LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 22
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Amazima Agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Okuweereza Kristo Kabaka n’Obwesigwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Obwakabaka bwa Katonda Buli mu Mutima Gwo?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 22
Yesu Kristo ng’atudde ku ntebe y’Obwakabaka mu Bwakabaka bwa Katonda

Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki?

Bayibuli ky’egamba

Obwakabaka bwa Katonda gavumenti eya ddala eyateekebwawo Yakuwa Katonda. “Obwakabaka bwa Katonda” Bayibuli era ebuyita “Obwakabaka obw’omu ggulu” kubanga bufugira mu ggulu. (Makko 1:14, 15; Matayo 4:17) Waliwo ebintu Obwakabaka bwa Katonda bye bufaanaganya ne gavumenti z’abantu, naye bwo busukkulumye ku gavumenti z’abantu mu buli ngeri.

  • Abafuzi. Katonda yalonda Yesu Kristo okuba Kabaka w’Obwakabaka obwo era yamuwa obuyinza bungi nnyo, omuntu yenna bw’atalina. (Matayo 28:18) Obuyinza Yesu bw’alina abukozesa bulungi, kubanga yakyoleka dda nti Mufuzi eyeesigika era musaasizi. (Matayo 4:23; Makko 1:40, 41; 6:31-34; Lukka 7:11-17) Ng’akolera ku bulagirizi Katonda bw’amuwa, Yesu alonze abantu okuva mu mawanga gonna abajja ‘okufugira awamu naye ensi nga bakabaka’ nga bali naye mu ggulu.—Okubikkulirwa 5:9, 10.

  • Ekiseera. Obutafaananako gavumenti z’abantu ezimalawo ekiseera kitono ne zivaawo, Obwakabaka bwa Katonda ‘tebulizikirizibwa.’—Danyeri 2:44.

  • Abafugibwa. Omuntu yenna akola Katonda by’ayagala asobola okuba omu ku abo abanaafugibwa Obwakabaka bwa Katonda, k’abe nga yazaalibwa wa oba ng’ava mu lunyiriri ki.—Ebikolwa 10:34, 35.

  • Amateeka. Amateeka (oba ebiragiro) g’Obwakabaka bwa Katonda tegagaana bugaanyi bantu kukola bintu bibi. Naye era gayamba abo abafugibwa Obwakabaka okuba n’empisa ennungi. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti: “‘Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.’ Lino lye tteeka erisinga obukulu mu gonna era lye lisooka. Ery’okubiri eririfaanana lye lino: ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala.’” (Matayo 22:37-39) Okwagala Katonda ne bantu bannaabwe kikubiriza abo abafugibwa Obwakabaka obwo okufaayo ku balala.

  • Eby’enjigiriza. Ng’oggyeeko okuba nti Obwakabaka bwa Katonda buteerawo abo be bufuga emitindo egya waggulu, bubayigiriza engeri gye bayinza okukolera ku mitindo egyo.—Isaaya 48:17, 18.

  • Ekigendererwa. Obwakabaka bwa Katonda tebunyigiriza abo be bufuga okusobola okugaggawaza abo abali mu bifo ebya waggulu mu Bwakabaka obwo. Mu kifo ky’ekyo, bujja kutuukiriza ekigendererwa kya Katonda, nga mw’otwalidde n’okuleeta ensi empya abaagala Katonda mwe bajja okubeera emirembe gyonna.—Isaaya 35:1, 5, 6; Matayo 6:10; Okubikkulirwa 21:1-4.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share