LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Yakuwa Anaakujjukira Atya?
    Omunaala gw’Omukuumi—2000 | Febwali 1
    • Yakuwa Anaakujjukira Atya?

      “ONJIJUKIRANGA, ai Katonda wange.” Emirundi egiwerako Nekkemiya yeegayirira Katonda ng’akozesa ebigambo ebyo. (Nekkemiya 5:19; 13:14, 31) Kya mu butonde nti abantu bwe babeera mu nnaku ey’amaanyi, beegayirira Katonda nga bakozesa ebigambo ng’ebyo.

      Kyokka abantu baba basuubira ki bwe basaba Katonda okubajjukira? Kya lwatu, baba basuubira Katonda okubakolera ekisingawo ku kujjukira obujjukizi amannya gaabwe. Awatali kubuusabuusa baba basuubira mu ngeri y’emu ng’omuzzi w’emisango eyattibwa awamu ne Yesu. Ono ye, obutafaananako munne, yeegayirira Yesu: “Onjijukiranga bw’olijjira mu bwakabaka bwo.” Yayagala Yesu aleme kukoma ku kujjukira ky’ali kyokka naye era abeeko ky’akola ku lulwe​—okumuzuukiza.​—Lukka 23:42.

      Mu ngeri etuukagana n’ekyo, Baibuli eraga nti eri Katonda, ‘okujjukira’ kitegeeza okubaako ky’okola.

      Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’ennaku 150 ng’ensi ebikkiddwa amazzi g’amataba, “Katonda yajjukira Nuuwa . . . , era Katonda n’aleetera empewo okuyita ku nsi, amazzi ne gatandika okukendeera.” (Olubereberye 8:1, NW) Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Samusooni, eyali aggiddwamu amaaso era ng’asibiddwa Abafirisuuti enjegere, yasaba: “Katonda njijukira, nkwegayirira, ompe amaanyi, nkwegayirira, omulundi guno gwokka.” Yakuwa yajjukira Samusooni ng’amuwa amaanyi agasinga ku g’obuntu, asobole okuwoolera eggwanga abalabe ba Katonda. (Ekyabalamuzi 16:28-30) Ku bikwata ku Nekkemiya, Yakuwa yawa omukisa okufuba kwe, era okusinza okw’amazima ne kuzzibwawo mu Yerusaalemi.

      “Byonna ebyawandiikibwa edda, byawandiikibwa kutuyigiriza ffe, tulyoke tubeerenga n’okusuubira,” bw’atyo omutume Pawulo bwe yawandiika. (Abaruumi 15:4) Singa tujjukira Yakuwa nga tukola by’ayagala, ng’abaweereza be abeesigwa bwe baakola mu biseera ebyayita, tuyinza okubeera abakakafu nti Yakuwa ajja kutujjukira ng’atuyamba okufuna bye twetaaga buli lunaku, ng’atuwagira mu bigezo byaffe, era ng’atununula bw’aliba azikiriza abatatya Katonda.​—Matayo 6:33; 2 Peetero 2:9.

  • Wandyagadde Okukyalirwa?
    Omunaala gw’Omukuumi—2000 | Febwali 1
    • Wandyagadde Okukyalirwa?

      Wadde ng’oli mu nsi eno ejjudde emitawaana, osobola okufuna essanyu okuva mu kumanya okutuufu okwa Baibuli okukwata ku Katonda, Obwakabaka bwe, era n’ekigendererwa kye eky’ekitalo eri abantu. Bw’oba wandyagadde okumanya ebisingawo oba omuntu okukukyalira akusomese Baibuli mu maka go awatali kusasula, wandiika ku I.B.S.A., Box 4019, Kampala, Uganda, oba ku emu ku ndagiriro ezo eziri ku lupapula 2.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share