LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 12
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2012 | Noovemba
    • Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 12

      WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 12

      Oluyimba 26 n’Okusaba

      □ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:

      lr sul. 20 (Ddak. 30)

      □ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:

      Okusoma Bayibuli: Amosi 1-9 (Ddak. 10)

      Na. 1: Amosi 3:1-15 (Ddak. 4 oba obutawera)

      Na. 2: “Endagaano Empya” Nayo Eyogera ku Lusuku lwa Katonda Olunaabeera ku Nsi, oba “Ndagaano Nkadde” Yokka y’Erwogerako?​—rs-E lup. 285 ¶1-3 (Ddak. 5)

      Na. 3: Tuganyulwa Tutya bwe Tutegeera Amakulu Agali mu Zabbuli 51:17? (Ddak. 5)

      □ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:

      Oluyimba 68

      Ddak. 10: Omuntu bw’Akugamba nti, ‘Temukkiririza mu Yesu.’ Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Reasoning, olupapula 219, akatundu 1-3. Laga ekyokulabirako kimu mu bufunze.

      Ddak. 10: Biki Bye Tuyigamu? Kukubaganya birowoozo. Musome Makko 1:16-20. Mukubaganye ebirowoozo ku ngeri ennyiriri zino gye ziyinza okutuyambamu mu buweereza bwaffe.

      Ddak. 10: “Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.

      Oluyimba 98 n’Okusaba

  • Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo
    Obuweereza bw’Obwakabaka—2012 | Noovemba
    • Sanyukiranga Ebirungi Ebiva mu Kufuba Kwo

      1. Kiki ekiyinza okutumalamu amaanyi mu buweereza?

      1 Omuntu bw’alaba ebirungi ebiva mu kufuba kwe, kimusanyusa. (Mub. 3:13) Kyokka bwe tulaba nti obuweereza bwaffe tebuvaamu kalungi konna, kiyinza okutumalamu amaanyi ne tulekera awo okubuulira n’obunyiikivu. Kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu?

      2. Lwaki tetwandirowoozezza nti abantu bonna bajja kutuwuliriza?

      2 Tosuubira nti Bonna Bajja Kukuwuliriza: Kijjukire nti wadde ng’abantu abakkiriza obubaka bwa Yesu baali batono, obuweereza bwe bwavaamu ebirungi bingi. (Yok. 17:4) Mu lugero lwe olukwata ku musizi, Yesu yalaga nti abantu abasinga obungi tebandikkirizza bubaka bw’Obwakabaka. (Mat. 13:3-8, 18-22) Wadde kiri kityo, okufuba kwaffe kuvaamu ebirungi bingi.

      3. Tuyinza tutya ‘okubala ebibala’ wadde ng’abantu abasinga obungi tebasiima bubaka bwaffe?

      3 Engeri Gye Tubala Ebibala Ebingi: Okusinziira ku lugero lwa Yesu, abo abakkiriza obubaka bw’Obwakabaka ‘babala ebibala.’ (Mat. 13:23) Omukristaayo tabala bibala ng’afuna abayigirizwa abapya kyokka, wabula nga yeeyongera okusiga ensigo z’Obwakabaka. Ekyo kivaamu ebirungi ebituleetera essanyu ka kibe nti abantu tebasiima bubaka bwaffe. Tuba tutukuza erinnya lya Yakuwa. (Is. 43:10-12; Mat. 6:9) Tuba n’enkizo ey’okukolera awamu ne Katonda. (1 Kol. 3:9) Ate era ekyo kiba ‘kibala eky’emimwa’ ekisanyusa ennyo Yakuwa.—Beb. 13:15, 16.

      4. Birungi ki ebiyinza okuva mu buweereza bwaffe nga tetumanyi?

      4 Okugatta ku ekyo, okufuba kwaffe kuyinza okuba nga kuvaamu ebirungi naye nga tetukimanyi. Kirabika abamu ku bantu abaawuliriza Yesu ng’abuulira baafuuka abayigirizwa be luvannyuma nga Yesu amalirizza obuweereza bwe obw’oku nsi. Mu ngeri y’emu, ensigo z’Obwakabaka ze tusiga ziyinza obutakulirawo mu mutima gw’omuntu, naye oluvannyuma ayinza okuyiga amazima nga tetutegedde. Mu butuufu, obuweereza bwaffe buvaamu ebirungi bingi. N’olwekyo, ka ffenna tweyongere “okubala ebibala bingi” tukirage nti tuli bayigirizwa ba Yesu.—Yok. 15:8.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share