LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • scl lup. 122-125
  • Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa
  • Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu
Emisingi gya Bayibuli Egisobola Okutuyamba mu Bulamu
scl lup. 122-125

Yakuwa

Erinnya lye

Erinnya Yakuwa litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo”

Lub 1:1; Kuv 3:​13-15; Zb 102:25; Is 42:5

Kiki Yakuwa ky’afuuka, oba kiki ky’akola, okusobola okukola ku byetaago by’abaweereza be?

Zb 19:14; 68:5; Is 33:22; 40:11; 2Ko 1:​3, 4

Laba ne Zb 118:14; Is 30:20; Yer 3:14; Zek 2:5

Lwaki okutukuzibwa kw’erinnya lya Katonda ye nsonga esingayo obukulu?

Zb 83:18; Is 29:23; Ezk 36:23; Luk 11:2

Lwaki Yakuwa ye Mufuzi w’Obutonde Bwonna buli omu gw’asaanidde okugondera?

Kub 4:11; 7:​9-12

Ebimu ku bitiibwa bya Yakuwa

Omuyinza w’Ebintu Byonna​—Lub 17:1; Kub 19:6

Kitaffe​—Mat 6:9; Yok 5:21

Omuyigiriza Asingiridde​—Is 30:20

Yakuwa ow’eggye​—1Sa 1:11

Kabaka ow’emirembe n’emirembe​—1Ti 1:17; Kub 15:3

Ow’Ekitiibwa​—Beb 1:3; 8:1

Asingayo Okuba Waggulu​—Lub 14:​18-22; Zb 7:17

Olwazi​—Ma 32:4; Is 26:4

Mukama Afuga Byonna​—Is 25:8; Am 3:7

Ezimu ku ngeri za Yakuwa

Yakuwa akiraga atya nti mutukuvu, era ekyo kitukwatako kitya?

Kuv 28:36; Lev 19:2; 2Ko 7:1; 1Pe 1:​13-16

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Is 6:​1-8​—Nnabbi Isaaya awuniikirira olw’okwolesebwa okulaga obutukuvu bwa Yakuwa, naye sseraafi amugamba nti n’abantu aboonoonyi basobola okuba abayonjo mu maaso ga Katonda

    • Bar 6:​12-23; 12:​1, 2​—Omutume Pawulo alaga nti tusobola okulwanyisa okwegomba kwaffe okubi ne tuba ‘batukuvu’

Yakuwa wa maanyi kwenkana wa, era amaanyi ge agooleka atya?

Kuv 15:​3-6; 2By 16:9; Is 40:​22, 25, 26, 28-31

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 8:​12-18​—Nnabbi Musa agamba Abayisirayiri nti ebintu byonna ebirungi bye balina, baabifuna olw’okuba Yakuwa yakozesa amaanyi ge okubayamba

    • 1Sk 19:​9-14​—Yakuwa ayolesa amaanyi ge amangi okuzzaamu nnabbi Eriya omwennyamivu amaanyi

Lwaki tuli bakakafu nti Yakuwa y’asingayo okuba omwenkanya?

Ma 32:4; Yob 34:10; 37:23; Zb 37:28; Is 33:22

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 24:​16-22​—Ng’Amateeka ga Musa bwe gakiraga, obwenkanya bwa Yakuwa bukwatagana bulungi n’obusaasizi bwe n’okwagala

    • 2By 19:​4-7​—Kabaka Yekosafaati ajjukiza abalamuzi b’alonze nti bwe baba balamula bakiikirira Yakuwa, so si bantu

Kiki ekiraga nti Yakuwa y’asingayo okuba ow’amagezi?

Zb 104:24; Nge 2:​1-8; Yer 10:12; Bar 11:33; 16:27

Laba ne Zb 139:14; Yer 17:10

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 1Sk 4:​29-34​—Yakuwa awa Kabaka Sulemaani amagezi mangi nnyo okusinga abantu bonna ab’omu kiseera kye

    • Luk 11:31; Yok 7:​14-18​—Yesu alina amagezi mangi okusinga Sulemaani; kyokka agamba nti Yakuwa ye yamuwa amagezi ago

Yakuwa akiraga atya nti okwagala ye ngeri ye esinga obukulu?

