LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w23 Noovemba lup. 2-7
  • Yakuwa Atukakasa nti Ajja Kufuula Ensi Olusuku Lwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Atukakasa nti Ajja Kufuula Ensi Olusuku Lwe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBYO YAKUWA BYE YASUUBIZA
  • YAKUWA ATUKAKASA NTI DDALA EBYO BYE YASUUBIZA BIJJA KUTUUKIRIRA
  • “LABA! EBINTU BYONNA MBIZZA BUGGYA”
  • “EBIGAMBO BINO BYESIGIKA ERA BYA MAZIMA. . . . BITUUKIRIDDE!”
  • “NZE ALUFA ERA NZE OMEGA”
  • ENGERI GYE TUYINZA OKWEYONGERA OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUTUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE
  • “Alufa ne Omega” Bitegeeza Ki?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Katonda Yalina Kigendererwa Ki Okutonda Abantu?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Ekigendererwa kya Katonda eri Ensi Kye Kiruwa?
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • “Tulabagane mu Lusuku lwa Katonda!”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
w23 Noovemba lup. 2-7

EKITUNDU EKY’OKUSOMA 46

Yakuwa Atukakasa Nti Ajja Kufuula Ensi Olusuku Lwe

“Buli eyeenoonyeza omukisa mu nsi Katonda ow’amazima alimuwa omukisa.”​—IS. 65:16.

OLUYIMBA 3 Amaanyi Gaffe, Essuubi Lyaffe, Obwesige Bwaffe

OMULAMWAa

1. Bubaka ki obwali mu bigambo nnabbi Isaaya bye yagamba Bayisirayiri banne?

NNABBI Isaaya yagamba nti Yakuwa ye “Katonda ow’amazima.” Ekigambo ekyavvuunulwa ‘amazima’ obutereevu kitegeeza “Amiina.” (Is. 65:​16, obugambo obuli wansi) Ekigambo “amiina” kitegeeza “kibeere bwe kityo,” oba “ddala ddala.” Ekigambo “amiina” emirundi mingi kikozesebwa mu Bayibuli okulaga nti ekyo Yakuwa oba Yesu ky’ayogera ddala kituufu. N’olwekyo, obubaka Isaaya bwe yali agamba Bayisirayiri banne bwe buno: Byonna Yakuwa by’agamba nti bijja kubaawo mu biseera eby’omu maaso ddala bijja kubaawo. Ekyo Yakuwa akyolese ng’atuukiriza ebintu byonna by’azze asuubiza.

2. Lwaki tusobola okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa by’asuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso bijja kutuukirira, era bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu?

2 Tusobola okwesiga ebyo Yakuwa bye yasuubiza okutukolera mu biseera eby’omu maaso? Nga wayise emyaka nga 800 okuva mu kiseera kya Isaaya, omutume Pawulo yalaga ensonga lwaki ebyo Katonda by’asuubiza ddala byesigika. Yagamba nti: “Katonda tayinza kulimba.” (Beb. 6:18) Ng’ensulo y’amazzi bw’etesobola kuvaamu mazzi agawooma n’amazzi ag’omunnyo, ne Yakuwa, ensibuko y’amazima, tayinza kwogera bigambo bya bulimba. N’olwekyo, tusobola okwesigira ddala buli kintu Yakuwa ky’agamba nga mwe muli n’ebyo by’atusuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso. Mu kitundu kino, tugenda kulaba eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Biki Yakuwa by’atusuubizza okutukolera mu biseera eby’omu maaso? Bukakafu ki bw’atuwadde okulaga nti ebyo bye yasuubiza bijja kutuukirira?

EBYO YAKUWA BYE YASUUBIZA

3. (a) Biki Yakuwa bye yasuubiza abaweereza be bye beesunga ennyo? (Okubikkulirwa 21:​3, 4) (b) Abantu abamu bagamba ki nga tubabuulidde ku bisuubizo ebyo?

