LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 9/15 lup. 30-32
  • Osobola Okuba nga Finekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Osobola Okuba nga Finekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “N’Agolokoka”
  • Okuba n’Amagezi Kituyamba Okwewala Ebizibu
  • Yeebuuza ku Yakuwa
  • Yakuwa Asobola Okukuyamba Okutuukiriza Obuvunaanyizibwa Obutali Bwangu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Yakuwa Ayogera ne Samwiri
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 9/15 lup. 30-32

Osobola Okuba nga Finekaasi ng’Oyolekagana n’Embeera Enzibu?

NKIZO ya maanyi okuweereza ng’omukadde mu kibiina. Naye Ekigambo kya Katonda kiraga nti abakadde oluusi boolekagana n’embeera enzibu. Ebiseera ebimu kibeetaagisa ‘okulamulira Yakuwa,’ nga bakola ku nsonga z’ab’oluganda ababa bakoze ebibi. (2 Byom. 19:6) Era oluusi omulabirizi ayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa naye ng’awulira nti tasobola kubutuukiriza bulungi, nga Musa bwe yawulira ng’aliko obuvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa. Musa yagamba nti: “Nze ani agenda eri Falaawo?”​—Kuv. 3:11.

Ebyawandiikibwa, Katonda bye yaluŋŋamya okuwandiikibwa ng’akozesa omwoyo omutukuvu era ng’omwoyo ogwo gwennyini gw’akozesa n’okulonda abakadde, birimu ebyokulabirako by’abalabirizi abaasobola okwolekagana n’embeera enzibu. Finekaasi yali mutabani wa Eriyazaali era nga muzzukulu wa Alooni, bw’atyo yali ayolekedde okufuuka kabona asinga obukulu. Waliwo ebintu bisatu ebyaliwo mu bulamu bwe ebiraga ensonga lwaki abakadde beetaaga okwoleka obuvumu n’amagezi era n’okwesiga Yakuwa nga boolekagana n’embeera enzibu.

“N’Agolokoka”

Finekaasi yali akyali muvubuka mu kiseera Abaisiraeri we baasiisirira mu nsenyi za Mowaabu. Bayibuli egamba nti: “Abantu ne batanula okwenda ku bawala ba Mowaabu. . . . Abantu ne balya ne bavunnamira bakatonda baabwe.” (Kubal. 25:1, 2) Yakuwa yasindikira abantu abo aboonoonyi kawumpuli ow’amaanyi. Oyinza okuteeberezaamu engeri Finekaasi gye yawuliramu ng’awulidde ku bikolwa ebibi abantu bye baali bakoze ne kawumpuli eyali abagwiridde?

Ebyawandiikibwa byeyongera ne bigamba nti: “Laba, omu ku baana ba Isiraeri n’ajja n’aleetera baganda be omukazi Omumidiyaani mu maaso ga Musa ne mu maaso g’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isiraeri, bwe baali nga bakaabira amaziga ku mulyango gw’eweema ey’okusisinkanirangamu.” (Kubal. 25:6) Kabona Finekaasi yandikoze ki? Yali muvubuka, ate ng’Omuisiraeri eyali aleese omukazi Omumidiyaani yali mukulu wa nnyumba era yakulemberanga abantu mu kusinza.​—Kubal. 25:14.

Naye Finekaasi yakiraga nti yali atya Yakuwa, so si bantu. Bwe yalaba Omuisiraeri ng’ajja n’omukazi Omumidiyaani, yakwata effumu mu mukono gwe n’abagoberera mu weema n’abafumitira ddala bombi. Yakuwa yatwala atya ekyo Finekaasi kye yakola bwe yayoleka obuvumu n’atalonzalonza kubaako ky’akolawo? Amangu ago Yakuwa yakomya kawumpuli era n’akola endagaano ne Finekaasi nti mu lunyiriri lwe mwe mwandibadde obwakabona “obutaliggwaawo.”​—Kubal. 25:7-13.

Kya lwatu nti abakadde mu kibiina leero tebagonjoola nsonga mu ngeri ya bukambwe. Naye okufaananako Finekaasi, abakadde balina okwoleka obuvumu ne babaako kye bakolawo mu bwangu bwe wabaawo ekibi ekiba kikoleddwa. Ng’ekyokulabirako, bwe yali yaakamala emyezi mitono ng’aweereza ng’omukadde, Guilherme yasabibwa okutuula ku kakiiko akakola ku misango mu kibiina. Omusango ogwali gugenda okuwulirwa gwali guzziddwa omukadde eyayamba Guilherme bwe yali ng’akyali muto. Guilherme agamba nti, “Nnawulira nga sisaana kutuula ku kakiiko ako. Ekiro ekyo otulo twambula. Nnasula ndowooza ku ngeri gye nnaakwatamu omusango ogwo awatali kukkiriza kintu kyonna kunnemesa kukwata nsonga eyo okusinziira ku mitindo gya Yakuwa. Nnamala ennaku eziwerako nga nsaba era nga nnoonyereza mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli.” Kino kyamuyamba okufuna obuvumu okusobola okukola ku nsonga eno eyali enzibu ennyo n’okuyamba muganda we eyali akoze ekibi.​—1 Tim. 4:11, 12.

