Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
NOOVEMBA 6-12
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 13-14
“Omuntu bw’Afa, Asobola Okuddamu Okuba Omulamu?”
w99-E 10/15 lup. 3 ¶1-3
Ebintu Abantu Bye Bakoze olw’Okwagala Okuwangaala
LEERO, batono nnyo abasobola okuwakanya eky’okuba nti obulamu bumpi, wadde ekyo kyawandiikibwa mu Bayibuli emyaka nga 3,500 emabega. Abantu kibayisa bubi okubeerawo ekiseera kitono ne bakaddiwa era ne bafa. Eyo ye nsonga lwaki bagezezaako enkola eziwerako okuwanvuya ku kiseera omuntu ky’amala nga mulamu.
Mu kiseera kya Yobu, abantu baalyanga enjagi z’ensolo (testicles) nga baagala okuddayo nga bwe baali mu buvuka. Mu biseera eby’edda, ekimu ku bigendererwa ebikulu eby’okusoma essomo lya ssayansi kwali kuzuula ddagala erisobozesa omuntu okuwangaala. Edda bannassaayansi bangi baali bakkiriza nti zzaabu abantu gwe beekoledde asobola okuleetera omuntu obutafa era nti n’okuliira ku masowaani aga zzaabu kiwangaaza omuntu. Edda abantu b’enzikiriza emu mu China baali bakkiriza nti basobola okukyusa enkola y’omubiri nga bakozesa ebintu gamba ng’okufumiitiiriza, okussa, n’ekika ky’emmere omuntu gy’alya, omuntu n’asobola okubeerawo nga tafa.
Omuvumbuzi omu eyali ayitibwa Juan Ponce de León okuva mu Spain amanyiddwa ng’omuntu eyanoonya ensulo y’amazzi agasobola okuzza omuntu obuto. Omusawo omu eyaliwo mu kyasa eky’e 18 yawandiika mu kitabo kye ekiyitibwa Hermippus Redivivus nti singa abawala abato bateekebwa mu kasenge akafunda ne babeeramu mu kiseera eky’ebbugumu, omukka gwe bassa ne gukuŋŋaanyizibwa mu cuppa gusobola okukozesebwa ng’eddagala erireetera omuntu okuwangaala. Kyokka ekituufu kiri nti enkola ezo zonna teziyambye.
Omuti Bwe Gutemebwa Gusobola Okuloka?
OMUTI gw’omuzeyituuni ogukuze ennyo era ogwatemebwako amatabi guyinza obutakusikiriza bw’ogugeraageranya ku muti gw’entolokyo omunene ogw’omu Lebanooni. Naye emizeyituuni gye gimu ku miti egisobola okugumira embeera enzibu ennyo. Kigambibwa nti emizeyituuni egimu gimaze emyaka nga 1,000 nga weegiri. Olw’okuba omuzeyituuni guba n’emirandira emiwanvu ennyo, gusobola okuloka ne bwe guba gutemeddwa kasita emirandira gyagwo gisigala nga miramu.
Omuweereza wa Yakuwa Yobu yali mukakafu nti ne bwe yandifudde, yandizzeemu okuba omulamu. (Yob. 14:13-15) Yakozesa ekyokulabirako ky’omuti, oboolyawo ogw’omuzeyituuni, okulaga nti Katonda asobola okumuzuukiza. Yobu yagamba nti: “Bwe batema omuti wabaawo essuubi nti guliroka.” Enkuba bw’ettonnya oluvannyuma lw’ekyeya ekiwanvu, ekikolo ky’omuzeyituuni ekiba kikaze kisobola okuloka, ng’endokwa zimera okuva ku mirandira gyakyo ng’ekimera ekiggya era ne zissaako amatabi.—Yob. 14:7-9.
“Olyagala Nnyo”
Ebigambo bya Yobu birina kye bituyigiriza ku Yakuwa; Alina enkolagana ey’oku lusegere n’abantu abalinga Yobu, abeeteeka mu mikono gye ne bakkiriza ababumbe basobole okusiimibwa mu maaso ge. (Isaaya 64:8) Yakuwa atwala abaweereza be abeesigwa nga ba muwendo. Abantu abeesigwa abaafa ‘ayagala nnyo’ oba ayaayaana okubazuukiza. Omwekenneenya omu agamba nti: “Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa okuyaayaana kye kimu ku bigambo ebisingayo okwoleka enneewulira omuntu gy’aba nayo ng’ayagala okukola ekintu.” Yee, Yakuwa takoma ku kujjukira bujjukizi baweereza be abaafa, wabula ayagala nnyo okubazuukiza.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 191
Evvu
Evvu nalyo lyakozesebwanga okukiikirira ekintu ekitalina mugaso. Ng’ekyokulabirako, Ibulayimu bwe yali ayogera ne Yakuwa yagamba nti: “Ndi nfuufu era vvu.” (Olubereberye 18:27; laba ne Isaaya 44:20; Yobu 30:19.) Ate era n’ebigambo abo abaali beeyita mikwano gya Yobu bye baayogera, Yobu yabigeraageranya ku ‘ngero eziringa evvu.’—Yobu 13:12.
NOOVEMBA 13-19
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 15-17
“Tetusaanidde Kukoppa Ngeri Erifaazi Gye Yabudaabudamu”
w05-E 9/15 lup. 26 ¶4-5
Weewale Endowooza Enkyamu!
Ku mirundi esatu gyonna Erifaazi gye yayogera, yalaga nti Katonda abaweereza be abasuubiramu ebintu bingi era nti tebasobola kumusanyusa. Erifaazi yagamba Yobu nti Katonda “teyeesiga baweereza be, ne bamalayika be abanoonyaamu ensobi.” (Yobu 4:18) Oluvannyuma Erifaazi yagamba nti: Katonda “teyeesiga batukuvu be, era n’eggulu si ddongoofu mu maaso ge.” (Yobu 15:15) Ate era yabuuza Yobu nti: “Omuyinza w’Ebintu Byonna kimusanyusa olw’okuba oli mutuukirivu?” (Yobu 22:3) Birudaadi naye yasemba endowooza Erifaazi gye yalina, bwe yagamba nti: ‘Gy’ali omwezi tegwaka, era n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.’—Yobu 25:5.
Tusaanidde okwegendereza tuleme kutwalirizibwa ndowooza ng’eyo. Ekyo kiyinza okutuleetera okulowooza nti Katonda by’atwetaagisa okukola bingi era nti tetusobola kubituukiriza. Bwe tuba n’endowooza ng’eyo, kyonoona enkolagana yaffe ne Yakuwa. Ate era kiyinza okutuleetera obutakolera ku kukangavvula okutuweereddwa ‘ne tusunguwalira Yakuwa’ era ne tumusibira ekiruyi. Engero 19:3) Ekyo nga kiba kibi nnyo!
Yoleka Obwetoowaze n’Obusaasizi nga Yesu Bwe Yakola
16 Ebigambo byaffe. Obusaasizi bujja kutuleetera “okubudaabuda abennyamivu.” (1 Bas. 5:14) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuzzaamu abantu ng’abo amaanyi? Tusobola okubagamba nti tubaagala nnyo era nti ba muwendo nnyo gye tuli. Tusobola okubasiima olw’engeri ennungi ze balina n’obusobozi bwe balina. Tusobola okubayamba okukijjukira nti Yakuwa ye yabaleeta eri Omwana we, ekiraga nti ba muwendo nnyo mu maaso ge. (Yok. 6:44) Tusobola okubakakasa nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be “abalina omutima ogumenyese.” (Zab. 34:18) Ebigambo eby’ekisa bye twogera biyinza okuzzaamu amaanyi abo ababa beetaaga okubudaabudibwa.—Nge. 16:24.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu
7:9, 10; 10:21; 16:22—Ebigambo bino biraga nti Yobu yali takkiririza mu kuzuukira? Ebigambo bya Yobu ebyo byali bikwata ku biseera bye eby’omu maaso. Kati olwo kiki kye yali ategeeza? Oboolyawo yali ategeeza nti bwe yandifudde tewali n’omu ku mikwano gye yandizzeeyo kumulaba. Ate era Yobu ayinza okuba nga yali ategeeza nti tewali n’omu asobola kweggya magombe. Ekyo kiraga nti Yobu yali akkiririza mu kuzuukira ng’ebigambo bye ebiri mu Yobu 14:13-15 bwe biraga.
