OLUYIMBA 105
“Katonda Kwagala”
Printed Edition
1. Katonda waffe kwagala,
Naffe tukwolekenga.
Bwe twoleka okwagala
Era tuba ba kisa.
Olwo ’bulamu ne buba
Nga ddala bweyagaza.
Okwagala ng’okwa Kristo
Tuba tukwolesezza.
2. Katonda bwe tumwagala,
Twagala n’abalala.
Afaayo okutuyamba
Mw’ebyo ebitulema.
Okwagala kulongoofu;
Kwa kisa; si kwa buggya.
Bwe twagala ’b’oluganda
Ffe tujj’o kuganyulwa.
3. Okusiba ekiruyi
Kwewalirenga ddala.
Katonda gw’oba weesiga,
Era ’jja kukuyamba
Okuyiga okwagala
Era n’okukwoleka.
Ka twagalenga ’balala
Nga tukoppa Katonda.
(Laba ne Mak. 12:30, 31; 1 Kol. 12:31–13:8; 1 Yok. 3:23.)