Abakadde bwe booleka obuvumu ne batalonzalonza kubaako kye bakolawo bwe kiba kyetaagisa, baba bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi mu kuba n’okukkiriza n’okuba abeesigwa. Kya lwatu nti n’Abakristaayo abalala basaanidde okwoleka obuvumu. Bwe bakitegeerako nti waliwo ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi, basaanidde okubuulirako abakadde. Mu ngeri y’emu, twetaaga okuba abeesigwa bwe tuba ab’okulekera awo okukolagana n’omuntu aba agobeddwa mu kibiina k’abe mukwano gwaffe oba omu ku b’eŋŋanda zaffe.​—1 Kol. 5:11-13.

Okuba n’Amagezi Kituyamba Okwewala Ebizibu

Obuvumu Finekaasi bwe yayoleka, teyabwoleka nga tasoose kulowooza, ng’abavubuka bangi bwe batera okukola. Lowooza ku ngeri gye yayolekamu amagezi bwe yawulira ku kintu ekirala ekyali kibaddewo. Abaisiraeri okuva mu kika kya Lewubeeni, ekya Gaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase baali bazimbye ekyoto okumpi n’omugga Yoludaani. Abaisiraeri abalala baali balowooza nti ekyoto ekyo baali bagenda kukikozesa mu kusinza okw’obulimba, bwe batyo ne beetegeka okugenda okubalwanyisa.​—Yos. 22:11, 12.

Finekaasi yakola ki? Finekaasi, awamu n’abakulu abalala mu Isiraeri, baatuula ne boogera ku nsonga eyo n’abo abaali bazimbye ekyoto ekyo. Abo abaali mu bika ebyo ebyali bivunaanibwa baawa ensonga lwaki baali bazimbye ekyoto ekyo ne bagamba nti baali bakizimbye lwa ‘kuweereza Yakuwa.’ Bwe kityo, ebizibu ebyandivuddemu byewalibwa.​—Yos. 22:13-34.

Singa Omukristaayo abaako ebintu ebibi by’awulidde ku mukkiriza munne, nga kiba kya magezi okukoppa Finekaasi! Okuba n’amagezi kituyamba okwewala okunyiigira muganda waffe oba okutandika okumwogerako obubi.​—Nge. 19:11.

Okuba n’amagezi kisobola kitya okuyamba abakadde okukoppa Finekaasi? Jaime, amaze emyaka kkumi ng’aweereza ng’omukadde agamba nti, “Ow’oluganda bw’antuukirira n’atandika okumbuulira ku butategeeragana bw’aba afunye n’omuntu omulala, amangu ago nsaba Yakuwa annyambe nneme kwekubiira, naye ansobozese okuwa amagezi ageesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Lumu mwannyinaffe omu yantuukirira n’ambuulira ku ngeri ow’oluganda omu alina obuvunaanyizibwa mu kibiina ekirala gye yali amuyisizzaamu. Olw’okuba ow’oluganda oyo yali mukwano gwange, tekyandizibuwalidde kumutuukirira ne njogera naye ku nsonga eyo. Naye nnasalawo okukubaganya ebirowoozo ne mwannyinaffe oyo ku misingi egiwerako egiri mu Byawandiikibwa. Mwannyinaffe yakkiriza okusooka okutuukirira ow’oluganda oyo ayogereko naye. (Mat. 5:23, 24) Ensonga eyo teyagonjoolerwawo mangu ago. Bwe kityo, nnamukubiriza okulowooza ku misingi emirala egiri mu Byawandiikibwa. Yaddamu okusaba Yakuwa ku nsonga eyo era n’asalawo okusonyiwa ow’oluganda oyo.”

Biki ebyavaamu? Jaime agamba nti “Nga wayise emyezi egiwerako, mwannyinaffe oyo yantuukirira. Yaŋŋamba nti, ow’oluganda yamala ne yeetonda olw’ebyo bye yali ayogedde. Ow’oluganda yakola enteekateeka okubuulirako ne mwannyinaffe oyo era n’akiraga nti asiima engeri ze ennungi. Ekizibu kyagonjoolwa. Naye ddala ekizibu ekyo kyandisobodde okugonjoolwa singa nze, eyandirabise ng’aliko oludda lwe mpagira, nnayingira mu nsonga eyo?” Bayibuli egamba nti: “Tofulumanga mangu okuwakana.” (Nge. 25:8) Abakadde booleka amagezi nga bakubiriza Abakristaayo ababa balina obutategeeragana okukolera ku misingi egiri mu Byawandiikibwa kibasobozese okukuuma emirembe.