NOOVEMBA 20-26
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 18-19
“Toyabuliranga Bakkiriza Banno”
Bye Tuyigira ku Maziga Yesu Ge Yakaaba
9 Osobola okubudaabuda abo ababa bafiiriddwa. Yesu teyakoma bukomi ku kukaabira wamu ne Maliyamu ne Maliza, naye era yabawuliriza era n’ayogera ebigambo ebyabazzaamu amaanyi. Naffe tusobola okukola kye kimu. Omukadde omu ayitibwa Dan, abeera mu Australia agamba nti: “Oluvannyuma lw’okufiirwa mukyala wange, nnali nneetaaga nnyo okubudaabudibwa. Ab’oluganda abawerako ne bakyala baabwe bajjanga okumbudaabuda buli lunaku, era bampulirizanga. Bandeka ne nkaaba, era okukaaba kwange tekwabaleetera kuwulira nsonyi. Ate era bannyambako ku mirimu gye nnali mpulira nga sisobola kukola mu kiseera ekyo, gamba ng’okunjoleza ku mmotoka, okungulira ku bintu, okufumba, n’emirimu emirala. Ate era baasabira wamu nange. Mazima ddala baakiraga nti baali mikwano gya nnamaddala era baafuuka baganda bange ‘mu biro eby’okulaba ennaku.’”—Nge. 17:17.
Omuntu gw’Oyagala Ennyo bw’Ava ku Yakuwa
16 Weeyongere okuyamba bakkiriza banno abalina omuntu waabwe eyagobebwa mu kibiina. Beetaaga nnyo okuzzibwamu amaanyi n’okulagibwa okwagala. (Beb. 10:24, 25) Oluusi abo abalina omuntu waabwe eyagobebwa mu kibiina bawulira nti baboolebwa mu kibiina. Ekyo tokiganya kubaawo! Naddala abaana abalina bazadde baabwe abaagobebwa mu kibiina beetaaga okusiimibwa ennyo n’okuzzibwamu amaanyi. Maria, alina omwami we eyagobebwa mu kibiina era eyalekawo amaka ge, agamba nti: “Abamu ku mikwano gyange bajjanga awaka ne batufumbira emmere, era ne bannyambako nga njigiriza abaana bange Bayibuli. Baalumirwa wamu nange era baakaabira wamu nange. Abalala bwe baali banjogerako eby’obulimba, bampolereza. Mazima ddala banzizaamu nnyo amaanyi!”—Bar. 12:13, 15.
w90-E 9/1 lup. 22 ¶20
Oluubirira Enkizo?
20 Akakiiko k’abakadde kasaanidde okukimanya nti omuntu bw’alekera awo okuweereza ng’omukadde oba ng’omuweereza kiyinza okumuyisa obubi, ne bwe kiba nti y’aba yeesaliddewo okuleekera awo. Ow’oluganda oyo bw’aba teyagobebwa mu kibiina, abakadde ne bakiraba nti mwenyamivu, basaanidde okumuzzaamu amaanyi. (1 Abassessalonika 5:14) Basaanidde okumukakasa nti wa mugaso eri ekibiina. Wadde ng’okuwabulwa okwo ow’oluganda oyo yali akwetaaga, bw’aba omwetoowaze era ng’asiima, kiyinza obutamutwalira bbanga ddene okuddamu okufuna enkizo mu kibiina.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w94-E 10/1 lup. 32
Ebigambo eby’Ekisa Birina Amaanyi
Wadde nga Yobu yali yeetaaga okuzzibwamu amaanyi, Erifaazi ne banne ebigambo bye baamugamba tebyali bya kisa. Abasajja abo baagamba nti Yobu yali abonaabona olw’okuba alina ebibi bye yakola. (Yobu 4:8) Ekitabo ekimu ekinyonnyola Bayibuli kigamba nti: “Yobu kye yeetaaga kwe kulagibwa obusaasizi, naye mu kifo ky’ekyo ebigambo bye bamugamba bimumalamu bumazi maanyi.” Ebigambo Erifaazi ne banne bye baagamba Yobu byamuleetera ennaku ey’amaanyi n’atuuka n’okugamba nti: “Munaatuusa wa okunnyiiza, nga mummenyaamenya n’ebigambo byammwe?”—Yobu 19:2.
Tetusaanidde kunakuwaza mukkiriza munnaffe olw’okwogera ebigambo nga tetusoose kulowooza oba okwogera ebigambo ebitali bya kisa. (Geraageranya Ekyamateeka 24:15.) Bayibuli egamba nti: “Olulimi lulina obuyinza ku kufa n’obulamu; abo abaagala okulukozesa bajja kulya ebibala byalwo.”—Engero 18:21.
Buulira n’Obunyiikivu
Yamba Omuyizi Wo Okufuna Emikwano mu Kibiina
10 Abasomesa balina okufaayo ku bayizi baabwe. Abayizi bo batwale ng’abajja okufuuka baganda bo ne bannyoko. (Soma 1 Abassessalonika 2:7, 8.) Tekiba kyangu gye bali okulekayo emikwano gye balina mu nsi n’okukola enkyukakyuka zonna ezeetaagisa okusobola okuweereza Yakuwa. Tusaanidde okubayamba okufuna emikwano egya nnamaddala mu kibiina. Beera mukwano gw’omuyizi wo ng’ofunayo ekiseera okumukyalirako mu nnaku endala ezitali za kumuyigiririzaako. Okumukubira essimu, okumuweereza mesegi, oba okumukyalirako mu nnaku endala ezitali ezo z’omuyigiririzaako kiraga nti omufaako.
11 Kigambibwa nti: “Omwana akuzibwa ekyalo kyonna.” Naffe tuyinza okugamba nti: “Omuntu okufuuka omuyigirizwa ayigirizibwa ekibiina kyonna.” Eyo ye nsonga lwaki abasomesa abalungi bayamba abayizi baabwe aba Bayibuli okumanya abantu abalala mu kibiina abasobola okubayamba. Ekyo kiyamba omuyizi okunyumirwa okubeera awamu n’abantu ba Katonda abasobola okumuyamba mu by’omwoyo n’okumuzzaamu amaanyi. Twagala buli muyizi awulire nti naye wa mu kibiina era nti alina baganda be ab’eby’omwoyo. Twagala abayizi baffe baagale okubeera mu luganda lwaffe olw’ensi yonna. Ekyo kijja kubanguyira okwekutula ku bantu abatasobola kubayamba kwagala Yakuwa. (Nge. 13:20) Singa ababadde mikwano gy’omuyizi bamukyawa, aba akimanyi nti asobola okufuna emikwano egya nnamaddala mu kibiina kya Yakuwa.—Mak. 10:29, 30; 1 Peet. 4:4.
NOOVEMBA 27–DDESEMBA 3
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 20-21
“Tekitwetaagisa Kuba Bagagga Okusobola Okuba Abatuukirivu”
Oli ‘Mugagga mu Maaso ga Katonda’?
12 Ebigambo bya Yesu biraga nti tetusobola kuba bagagga eri Katonda nga tululunkanira ebintu. N’olwekyo, Yesu yali ategeeza nti okwetuumako eby’obugagga si kye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe. Mu kifo ky’ekyo, twandikozesezza ebyo bye tulina okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Awatali kubuusabuusa, bwe tunaakola bwe tutyo tujja kuba bagagga mu maaso ga Katonda. Lwaki? Kubanga ajja kutuwa emikisa mingi. Bayibuli egamba nti: “Omukisa gwa Yakuwa gwe gugaggawaza, era tagugattako bulumi.”—Engero 10:22.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w95-E 1/1 lup. 9 ¶19
Ziyiza Sitaani n’Ebikolwa Bye
19 Omuweereza wa Katonda Yobu ‘yatawaanyizibwa mu birowoozo’ olw’ebigambo Sitaani bye yaleetera Erifaazi ne Zofali okwogera. (Yobu 4:13-18; 20:2, 3) Ekyo kyaleetera Yobu “obulumi” ku mutima n’atuuka n’okwogera ebigambo “ebitaliimu nsa” ‘olw’entiisa’ eyali emubuutikidde. (Yobu 6:2-4; 30:15, 16) Eriku yawuliriza bulungi Yobu era n’amuyamba okulaba endowooza ya Yakuwa ku mbeera gye yali ayitamu. Okufaananako Eriku, abakadde bafaayo ku abo abalina ennaku ku mutima era beewala okwogera oba okukola ebintu ebiyinza okwongera ‘okuzitowereza’ abo abali mu nnaku. Mu kifo ky’ekyo, bakoppa Eriku nga bawuliriza bulungi abo abali mu nnaku era nga bababudaabuda nga bakozesa ekigambo kya Katonda. (Yobu 33:1-3, 7; Yakobo 5:13-15) Mu ngeri eyo ne kiba nti oyo yenna atawanyizibwa ‘okwolesebwa n’ebirooto eby’entiisa’ nga Yobu, afuna okubudaabudibwa okuva mu byawandiikibwa.—Yobu 7:14; Yakobo 4:7.