3 Ebintu Yakuwa bye yatusuubiza bye tugenda okwekenneenya, abaweereza ba Yakuwa okwetooloola ensi babyesunga nnyo. (Soma Okubikkulirwa 21:​3, 4.) Yakuwa yasuubiza nti ekiseera kijja kutuuka wabe nga ‘tewakyaliwo kufa, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.’ Bangi ku ffe bwe tuba tubuulira abantu tutera okukozesa ebigambo ebyo ebiraga obulamu bwe buliba mu lusuku lwa Katonda. Abantu abamu bagamba ki nga tubabuulidde ku bisuubizo bya Katonda ebyo? Bayinza okugamba nti, “Ebintu ebyo birungi nnyo naye nze sikkiriza nti biyinza okutuukirira.”

4. (a) Yakuwa bwe yasuubiza ebintu ebyandibaddewo mu Lusuku lwe, kiki kye yali amanyi ekyandibaddewo mu kiseera kyaffe? (b) Ng’oggyeeko okutusuubiza ebintu ebyo ebirungi, kiki ekirala Yakuwa kye yakola?

4 Kya lwatu, Yakuwa bwe yaluŋŋamya omutume Yokaana okuwandiika ebintu ebyo bye yasuubiza okubaawo mu Lusuku lwe, yali akimanyi nti ffe abaliwo leero twandibitegeezezzaako ku bantu nga tubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Yakuwa era yali akimanyi nti bangi bandikaluubiriddwa okukkiriza ebintu ebyo bye yasuubiza. (Is. 42:9; 60:2; 2 Kol. 4:​3, 4) Kati olwo tuyinza tutya okuba abakakafu era n’okukakasa abalala nti ebintu ebirungi Yakuwa bye yasuubiza mu Okubikkulirwa 21:​3, 4 ddala bijja kutuukirira? Yakuwa teyakoma ku kutusuubiza bintu ebyo ebizzaamu amaanyi, naye era yatuwa n’ensonga kwe twandisinzidde okuba abakakafu nti ddala bijja kutuukirira. Nsonga ki ze yatuwa?

YAKUWA ATUKAKASA NTI DDALA EBYO BYE YASUUBIZA BIJJA KUTUUKIRIRA

5. Nsonga ki kwe tusinziira okuba abakakafu nti ebyo Katonda bye yasuubiza okubaawo mu Lusuku lwe bijja kutuukirira, era ensonga ezo tuzisanga wa?

5 Ebiri mu nnyiriri zino eziddako bitukakasa nti ddala ebyo Yakuwa bye yasuubiza okubaawo mu lusuku lwe bijja kutuukirira. Bigamba nti: “Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti: ‘Laba! ebintu byonna mbizza buggya.’ Era n’agamba nti: ‘Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.’ N’aŋŋamba nti: ‘Bituukiridde! Nze Alufa era nze Omega, olubereberye era enkomerero.’”​—Kub. 21:​5, 6a.

6. Lwaki ebigambo ebiri mu Okubikkulirwa 21:​5, 6 bituyamba okweyongera okuba bakakafu nti ebyo Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira?

6 Lwaki ebyo bye tusoma mu nnyiriri ezo bituyamba okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira? Ekitabo Revelation Climax kyogera bwe kiti ku nnyiriri ezo: “Mu nnyiriri ezo, ekyo Yakuwa ky’akola kiyinza okugeraageranyizibwa ku kussa omukono ku kiwandiiko, okukakasa nti ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza.”b Ebyo Yakuwa bye yasuubiza bisangibwa mu Okubikkulirwa 21:​3, 4. Naye tuyinza okugamba nti, mu lunyiriri 5 ne 6, Yakuwa assa omukono ku kiwandiiko okukakasa nti ebyo bye yasuubiza ddala bijja kutuukirira. Kati ka twekenneenye ebigambo ebiraga nti ddala Yakuwa ajja kutuukiriza ebyo bye yasuubiza.

7. Ani ayogera ebigambo ebiri mu lunyiriri 5, era lwaki ekyo kikulu nnyo?

7 Olunyiriri olw’okutaano lutandika bwe luti: “Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti.” (Kub. 21:5a) Ebigambo ebyo bikulu nnyo kubanga ogwo gwe gumu ku mirundi esatu egiragibwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa nga Yakuwa kennyini y’ayogera. N’olwekyo, Yakuwa kennyini, so si malayika ow’amaanyi oba Yesu eyazuukizibwa, y’atukakasa nti ebyo bye yayogera ddala bijja kutuukirira! Tusobola okwesigira ddala ebigambo by’addako okwogera. Lwaki? Kubanga Yakuwa ‘tayinza kulimba.’ (Tit. 1:2) Ekyo kiraga nti ebigambo bye tusoma mu Okubikkulirwa 21:​5, 6 ddala byesigika.

