OLUYIMBA 46
Tukwebaza Yakuwa
Printed Edition
1. Yakuwa tukwebaza buli lukya
Olw’okutuwa ekitangaala.
Tukwebaza enkizo y’okusaba;
Buli kimu tukikwanjulira.
2. Yakuwa tukwebaza Omwana wo
Oyo eyawangula ens’e no.
Tukwebaza ’lw’okutuluŋŋamyanga
Ne tutuukiriza bye tweyama.
3. Tukwebaza, Katonda waffe ’nkizo
Ey’okumanyisa erinnya lyo.
Twebaza nty’e nsi onoogitereeza,
Tube mu ssanyu olubeerera.
(Laba ne Zab. 50:14; 95:2; 147:7; Bak. 3:15.)