Buulira n’Obunyiikivu
g-E 5/09 lup. 12-13
Katonda Ayagala Ogaggawale?
“Katonda antuusizza ku lunaku luno! Ŋŋenda kukwata bukadde bwa nsimbi!”
“Nina ebintu bingi bye njagala okutuukako mu bulamu, era nja kubituukako.”
“Katonda atusobozesa okufuna obugagga.”
“Ebintu biŋŋendera bulungi olwa Bayibuli.”
Ebigambo ebyo biraga endowooza bannaddiini bangi gye balina. Balowooza nti emikisa Katonda gy’agaba gyeyolekera ku bya bugagga. Bagamba abantu nti bw’okola ebintu ebirungi, Katonda akuwa obugagga mu kiseera kino, era nti ne mu biseera eby’omu maaso aba ajja kukuwa empeera. Abantu baagala nnyo endowooza eyo era n’ebitabo omuli endowooza eyo bya ttunzi. Naye ddala endowooza eyo etuukana n’ekyo Bayibuli ky’eyigiriza?
Omutonzi waffe Bayibuli emuyita “Katonda omusanyufu,” era ayagala tubeere mu bulamu obulungi. (1 Timoseewo 1:11; Zabbuli 1:1-3) Ate era, awa emikisa abo abakola by’ayagala. (Engero 10:22) Naye emikisa Katonda gy’awa abo abakola by’ayagala gyeyolekera mu bya bugagga? Tusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo bwe tumanya ekiseera kye tulimu mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa.
Ddala Ekiseera Kye Tulimu kya Kugaggawala?
Edda, Yakuwa Katonda yaleetera abamu ku baweereza be okugaggawala, gamba nga Yobu ne Kabaka Sulemaani. (1 Bassekabaka 10:23; Yobu 42:12) Kyokka, waliwo n’abaweereza ba Yakuwa abalala abaali abaavu, gamba nga Yokaana Omubatiza ne Yesu Kristo. (Makko 1:6; Lukka 9:58) Ekyo kituyigiriza ki? Nga Bayibuli bw’eraga, Katonda akolagana n’abaweereza be mu ngeri etuukana n’ekigendererwa kye okusinziira ku kiseera kye baba balimu. (Omubuulizi 3:1) Ekyo kitukwatako kitya leero?
Bayibuli eraga nti tuli mu kiseera ‘eky’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu,’ oba mu “nnaku ez’enkomerero.” Ate era eraga nti mu nnaku zino ez’enkomerero wandibaddewo entalo, endwadde, enjala, musisi, n’okwonooneka kw’empisa—era nga ebintu ebyo byatandika okubaawo ku kigero ekitabangawo okuviira ddala mu mwaka gwa 1914. (Matayo 24:3; 2 Timoseewo 3:1-5; Lukka 21:10, 11; Okubikkulirwa 6:3-8) Ensi eno eringa emmeeri ejjudde amazzi eri okumpi okubbira! Kati olwo kyandibadde kya magezi Katonda okugaggawaza buli omu ku baweereza be mu kiseera kino, oba waliwo ebintu ebirala by’atwala nga bikulu?
Ekiseera kye tulimu Yesu yakigeraageranya ku nnaku za Nuuwa. Yagamba nti: “Kubanga mu nnaku ezo ng’Amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, era ne batafaayo okutuusa Amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna. N’okubeerawo kw’Omwana w’omuntu bwe kutyo bwe kuliba.” (Matayo 24:37-39) Ate era ekiseera kye tulimu Yesu yakigeraageranya ku nnaku za Lutti. Mu kiseera kya Lutti, abantu baali ‘balya, nga banywa, nga batunda, nga bagula, nga basimba, era nga bazimba.’ “Naye ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu, omuliro n’amayinja agookya byatonnya okuva mu ggulu, ne bibazikiriza bonna.” Yesu era yagattako nti: “Bwe kityo bwe kiriba ku lunaku Omwana w’omuntu lw’alirabisibwa.”—Lukka 17:28-30.
Ekituufu kiri nti si kibi okulya, okunywa, okuwasa, okugula n’okutunda. Ekibi kwe kwemalira ku bintu ebyo ne twerabira obukulu bw’ebiseera bye tulimu. N’olwekyo weebuuze, ‘Ddala Katonda bw’atuyamba okufuna ebituwugula aba atuyambye?’ Kya lwatu aba tatuyambye. Ekyo Katonda ow’okwagala tasobola kukikola!—1 Timoseewo 6:17; 1 Yokaana 4:8.
Ekiseera Kye Tulimu kya Kuwonyawo Bulamu!
Mu kiseera kino ekizibu ennyo bye tulimu, Abantu ba Katonda balina omulimu gwe basaanidde okukola mu bwangu. Yesu yagamba nti: “N’amawulire gano amalungi ag’Obwakabaka galibuulirwa mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n’eryoka ejja.” (Matayo 24:14) Ebigambo ebyo Abajulirwa ba Yakuwa babitwala nga bikulu nnyo. N’olwekyo bayamba abantu okuyiga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda n’ekyo kye basaanidde okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo.—Yokaana 17:3.
Kyokka Katonda tayagala baweereza be babeere mu bulamu bwa kwerumya. Mu kifo ky’ekyo, ayagala babe bamativu n’ebyo bye balina basobole okukulembeza okukola by’ayagala mu bulamu bwabwe. (Matayo 6:33) Bwe bakola bwe batyo, ajja kukola ku byetaago byabwe eby’omubiri. Abebbulaniya 13:5 wagamba nti: “Temubeeranga na mpisa ya kwagala ssente, naye mubeerenga bamativu ne bye mulina. Kubanga [Katonda] yagamba nti: ‘Sirikuleka n’akatono era sirikwabulira.’”
Katonda ajja kutuukiriza ebigambo ebyo ku kigero ekisingawo bw’anaawonyawo “ekibiina ekinene” eky’abaweereza be abeesigwa ne batuuka mu nsi empya etaliimu kubonaabona. (Okubikkulirwa 7:9, 14) Yesu yagamba nti: ‘Nze nnajja basobole [abaweereza ba Katonda abeesigwa] okufuna obulamu era babufune mu bujjuvu.’ (Yokaana 10:10) Ebigambo ‘obulamu mu bujjuvu’ tebitegeeza kuba na bya bugagga bingi mu kiseera kino, wabula bitegeeza obulamu obutaggwaawo bwe tuliba nabwo mu nsi empya, ng’Obwakabaka bwa Katonda bufuga mu bujjuvu.—Lukka 23:43.
Tobuzaabuzibwa ndowooza abantu gye balina ku kugaggawala. Mu kifo ky’ekyo, kolera ku bigambo bya Yesu bino: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya n’okunywa n’okweraliikirira eby’obulamu, olunaku olwo ne lubagwako bugwi ng’ekyambika.”—Lukka 21:34, 35.
Obulamu bw’Ekikristaayo
g-E 9/15 lup. 6
SSENTE OZITWALA OTYA?
Okwekebera kiyinza okukuyamba okulaba oba nga olina endowooza ennuŋŋamu ku ssente. Ng’ekyokulabirako, weebuuuze ebibuuzo bino.
◻ Nsikirizibwa enkola abantu ze beenyigiramu olw’okwagala okugaggawala amangu?
◻ Bwe kituuka ku ssente, ndi mugabi?
◻ Njagala nnyo okukola omukwano n’abo aboogera ku ssente n’ebintu bye balina?
◻ Nnimba oba nkola ebintu ebirala ebitali bya bwesigwa nsobole okufuna ssente?
◻ Ssente zindeetera okuwulira nti ndi wa kitalo?
◻ Buli kiseera mba ndowooza ku ssente?