“LABA! EBINTU BYONNA MBIZZA BUGGYA”

8. Yakuwa atukakasa atya nti bye yasuubiza bijja kutuukirira? (Isaaya 46:10)

8 Kati ka tulowooze ku kigambo “Laba!” (Kub. 21:5) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “laba!” kikozesebwa enfunda n’enfunda mu kitabo ky’Okubikkulirwa. Ekitabo ekimu kigamba nti ekigambo ekyo kikozesebwa “okuleetera omuntu asoma okussaayo ennyo omwoyo ku ebyo ebiddako.” Biki ebiddako? Katonda yagamba nti: “Ebintu byonna mbizza buggya.” Kyo kituufu nti ebintu Katonda by’ayogerako bijja kubaawo mu biseera bya mu maaso, naye gy’ali bikakafu ddala ne kiba nti abyogerako ng’ebigenda mu maaso.​—Soma Isaaya 46:10.

9. (a) Ebigambo “ebintu byonna mbizza buggya” biraga bintu ki ebibiri Yakuwa by’ajja okukola? (b) Kiki ekinaatuuka ku ‘ggulu n’ensi’ ebiriwo leero?

9 Kati ka twetegereze ebigambo bino ebiddako ebiri mu Okubikkulirwa 21:5: “Ebintu byonna mbizza buggya.” Mu ssuula eno, ebigambo ebyo byogera ku bintu bibiri Yakuwa by’ajja okukola. Ekisooka, ajja kusaanyaawo enteekateeka eno enkadde. Ekyokubiri ajja kuleetawo enteekateeka y’ebintu empya. Okubikkulirwa 21:​1, wagamba nti: “Eggulu eryasooka n’ensi eyasooka byali biweddewo.” “Eggulu eryasooka” likiikirira gavumenti z’abantu eziri wansi w’obuyinza bwa Sitaani ne badayimooni. (Mat. 4:​8, 9; 1 Yok. 5:19) Mu Bayibuli oluusi ekigambo “ensi” kitegeeza abantu abali ku nsi. (Lub. 11:1; Zab. 96:1) N’olwekyo, ebigambo “ensi eyasooka” bitegeeza abantu ababi abaliwo leero. Yakuwa tagenda kutereeza butereeza ‘ggulu’ “n’ensi” ebiriwo leero, wabula agenda kubiggirawo ddala. Mu kifo kyabyo agenda kuzzaawo “eggulu eriggya n’ensi empya”​—kino kitegeeza nti ajja kussaawo gavumenti empya ejja okufuga abantu abatuukirivu.

10. Biki Yakuwa by’ajja okuzza obuggya?

10 Mu Okubikkulirwa 21:​5, era tusoma ku ekyo Yakuwa ky’ayogera ku bintu by’ajja okuzza obuggya. Weetegereze nti Yakuwa tagamba nti: “Nkola ebintu byonna ebipya,” wabula agamba nti: “Ebintu byonna mbizza buggya.” N’olwekyo, Yakuwa ajja kutereeza ensi ebe ng’etuukiridde era nga n’abantu abagiriko batuukiridde. Nga Isaaya bwe yagamba, ensi yonna ejja kuba erabika bulungi ng’eringa olusuku Edeni. Ate era naffe kinnoomu tujja kuzzibwa bujja. Abalema, abazibe b’amaaso, ne bakiggala bajja kuwonyezebwa, era n’abafu bajja kuzuukizibwa.​—Is. 25:8; 35:​1-7.

“EBIGAMBO BINO BYESIGIKA ERA BYA MAZIMA. . . . BITUUKIRIDDE!”

