera ku kyokulabirako kya Yesu eky’okubonaabona, omutume Peetero yagamba: “Bwe mutyo, abakazi, mugonderenga babbammwe bennyini; era bwe wabangawo abatakkiriza kigambo, balyoke bafunibwenga awatali kigambo olw’empisa z’abakazi baabwe; bwe balaba empisa zammwe ennongoofu ez’okutya [“nga mubassaamu nnyo ekitiibwa,” NW].” (1 Peetero 3:1, 2; Abaefeso 5:22-24) Peetero wano yaggumiza obukulu bw’omukyala okugondera bbaawe nga ‘amussaamu nnyo ekitiibwa,’ wadde ng’abaami abamu baba tebagwanira kussibwamu kitiibwa ng’ekyo. Omukyala assaamu bba ekitiibwa ayinza okuwangula omutima gw’omwami we atali mukkiriza.

13. Abakyala bayinza batya okussa ekitiibwa mu baami baabwe?

13 Mu byawandiikibwa bino, Peetero ayogera ku kyokulabirako kya Saala, omwami we nga ye Ibulayimu, eyali ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okukkiriza. (Abaruumi 4:16, 17; Abaggalatiya 3:6-9; 1 Peetero 3:6) Abakyala abalina abaami abakkiriza bandibassizaamu ekitiibwa kitono okusinga abakazi abalina babbaabwe abatali bakkiriza? Kiba kitya nga tokkiriziganya na mwami wo ku nsonga emu? Yesu yawa amagezi agayinza okugobererwa: “Omuntu [ow’obuyinza] bw’akuwalirizanga okutambula naye mayiro emu, tambulanga naye n’ey’okubiri.” (Matayo 5:41) Ossa ekitiibwa mu mwami wo ng’okolera ku by’ayagala? Kino bwe kirabika ng’ekizibu ennyo, yogerako naye ku nsonga. Tokitwala nti amanyi bw’owulira. Naye bw’omutegeeza bw’owulira, kikole mu ngeri emussaamu ekitiibwa. Baibuli etukubiriza: “Ebigambo byammwe bibeerenga n’ekisa ennaku zonna, nga binoga omunnyo, mulyoke mumanye bwe kibagwanidde okwanukulanga buli muntu yenna.”​—Abakkolosaayi 4:6.

14. Okussa ekitiibwa mu bazadde kizingiramu ki?

14 Kiri kitya eri mmwe abaana? Ekigambo kya Katonda kiragira: “Abaana abato, muwulirenga abazadde bammwe mu Mukama waffe: kubanga kino kye kirungi. Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko (lye tteeka ery’olubereberye eririmu okusuubiza).” (Abaefeso 6:1-3) Weetegereze nti okugondera abazadde kikwataganyizibwa ‘n’okussa ekitiibwa mu kitaawo ne nnyoko.’ Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “okussaamu ekitiibwa” kirina amakulu ga “okutwala ng’eky’omuwendo.” Bwe kityo, okubeera abawulize kisingawo ku kugondera obugondezi amateeka g’abazadde agalabika ng’agatasaanira gy’oli. Katonda akusaba okussa ennyo ekitiibwa mu bazadde bo era n’okutwala obulagirizi bwabwe ng’obw’omuwendo.​—Engero 15:5.

15. Abaana bayinza batya okwongera okussa ekitiibwa mu bazadde baabwe wadde ng’abazadde baabwe bakoze ensobi?

15 Singa bazadde bo bakola ekintu ekikuleetera obutabassaamu kitiibwa, wandikoze ki? Gezaako okulaba endowooza yaabwe. Si be ‘bakuzaala’ era ne bakulabirira? (Engero 23:22) Tebakwagala? (Abaebbulaniya 12:7-11) Ssa ekitiibwa mu bazadde bo ng’oyogera nabo, ng’obannyonnyola mu bukkakkamu bw’owulira. Wadde bakwanukula mu ngeri gy’otayagala, tolekaayo kwogera nabo ng’obassaamu ekitiibwa. (Engero 24:29) Jjukira engeri Dawudi gye yasigala ng’akyassaamu Sawulo ekitiibwa wadde nga kabaka alekedde awo okugoberera okubuulirira kwa Katonda. Saba Yakuwa akuyambe okwolekagana n’enneewulira zo. “Mufuke omutima gwammwe mu maaso ge,” bw’atyo Dawudi bwe yagamba. “Katonda kye kiddukiro gye tuli.”​—Zabbuli 62:8; Okukungubaga 3:25-27.