◻ Engeri gye ntwalamu ssente ekosa obulamu bwange n’obw’ab’omu maka gange?
◻ Bwe kiba nti waliwo ebimu ku bibuuzo ebyo by’ozzeemu nti yee, fuba okweggyamu omwoyo gw’okwagala ebintu. Weewale okukola omukwano n’abantu abakulembeza ssente n’ebintu mu bulamu bwabwe. Mu kifo ky’ekyo, kola omukwano n’abantu abakulembeza emitindo gya Katonda mu bulamu bwabwe.
◻ Tokkiriza mwoyo gwa kwagala ssente kusimba makanda mu mutima gwo. Mu kifo ky’ekyo, ssente zikuumire mu kifo ky’azo. Faayo ku mikwano gyo, ab’omu maka go, ne ku bulamu bwo. Bw’onookola bw’otyo, kijja kulaga nti olina endowooza ennuŋŋamu ku ssente.
Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
1 EBINTU omuntu bye yeetaaga bitono naye by’ayagala bingi nnyo. Bangi tebamanyi njawulo eriwo wakati w’ebintu omuntu bye yeetaaga n’ebyo by’ayagala. Njawulo ki eriwo wakati w’ebintu bye twetaaga ne bye twagala? Ebintu bye “twetaaga” by’ebyo bye tulina okuba nabyo okusobola okuba abalamu. Bizingiramu, emmere, eby’okwambala, n’aw’okusula. Ebintu bye “twagala” by’ebyo bye twandyagadde okuba nabyo naye nga tusobola okubaawo nga tetubirina.
2 Ebintu abantu bye baagala byawukana okusinziira ku kitundu gye babeera. Ng’ekyokulabirako, mu nsi ezikyakula abantu bangi baagala okufuna ssente basobole okugula essimu, ppikipiki, oba poloti. Mu nsi ezaakula edda, bangi batera okwagala okugula engoye ez’ebbeeyi, ennyumba ennene, oba emmotoka ey’ebbeeyi. Abantu ka babe nga babeera mu kitundu ki, kyangu okugwa mu katego ak’okwagala ebintu, ka babe nga babyetaaga oba nedda, oba nga basobola okubigula oba nedda.
BWE TUFUBA, YAKUWA ATUWA EMIKISA
17 Yakuwa asuubiza okutuwa bye twetaaga singa tukulembeza Obwakabaka n’obutuukirivu bwe mu bulamu bwaffe. (Mat. 6:33) N’olwekyo, buli Mukristaayo alina okwesalirawo kiki ky’ayagala okukulembeza mu bulamu bwe. Embeera ne bw’eba nzibu etya, tusobola okunywerera ku misingi gya Bayibuli. Yakuwa asuubiza okutuwa “obuddukiro.” (Soma 1 Abakkolinso 10:13.) Bwe ‘tulindirira Yakuwa n’obugumiikiriza’ era ne tukiraga nti ‘tumwesiga’ nga tumusaba atuwe amagezi n’obulagirizi, ajja kutuyamba. (Zab. 37:5, 7) Yakuwa ajja kutuyamba okusigala nga tumuweereza n’obwesigwa. Bwe tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, ajja kutuwa “omukisa.”—Geraageranya Olubereberye 39:3.
DDESEMBA 4-10
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 22-24
“Omuntu Asobola Okuba ow’Omugaso eri Katonda?”
w05-E 9/15 lup. 27 ¶1-3
Weewale Endowooza Enkyamu!
Ebigambo Erifaazi bye yayogera tebikoma ku kulaga nti abantu tebasobola kusanyusa Katonda, naye era biraga nti tebalina mugaso gwonna mu maaso ge. Mu bigambo bye yayogera ku mulundi ogw’okusatu Erifaazi yabuuza nti: “Omuntu asobola okuba ow’omugaso eri Katonda? Omuntu yenna ow’amagezi alina ky’amugasa?” (Yobu 22:2) Mu kwogera ebigambo ebyo, Erifaazi yalaga nti abantu Katonda tabatwala nti ba mugaso. Mu ngeri y’emu, Birudaadi naye yagamba nti: “Omuntu obuntu ayinza atya okuba omutuukirivu mu maaso ga Katonda, oba omuntu azaalibwa omukazi ayinza atya obutabaako musango?” (Yobu 25:4) Okusinziira ku bigambo ebyo, olowooza Yobu omuntu obuntu kyandimubeeredde kyangu okukikkiriza nti asobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda?
Embeera omuntu gy’aba yakuliramu, ebizibu abantu bye boolekagana nabyo, oba okukyayibwa olwa langi oba eggwanga, bireetedde abamu okwetwala nti si ba mugaso. Sitaani ne badayimooni baagala nnyo okumalamu abantu amaanyi. Bakimanyi nti bwe baleetera omuntu okulowooza nti tasobola kusanyusa Katonda, asobola okuggwaamu amaanyi era oluvannyuma lw’ekiseera n’ava ku Katonda.—Abebbulaniya 2:1; 3:12.
Bwe tukaddiwa oba bwe tulwala, ebintu ebimu tuba tetukyasobola kubikola. Bye tukola kati mu buweereza bwaffe eri Yakuwa biyinza okulabika ng’ebitono bw’obigeraageranya ku ebyo bye twakolanga edda nga tukyali bato, nga tuli balamu bulungi, era nga tukyalina amaanyi. Kikulu okukijjukiranga nti Sitaani ne badayimooni baagala tulowooze nti bye tukola Katonda tabisiima! Tusaanidde okwewala endowooza ng’eyo.
w95-E 2/15 lup. 27 ¶6
Kye Tuyiga ku Ngeri y’Okugonjoolamu Ebizibu
Mikwano gya Yobu abasatu beeyongera okumumalamu amaanyi bwe baayogera naye nga basinziira ku ndowooza yaabwe mu kifo ky’okumulaga endowooza ya Katonda. Erifaazi yatuuka n’okugamba nti Katonda “teyeesiga baweereza be” era nti Katonda kyali tekimukwatako oba Yobu akuuma obwesigwa bwe oba nedda. (Yobu 4:18; 22:2, 3) Ebigambo ebyo nga byali bimalamu nnyo amaanyi! Tekyewuunyisa nti Yakuwa yanenya Erifaazi ne banne. Yabagamba nti: “Temunjogeddeeko bituufu ng’omuweereza wange Yobu.” (Yobu 42:7) Kyokka Erifaazi teyakoma awo.
Abavubuka Abasanyusa Omutima gwa Yakuwa
10 Nga bwe kiragibwa mu Bayibuli, Sitaani teyabuusabuusa bwesigwa bwa Yobu yekka, naye era abuusaabuusa n’obwesigwa bw’abaweereza ba Katonda bonna, nga naawe mw’oli. Ng’ayogera ku bantu bonna, Sitaani yagamba Yakuwa nti: “Omuntu [si Yobu yekka, wabula buli muntu] anaawaayo byonna by’alina olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Naawe ensonga eyo enkulu ekukwatako. Nga bwe kiragibwa mu Engero 27:11, Yakuwa alaga nti waliwo ky’oyinza okukola n’omuwa ky’asinziirako okuddamu Sitaani, oyo amusoomooza. Kirowoozeeko, Omufuzi w’Obutonde Bwonna ayagala obeeko ky’okolawo mu kuddamu ensonga enkulu ebaddewo okumala ebbanga ddene. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo! Osobola okukola ekyo Yakuwa ky’akusaba? Yobu yakikola. (Yobu 2:9, 10) Ate era Yesu yakikola, awamu n’abantu abalala bangi nga mw’otwalidde n’abavubuka. (Abafiripi 2:8; Okubikkulirwa 6:9) Naawe osobola okukola ekintu kye kimu. Naye kimanye nti osaanidde okubaako n’oludda lw’ogwaako. Osobola okulaga oludda lw’oliko okusinziira ku ngeri gye weeyisaamu. Kiki ky’onookola?
Yakuwa Akufaako!
11 Ekyo ky’osalawo, Yakuwa akitwala nga kikulu. Waliwo abantu abasigadde nga beesigwa eri Yakuwa? Omulyolyomi yagamba nti tewali muntu n’omu aweereza Yakuwa olw’okuba amwagala. Kyokka ekyo kye yayogera kyeraze lwatu nti kikyamu. Wadde kiri kityo, Yakuwa akufaako nnyo era ayagala obeere ku ludda lwe. Yesu yagamba nti: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”—Matayo 18:14.