11. Kiki Yakuwa kye yalagira Yokaana okukola, era nsonga ki gye yamuwa?

11 Kiki ekirala Katonda kye yayogera okutuyamba okuba abakakafu nti ajja kutuukiriza bye yasuubiza? Yakuwa yagamba Yokaana nti: “Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima.” (Kub. 21:5) Yakuwa teyakoma ku kulagira Yokaana ‘kuwandiika,’ naye era yamuwa n’ensonga lwaki yamulagira okuwandiika. Yamugamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima.” Tusiima nnyo okuba nti Yokaana yagondera ekiragiro ekyo kubanga yawandiika ebikwata ku Lusuku Katonda lwe yasuubiza ne ku bintu ebirungi bye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso.

12. Lwaki Yakuwa yagamba nti: “Bituukiridde!”

12 Kiki Katonda kye yaddako okugamba? Yagamba nti: “Bituukiridde!” (Kub. 21:6) Mu kwogera bw’atyo, Yakuwa yali ng’alaga nti ebintu byonna bye yasuubiza ebikwata ku Lusuku lwa Katonda bimaze okutuukirira. Yakuwa yali asobola okwogera bw’atyo kubanga tewali kintu kyonna kisobola kumulemesa kutuukiriza kigendererwa kye. Oluvannyuma yayogera ku kintu ekirala ekitukakasa nti byonna bye yasuubiza ddala bijja kutuukirira. Kintu ki ekyo?

“NZE ALUFA ERA NZE OMEGA”

13. Lwaki Yakuwa yagamba nti: “Nze Alufa era nze Omega”?

13 Nga bwe kyogeddwako waggulu, emirundi esatu Yakuwa kennyini yayogera ne Yokaana mu kwolesebwa. (Kub. 1:8; 21:​5, 6; 22:13) Ku buli gumu ku mirundi egyo, Yakuwa yagamba nti: “Nze Alufa era nze Omega.” Ennukuta alufa y’esooka mu walifu y’Oluyonaani, ate omega y’esembayo. Yakuwa bwe yagamba nti ye ‘Alufa era nti ye Omega,’ yali ategeeza nti bw’atandika ekintu aba alina okukimaliriza.

Ebifaananyi: Ekigendererwa kya Yakuwa kituukirizibwa. 1. “Alufa.” Adamu ne Kaawa mu lusuku Edeni. 2. Ekifaananyi ekiraga ebyava mu bujeemu: Sitaani malayika omubi, Adamu ne Kaawa nga bakaddiye, omunaala gw’e Babeeri, amalaalo, abasirikale, ttanka y’amagye, ennyonyi ennwanyi, okwonoonebwa kw’obutonde, n’abantu abeekalakaasa. Ebifaananyi ebirala ebibiri biraga ng’ekigendererwa kya Yakuwa kituukirira: Yesu ng’ali ku muti ogw’okubonaabona, ekikiikirira enteekateeka y’ekinunulo, abaweereza ba Yakuwa ab’omu biseera eby’edda n’ab’omu kiseera kino, abakiikirira bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abatuukirivu. 3. “Omega.” Abantu nga bali mu Lusuku lwa Katonda nga bakolera wamu era nga basanyufu.

Yakuwa bw’atandika ekintu, akimaliriza (Laba akatundu 14, 17)

14. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga ddi Yakuwa lwe yagamba nti “Alufa” era na ddi lw’ajja okugamba nti “Omega.” (b) Ebigambo ebiri mu Olubereberye 2:​1-3 bitukakasa ki?

14 Oluvannyuma lwa Yakuwa okutonda Adamu ne Kaawa, yalaga ekigendererwa kye yalina mu kutonda abantu n’ensi. Bayibuli egamba nti: “Katonda n’abagamba nti: ‘Muzaale mwale mujjuze ensi mubeere n’obuyinza ku yo.’” (Lub. 1:28) Mu kwogera ebigambo ebyo, Yakuwa yali ng’agamba nti “Alufa.” Yayoleka bulungi ekigendererwa kye kino: Ekiseera kyandituuse bazzukulu ba Adamu ne Kaawa, abatuukiridde era abawulize, ne bajjuza ensi era ne bagifuula Olusuku lwa Katonda. Ekiseera ekyo bwe kinaatuuka, Yakuwa ajja kuba ng’agamba nti “Omega.” Yakuwa bwe yamala okutonda “eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebibirimu,” alina ebigambo bye yayogera okukakasa nti ddala ekigendererwa kye kijja kutuukirira. Ebigambo ebyo bisangibwa mu Olubereberye 2:​1-3. (Soma.) Yakuwa yayawulawo olunaku olw’omusanvu ne luba nga lutukuvu gyali. Kino kiraga nti ekigendererwa Yakuwa kye yalina mu kutonda ensi n’abantu kijja kutuukirira ddala mu bujjuvu ku nkomerero y’olunaku olw’omusanvu.