Yeebuuza ku Yakuwa

Finekaasi yalina enkizo okuweereza nga kabona w’abantu ba Katonda abalonde. Nga bwe tulabye, yali muvumu era yalina amagezi wadde nga yali akyali muvubuka. Naye yasobola okwolekagana n’embeera enzibu olw’okuba yali yeesiga Yakuwa.

Oluvannyuma lw’abasajja b’e Gibeya, ab’omu kika kya Benyamini, okukwata omuzaana w’omusajja Omuleevi era ne bamutta, abantu okuva mu bika bya Isiraeri ebirala baakuŋŋaana okulwanyisa Ababenyamini. (Balam. 20:1-11) Bwe baali tebannatandika kulwana, baasooka kusaba Yakuwa, naye emirundi ebiri miramba baawangulwa. (Balam. 20:14-25) Naye ekyo kyandibaleetedde okulowooza nti Yakuwa tawulira ssaala zaabwe? Ddala Yakuwa yasanyukira ekyo kye baali basazeewo okukola oluvannyuma lw’ekibi ekyo ekyali kikoleddwa?

Ne ku mulundi guno, Finekaasi, kati eyali kabona asinga obukulu owa Isiraeri, teyalekera awo kwesiga Yakuwa. Yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “N[n]aafuluma nate omulundi ogw’okusatu okulwana n’abaana ba Benyamini muganda wange nantiki n[na]alekera awo?” Yakuwa yaddamu okusaba okwo, n’agabula Ababenyamini mu mukono gw’Abaisiraeri abalala, era Gibeya ne bakyokya omuliro ne kisaanawo.​—Balam. 20:27-48.

Ekyo kituyigiriza ki? Oluusi ebizibu ebimu ebiba mu kibiina bisigalawo wadde ng’abakadde bafubye okubigonjoola era nga bafubye n’okusaba Katonda abayambe. Ekyo bwe kibaawo, abakadde baba beetaaga okujjukira ebigambo bya Yesu bino: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.” (Luk. 11:9) Ne bwe kiba nti Yakuwa alabika ng’aluddewo okuddamu okusaba kwabwe, abakadde basaanidde okuba abakakafu nti ajja kubaddamu mu kiseera kye ekituufu.

Ng’ekyokulabirako, ekibiina ekimu mu Ireland kyali kyagala okutandika okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka naye ng’omukungu akola ku by’okuzimba mu kitundu yali agaanye okubakkiriza okuzimba. Baagezaako okufuna ebifo ebitali bimu, naye era n’abagaana okuzimba. Kati omuntu yekka eyali asobola okubakkiriza okuzimba yali mukungu eyali akulira omulimu gw’okuzimba ebizimbe mu ggwanga lyonna. Okusaba Katonda kwabayamba nga bwe kwayamba abo abaaliwo mu kiseera kya Finekaasi?

Omukadde omu ow’omu kitundu ekyo agamba nti: “Oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa n’okumwegayirira, twagenda ku ofiisi enkulu ekola ku by’okuzimba mu ggwanga. Baatugamba nti kyali kijja kututwalira wiiki eziwerako nga tetunnalaba mukungu oyo. Kyokka, twasobola okumulaba ne twogera naye okumala eddakiika ttaano. Oluvannyuma lw’okulaba pulaani yaffe eyali ekubiddwa obulungi, amangu ago yatukkiriza okutandika okuzimba, era okuva olwo omukungu akola ku by’okuzimba mu kitundu naye yakkiriza okutuyamba. Ebyo ebyaliwo byatulaga nti Katonda awulira okusaba.” Yee, Yakuwa addamu okusaba kw’abakadde abamwesiga.

Finekaasi yalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi mu Isiraeri ey’edda, naye olw’okuba yali muvumu, yali wa magezi, era yali yeesiga Katonda, yasobola okubutuukiriza wadde nga yayolekagana n’embeera enzibu. Yakuwa yasiima nnyo Finekaasi olw’okuba yafuba nnyo okulabirira ekibiina kya Katonda. Nga wayise emyaka nga 1,000, Ezera yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yabanga omukulu waabwe mu biro eby’edda, era Mukama yabanga naye.” (1 Byom. 9:20) K’abo bonna abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda awamu n’Abakristaayo bonna okutwalira awamu abamuweereza n’obwesigwa bafube okukoppa ekyokulabirako kya Finekaasi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share