12 Ekyo ky’oba osazeewo okukola Yakuwa akitwala nga kikulu, era kisobola okumusanyusa oba okumunyiiza. Bayibuli eraga nti, abantu bwe bakola ebintu ebirungi kimusanyusa, ate bwe bakola ebibi kimunyiiza. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri bwe baajeema enfunda n’enfunda, Yakuwa ‘yanakuwala.’ (Zabbuli 78:40, 41) Mu kiseera kya Nuuwa, ‘ebikolwa ebibi bwe byayitirira mu nsi,’ Yakuwa ‘yanakuwala mu mutima gwe.’ (Olubereberye 6:5, 6) Ekyo kitegeeza ki? Singa weeyisa mu ngeri embi, osobola okuleetera Omutonzi wo okunakuwala. Kyokka ekyo tekitegeeza nti Katonda afugibwa enneewulira, wabula kiraga nti akwagala nnyo era akufaako. Ate ku luuyi olulala, bw’okola ebirungi, kimusanyusa. Ekyo kiri kityo kubanga aba asobola okuddamu Sitaani amusoomooza era aba ajja kukuwa empeera. (Abebbulaniya 11:6) Nga Yakuwa Katonda akwagala nnyo!
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w04 7/15 lup. 21-22
Weeteerewo Ebiruubirirwa eby’eby’Omwoyo Okugulumiza Omutonzi Wo
Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yatondamu ensi. Buli lunaku lwe yamalirizanga okutonda ebintu ebitali bimu, Bayibuli egamba nti: “Ne buwungeera era ne bukya,” ekiraga nti yalambikanga ebintu ebyabanga bimaze okukolebwa. (Olubereberye 1:5, 8, 13, 19, 23, 31) Ku buli ntandikwa y’olunaku olw’okutonda, yalinga amanyi bulungi bye yalina okutonda ku lunaku olwo. Era bw’atyo yatuukiriza ekigendererwa kye yalina eky’okutonda ebintu. (Okubikkulirwa 4:11) Omusajja omwesigwa Yobu yagamba nti: “[Yakuwa] bw’aba alina ky’ayagala okukola, akikola.” (Yobu 23:13) Nga Yakuwa ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo bwe yalaba “byonna bye yali akoze!” Yagamba nti: “Birungi nnyo.”—Olubereberye 1:31.
Naffe okusobola okutuuka ku biruubirirwa bye tuba tweteereddewo, tulina okuba nga twagala nnyo okubituukako. Kiki ekinaatuyamba okwagala ennyo okubituukako? Lowooza ku kino. Ensi ne bwe yali nga yeetabuddetabudde era nga njereere, Yakuwa yali akimanyi nti bwe yandimaze okutonda ebintu, yandibadde erabika bulungi nnyo era yandimuweesezza ekitiibwa n’ettendo. Naffe bwe tulowooza ku birungi ebiyinza okuva mu biruubirirwa bye tuba tweteereddewo, kituyamba okwagala ennyo okutuukiriza ebiruubirirwa ebyo. Ekyo omuvubuka ayitibwa Tony eyali ow’emyaka 19 yakiraba nti kituufu. Yakwatibwako nnyo lwe yasooka okukyalako ku ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi emu ey’omu Bulaaya. Okuva olwo, buli kiseera muli yagambanga nti, ‘Kiteekwa okuba nga kireeta essanyu lingi okubeera mu kifo ng’ekyo n’okukiweererezaamu.’ Tony yeeteerawo ekiruubirirwa eky’okugenda okuweerereza ku ofiisi y’ettabi eyo era n’afuba okulaba ng’akola kyonna ky’asobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo. Oluvannyuma lw’emyaka, yasanyuka nnyo bwe yayitibwa okugenda okuweerera ku ofiisi y’ettabi!
Buulira n’Obunyiikivu
Lwaki Tusaanidde Okuba n’Endowooza Ennuŋŋamu ku Mulimu gw’Okubuulira?
17 Yesu yasigala alina endowooza ennuŋŋamu era yeeyongera okubuulira wadde ng’abamu baali tebaagala kuwuliriza bubaka bwe. Lwaki? Yali akimanyi nti abantu baali beetaaga nnyo okumanya amazima, era yayagala okuwa abantu bangi nga bwe kisoboka akakisa k’okuwulira obubaka bw’Obwakabaka. Ate era yali akimanyi nti abamu ku abo mu kusooka abaali bataagala kuwuliriza oluvannyuma bandiwulirizza. Lowooza ku ekyo ekyaliwo ku baganda be. Mu kiseera eky’emyaka esatu n’ekitundu Yesu kye yamala ng’abuulira, tewali n’omu ku baganda be yafuuka muyigirizwa we. (Yok. 7:5) Naye oluvannyuma lw’okuzuukira kwe baafuuka Bakristaayo.—Bik. 1:14.
18 Tetumanya baani oluvannyuma abanakkiriza amazima ge tuyigiriza. Abantu abamu batwala ekiseera kiwanvu okukkiriza obubaka bwaffe okusinga abalala. N’abo abagaana okuwuliriza obubaka bwaffe balaba empisa zaffe ennungi n’endowooza ennungi gye tulina, era oluvannyuma bayinza okutandika ‘okugulumiza Katonda.’—1 Peet. 2:12.
19 Bwe tuba tusimba era nga tufukirira, tulina okukijjukira nti Katonda y’akuza. (Soma 1 Abakkolinso 3:6, 7.) Ow’oluganda Getahun abeera mu Esiyopiya agamba nti, “Okumala emyaka egisukka mu 20 nze Mujulirwa wa Yakuwa nzekka eyali abeera mu kitundu ekitatera kubuulirwamu. Naye kati mu kitundu kino mulimu ababuulizi 14. Kkumi na basatu ku bo baabatizibwa, nga mw’otwalidde ne mukyala wange n’abaana bange basatu. Okutwaliza awamu mu nkuŋŋaana tubeerawo ng’abantu 32.” Getahun musanyufu okuba nti yeeyongera okubuulira nga bw’alindirira Yakuwa okuleeta abantu ab’emitima emirungi mu kibiina kye!—Yok. 6:44.
20 Obulamu bw’abantu bonna Yakuwa abutwala nga bwa muwendo. Atuwadde enkizo ey’okukolera awamu n’Omwana we okukuŋŋaanya abantu okuva mu mawanga gonna ng’enkomerero tennajja. (Kag. 2:7) Omulimu gw’okubuulira gwe tukola gufaananako n’omulimu ogukolebwa abo abataasa abantu abali mu kabi. Era tuli ng’abantu abasindikiddwa okutaasa abantu ababuutikiddwa ettaka mu kirombe. Wadde ng’abalombe abazuulibwa nga balamu bayinza okuba abatono ennyo, omulimu oguba gukoleddwa abo ababa bataasizza obulamu bwabwe guba mukulu nnyo. Bwe kityo bwe kiri ne ku mulimu gwe tukola ogw’okubuulira. Tetumanyi bantu bameka abakyali mu nsi ya Sitaani abajja okununulibwayo. Kyokka Yakuwa asobola okukozesa omuntu yenna ku ffe okubayamba. Andreas abeera mu Bolivia agamba nti, “Buli lwe wabaawo omuntu ayiga Bayibuli n’abatizibwa nkiraba nti tuba tukoledde wamu okumuyamba.” Naffe ka tufube okuba n’endowooza ng’eyo ennuŋŋamu ku buweereza bwaffe. Bwe tukola tutyo, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era tujja kufuna essanyu lingi mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira.
