LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w04 8/1 lup. 23-28
  • Kulaakulanya Endowooza Kristo Gye Yalina ku Bukulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kulaakulanya Endowooza Kristo Gye Yalina ku Bukulu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weesambe Endowooza Ensi gy’Erina ku Bukulu
  • Obukulu Buva mu Kuweereza Okukubirizibwa Okwagala
  • Koppa Obwetoowaze bwa Kristo
  • Engeri y’Okufunamu Endowooza Kristo gye Yalina ku Bukulu
  • Emiganyulo Egiva mu Kubeera n’Endowooza ng’Eya Kristo ku Bukulu
  • Obukulu bwa Yakuwa Tebunoonyezeka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Tendereza Yakuwa, Katonda Waffe!
    Muyimbire Yakuwa
  • Tendereza Yakuwa Katonda Waffe!
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • “Buli Ayagala Okuba Omukulu mu Mmwe Ateekeddwa Okubeera Omuweereza Wammwe”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
w04 8/1 lup. 23-28

Kulaakulanya Endowooza Kristo Gye Yalina ku Bukulu

“Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe.”​—MATAYO 20:26.

1. Ensi etunuulira etya obukulu?

OKUMPI n’ekibuga kya Misiri eky’edda ekiyitibwa Thebes (kati ekimanyiddwa nga Karnak), ekiri mayiro 300 mu bukiika ddyo bw’ekibuga Cairo, eriyo ekibumbe kya Falaawo Amenikotepi III ekiweza ffuuti 60. Omuntu yeeraba nga mutono nnyo bwe yeegeraageranya ku kibumbe ekyo ekinene bwe kityo. Awatali kubuusabuusa, ekyagendererwa mu kibumbe ekyo, kwe kuleetera abantu okutya omufuzi oyo, era ng’eyo ye ndowooza ensi gy’erina ku bukulu, kwe kugamba, omuntu okwetwala nga wa waggulu nnyo era n’okuleetera abalala okuwulira nga bo ba wansi nnyo.

2. Kyakulabirako ki Yesu kye yateerawo abagoberezi be, era bibuuzo ki bye tulina okwebuuza?

2 Geraageranya engeri eno abantu gye batunuuliramu obukulu n’ekyo Yesu Kristo kye yayigiriza. Wadde nga ye yali ‘Mukama era Omuyigiriza’ ow’abagoberezi be, Yesu yabayigiriza nti obukulu buva mu kuweereza balala. Ku lunaku lwe yasembayo okubeera ku nsi nga tannattibwa, Yesu yalaga ekyokulabirako ku ekyo kye yayigiriza ng’anaaza ebigere by’abayigirizwa be. Ekyo nga kyali kikolwa kya bwetoowaaze nnyo! (Yokaana 13:4, 5, 14) Okuweereza abalala oba okuweerezebwa, kiruwa gwe ky’osinga okwagala? Ekyokulabirako Kristo kye yateekawo kikukubiriza okwagala okubeera omwetoowaze nga bwe yali? Bwe kiba kityo, ka tulabe engeri endowooza Kristo gye yalina ku bukulu gy’eyawukana ku y’ensi.

Weesambe Endowooza Ensi gy’Erina ku Bukulu

3. Byakulabirako ki okuva mu Baibuli ebiraga akabi akava mu kwegwanyiza obukulu okuva eri abantu?

3 Mu Baibuli mulimu ebyokulabirako bingi ebiraga nti endowooza ensi gy’erina ku bukulu esobola okuvaamu emitawaana. Lowooza ku Kamani eyalina ekifo ekya waggulumu bwakabaka bwa Buperusi mu biseera bya Eseza ne Moluddekaayi. Olw’okuba Kamani yali ayagala nnyo okuweebwa ekitiibwa, kyamuviirako okufeebezebwa era n’okufa. (Eseza 3:5; 6:10-12; 7:9, 10) Kati ate kiri kitya ku Nebukadduneeza eyali ow’amalala, eyasuulibwa eddalu mu kiseera we yatuukira ku ntikko y’obufuzi bwe? Endowooza enkyamu gye yalina ku bukulu yeeyolekera mu bigambo bino: “Kino si Babulooni ekikulu, kye nnazimba okuba ennyumba ya kabaka n’amaanyi ag’obuyinza bwange n’olw’ekitiibwa eky’obukulu bwange?” (Danyeri 4:30) Ate era waaliwo ne Kerode Agulipa I eyali ow’amalala era eyakkiriza okuweebwa ekitiibwa ekyali kigwana okuweebwa Katonda. ‘Yaliibwa envunyu.’ (Ebikolwa 12:21-23) Olw’okuba abasajja abo bonna baalemererwa okutegeera endowooza Yakuwa gy’alina ku bukulu, kyabaviirako okufeebezebwa.

