LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • ijwbq ekitundu 23
  • Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
  • Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Bayibuli ky’egamba
  • Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
    Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
  • Ensi Empya ey’Ekitalo Ekoleddwa Katonda
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
See More
Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
ijwbq ekitundu 23
Olusuku lwa Katonda

Biki Obwakabaka bwa Katonda Bye Bunaakola?

Bayibuli ky’egamba

Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu zonna bufuge ensi yonna. (Danyeri 2:44; Okubikkulirwa 16:14) Ekyo bwe kinaabaawo, Obwakabaka bwa Katonda . . .

  • Bujja kuggyawo abantu ababi, abeerowoozaako bokka, era abaleetera abalala okubonaabona. “Ababi balimalibwawo mu nsi.”—Engero 2:22.

  • Bujja kumalawo entalo zonna. “[Katonda] amalawo entalo mu nsi yonna.”—Zabbuli 46:9.

  • Bujja kuleetera abantu okubeera obulungi n’okubeera mu mirembe. “Buli muntu alituula wansi w’omuzabbibu gwe ne wansi w’omutiini gwe, era tewalibaawo n’omu abatiisa.”—Mikka 4:4.

  • Bujja kufuula ensi olusuku lwa Katonda. “Olukoola n’ensi enkalu birijaganya, n’eddungu lirisanyuka era lirimulisa ng’amalanga.”—Isaaya 35:1.

  • Bujja kusobozesa buli omu okufuna omulimi ogumuleetera essanyu. “Abalonde [ba Katonda] balyeyagalira mu mirimu gy’emikono gyabwe. Tebaliteganira bwereere.”—Isaaya 65:21-23.

  • Bujja kumalirawo ddala endwadde. “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”—Isaaya 33:24.

  • Bujja kuggyawo okukaddiwa. “Omubiri ggwe ka gudde buggya okusinga bwe gwali ng’akyali muvubuka; era k’abe n’amaanyi nga bwe yali mu buvubuka.”—Yobu 33:25.

  • Bujja kuzuukiza abantu abaafa. ‘Bonna abali mu ntaana baliwulira eddoboozi lya Yesu ne bavaamu.’—Yokaana 5:28, 29.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share