Yok 3:16; Bar 8:32; 1Yo 4:​8-10, 19

Laba ne Zef 3:17; Yok 3:35

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Mat 10:​29-31​—Yesu akozesa ekyokulabirako ky’enkazaluggya okulaga nti Yakuwa ayagala nnyo buli mu ku baweereza be era amutwala nga wa muwendo

    • Mak 1:​9-11​—Yakuwa ayogera n’Omwana we ng’asinziira mu ggulu n’akiraga nti amwagala nnyo era nti amwenyumiririzaamu. Ateerawo abazadde ekyokulabirako ekirungi, kubanga abaana bonna baagala okukimanya nti bazadde baabwe babaagala nnyo era babasiima

Nsonga ki endala ezituleetera okwagala Yakuwa? Bayibuli eyogera ku ngeri endala nnyingi Yakuwa z’alina, era ezimu ku zo ze zino . . .

Alaba buli kimu​—2By 16:9; Nge 15:3

Takyuka; yeesigika​—Mal 3:6; Yak 1:17

Alumirirwa abalala​—Is 49:15; 63:9; Zek 2:8

Abeerawo emirembe n’emirembe; talina ntandikwa wadde enkomerero​—Zb 90:2; 93:2

Mugabi​—Zb 104:​13-15; 145:16

Wa kitiibwa nnyo​—Kub 4:​1-6

Musanyufu​—1Ti 1:11

Mwetoowaze​—Zb 18:35

Wa kisa​—Luk 6:35; Bar 2:4

Mwesigwa​—Kub 15:4

Mukulu nnyo​—Zb 8:1; 148:13

Musaasizi​—Kuv 34:6

Mugumiikiriza​—Is 30:18; 2Pe 3:9

Wa mirembe​—Baf 4:9

Mutuukirivu​—Zb 7:9

Tukwatibwako tutya bwe tweyongera okumanya ebikwata ku Yakuwa Katonda?

Ma 6:​4, 5; Mak 12:​28-32

Engeri gye tusobola okuweerezaamu Yakuwa

Kiki ekiraga nti Yakuwa tasuubira baweereza be kukola ekyo ekisukka ku busobozi bwabwe?

Ma 10:12; Mi 6:8; 1Yo 5:3

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Ma 30:​11-14​—Amateeka agaweebwa okuyitira mu nnabbi Musa si mazibu eri Abayisirayiri okugondera

    • Mat 11:​28-30​—Yesu, ayoleka engeri ng’eza Kitaawe, akakasa abagoberezi be nti wa kisa

Lwaki Yakuwa agwanidde okutenderezebwa?

Zb 105:​1, 2; Is 43:​10-12, 21

Laba ne Yer 20:9; Luk 6:45; Bik 4:​19, 20

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • Zb 104:​1, 2, 10-20, 33, 34​—Omuwandiisi wa zabbuli by’alaba mu butonde bimuleetera okutendereza Yakuwa

    • Zb 148:​1-14​—Ebintu byonna Yakuwa bye yatonda nga mw’otwalidde ne bamalayika, bimutendereza

Enneeyisa yaffe eyinza etya okuleetera abalala okuwa Yakuwa ekitiibwa?

Mat 5:16; Yok 15:8; 1Pe 2:12

Laba ne Yak 3:13

Lwaki tusaanidde okusemberera Yakuwa?

Zb 73:28; Yak 4:8

Obwetoowaze butuyamba butya okusemberera Yakuwa?

Zb 138:6; Is 57:15

Okusoma Bayibuli n’okufumiitiriza bituyamba bitya okusemberera Yakuwa?

Zb 1:​1-3; 77:​11-13; Mal 3:16

Lwaki kikulu okukolera ku ebyo bye tuyiga ku Yakuwa?

Luk 6:​46-49; Yak 1:​22-25

Lwaki tetulina kukweka Yakuwa kintu kyonna?

Yob 34:22; Nge 28:13; Yer 23:24; 1Ti 5:​24, 25

  • Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:

    • 2Sk 5:​20-27​—Gekazi agezaako okukweka ekibi kye, naye Yakuwa asobozesa nnabbi Erisa okutegeera ky’akoze

    • Bik 5:​1-11​—Ananiya ne Safira bagezaako okukweka ekibi kye bakoze, naye Yakuwa akyanika era battibwa olw’okulimba omwoyo omutukuvu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share