4. Ani akubiriza omwoyo ogw’amalala oguli mu nsi?

4 Tekiba kikyamu okwagala okukola ebintu ebituweesa ekitiibwa. Kyokka, Omulyolyomi asobola okweyambisa okwagala okwo n’atuleetera okubeera ab’amalala nga ye kennyini bw’ali. (Matayo 4:8, 9) Teweerabiranga nti ye “katonda ow’emirembe gino,” era nga mumalirivu okukulaakulanya endowooza ye wano ku nsi. (2 Abakkolinso 4:4; Abaefeso 2:2; Okubikkulirwa 12:9) Olw’okubanga ekyo Abakristaayo bakimanyi, beewala endowooza ensi gy’erina ku bukulu.

5. Omuntu by’aba atuuseeko mu bulamu, ettuttumu n’obugagga, bisobola okumuleetera essanyu erya nnamaddala? Nnyonnyola.

5 Omulyolyomi akulaakulanya endowooza nti, essanyu lisibuka mu kwekolera erinnya mu nsi, okutenderezebwa abantu, n’okubeera n’obutitimbe bw’ensimbi. Ekyo kituufu? Ddala ebyo by’otuuseeko mu bulamu, ettuttumu n’obugagga bw’ofunye bisobola okukuleetera essanyu mu bulamu bwo bwonna? Baibuli etulabula tuleme okutwalirizibwa endowooza ng’ezo. Kabaka ow’amagezi Sulemaani yagamba: “Awo ne ndyoka ndaba okutegana kwonna na buli mulimu ogw’amagezi, ng’olwekyo omuntu kyava amukwatirwa munne obuggya. Era n’ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.” (Omubuulizi 4:4) Abantu bangi abafubye okututumuka mu nsi, basobola okuwa obujulizi ku butuufu bw’okubuulirira okwo okw’omu Baibuli. Ekyokulabirako ekimu kye ky’omusajja eyayamba mu kuyiiya, okuzimba n’okugezesa ekizungirizi ekyatwala abantu ku mwezi. Omusajja oyo yagamba bw’ati: “Omulimu ogwo nnali ngutaddemu amaanyi gange gonna era nnali ngukuguseemu. Naye byonna bwali butaliimu, kubanga saasobola kufunamu ssanyu na mirembe ebya nnamaddala.”a Endowooza ensi gy’erina ku bukulu, ka kibeere mu bya bizineesi, bya mizannyo oba mu eby’okwesanyusaamu, tereeta ssanyu lya nnamaddala.

Obukulu Buva mu Kuweereza Okukubirizibwa Okwagala

6. Kiki ekiraga nti Yakobo ne Yokaana baalina endowooza enkyamu ku bukulu?

6 Ekyo ekyaliwo mu bulamu bwa Yesu kiraga obukulu obwa nnamaddala kye butegeeza. Yesu n’abayigirizwa be baali bagenda e Yerusaalemi okubeerawo ku mbaga ey’Okuyitako mu 33 C.E. Nga bali ku lugendo olwo, bakizibwe ba Yesu babiri, Yakobo ne Yokaana, baayoleka endowooza enkyamu ekwata ku bukulu. Nga bayitira mu nnyaabwe, baasaba Yesu: ‘Lagira omu ku ffe atuule ku mukono gwo ogwa ddyo n’omulala ku mukono gwo ogwa kkono mu bwakabaka bwo.’ (Matayo 20:21) Okutuula ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, kyali kya kitiibwa nnyo mu Bayudaaya. (1 Bassekabaka 2:19) Yakobo ne Yokaana baagezaako okwekwata ebifo ebya waggulu mu ngeri enkyamu. Baayagala okufuna ekifo eky’ekitiibwa. Yesu yali amanyi bulungi kye baali balowooza era yakozesa akakisa ako okutereeza endowooza enkyamu gye baalina ku bukulu.