DDESEMBA 11-17
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 25-27
“Omuntu Atatuukiridde Asobola Okukuuma Obwesigwa”
it-1-E lup. 1210 ¶4
Obugolokofu
Yobu. Kirabika Yobu yaliwo wakati w’ekiseera Yusufu we yafiira n’ekiseera Musa we yabeererawo. Yobu ayogerwako ‘ng’omusajja eyali omwesigwa era nga mugolokofu; eyali atya Katonda, era nga yeewala okukola ebibi.’ (Yobu 1:1; laba YOBU.) Okusomooza Sitaani kwe yaleetawo oba nga Yakuwa y’agwanidde okufuga obutonde bwonna kuzingiramu obugolokofu bw’abantu. Ekyo tukirabira ku kibuuzo Katonda kye yabuuza Sitaani ku bikwata ku bugolokofu bwa Yobu, bamalayika bwe baagenda okweyanjula mu maaso ga Katonda. Sitaani yagamba nti Yobu yali tasinza Katonda olw’okumwagala, wabula yali amusinza olw’ebintu ebirungi bye yali amukolera. Bwe kityo yabuusabuusa obugolokofu bwa Yobu. (Yobu 1:6–2:3) Yakuwa yaleka Sitaani okusaanyawo ebintu bya Yobu era n’atta n’abaana be naye Yobu yasigala akuumye obwesigwa bwe. (Yobu 2:4, 5) Oluvannyuma Sitaani yagamba nti singa Yobu alwala, yandirekedde awo okuba omwesigwa eri Yakuwa. Sitaani yalwaza Yobu obulwadde obwali buluma ennyo mukyala we n’amugamba okwegaana Katonda era ne mikwano gye ne bamugamba ebigambo ebyali bimalamu amaanyi era ebitatuukana na mitindo gya Katonda. (Yobu 2:6-13; 22:1, 5-11) Wadde kyali kityo, Yobu yasigala mwesigwa eri Katonda; era yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange! Nja kukuuma obutuukirivu bwange era siribuleka; omutima gwange tegujja kunvunaana obulamu bwange bwonna.” (Yobu 27:5, 6) Yobu okusigala nga mwesigwa eri Katonda kyalaga nti Sitaani mulimba.
Kuuma Obugolokofu Bwo!
3 Abaweereza ba Katonda booleka batya obugolokofu? Babwoleka nga baagala Yakuwa n’omutima gwabwe gwonna era nga bamwemalirako, ne kiba nti bakulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala mu bulamu bwabwe. Lowooza ku ngeri ekigambo obugolokofu gye kikozesebwamu mu Bayibuli. Mu Bayibuli, ekigambo “obugolokofu” kiyinza okutegeeza ekintu ekijjuvu, ekiramu obulungi, oba ekiramba. Ng’ekyokulabirako, Abayisirayiri baawangayo eri Yakuwa ssaddaaka z’ensolo era okusinziira ku Mateeka ensolo ezo zaalina okuba nga nnamu bulungi. (Leev. 22:21, 22) Abantu ba Katonda baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ebulako wadde okugulu okumu, okutu, oba eriiso; era baali tebakkirizibwa kuwaayo nsolo ndwadde. Yakuwa yali abeetaagisa okuwaayo ensolo ennamu obulungi era nga nnamba. (Mal. 1:6-9) Kyangu okulaba ensonga lwaki Yakuwa ayagala okumuwa ekintu ekiramu obulungi era ekitalina kikibulako. Bwe tuba tulina ekintu kye tugula, ka kibe kibala, kitabo, oba ekintu ekirala kyonna, tetwagala ekyo ekirimu ebituli oba ekirina ekikibulako. Twagala ekintu nga kiri mu bulambalamba bwakyo era nga kiri mu mbeera nnungi. Ne Yakuwa bw’atyo bw’awulira bwe kituuka ku kwagala kwe tulina gy’ali ne ku kuba abeesigwa gy’ali. Okwagala kwaffe n’obwesigwa bwaffe birina okuba nga bijjuvu nga tebibulako.
4 Oluusi n’oluusi tukola ensobi era ekyo kiyinza okutuleetera okuwulira nti tuli boonoonyi nnyo. Naye tulina kuba nga tutuukiridde okusobola okuba abagolokofu? Nedda. Lowooza ku nsonga bbiri lwaki ekyo si bwe kiri. Esooka, Yakuwa tatunoonyaamu nsobi. Bayibuli egamba nti: “Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?” (Zab. 130:3) Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde era nti tuli boonoonyi, era mwetegefu okutusonyiwa. (Zab. 86:5) Ey’okubiri, Yakuwa amanyi obusobozi bwaffe we bukoma era tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe. (Soma Zabbuli 103:12-14.) Kati olwo tuyinza tutya okuba abajjuvu, era abatalina kitubulako mu maaso ge?
5 Ekintu ekikulu ekisobola okuyamba abaweereza ba Yakuwa okuba abagolokofu kwe kwagala. Okwagala kwe tulina eri Katonda kulina okuba nga buli kiseera kujjuvu nga tekulina kikubulako. Okwagala kwe tulina eri Katonda bwe kusigala nga kujjuvu ne bwe tuba nga tugezesebwa, awo tuba bagolokofu. (1 Byom. 28:9; Mat. 22:37) Ddamu olowooze ku Bajulirwa ba Yakuwa abasatu aboogeddwako ku ntandikwa. Lwaki beeyisa bwe batyo? Omuwala oyo tayagala kusanyukirako wamu ne banne ku ssomero, omuvubuka oyo ayagala okujeregebwa muyizi munne ng’agenze ewaabwe okumubuulira, oba ow’oluganda oyo ayagala okufiirwa omulimu gwe? Kya lwatu nedda. Naye bakimanyi nti Yakuwa alina emitindo egy’obutuukirivu, era bamalirivu okukola ekyo ekisanyusa Kitaabwe ow’omu ggulu. Okwagala kwe balina eri Yakuwa kubaleetera okumukulembeza mu ebyo bye basalawo. Mu ngeri eyo bakyoleka nti bagolokofu.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Bayibuli Ebayambye Okukola Ebintu mu Ngeri Entegeke Obulungi
3 Obutonde bulaga nti Katonda wa ntegeka. Bayibuli egamba nti: “Emisingi gy’ensi Yakuwa yagisimbisa magezi. Eggulu yalinyweza na kutegeera.” (Nge. 3:19) Tumanyi “bitono nnyo” ebikwata ku makubo ga Katonda, era “bye tumuwulirako bye bitono ddala.” (Yob. 26:14) Wadde kiri kityo, ebitono bye tumanyi ku ziseŋŋendo, ku mmunyeenye, ne ku bibinja by’emmunyeenye biraga nti Yakuwa yabitegeka bulungi nnyo. (Zab. 8:3, 4) Ebibinja by’emmunyeenye birimu obuwumbi n’obuwumbi bw’emmunyeenye, ezitambula mu ngeri entegeke obulungi. Ziseŋŋendo ezeetooloola enjuba, ziringa ezigoberera amateeka agafuga ebidduka! Mu butuufu, okuba nti obwengula butegekeddwa bulungi bukakafu obulaga nti Yakuwa “yakozesa bukugu okukola eggulu” era nti tusaanidde okumutendereza, okuba abeesigwa gy’ali, n’okumusinza.—Zab. 136:1, 5-9.
DDESEMBA 18-24
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 28-29
“Weekoledde Erinnya Eddungi nga Yobu”
Laga Ekisa eri Abo Abali mu Bwetaavu
19 Ebyawandiikibwa bye tulabye biraga nti kikulu okuyamba abo abali mu bwetaavu. Ibulayimu yali yeetaaga obuyambi bwa Bessweri okusobola okukuuma olunyiriri lw’ezzadde lye. Yusufu yalina okuyambako okutwala omulambo gwa Yakobo mu Kanani. Ate era Nawomi yali yeetaaga obuyambi bwa Luusi okusobola okuzaala omusika. Mu ngeri y’emu naffe tusaanidde okulaga abo abali mu bwetaavu ekisa. (Engero 19:17) Tusaanidde okukoppa Yobu, yayambanga ‘abaavu, abaana abataalina baakitaawe, n’abo abataalina abayamba.’ Yobu era ‘yayambanga bannamwandu,’ era yabanga ‘maaso eri omuzibe n’ebigere eri omulema.’—Yobu 29:12-15.
it-1-E lup. 655 ¶10
Ennyambala
Ebyawandiikibwa ebirala bingi byogera ku kwambala mu ngeri ey’akabonero. Nga yunifoomu bw’esobola okuleetera abalala okumanya ekitongole omuntu mw’akolera oba ekibiina ky’eby’obufuzi ky’alimu, n’okwambala bwe kukozesebwa mu Bayibuli mu ngeri ey’akabonero kuba kulaga oludda omuntu lw’aliko n’ebyo by’akola okuluwagira. Bwe kityo bwe kiri ne ku kyambalo eky’obugole Yesu kye yayogerako mu lugero lwe olw’ekijjulo ky’embaga y’obugole. (Mat. 22:11, 12; laba EKY’OKU MUTWE; ENGATTO.) Mu Okubikkulirwa 16:14, 15, Mukama waffe Yesu Kristo atulabula obuteebaka mu by’omwoyo tuleme kuggibwako kyambalo kyaffe ekitwawulawo ng’abagoberezi ba Yesu abeesigwa. Ekyo kisobola okuba eky’obulabe gye tuli naddala ng’olunaku “olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna” lusembedde.
w09-E 2/1 lup. 15 ¶3-4
Erinnya Lirina Makulu Ki?
