Kuumira Yakuwa mu Birowoozo Byo Bulijjo
“Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo.”—ZAB. 16:8.
1. Ebiri mu Baibuli biyinza kutuyamba mu ngeri ki?
EKIGAMBO kya Yakuwa kiraga engeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu. Kyogera ku bantu bangi Katonda be yakozesa mu kutuukiriza ekigendererwa kye. Bye baayogera ne bye baakola ebiri mu Baibuli tebyawandiikibwa kutusanyusa busanyusa. Mu kifo ky’ekyo, bituyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda.—Yak. 4:8.
2, 3. Ebigambo ebiri mu Zabbuli 16:8 bitegeeza ki?
2 Ffenna tulina bingi bye tuyinza okuyiga ku bantu aboogerwako mu Baibuli abamanyiddwa obulungi, gamba nga Ibulayimu, Saala, Musa, Luusi, Dawudi, Eseza, omutume Pawulo, n’abalala. Kyokka, n’ebyo ebikwata ku bantu abatamanyiddwa nnyo biyinza okutuganyula. Okufumiitiriza ku biri mu Baibuli kiyinza okutuyamba okukola ng’omuwandiisi wa zabbuli eyagamba nti: “Mukama mmutadde mu maaso gange bulijjo. Kubanga ye ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.” (Zab. 16:8) Ebigambo bino bitegeeza ki?
3 Omulwanyi yakwatanga ekitala n’omukono gwe ogwa ddyo ne kiba nti engabo gye yakwatanga n’omukono ogwa kkono yali tesobola kuziyiza kabi kumutuukako ku ludda olwa ddyo. Naye munne bwe yalwaniranga kumpi naye ku mukono gwe ogwa ddyo, yabanga asobola okumuwonya akabi. Bwe tukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe ne tukola by’ayagala, ajja kutukuuma. Kati ka twetegereze engeri okufumiitiriza ku biri mu Baibuli gye kiyinza okunyweza okukkiriza kwaffe ne tusobola ‘okukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe bulijjo.’—Byington.
Yakuwa Addamu Okusaba Kwaffe
4. Waayo ekyokulabirako okuva mu Byawandiikibwa ekiraga nti Katonda addamu okusaba.
4 Bwe tukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe, ajja kuddamu okusaba kwaffe. (Zab. 65:2; 66:19) Kino tukirabira ku muweereza wa Ibulayimu eyali asinga baweereza banne obukulu, ng’ono alabika yali Erieza. Ibulayimu yamutuma e Mesopotamiya okufunira Isaaka omukazi atya Katonda. Erieza yasaba Katonda okumuyamba era yakiraba nti amwanukudde Lebbeeka bwe yajja n’awa eŋŋamira ze amazzi. Olw’okuba yasaba, Erieza yafunira Isaaka mukyala we omwagalwa. (Lub. 24:12-14, 67) Kituufu nti omulimu guno ogwali guweereddwa Erieza gwali gwa njawulo. Naye naffe tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa awulira okusaba kwaffe.
5. Lwaki tuyinza okugamba nti n’essaala ennyimpi esabibwa mu kasirise Yakuwa agiwuliriza?
5 Oluusi kiyinza okutwetaagisa okuyita mu bwangu nga tusaba Katonda okutuyamba. Lumu, Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi yalaba ng’omusenero we Nekkemiya mwennyamivu. Kabaka yamubuuza, “Weegayirira ki?” ‘Awo Nekkemiya n’asaba Katonda w’eggulu.’ Nekkemiya yalina okusaba mu bwangu era alabika yakikola mu kasirise. Wadde kyali kityo, Katonda yamwanukula kubanga kabaka yawa Nekkemiya obuyambi okuddamu okuzimba ebisenge bya Yerusaalemi. (Soma Nekkemiya 2:1-8.) Yee, n’essaala ennyimpi esabibwa mu kasirise esobola okuddibwamu.
6, 7. (a) Epafula yateekawo kyakulabirako ki mu kusaba? (b) Lwaki tusaanidde okusabira abalala?
6 Tukubirizibwa ‘okusabiragananga,’ wadde nga tuyinza obutamanyirawo obanga okusaba okwo kuddiddwamu. (Yak. 5:16) Epafula, “omuweereza omwesigwa owa Kristo,” yasabiranga bakkiriza banne. Ng’ali mu Ruumi, Pawulo yawandiika nti: “Epafula, ow’ewammwe, omuddu wa Kristo Yesu, abalamusizza, afuba ennaku zonna ku lwammwe mu kusaba kwe, mulyoke muyimirirenga nga muli batuukirivu era nga mutegeerera ddala mu byonna Katonda by’ayagala. Kubanga ndi mujulirwa we ng’alina emirimu mingi ku lwammwe, n’ab’omu Lawodikiya, n’ab’omu Kiyerapoli.”—Bak. 1:7; 4:12, 13.