7. Yesu yalaga atya engeri Omukristaayo gy’ayinza okufunamu obukulu obwa nnamaddala?

7 Yesu yali akimanyi nti mu nsi eno ejjudde amalala, omuntu atwalibwa okuba omukulu y’oyo alagira abalala okumukolera buli ky’ayagala. Naye mu bagoberezi ba Yesu, oyo aweereza mu ngeri ey’obwetoowaze y’atwalibwa okubeera omukulu. Yesu yagamba: “Buli ayagala okuba omukulu mu mmwe anaabanga muweereza wammwe: na buli ayagala okuba ow’olubereberye mu mmwe anaabanga muddu wammwe.”​—Matayo 20:26, 27.

8. Kitegeeza ki okubeera omuweereza, era bibuuzo ki bye tulina okwebuuza?

8 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omuweereza” mu Baibuli kikozesebwa ku muntu afuba ennyo okubaako by’akolera abalala. Yesu yali ayigiriza abayigirizwa be essomo ekkulu ennyo: Okulagira abantu abalala okubaako kye bakola si kye kireetera muntu okuba omukulu; wabula okubaweereza mu ngeri ey’okwagala. Weebuuze: ‘Singa nze nnali Yakobo oba Yokaana nnandikoze ki? Nnandikitegedde bulungi nti obukulu obwa nnamaddala buva mu kuweereza abalala mu ngeri ey’okwagala?’​—1 Abakkolinso 13:3.

9. Kyakulabirako ki Yesu kye yateekawo mu ngeri gye yakolaganangamu n’abalala?

9 Yesu yalaga abayigirizwa be nti engeri ensi gy’etunuuliramu obukulu si ye ngeri ye gy’abutunuuliramu. Teyagezaako n’akatono kwekulumbaliza ku abo be yali aweereza oba okubaleetera okuwulira nti ba wansi. Abantu aba buli ngeri, kwe kugamba, abasajja, abakazi, n’abaana, abagagga, abaavu, n’abalina obuyinza awamu n’abo abaali bamanyiddwa ng’aboonoonyi, baawuliranga bulungi nga bali naye. (Makko 10:13-16; Lukka 7:37-50) Abantu tebatera kugumiikiriza abo abalina obunafu obw’engeri ezitali zimu. Yesu teyali bw’atyo. Wadde ng’ebiseera ebimu abayigirizwa be baateranga okukaayana, yababuuliriranga mu ngeri ey’ekisa, ng’abalaga nti ye muwombeefu era mukkakkamu.​—Zekkaliya 9:9; Matayo 11:29; Lukka 22:24-27.

10. Yesu yakiraga atya mu bulamu bwe bwonna nti ayagala okuweereza abalala?

10 Ekyokulabirako eky’obuteerowoozaako Omwana wa Katonda kye yateekawo kyalagira ddala obukulu kye butegeeza. Yesu teyajja ku nsi kuweerezebwa wabula okuweereza abalala, ng’abawonya “endwadde nnyingi” era ng’abagobako dayimooni. Wadde nga yakoowanga era nga yeetaaganga okuwummulako, yakulembezanga ebyetaago by’abalala, ng’afuba okubabudaabuda. (Makko 1:32-34; 6:30-34; Yokaana 11:11, 17, 33) Okwagala kwe yalina kwamukubiriza okuyamba abantu abalala mu by’omwoyo, ng’atambula eŋŋendo mpanvu nnyo mu makubo amabi okugenda okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (Makko 1:38, 39) Awatali kubuusabuusa, okuweereza abalala Yesu yakitwala nga kikulu nnyo.

