LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 19
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2015 | Jjanwali
    • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Jjanwali 19

      WIIKI ETANDIKA JJANWALI 19

      Oluyimba 47 n’Okusaba

      Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:

      cl sul. 19 ¶1-8 (Ddak. 30)

      Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

      Okusoma Bayibuli: Ekyabalamuzi 1-4 (Ddak. 8)

      Na. 1: Ekyabalamuzi 3:1-11 (Ddak. 3 oba obutawera)

      Na. 2: Oyinza Otya Okuyiga Ebikwata ku Katonda?​—nwt-E lup. 8 ¶1-4 (Ddak. 5)

      Na. 3: Omuntu Okufuuka Omukristaayo Ateekwa Okubatizibwa—​td-22A (Ddak. 5)

      Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

      Omulamwa gw’Omwezi Guno: ‘Weereza Mukama waffe n’obuwombeefu.’​—Bik. 20:19.

      Oluyimba 77

      Ddak. 10: Okozesa Awannyonnyolerwa Amakulu g’Ebigambo Ebimu (Glossary)? Kukubaganya birowoozo ku bibuuzo bino wammanga ebikwata ku kitundu ekirina omutwe Glossary ekiri mu Bayibuli eya New World Translation eya 2013: (1) Ekitundu ekyo kiyinza kitya okutuyamba okutegeera ebyo ebiri mu (a) Okuva 28:30, (b) Matayo 16:6, ne (c) 2 Peetero 2:4? (2) Tuyinza tutya okukozesa ekitundu ekyo okuyamba Abayizi baffe aba Bayibuli okutegeera amakulu g’ebigambo nga (a) “Endagaano,” (b) “Ekinunulo,” ne (c) “okutangirira”? Ng’ofundikira kubiriza abawuliriza okukozesa ekitundu ekyo. Ebyo bwe biba tebituukirawo mu kibiina kyammwe, laga abawuliriza engeri gye bayinza okuganyulwa mu bitundu gamba ng’ekyo ekikwata ku linnya lya Katonda oba ku Ggeyeena, ebiri wansi w’omutwe “Ebyongerezeddwako.” Guli ku lupapula 520 mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, ey’Oluganda.

      Ddak. 10: Okuweereza Mukama Waffe Kyetaagisa Obutalekulira n’Obumalirivu. Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2014 olupapula 59, akatundu 1, okutuuka ku lupapula 62, akatundu 1; n’olupapula 67, akatundu 2. Saba abawuliriza boogere bye baayize.

      Ddak. 10: “Weeyongere Okukulaakulana mu Ngeri gy’Obuuliramu.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.

      Oluyimba 20 n’Okusaba

  • Weeyongere Okukulaakulana mu Ngeri gy’Obuuliramu
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2015 | Jjanwali
    • 1. Byakulabirako ki eby’omu kyasa ekyasooka ebiraga nti tusaanidde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gw’okubuulira?

      1 Abakristaayo basaanidde okweyongera okukulaakulana mu mulimu gwabwe ogw’okubuulira. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yeeyongera okutendeka abayigirizwa be. (Luk. 9:1-5; 10:1-11) Era eyo ye nsonga lwaki Akula ne Pulisikira baatwala Apolo ewaabwe ne “bongera okumunnyonnyola obulungi ekkubo lya Katonda.” (Bik. 18:24-26) Ate era n’omutume Pawulo yakubiriza Timoseewo, omubuulizi eyalina obumanyirivu, okwemalira ku bintu bye yali ayigiriza abalala, okukulaakulana kwe kusobole ‘okweyoleka eri abantu bonna.’ (1 Tim. 4:13-15) Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tubuulira amawulire amalungi, tusaanidde okweyongera okufuna obumanyirivu mu mulimu gw’okubuulira.

      2. Tuyinza tutya okuyigira ku balala?

      2 Yigira ku Balala: Emu ku ngeri gye tuyinza okufunamu obumanyirivu kwe kuyigira ku balala. (Nge. 27:17) N’olwekyo mubuulizi munno bw’aba abuulira, ssaayo mwoyo. Saba ababuulizi abalina obumanyirivu bakuwe ku magezi, era wuliriza bulungi nga balina bye bakugamba. (Nge. 1:5) Oyagala okumanya engeri gy’oyinza okuddira omuntu, okutandika okumuyigiriza Bayibuli, oba okwenyigira mu ngeri endala ez’okubuulira? Saba omulabirizi w’ekibinja kyo oba omubuulizi omulala alina obumanyirivu akuyambe. Ate era kijjukire nti omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu nagwo gusobola okukuyamba. N’olwekyo, gumusabe obutayosa.​—Luk. 11:13.

      3. Bwe tuweebwa amagezi, ne bwe kiba nti tetusabye gatuweebwe, tusaanidde kukitwala tutya?

      3 Bw’oweebwa amagezi ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu, tonyiiga ne bwe kiba nti oyo agakuwadde obadde tomusabye kugakuwa. (Mub. 7:9) Okufaananako Apolo, beera muwombeefu era siima amagezi agaba gakuweereddwa. Bwe tukola tutyo tuba tulaga nti tuli ba magezi.​—Nge. 12:15.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share