Tetusobola kwesalirawo linnya lye banaatutuuma nga tuzaliddwa. Naye tusobola okwesalirawo engeri gye tuneeyisaamu. (Engero 20:11) Weebuuze: ‘Singa Yesu oba abatume baali baakuntuuma linnya, linnya ki lye bandimpadde? Okusinziira ku ngeri ze nina n’engeri gye nneeyisaamu, linnya ki eryandinsaanidde?’
Tusaanidde okulowooza ennyo ku kibuuzo ekyo. Lwaki? Kabaka Sulemaani yagamba nti: “Okulondawo erinnya eddungi kisinga okulondawo eby’obugagga ebingi.” (Engero 22:1) Bwe twekolera erinnya eddungi oba bwe tweyisa obulungi, tuba ba mugaso mu kitundu gye tubeera. N’ekisinga obukulu, bwe twekolera erinnya eddungi ne Katonda tujja kufuna empeera ey’olubeerera. Mu ngeri ki? Katonda yagamba nti ajja kuwandiika amannya g’abo abamutya mu “kitabo eky’okujjukiza” era ajja kubawa obulamu obutaggwaawo.—Malaki 3:16; Okubikkulirwa 3:5; 20:12-15.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
g00-E 7/8 lup. 11 ¶3
Kirungi Okumwenya!
Okumwenya kulina kye kukola ku muntu? Yee. Ojjukira omuntu bwe yakumwenyeza n’owulira bulungi, oba ojjukira lwe watya nga tewali akuteereddeko kamwenyumwenyu? Yee, okumwenya kirina kye kikola ku oyo amwenya ne gwe bamwenyeza. Ng’ayogera ku basajja abaali beeyita mikwano gye, Yobu yagamba nti: “Nnabamwenyezanga, nga tebayinza na kukikkiriza; essanyu lye nnayolekanga ku maaso lyabazzangamu amaanyi.” (Yobu 29:24) Akamwenyumwenyu Yobu ke yateekako kayinza okuba nga kaalaga nti yali musanyufu.
DDESEMBA 25-31
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 30-31
“Engeri Yobu Gye Yasigala nga Muyonjo mu Mpisa”
Totunuulira Bintu Bitasaana!
8 Abakristaayo ab’amazima nabo basobola okutwalirizibwa okwegomba kw’amaaso n’okw’omubiri. N’olwekyo, Ekigambo kya Katonda kitukubiriza okwegendereza bye tulaba ne bye twegomba. (1 Kol. 9:25, 27; soma 1 Yokaana 2:15-17.) Yobu, omusajja eyatuukirira, y’omu ku abo abaali bamanyi nti waliwo akakwate ka maanyi wakati w’ebyo bye tulaba ne bye twegomba. Yagamba nti: “Nnakola endagaano n’amaaso gange. Kale nnyinza ntya okutunuulira omukazi omulala ne mmwegwanyiza?” (Yob. 31:1) Yobu teyakoma ku kwewala kukwata ku bakazi mu ngeri etasaana, naye era yali afuba okwewala okulowooza ku kintu ng’ekyo. Yesu yakiraga nti ebirowoozo by’omuntu birina okukuumibwa nga biyonjo bwe yagamba nti: “Buli atunuulira omukazi n’amwegomba aba amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Mat. 5:28.
w08-E 9/1 lup. 11 ¶4
Lowooza ku Ebyo Ebinaava mu Ekyo ky’Oyagala Okukola
Nga tonnasalawo kukola kintu, weebuuze, ‘bwe naakikola, kinanviiramu ki?’ Bwe tusooka okufumiitiriza ku ebyo ebinaava mu ekyo kye twagala okukola, kiyinza okutuyamba ne tutakola bintu ebinaatuviiramu ebizibu eby’amaanyi. Abo abatasooka kufumiitiriza ku ebyo bye baba baagala okukola kibaviiramu ebizibu gamba ng’okufuna siriimu n’endwadde endala ezisaasanira mu bikolwa eby’okwegatta, embuto ze bateeyagalidde, okuggyamu embuto, okufiirwa enkolagana n’abalala, n’okulumizibwa omuntu ow’omunda. Ng’ayogera ku abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, omutume Pawulo yagamba nti: “Tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.”—1 Abakkolinso 6:9, 10.
Abavubuka—Mukulemberwe Ekigambo kya Katonda
15 Olowooza ddi obwesigwa bwo eri Katonda lwe buyinza okusinga okugezesebwa—ng’oli n’abalala oba ng’oli wekka? Bw’oba ku ssomero oba ku mulimu, kiyinza okukubeerera ekyangu okuba obulindaala mu by’omwoyo. Kyokka bw’oba mu ggandaalo era nga toli bulindaala, kiba kyangu okukola ekintu ekitali kituufu.
16 Lwaki osaanidde okugondera Katonda ne bw’oba ng’oli wekka? Kijjukire nti: Osobola okunakuwaza Yakuwa oba okusanyusa omutima gwe. (Lub. 6:5, 6; Nge. 27:11) Yakuwa akwatibwako nnyo engeri gye weeyisaamu kubanga ‘akufaako.’ (1 Peet. 5:7) Ayagala omuwulirize osobole okuganyulwa. (Is. 48:17, 18) Abamu ku baweereza ba Yakuwa mu Isirayiri ey’edda bwe baamujeemera, ekyo kyamunakuwaza nnyo. (Zab. 78:40, 41) Ku luuyi olulala, Yakuwa yasanyukira nnyo nnabbi Danyeri, malayika gwe yayogerako ‘ng’omusajja ow’omuwendo ennyo.’ (Dan. 10:11) Lwaki yamusanyukira? Danyeri yali mwesigwa eri Yakuwa bwe yabeeranga mu bantu ne bwe yabeeranga yekka.—Soma Danyeri 6:10.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w05-E 11/15 lup. 11 ¶3
Wuliriza Bulungi
Abo abaali beeyita mikwano gya Yobu baawulira ebigambo bingi Yobu bye yayogera. Wadde kyali kityo, Yobu yabagamba nti: “Kale singa wabaawo ampuliriza!” (Yobu 31:35) Lwaki yayogera bw’atyo? Kubanga tebaamuwuliriza bulungi. Tebaamufaako era tebaafaayo kutegeera ngeri gye yali awuliramu. Tebaali bawuliriza balungi kubanga baali tebalumirirwa balala. Omutume Peetero yagamba nti: “Mmwenna mubeere n’endowooza emu, buli omu alumirirwe munne, mwagalane ng’ab’oluganda, musaasiragane, era mube beetoowaze.” (1 Peetero 3:8) Tuyinza tutya okukiraga nti tulumirirwa abalala? Engeri emu gye tuyinza okukikolamu, kwe kufaayo ku ngeri gye bawuliramu n’okufuba okubategeera. Bwe twogera ebigambo gamba nga, “Ekyo kyali kinyiiza nnyo” oba, “Tebaakutegeera bulungi,” tuba tukiraga nti tufaayo ku balala. Engeri endala gye tuyinza okukiragamu nti tufaayo, kwe kwogera omuntu by’aba atugambye mu bigambo byaffe. Bwe tukola bwe tutyo, kiba kiraga nti tutegedde by’aba atugambye. Okuwuliriza obulungi kitegeeza okussaayo omwoyo ku ebyo omuntu by’akugamba n’okufaayo ku nneewulira ye.
Buulira n’Obunyiikivu
Kiki Bayibuli ky’Eyogera ku Kulya Ebisiyaga?
Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti emitindo gya Bayibuli egikwata ku mpisa gye gisingayo obulungi, era gye bagoberera. (Isaaya 48:17) N’olwekyo, Abajulirwa ba Yakuwa beewalira ddala ebikolwa byonna eby’obugwenyufu nga mw’otwalidde okulya ebisiyaga. (1 Abakkolinso 6:18) Ekyo Abajulirwa ba Yakuwa kye baasalawo, era balina eddembe okusalawo batyo.