Koppa Obwetoowaze bwa Kristo

11. Ngeri ki ezeetaagisa mu b’oluganda abalondebwa okuweereza ng’abalabirizi mu kibiina?

11 Ku nkomerero y’emyaka gya 1800, endowooza entuufu abalabirizi Abakristaayo gye balina okukulaakulanya yateekebwako nnyo essira abasajja bwe baali balondebwa okubeera abalabirizi abatambula okusobola okukola ku byetaago by’abantu ba Katonda. Okusinziira ku Zion’s Watch Tower aka Ssebutemba 1, 1894, abo abaali beetaagibwa baali basajja “abawombeefu, kwe kugamba, abatandyekulumbazizza . . . , abatandigeezezzaako kwegulumiza, wabula abandigulumizizza Kristo​—nga teboogera byabwe ku bwabwe naye nga bakozesa ebigambo bye mu ngeri ennyangu okutegeera era eyoleka amaanyi gaabyo.” Kya lwatu, Abakristaayo ab’amazima tebandyagadde kufuna bifo bya buvunaanyizibwa olw’okwagala okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe oba okufuna ettuttumu, obuyinza n’okufuga abalala. Omulabirizi omwetoowaze akijjukira nti obuvunaanyizibwa bwe buzingiramu okukola “omulimu omulungi,” so si kubeera mu kifo ekimusobozesa okutenderezebwa. (1 Timoseewo 3:1, 2) Abakadde bonna n’abaweereza mu kibiina balina okukola kye basobola okuweereza abalala mu ngeri ey’obwetoowaze, nga babateerawo eky’okulabirako eky’okugoberera.​—1 Abakkolinso 9:19; Abaggalatiya 5:13; 2 Timoseewo 4:5.

12. Bibuuzo ki abo abaagala okufuna ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina bye bandyebuuzizza?

12 Ow’oluganda yenna ayagala okufuna enkizo ng’ezo ez’obuweereza alina okwebuuza: ‘Nfuba okufuna akakisa okuweereza abalala, oba njagala kuweerezebwa? Ndi mwetegefu okukola ebyo ebinaaganyula abalala wadde nga tebaategeere nti nze mbikoze?’ Ng’ekyokulabirako, omuvubuka ayinza okuba omwetegefu okuwa emboozi mu kibiina Ekikristaayo naye nga tayagala kuyamba bannamukadde. Ayinza okuba ng’ayagala nnyo okubeera okumpi n’ab’oluganda abali mu bifo eby’obuvunaanyizibwa mu kibiina kyokka nga si mwetegefu kukolera wamu n’ababuulizi mu mulimu gw’okubuulira. Kiba kirungi omuvubuka ng’oyo okwebuuza: ‘Nzisa nnyo essira ku buweereza bwa Katonda obusobola okundeetera okuweebwa ekitiibwa n’okutenderezebwa? Ngezaako okusukkuluma ku balala?’ Bwe twagala okwenoonyeza ekitiibwa, tuba tetukoppa Kristo.​—Yokaana 5:41.

13. (a) Omulabirizi bw’ayoleka obwetoowaze, kiyinza kukola ki ku balala? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti omuntu ateekwa buteekwa okubeera omwetoowaze?

13 Bwe tufuba ennyo okukoppa obwetoowaze bwa Kristo, tujja kukubirizibwa okuweereza abalala. Lowooza ku kyokulabirako ky’omulabirizi akyalira amatabi eyali yeekenneenya emirimu egikolebwa ku ofiisi y’ettabi erimu ery’Abajulirwa ba Yakuwa. Wadde nga yalina bingi nnyo eby’okukola, omulabirizi oyo yayamba omuvubuka eyali alemereddwa okukozesa ekyuma ekimu ekikwasa empapula z’ekitabo awamu. “Kyanneewuunyisa nnyo!” bw’atyo ow’oluganda oyo omuto bwe yagamba. “Yaŋŋamba nti bwe yali ng’akyali muvubuka era ng’akola ku Beseri, yakozesanga ekyuma ng’ekyo, era ng’ajjukira bwe kyali ekizibu okukikozesa mu ngeri entuufu. Yakola nange ku kyuma ekyo okumala akabanga wadde nga yalina ebintu ebirala ebikulu eby’okukola. Mazima ddala, ekyo kyampuniikiriza nnyo.” Ow’oluganda ono kati aweereza ng’omulabirizi ku ofiisi y’ettabi erimu ery’Abajulirwa ba Yakuwa, akyajjukira ekikolwa eky’omulabirizi oli eky’obwetowaaze. Ka tuleme kulowooza nti tuli ba waggulu nnyo era nti waliwo emirimu egimu gye tutasaanidde kukola kubanga tugitwala nga gya wansi. Mu kifo ky’ekyo, tulina okubeera ‘abeetoowaze.’ Mazima ddala, ekyo kye tuteekwa okukola. Obwetoowaze y’emu ku ngeri ‘z’omuntu omuggya’ Abakristaayo gwe balina okwambala.​—Abafiripi 2:3; Abakkolosaayi 3:10, 12; Abaruumi 12:16.

