LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 27
  • Okufa kwa Yesu Kutuganyula Kutya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufa kwa Yesu Kutuganyula Kutya?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Ekinunulo—Ekirabo eky’Omuwendo Ennyo Katonda Kye Yatuwa
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Weeyongere Okusiima Ekinunulo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Yesu y’Ani?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 27
Essomo 27. Baggya omulambo gwa Yesu ku muti.

ESSOMO 27

Okufa kwa Yesu Kutuganyula Kutya?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Twonoona, tubonaabona, era tufa olw’okuba abantu abaasooka, Adamu ne Kaawa, baajeemera Katonda. Naye tulina essuubi nti embeera eno tujja kugivaamu. Yakuwa yakola enteekateeka ey’okutununula okuva mu kibi n’okufa okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo.a Bayibuli egamba nti okuyitira mu kufa kwe, Yesu yawaayo ekinunulo. Ekinunulo gwe muwendo oguweebwayo okusobola okununula omuntu. Omuwendo Yesu gwe yawaayo bwe bulamu bwe obutuukiridde. (Soma Matayo 20:28.) Yesu yandibadde asobola okubaawo ku nsi emirembe gyonna. Naye yakkiriza okuwaayo obulamu bwe ku lwaffe, bw’atyo n’atuggulirawo ekkubo ery’okufuna ebyo byonna Adamu ne Kaawa bye baali batufiirizza. Ate era Yesu yakiraga nti ye ne Yakuwa batwagala nnyo. Essomo lino ligenda kutuyamba okweyongera okusiima okufa kwa Yesu.

1. Tuganyulwa tutya mu kufa kwa Yesu leero?

Olw’okuba tuli boonoonyi, tukola ebintu bingi ebitasanyusa Yakuwa. Kyokka bwe twenenya mu bwesimbu ensobi zaffe era ne tusaba Yakuwa okuyitira mu Yesu Kristo okutusonyiwa, era ne tufuba obutaddamu kukola nsobi ezo, tusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda. (1 Yokaana 2:1) Bayibuli egamba nti: “Kristo omutuukirivu yafa omulundi gumu olw’ebibi by’abantu abatali batuukirivu asobole okubaleeta eri Katonda.”​—1 Peetero 3:18.

2. Okufa kwa Yesu kunaatuganyula kutya mu biseera eby’omu maaso?

Yakuwa yatuma Yesu okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde “buli muntu yenna [akkiririza mu Yesu] aleme okuzikirira, wabula afune obulamu obutaggwaawo.” (Yokaana 3:16) Olw’ekyo Yesu kye yakola, Yakuwa anaatera okuggyawo ebintu byonna ebibi ebyava mu bujeemu bwa Adamu. Ekyo kitegeeza nti bwe tukkiririza mu ssaddaaka ya Yesu, tujja kusobola okunyumirwa obulamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda ku nsi!​—Isaaya 65:21-23.

YIGA EBISINGAWO

Weeyongere okumanya ensonga lwaki Yesu yawaayo obulamu bwe, era n’engeri gy’oganyulwamu.

3. Okufa kwa Yesu kutusumulula okuva mu kibi n’okufa

Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: Lwaki Yesu Yafa?​—Ekitundu 1 (2:01)

  • Kiki Adamu kye yafiirwa bwe yajeemera Katonda?

Soma Abaruumi 5:12, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Ekibi kya Adamu kyakwata kitya ku bulamu bwo?

Soma Yokaana 3:16, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Lwaki Yakuwa yatuma Omwana we ku nsi?

A. Ebifaananyi: 1. Adamu oluvannyuma lw’okujeemera Katonda. 2. Abantu ba nga basitudde essanduuko bagenda okuziika. Ebifaananyi: A. Adamu oluvannyuma lw’okujeemera Katonda. B. Yesu Kristo. B. Ebifaananyi: 1. Yesu Kristo. 2. Abantu ab’emyaka egy’enjawulo, langi ez’enjawulo, amawanga eg’enjawulo, era abaakulira mu mbeera ez’enjawulo.
  1. Adamu yali muntu atuukiridde eyajeemera Katonda era n’aleetera abantu ekibi n’okufa

  2. Yesu yali muntu atuukiridde eyagondera Katonda era n’asobozesa abantu okuba n’essuubi ery’okufuuka abatuukiridde n’okufuna obulamu obutaggwaawo

4. Okufa kwa Yesu kusobola okuganyula abantu bonna

Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino wammanga.

VIDIYO: Lwaki Yesu Yafa?​—Ekitundu 2 (2:00)

  • Okufa kw’omuntu omu kusobola kutya okuganyula abantu bonna?

Soma 1 Timoseewo 2:5, 6 (laba n’obugambo obuli wansi), oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Adamu yali muntu atuukiridde; naye olw’okuba yayonoona, abantu bonna boonoonyi era bafa. Yesu naye yali atuukiridde. Mu ngeri ki Yesu gye yawaayo ekinunulo ekyenkanankana n’ekyo Adamu kye yatufiiriza?

5. Ekinunulo kirabo okuva eri Yakuwa

Mikwano gya Yakuwa batwala ekinunulo ng’ekirabo kye yabawa kinnoomu. Ng’ekyokulabirako, soma Abaggalatiya 2:20, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Omutume Pawulo yakiraga atya nti yali atwala ekinunulo ng’ekirabo Katonda kye yamuwa ye ng’omuntu ku bubwe?

Adamu bwe yayonoona, ye ne bazzukulu be baasalirwa ogw’okufa. Naye Yakuwa yatuma Omwana we okutufiirira tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo.

Bw’oba osoma ebyawandiikibwa bino wammanga, fumiitiriza ku ngeri Yakuwa gye yawuliramu bwe yalaba Omwana we ng’abonaabona. Soma Yokaana 19:1-7, 16-18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Owulira otya bw’olowooza ku ekyo Yakuwa ne Yesu kye baakukolera?

OMUNTU AYINZA OKUKUBUUZA NTI: “Omuntu omu asobola atya okufiirira abantu bonna?”

  • Wandizzeemu otya?

MU BUFUNZE

Olw’okufa kwa Yesu, Yakuwa asobola okutusonyiwa ebibi byaffe, era ekyo ne kitusobozesa okuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo.

Okwejjukanya

  • Lwaki Yesu yafa?

  • Mu ngeri ki obulamu Yesu bwe yawaayo gye bwali bwenkanankana n’obwo Adamu bwe yatufiiriza?

  • Okufa kwa Yesu kuyinza kukuganyula kutya?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki obulamu bwa Yesu obutuukiridde buyitibwa ekinunulo.

“Mu Ngeri Ki Ssaddaaka ya Yesu gy’Eri ‘Ekinunulo ku lw’Abangi’?” (Kiri ku mukutu)

Laba ensonga lwaki twetaaga okununulibwa.

“Yesu Alokola​—Mu Ngeri Ki?” (Kiri ku mukutu)

Yakuwa asobola okutusonyiwa ne bwe tuba tukoze ebibi eby’amaanyi?

“Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino” (Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 1, 2013)

Laba engeri okuyiga ebikwata ku ssaddaaka ya Kristo gye kyayambamu omusajja omu okuvvuunuka obulumi bwe yalina olw’ebizibu bye yayitamu.

“Sikyali Muddu wa Bikolwa bya Bukambwe“ (Kiri ku mukutu)

a Ekibi tekitegeeza kukola bukozi kintu kibi. Kizingiramu n’obutali butuukirivu bwe twasikira.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share