7 Ebibuga Kkolosaayi, Lawodikiya, ne Kiyerapoli byali mu kitundu kye kimu mu Asiya Omutono. Abakristaayo b’omu Kiyerapoli baali babeera mu bantu abasinza katonda omukazi ayitibwa Cybele, ab’omu Lawodikiya baalina ekizibu ky’okwagala ennyo ebintu, ate bo ab’omu Kkolosaayi baali beetooloddwa abantu abaalina endowooza z’obufirosoofo. (Bak. 2:8) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Epafula, eyali ava e Kkolosaayi, ‘yafubanga okusabira’ abakkiriza ab’omu kibuga ekyo. Baibuli tetubuulira ngeri kusaba kwa Epafula gye kwaddibwamu, naye teyalekera awo kusabiranga bakkiriza banne; naffe tetusaanidde kulekayo kusabira baganda baffe. Wadde nga ‘tetuketta by’abalala,’ tuyinza okuba nga tulina gwe tumanyi ayolekagana n’okugezesebwa okw’amaanyi. (1 Peet. 4:15) Nga kiba kirungi okujjukira omuntu ng’oyo mu ssaala zaffe! Essaala z’abalala zaayamba nnyo Pawulo, era n’ezaffe ziyinza okuyamba ennyo abalala.—2 Kol. 1:10, 11.
8. (a) Tumanya tutya nti abakadde b’omu Efeso baali banyiikivu mu kusaba? (b) Tusaanide kutwala tutya enkizo y’okutuukirira Katonda mu kusaba?
8 Tumanyiddwa ng’abantu abanyiikivu mu kusaba? Pawulo bwe yamala okusisinkana abakadde b’omu Efeso, ‘yafukamira n’asabira wamu nabo bonna.’ Awo “ne bakaaba nnyo bonna, ne bamugwa mu bulago Pawulo ne bamunywegera, nga banakuwala okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti tebakyaddayo kumulaba.” (Bik. 20:36-38) Abakadde abo tetumanyi mannya gaabwe, naye kirabika baali banyiikivu mu kusaba. Naffe enkizo y’okusaba Katonda tusaanidde okugitwala ng’ey’omuwendo ennyo era ‘tuyimuse emikono emitukuvu’ nga tumanyi nti Kitaffe ow’omu ggulu ajja kutuddamu.—1 Tim. 2:8.
Gondera Katonda mu Bujjuvu
9, 10. (a) Bawala ba Zerofekadi baatekawo kyakulabirako ki? (b) Obuwulize bw’abawala ba Zerofekadi buyinza butya okuyamba Omukristaayo ali obwannamunigina bwe kituuka ku bufumbo?
9 Okukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe bulijjo kijja kutuyamba okumugondera, era kijja kutuviiramu emikisa mingi. (Ma. 28:13; 1 Sam. 15:22) Kino kitegeeza nti tulina okuba abeetegefu okumugondera. Lowooza ku bawala ba Zerofekadi abataano abaaliwo mu kiseera kya Musa. Mu Isiraeri, abaana ab’obulenzi be baasikiranga ebintu bya bakitaabwe. Zerofekadi yafa nga talina baana balenzi, era Yakuwa yalagira nti bawala be abo abataano basikire ebintu bye byonna—naye waaliwo akakwakkulizo kamu. Baalina okufumbirwa mu kika kya Manase, eby’obusika ebyo bisobole okusigala mu kika kyabwe.—Kubal. 27:1-8; 36:6-8.
10 Bawala ba Zerofekadi baali bakkiriza nti ebintu bijja kugenda bulungi nga bagondedde Katonda. Baibuli egamba nti: “Nga Mukama bwe yalagira Musa, bwe batyo bawala ba Zerofekadi bwe baakola: kubanga Maala, Tiruza, ne Kogula, ne Mirika, ne Noowa, bawala ba Zerofekadi, ne bafumbirwa batabani ba baganda ba kitaabwe. Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe ne bubeeranga mu kika eky’enda ya kitaabwe.” (Kubal. 36:10-12) Abakazi abo abawulize baakola Yakuwa kye yalagira. (Yos. 17:3, 4) Abakristaayo abalina okukkiriza ng’okwo, abakulu mu by’omwoyo era abakyali obwannamunigina bagondera Katonda nga bawasa “mu mukama waffe.”—1 Kol. 7:39.
11, 12. Kalebu yalaga atya nti yeesiga Katonda?