Engeri y’Okufunamu Endowooza Kristo gye Yalina ku Bukulu

14. Mu ngeri ki okufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne Katonda era n’abantu abalala gye kiyinza okutuyamba okukulaakulanya endowooza ennungi ekwata ku bukulu?

14 Tusobola tutya okufuna endowooza entuufu ekwata ku bukulu? Engeri emu kwe kufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Ekitiibwa kye, amaanyi ge n’amagezi ge bimuleetera okusukkuluma ku bantu bonna. (Isaaya 40:22) Bwe tufumiitiriza ku nkolagana yaffe ne bantu bannaffe, nakyo kituyamba okubeera abawombeefu. Ng’ekyokulabirako, wayinza okubaawo kye tukola obulungi okusinga abalala, naye nabo bayinza okubaako ebintu ebikulu mu bulamu bye bakola obulungi okutusinga. Oba baganda baffe Abakristaayo bayinza okuba nga balina engeri ennungi ffe ze tutalina. Ekituufu kiri nti, abantu bangi abasiimibwa mu maaso ga Katonda tebatera kwagala kwatiikirira olw’okuba beetoowaze.​—Engero 3:34; Yakobo 4:6.

15. Obwesigwa bw’abantu ba Katonda bulaga butya nti tewali n’omu asaanidde kwetwala nga wa waggulu okusinga abalala.

15 Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye bayiseemu nga bagezesebwa olw’okukkiriza kwabwe biraga bulungi ensonga eno. Emirundi egisinga obungi, abo ensi b’etwala okuba abantu aba bulijjo, be basobodde okusigala nga beesigwa eri Katonda nga bali mu kugezesebwa okw’amaanyi. Bwe tufumiitiriza ku byokulabirako ng’ebyo, kisobola okutuyamba okweyongera okubeera abeetoowaze era kituyigiriza ‘obuteerowoozaako nnyo okusinga bwe tugwanidde.’​—Abaruumi 12:3.b

16. Bonna abali mu kibiina basobola batya okukulaakulanya endowooza Yesu gye yalina ku bukulu?

16 Abakristaayo bonna, abakulu n’abato, balina okufuba okukulaakulanya endowooza Kristo gye yalina ku bukulu. Mu kibiina, mubaamu emirimu mingi egirina okukolebwa. Tonyoomanga mulimu gwonna oguyinza okulabika ng’ogwa wansi gw’oba osabiddwa okukola. (1 Samwiri 25:41; 2 Bassekabaka 3:11) Abazadde, mukubiriza abaana bammwe okukola n’essanyu omulimu gwonna oguba gubaweereddwa, ka gube ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu kifo ekitegekeddwamu olukuŋŋaana olunene? Bakulaba ng’okola emirimu egitwalibwa ng’egya wansi? Ow’oluganda omu kati akola ku kitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa, ajjukira bulungi ekyokulabirako kya bazadde be. Yagamba: “Engeri gye baatwalangamu omulimu gw’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ekifo ekitegekeddwamu olukuŋŋaana olunene, yandaga nti omulimu ogwo baali bagutwala nga mukulu nnyo. Emirundi mingi baafubanga okukola emirimu egisobola okuganyula ekibiina oba ab’oluganda, omulimu ogwo ka gube nga gwali gulabika ng’ogwa wansi ennyo. Endowooza gye baalina enyambye okukkiriza okukola omulimu gwonna oguba gumpeereddwa ku Beseri.”