Kyokka Abajulirwa ba Yakuwa bafuba “okuba mu mirembe n’abantu bonna.” (Abebbulaniya 12:14) Wadde nga ng’Abajulirwa ba Yakuwa beewalira ddala ebikolwa eby’okulya ebisiyaga tebakakaatika ndowooza yaabwe ku balala, era tebakola bikolwa bya bukambwe ku balyi b’ebisiyaga oba okusanyuka ng’abalyi b’ebisiyaga batuusiddwaako obulabe. Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okuyisa abalala nga nabo bwe bandyagadde okuyisibwa.—Matayo 7:12.
Bayibuli Ekubiriza Okusosola Abalyi b’Ebisiyaga?
Abantu abamu bagamba nti Bayibuli ekubiriza abantu okusosola abalyi b’ebisiyaga, era nti abo abakolera ku ebyo Bayibuli by’egamba basosoze. Abantu ng’abo bagamba nti: ‘Mu kiseera Bayibuli we yawandiikirwa, abantu bangi baali tefaayo ku ndowooza z’abalala. Naye leero abantu bafaayo ku ndowooza z’abantu ab’amawanga gonna, langi zonna, nga mw’otwalidde n’abalyi b’ebisiyaga.’ Abantu ng’abo bakitwala nti omuntu akyawa ekikolwa eky’okulya ebisiyaga aba tayawukana ku oyo akyawa abantu aba langi endala. Naye ekyo ddala kituufu? Nedda. Lwaki tugamba bwe tutyo?
Waliwo enjawulo wakati w’okukyawa ekikolwa eky’okulya ebisiyaga n’okukyawa abantu abalya ebisiyaga. Bayibuli egamba Abakristaayo okuwa abantu aba buli ngeri ekitiibwa. (1 Peetero 2:17) Naye ekyo tekitegeeza nti Abakristaayo balina okukkiriza ebikolwa byonna abantu bye bakola.
Lowooza ku kino: Ka tugambe nti okunywa ssigala okitwala nga kya kabi eri obulamu bwo era ng’okyayira ddala ssigala. Watya singa olina mukozi munno omunywi wa ssigala? Kyandibadde kituufu abalala okugamba nti tofaayo ku ndowooza z’abalala olw’okuba endowooza gy’olina ku kunywa ssigala eyawukana ku ya mukozi munno oyo? Okuba nti mukozi munno oyo ye anywa ssigala ate nga ggwe tomunywa kitegeeza nti omusosola? Singa mukozi munno oyo agezaako okukupikiriza okukyusa endowooza gy’olina ku kunywa ssigala, ekyo kiba tekiraga nti mukakanyavu era nti tassa kitiibwa mu ndowooza z’abalala?
Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli. Beewala ebikolwa Bayibuli by’evumirira. Naye tebanyooma bantu abeeyisa mu ngeri eyawukana ku yaabwe era tebabayisa bubi.
Ekyo Bayibuli ky’Egamba Kinyigiriza Abantu?
Kati ate abantu abeegomba okwegatta n’abantu be bafaanaganya nabo ekikula? Kyandiba nti baazaalibwa batyo? Bwe kiba kityo, ddala kiba kyoleka okwagala okugamba nti kikyamu abantu abo okukola ekyo omubiri gwabwe kye gwegomba?
Bayibuli terina ky’eyogera ku ekyo ekigambibwa nti abantu abamu bazaalibwa nga beegomba okwegatta n’abo be bafaanaganya nabo ekikula. Kyokka eraga nti emize egimu giba gyasimba amakanda mu bantu. Wadde kiri kityo, Bayibuli eraga nti bwe tuba ab’okusanyusa Katonda waliwo ebintu bye tulina okwewala, nga muno mwe muli n’okulya ebisiyaga.—2 Abakkolinso 10:4, 5.
Abamu bagamba nti ekyo Bayibuli ky’egamba kinyigiriza nnyo. Bagamba batyo kubanga balowooza nti abantu balina okukolera ku ekyo omubiri gwabwe kye gwegomba era nti okwegomba kw’okwegatta kuba kwa maanyi nnyo ne kiba nti omuntu tasobola kukufuga. Naye Bayibuli eraga nti abantu basobola okufuga okwegomba kwe baba nakwo. Obutafaananako nsolo, abantu basobola okusalawo okukolera ku kwegomba kw’emibiri gyabwe oba obutakukolerako.—Abakkolosaayi 3:5.
Lowooza ku kino: Abayivu abamu bagamba nti enneeyisa y’abantu abamu, gamba ng’abo ab’obusungu, eva ku kuba nti bwe batyo bwe baazaalibwa. Bayibuli teyogera butereevu ku ekyo ekigambibwa nti abantu abamu bazaalibwa nga ba busungu, kyokka egamba nti abantu abamu ‘ba busungu’ oba ‘ba kiruyi.’ (Engero 22:24; 29:22) Wadde kiri kityo, Bayibuli era egamba nti: “Tosunguwalanga era toswakiranga.”—Zabbuli 37:8; Abeefeso 4:31.
Bantu batono nnyo abayinza okugamba nti amagezi ago si malungi oba abayinza okugamba nti okukolera ku magezi ago kinyigiriza abantu ab’obusungu. Mu butuufu, n’abayivu abagamba nti abantu abamu bazaalibwa nga ba busungu bafuba nnyo okuyamba abantu ng’abo okuyiga okufuga obusungu.
Mu ngeri y’emu, Abajulirwa ba Yakuwa bakkiriza nti abantu abakola ebintu ebivumirirwa mu Bayibuli basobola okuyambibwa ne bakyusa enneeyisa yaabwe, nga muno mwe muli n’abo abeegatta n’abantu abatali bannaabwe mu bufumbo. Mu mbeera ezo zonna, amagezi Bayibuli g’ewa gasobola okuyamba omuntu. Egamba nti: “Buli omu ku mmwe agwanidde okumanya engeri y’okufugamu omubiri gwe mu butukuvu ne mu kitiibwa, nga temululunkanira bikolwa bya kwegatta.”—1 Abassessalonika 4:4, 5.
“Abamu ku Mmwe Mwali ng’Abo”
Abantu abaafuuka Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baava mu mbeera za njawulo era mu kusooka baalina emize egitali gimu. Okusobola okufuuka Abakristaayo, abantu abo baalina okukola enkyukakyuka ez’amaanyi. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku bantu “abagwenyufu, abasinza ebifaananyi, abenzi, abasajja abeewaayo okuliibwa ebisiyaga,” era n’egamba nti: “Abamu ku mmwe mwali ng’abo.”—1 Abakkolinso 6:9-11.
Bayibuli bw’egamba nti “abamu ku mmwe mwali ng’abo,” eba etegeeza nti abantu abo abaalekayo omuze ogw’okulya ebisiyaga tebalina mulundi na gumu lwe baddamu kufuna kwegomba okwo okubi? Ekyo si bwe kiri, kubanga Bayibuli era egamba nti: “Mutambulirenga mu mwoyo, era temujja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.”—Abaggalatiya 5:16.
Weetegereze nti Bayibuli tegamba nti Omukristaayo tasobola kufuna kwegomba kubi. Wabula egamba nti Omukristaayo asalawo obutakola ekyo omubiri kye gwegomba. Abakristaayo bayiga okufuga okwegomba okubi, ne batakumalirako birowoozo, ekyo ne kibayamba obutakukolerako.—Yakobo 1:14, 15.
Bayibuli eraga nti waliwo enjawulo wakati w’okwegomba ekintu n’okukikola. (Abaruumi 7:16-25) Omuntu afuna okwegomba okw’okulya ebisiyaga asobola okufuga ebirowoozo ebyo ebibi, nga bw’asobola okufuga ebintu ebirala ebibi, gamba ng’obusungu, n’omululu.—1 Abakkolinso 9:27; 2 Peetero 2:14, 15.
Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa bakolera ku mitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli, tebakakaatika ndowooza yaabwe ku balala, era tebagezaako kulwanyisa mateeka agateekebwawo okukuuma eddembe ly’abo abeeyisa mu ngeri eyawukana ku yaabwe. Obubaka Abajulirwa ba Yakuwa bwe babuulira bwa mirembe era baagala nnyo okububuulirako abo bonna abaagala okubuwulira.—Ebikolwa 20:20.