11 Tulina okugondera Yakuwa mu bujjuvu nga Kalebu Omuisiraeri bwe yakola. (Ma. 1:36) Ng’Abaisiraeri bamaze okununulibwa okuva e Misiri mu kyasa 16 B.C.E., Musa yatuma abasajja 12 okuketta ensi y’e Kanani, kyokka 2 bokka ku bo—Kalebu ne Yoswa—be baakubiriza abantu okwesiga Katonda basobole okuyingira mu nsi eyo. (Kubal. 14:6-9) Nga wayise emyaka ng’ana, Yoswa ne Kalebu baali bakyali balamu era nga bagoberera Yakuwa mu bujjuvu, era Katonda yakozesa Yoswa okutuusa Abaisiraeri mu Nsi Ensuubize. Kyokka, kirabika nti abakessi bali ekkumi abataalaga kukkiriza baafiira mu kiseera eky’emyaka 40 Abaisiraeri kye baamala mu ddungu.—Kubal. 14:31-34.
12 Ng’omu ku abo abaawonawo ng’Abaisiraeri bayita mu ddungu, Kalebu yayogerera mu maaso ga Yoswa nti: “N[n]agoberera ddala Mukama Katonda wange.” (Soma Yoswa 14:6-9.) Nga wa myaka kinaana mu etaano, Kalebu yasaba ekitundu ky’ensozi Katonda kye yamusuubiza, wadde nga kyalimu abalabe abaali babeera mu bibuga ebyetooloddwa bbugwe.—Yos. 14:10-15.
13. Tulina kukola ki okusobola okufuna emikisa ne bwe tuba nga tugezesebwa?
13 Nga Yakuwa bwe yayamba Kalebu eyali omwesigwa era omuwulize, naffe ajja kutuyamba singa ‘tumugoberera mu bujjuvu.’ Singa twolekagana n’ebizibu, tujja kufuna obuyambi bwa Yakuwa bwe ‘tumugoberera mu bujjuvu.’ Naye okusobola okukikola obulamu bwaffe bwonna nga Kalebu bwe yakola si kyangu. Wadde Kabaka Sulemaani yali muwulize mu kusooka, mu bukadde bakazi be baamukyusa omutima n’aweereza bakatonda ab’obulimba, era ‘teyagoberera Yakuwa mu bujjuvu nga Dawudi kitaawe bwe yakola.’ (1 Bassek. 11:4-6) Wadde nga tugezesebwa, ka bulijjo tugonderenga Yakuwa mu bujjuvu era tumukuumire mu birowoozo byaffe buli kiseera.
Weesige Yakuwa Bulijjo
14, 15. Okusinziira ku ebyo ebyatuuka ku Nawomi, oyize ki ku kwesiga Katonda?
14 Tulina okwesiga Katonda naddala nga tuli bennyamivu olw’okuba ebiseera byaffe eby’omu maaso birabika nga si birungi. Lowooza ku Nawomi eyali akaddiye era nga yafiirwako bba ne batabani be ababiri. Bwe yava e Mowaabu n’addayo mu Yuda, yagamba nti: “Temumpita Nawomi [ekitegeeza “Okusanyuka Kwange”], naye mumpite Mala [ekitegeeza “Okulumwa”]: kubanga Omuyinza w’ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo. Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w’ebintu byonna yambonyaabonya?”—Luus. 1:20, 21.
15 Wadde Nawomi yali mwennyamivu, bwe weetegereza ekitabo kya Luusi okiraba nti yasigala yeesiga Yakuwa. Era embeera ye yakyuka mu ngeri eyeewuunyisa. Luusi nnamwandu wa mutabani wa Nawomi yafumbirwa Bowaazi n’amuzaalira omwana ow’obulenzi. Nawomi ye yalera omwana oyo, era Baibuli egamba nti: “Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.” (Luus. 4:14-17) Nawomi bw’alizuukizibwa ku nsi, ajja kumanya nti Luusi, ng’olwo naye mulamu, yafuuka jjajja wa Yesu, Masiya. (Mat. 1:5, 6, 16) Okufaananako Nawomi, tetuyinza kumanya kinaava mu mbeera mbi ze twolekagana nazo. N’olwekyo, ka bulijjo twesige Katonda, nga bwe tukubirizibwa mu Engero 3:5, 6: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.”
Leka Omwoyo Omutukuvu Gukuyambe
16. Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwayamba gutya abakadde mu Isiraeri?
16 Singa tukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe bulijjo, ajja kutuwa omwoyo gwe omutukuvu gutukulembere. (Bag. 5:16-18) Abakadde 70 abaalondebwa okuyamba Musa okwettika “omugugu gw’abantu” ba Isiraeri baaliko omwoyo gwa Katonda. Eridaadi ne Medadi bokka be boogerwa amannya, naye bonna omwoyo gwabayamba mu kukola emirimu gyabwe. (Kubal. 11:13-29) Awatali kubuusabuusa, abasajja abo baali bakola bulungi emirimu gyabwe, nga batya Katonda, beesigwa, era nga beesimbu okufaananako abo abaali basoose okulondebwa. (Kuv. 18:21) Leero abakadde booleka engeri ng’ezo.
17. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwayamba gutya mu kuzimba weema ey’okusisinkaniramu?
17 Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu gwayamba nnyo mu kuzimba weema ey’okusisinkaniramu mu ddungu. Yakuwa yalonda Bezaaleeri ng’omuweesi era omuzimbi omukulu owa weema, n’asuubiza ‘okumujjuza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola.’ (Kuv. 31:3-5) Abasajja ‘abaalina emitima egy’amagezi’ baayamba Bezaaleeri n’omumyuka we Okoliyaabu okukola omulimu ogwo omukulu. Ate era, omwoyo gwa Yakuwa gwaleetera abantu abaalina omutima ogukkiriza okuwaayo ebyetaagisa mu bungi okuwagira omulimu guno. (Kuv. 31:6; 35:5, 30-34) Omwoyo gwe gumu ogwo guleetera abaweereza ba Katonda leero okukola kyonna kye basobola okuwagira Obwakabaka. (Mat. 6:33) Tuyinza okuba n’obusobozi obutali bumu, naye twetaaga okusaba Yakuwa atuwe omwoyo omutukuvu okutukulembera bwe tuba ab’okutuukiriza omulimu gwe yatuwa okukola.—Luk. 11:13.
Tyanga Yakuwa ow’Eggye
18, 19. (a) Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gutuyamba kuyiga ki? (b) Kiki ky’oyize ku Simyoni ne Ana?
18 Omwoyo omutukuvu gutuyamba okuyiga okutya Yakuwa era ne tumukuumira mu birowoozo byaffe bulijjo. Abantu ba Katonda ab’edda baagambibwa nti: “Mukama ow’eggye oyo gwe muba mutukuza.” (Is. 8:13, Byington) Bannamukadde ababiri Simyoni ne Anna abaali babeera mu Yerusaalemi mu kyasa ekyasooka baali batya Katonda. (Soma Lukka 2:25-38.) Simyoni yali akkiririza mu bunnabbi obukwata ku Masiya era yali “alindirira okusanyusibwa kwa Isiraeri.” Katonda yawa Simyoni omwoyo omutukuvu n’amukakasa nti yali ajja kulaba ku Masiya. Era bwe kityo bwe kyali. Lumu mu mwaka 2 B.C.E., bazadde ba Yesu, Malyamu ne Yusufu, baamuleeta mu yeekaalu. Omwoyo omutukuvu gwaleetera Simyoni okwogera obunnabbi obukwata ku Masiya n’okugamba nti Malyamu yandirabye ennaku, era kino kyamutuukako Yesu bwe yattibwa ku muti gw’okubonaabona. Naye lowooza ku ssanyu eppitirivu Simyoni lye yawulira bwe yawambaatira “Kristo wa Mukama”! Era Simyoni nga yateerawo abaweereza ba Katonda leero ekyokulabirako ekirungi!
19 Nnamwandu Ana ow’emyaka 84 ‘teyavanga mu yeekaalu.’ Yaweerezanga Yakuwa emisana n’ekiro “n’okusiibanga n’okwegayiriranga.” Ana naye yaliwo Yesu bwe yaletebwa mu yeekaalu ng’akyali muwere. Nga yasanyuka nnyo okulaba oyo eyandifuuse Masiya! Era ‘yeebaza Katonda, n’abuulira ebigambo bye eri bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.’ Ana yali tasobola kusirikira mawulire gano amalungi! Okufaananako Simyoni ne Ana, bannamukadde Abakristaayo leero basanyufu nnyo nti omuntu ne bw’aba mukadde atya, asobola okuweereza Yakuwa ng’Omujulirwa we.
20. Ka tube ba myaka emeka, kiki kye tulina okukola, era lwaki?
20 Ka tube ba myaka emeka, tulina okukuumira Yakuwa mu birowoozo byaffe. Olwo no ajja kutuwa emikisa bwe tufuba okubuulira abalala ebikwata ku bufuzi bwe n’ebikolwa bye eby’ekitalo. (Zab. 71:17, 18; 145:10-13) Kyokka bwe tuba ab’okuweesa Yakuwa ekitiibwa, tuteekwa okwoleka engeri ze. Tuyiga ki ku ngeri ze bwe twekeneenya ebirala ebiri mu Baibuli?
Wandizzeemu Otya?
• Tumanya tutya nti Yakuwa awuliriza okusaba kwaffe?
• Lwaki tusaanidde okugondera Katonda mu bujjuvu?
• Ne bwe tuba abennyamivu, lwaki tusaanidde okwesiga Yakuwa bulijjo?
• Omwoyo gwa Katonda omutukuvu guyamba gutya abantu be?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Yakuwa yaddamu okusaba kwa Nekkemiya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Okujjukira emikisa Nawomi gye yafuna kijja kutuyamba okwesiga Yakuwa