15. Lwaki Sitaani yalabika ng’eyali alemesezza Yakuwa okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda abantu?

15 Oluvannyuma lwa Adamu ne Kaawa okujeema, baafuuka bonoonyi era ne baviirako abaana baabwe okusikira ekibi n’okufa. (Bar. 5:12) N’ekyavaamu, Sitaani yalabika ng’eyali alemesezza Yakuwa okutuukiriza ekigendererwa kye eky’okuba nti ensi ejjula abantu abatuukiridde era abawulize. Sitaani yalabika ng’eyali asobodde okulemesa Yakuwa okugamba nti “Omega.” Sitaani ayinza okuba nga yalowooza nti Yakuwa yali tasobola kutuukiriza kye yasuubiza. Ayinza okuba nga yalowooza nti Yakuwa yandisse Adamu ne Kaawa n’atondayo abantu abalala abatuukiridde okusobola okutuukiriza ekigendererwa kye yalina ng’atonda abantu. Naye ekyo Yakuwa bwe yandikikoze, Sitaani yandibadde amulumiriza nti mulimba. Lwaki? Kubanga nga bwe kiragibwa mu Olubereberye 1:​28, Yakuwa yali agambye Adamu ne Kaawa nti abaana baabwe bandijjuza ensi.

16. Lwaki Sitaani ayinza okuba nga yalowooza nti yandisobodde okulumiriza Yakuwa nti alemereddwa okutuukiriza ekyo kye yasuubiza?

16 Kiki ekirala Sitaani ky’ayinza okuba nga yalowooza nti Yakuwa yali ayinza okusalawo okukola? Oboolyawo Sitaani yalowooza nti Yakuwa yandirese Adamu ne Kaawa okuzaala abaana abatandisobodde kufuuka batuukiridde. (Mub. 7:20; Bar. 3:23) Bwe kyandibadde kityo, Sitaani yandibadde agamba Yakuwa nti alemereddwa okutuukiriza ekigendererwa kye. Lwaki? Kubanga ensi teyandisobodde kubaamu bantu batuukiridde nga Yakuwa bwe yali ayagala.

17. Yakuwa yagonjoola atya ensonga eyajjawo olw’obujeemu bwa Sitaani n’abantu abaasooka, era biki ebijja okuvaamu? (Laba n’ekifaananyi.)

17 Engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga eyajjawo olw’obujeemu bwa Sitaani n’abantu abaasooka, Sitaani ateekwa okuba nga yali tagisuubira. (Zab. 92:5) Yakuwa yaleka Adamu ne Kaawa okuzaala abaana, era mu ngeri eyo ekyo kye yayogera kyatuukirira. Si mulimba. Yakuwa yakyoleka nti bw’ayogera ekintu kirina okutuukirira, tewali kiyinza kukiremesa. Yakakasa nti ekigendererwa kye kituukirira, ng’assaawo “ezzadde” eryandinunudde bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abawulize. (Lub. 3:15; 22:18) Enteekateeka Yakuwa gye yakola ey’okuwaayo ekinunulo okusobola okununula abantu, Sitaani yali tagisuubira! Lwaki? Kubanga enteekateeka eyo yeesigamiziddwa ku kwagala okuzingiramu okwefiiriza. (Mat. 20:28; Yok. 3:16) Okwagala okwo Sitaani takulina, yeefaako yekka. Kati olwo kiki ekijja okubaaawo olw’enteekateeka eyo ey’ekinunulo? Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi we buliggweerako, ensi ejja kuba eriko bazzukulu ba Adamu abawulize era abatuukiridde, ng’ekigendererwa kya Yakuwa bwe kyali. Mu kiseera ekyo, Yakuwa ajja kuba ng’agamba nti “Omega.”