17. Mu ngeri ki abakyala abeetoowaze gye basobola okuganyulamu ekibiina?

17 Eseza eyafuuka kkwini mu Bwakabaka bw’Abaperusi mu kyasa eky’okutaano B.C.E., yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ekikwata ku ky’okukulembeza ebyetaago by’abalala mu kifo ky’okusoosa ebyaffe. Wadde nga yali abeera mu lubiri, yali mwetegefu okuteeka obulamu bwe mu kabi ku lw’abantu ba Katonda ng’ekyo kyali kituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. (Eseza 1:5, 6; 4:14-16) Ka babe nga bali mu mbeera ki ey’eby’enfuna, abakazi Abakristaayo leero basobola okulaga omwoyo nga Eseza gwe yalina nga babudaabuda abenyamivu, nga bakyalira abalwadde, nga beenyigira mu kubuulira era nga bakolagana bulungi n’abakadde mu kibiina. Abakyala ng’abo baba ba muwendo nnyo mu kibiina!

Emiganyulo Egiva mu Kubeera n’Endowooza ng’Eya Kristo ku Bukulu

18. Miganyulo ki egiva mu kubeera n’endowooza Kristo gye yalina ku bukulu?

18 Osobola okufuna emiganyulo mingi singa obeera n’endowooza nga Kristo gye yalina ku bukulu. Okuweereza abalala nga teweerowoozaako, kisobola okukuleetera essanyu ggwe kennyini awamu n’abalala. (Ebikolwa 20:35) Okubeera omwetegefu okuweereza abalala nga teweerekamu kijja kukuleetera okuganja gye bali. (Ebikolwa 20:37) N’ekisinga obukulu, by’okola okuwagira Bakristaayo banno, Yakuwa abitwala nga ssaddaaka emusanyusa.​—Abafiripi 2:17.

19. Tusaanidde kubeera bamalirivu kukola ki ku kubeera n’endowooza Kristo gye yalina ku bukulu?

19 Buli omu ku ffe alina okukebera omutima gwe era yeebuuze: ‘Njogera bwogezi ku kubeera n’endowooza Kristo gy’alina ku bukulu, oba nfuba nnyo okubeera n’endowooza ng’eyo?’ Endowooza Yakuwa gy’alina ku bantu ab’amalala etegeerekeka bulungi. (Engero 16:5; 1 Peetero 5:5) Ka enneeyisa yaffe erage nti twagala okwoleka endowooza Kristo gy’alina ku bukulu, ka kibeere mu kibiina Ekikristaayo, mu maka gaffe oba mu ngeri gye tukolaganamu n’abantu abalala bulijjo​—nga tukola byonna mu ngeri eneereetera Katonda ettendo.​—1 Abakkolinso 10:31.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba Watchtower aka Maayi 1, 1982, empapula 3-6, “Okufuba Okutuuka ku Buwanguzi.”

b Okusobola okufuna ebyokulabirako ebirala, laba 1992 Yearbook of Jehovah’s Witnesses, empapula 181-2 ne Watchtower aka Ssebutemba 1, 1993, empapula 27-31.

Osobola Okunnyonnyola?

• Lwaki tulina okwesamba endowooza ensi gy’erina ku bukulu?

• Yesu yatunuulira atya obukulu?

• Abakadde basobola batya okukoppa obwetoowaze bwa Kristo?

• Kiki ekisobola okutuyamba okubeera n’endowooza Kristo gye yalina ku bukulu?

[Akasanduuko akali lupapula  27]

Ani Alina Endowooza Kristo gye Yalina ku Bukulu?

Oyo ayagala okuweerezebwa oba ayagala okuweereza abalala?

Oyo ayagala okweraga oba akkiriza okukola omulimu ogutwalibwa ng’ogwa wansi?

Oyo eyeegulumiza oba agulumiza abalala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]

Ekibumbe ekinene ekya Falaawo Amenikotepi III

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Omanyi ekyaviirako Kamani okufeebezebwa?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Onoonya engeri y’okuweerezaamu abalala?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share