Ssa Ekitiibwa mu Abo Abatwala Obukulembeze

16. Kiki kye tuyinza okuyiga okuva mu byokulabirako by’abayigiriza ab’obulimba ne bamalayika?

16 Abakadde mu kibiina balondebwa omwoyo omutukuvu, naye tebatuukiridde era bakola ensobi. (Zabbuli 130:3; Omubuulizi 7:20; Ebikolwa 20:28; Yakobo 3:2) N’olwekyo, abamu mu kibiina bayinza okwemulugunya abakadde. Twandikoze ki singa tuwulira nti ekintu ekimu mu kibiina kirabika nga tekikoleddwako bulungi? Weetegereze enjawulo eriwo wakati w’abayigiriza ab’obulimba mu kyasa ekyasooka ne bamalayika: “[Abayigiriza ab’obulimba] abatatya, abakakanyavu, tebakankana kuvuma ba kitiibwa: naye bamalayika, newakubadde nga be basinga amaanyi n’obuyinza, tebabaleetako musango gwa buvumi eri [Yakuwa].” (2 Peetero 2:10-13) Wadde abayigiriza ab’obulimba baavuma ‘ab’ekitiibwa’​—abakadde abaaweebwa obuyinza mu kibiina Ekikristaayo eky’omu kyasa ekyasooka​—bamalayika tebaavuma abayigiriza ab’obulimba abaali baawulayawulamu ab’oluganda. Bamalayika, olw’okubeera mu kifo ekya waggulu okusinga abantu era ng’endaba yaabwe ey’obwenkanya esinga ku ya bantu, baali bamanyi ekyali kigenda mu maaso mu kibiina. Kyokka, ‘olw’okussa ekitiibwa mu Yakuwa,’ okusala omusango bakulekera Katonda.​— Abaebbulaniya 2:6, 7; Yuda 9.

17. Okukkiriza kwo kukwatibwako kutya ng’oyolekaganye n’ebizibu mw’olowooleza nti abakadde bakyamu?

17 Wadde ensonga emu eba tekoleddwako nga bw’esaanidde okukolebwako, tetusaanidde kukkiririza mu Yesu Kristo ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo omulamu? Tamanyi kigenda mu maaso mu kibiina kye eky’ensi yonna? Tetwanditadde kitiibwa mu ngeri gy’akwatamu ebintu era ne tumanya nti alina obusobozi okukola ku nsonga? Mazima ddala, ‘ffe baani okusalira baliraanwa baffe omusango?’ (Yakobo 4:12; 1 Abakkolinso 11:3; Abakkolosaayi 1:18) Lwaki totegeeza Yakuwa ebikuluma okuyitira mu kusaba?

18, 19. Kiki ky’oyinza okukola bw’owulira nti omukadde asobezza?

18 Olw’okubeera abatatuukiridde, ebizibu biyinza okujjawo. Emirundi egimu omukadde ayinza okusobya n’ekyesitaza abalala. Ffe okupapa ne tubaako kye tukola mu mbeera ng’ezo tekijja kukyusa mbeera eyo. Kiyinza kwongera bwongezi ku kizibu. Abo abalina okutegeera okw’eby’omwoyo bajja kulindirira Yakuwa okutereeza embeera n’okuwa okukangavvula okwetaagisa mu kiseera kye era mu ngeri ye.​—2 Timoseewo 3:16; Abaebbulaniya 12:7-11.

19 Kiba kitya singa ensonga emu ekunakuwaza? Mu kifo ky’okwogera eri abalala mu kibiina, lwaki totuukirira bakadde okufuna obuyambi mu ngeri ey’ekitiibwa? Nga tovumirira, nnyonnyola engeri gy’okwatiddwako. Bulijjo ‘balumirirwe’ era basseemu ekitiibwa ng’obeesiga. (1 Peetero 3:8, NW) Tobakiina, beesige ng’Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Siima okubuulirirwa kwonna okw’omu Byawandiikibwa kwe bakuwa. Era bwe kirabika nti waliwo ebirala ebyetaaga okutereezebwa, beera n’obwesige nti Yakuwa ajja kukulembera abakadde okukola ekirungi n’ekituufu.​—Abaggalatiya 6:10; 2 Abasessaloniika 3:13.

20. Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

20 Kyokka, waliwo ensonga endala ey’okulowoozaako ku bikwata ku kussa ekitiibwa mu bali mu buyinza. Abo abali mu bifo eby’obuyinza tebasaanidde kussa kitiibwa mu abo be balabirira? Ka twekenneenye kino mu kitundu ekiddako?

Wandizzeemu Otya?

• Nsonga ki ennungi gye tulina okussa ekitiibwa mu abo abalina obuyinza?

• Yakuwa ne Yesu batunuulira batya abo abatassa kitiibwa mu buyinza obuva eri Katonda?

• Byakulabirako ki ebirungi bye tulina eby’abo abassa ekitiibwa mu abo abaweereddwa obuyinza?

• Kiki kye twandikoze singa omuntu atulinako obuyinza alabika nti akoze ensobi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Saala yassa ekitiibwa mu buyinza bwa Ibulayimu era yali musanyufu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Mikali yalemererwa okussa ekitiibwa mu Dawudi

ng’omutwe gw’amaka era nga kabaka

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

“Tekiyinzika n’akamu nze, . . . okugolola omukono gwange eri Yakuwa gwe yafukako amafuta!”

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

Lwaki totegeeza Yakuwa ebikuluma okuyitira mu kusaba kwo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share