ENGERI GYE TUYINZA OKWEYONGERA OKUBA ABAKAKAFU NTI YAKUWA AJJA KUTUUKIRIZA EBISUUBIZO BYE

18. Bukakafu ki obw’emirundi esatu Katonda bw’atuwa? (Laba n’akasanduuko “Ensonga Ssatu Lwaki Tusobola Okwesiga Ebisuubizo bya Yakuwa.”)

18 Okusinziira ku ebyo bye tulabye, bukakafu ki bwe tuyinza okulaga abo ababuusabuusa nti ebyo Yakuwa bye yasuubiza ebikwata ku Lusuku lwe bijja kutuukirira? Okusookera ddala, Yakuwa kennyini y’asuubizza. Ekitabo ky’Okubikkulirwa kigamba nti: “Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti: ‘Laba! ebintu byonna mbizza buggya.’” Yakuwa alina amagezi n’amaanyi mangi, era ayagala okutuukiriza ebisuubizo bye. Eky’okubiri, Yakuwa ebisuubizo bye abyogerako ng’ebyamala edda okutuukirira ekiraga nti bijja kutuukirira. Eyo ye nsonga lwaki agamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima. . . . Bituukiridde!” Eky’okusatu, Yakuwa bw’atandika ekintu aba ajja kukimaliriza, nga bwe kiragibwa mu bigambo bino: “Nze Alufa era nze Omega.” Yakuwa ajja kukyoleka nti Sitaani mulimba era nti tasobola kumulemesa kutuukiriza kigendererwa kye.

Ensonga Ssatu Lwaki Tusobola Okwesiga Ebisuubizo bya Yakuwa

Entebe y’obwakabaka ekiikirira Yakuwa ng’evaako ebimyanso.
  • “Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka n’agamba nti: ‘Laba! ebintu byonna mbizza buggya.’”​—Kub. 21:5

Omutume Yokaana ng’awandiika.
  • “Era n’agamba nti: ‘Wandiika, kubanga ebigambo bino byesigika era bya mazima. . . . Bituukiridde!’”​—Kub. 21:​5, 6

Ennukuta alufa ne omega ez’Oluyonaani.
  • “Nze Alufa era nze Omega.”​—Kub. 21:6

19. Abantu bwe baba babuusabuusa ebisuubizo bya Yakuwa ebikwata ku Lusuku lwe, oyinza kubannyonnyola otya?

19 Kijjukire nti buli lw’olaga abantu obukakafu nti Yakuwa ajja kutuukiriza ebisuubizo bye ng’oli mu kubuulira, naawe weeyongera okwesiga ebisuubizo ebyo. N’olwekyo lw’onoddako okusomera omuntu ebisuubizo bya Katonda ebyo ebibuguumiiriza ebikwata ku Lusuku lwa Katonda, ebisangibwa mu Okubikkulirwa 21:4 omuntu n’agamba nti: “Birungi nnyo naye tebisobola kutuukirira,” onookola ki? Musomere olunyiriri 5 ne 6 era ozimunnyonnyole. Mulage nti Yakuwa kennyini y’atukakasa nti ajja kutuukiriza ebisuubizo ebyo.​—Is. 65:16.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Lwaki kikulu okukimanya nti Yakuwa kennyini ye yasuubiza okufuula ensi Olusuku lwe?

  • Biki Yakuwa bye yayogera okutukakasa nti ebisuubizo bye bijja kutuukirira?

  • Tuyinza tutya okweyongera okwesiga ebisuubizo bya Katonda?

OLUYIMBA 145 Ekisuubizo ky’Olusuku lwa Katonda

a Ekitundu kino kigenda kutulaga obukakafu Yakuwa bw’atuwadde obulaga nti ajja kutuukiriza ekisuubizo kye eky’okufuula ensi Olusuku lwe. Buli lwe tubuulira abalala ku kisuubizo ekyo, naffe tweyongera okuba abakakafu nti ebyo Yakuwa by’asuubizza bijja kutuukirira.

b Laba ekitabo Revelation​—Its Grand Climax At Hand! lup. 303-304, kat. 8-9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share