Engeri gy’Oyinza Okukekkereza Amasannyalaze n’Amafuta
TWETAAGA amafuta, amasannyalaze, oba amanda, okubugumya oba okunnyogoza amayumba gaffe, okutambuza emmotoka zaffe, n’okukola ebintu ebirala bingi. Kyokka leero waaliwo okusoomooza kungi ku nkozesa y’ebintu ebyo.
Gary, ow’omu South Africa agamba nti, “ebbeeyi y’amafuta eyeekanamye” yeeraliikiriza. Jennifer, ow’omu Philippines, mweraliikirivu “olw’amasannyalaze okuba nga gavaavaako.” Fernando, ow’omu El Salvador, agamba nti mweraliikivu “olw’engeri obutonde gye bwonooneddwamu” ng’abantu bagezaako okufuna amasannyalaze, amafuta, n’amanda.
Naawe oyinza okuba nga weebuuza, ‘Nnyinza ntya okwaŋŋanga embeera eno?’
Ffenna tusobola okusalawo okukozesa amasannyalaze, amafuta, n’amanda mu ngeri ey’amagezi. Bwe tukekkereza ebintu ebyo era ne tubikozesa bulungi kivaamu emiganyulo. Bwe tubikekkereza tetusaasaanya nnyo ssente. Era tuyamba mu kukuuma obutonde.
Ka tulabeyo embeera za mirundi esatu mwe tuyinza okukozeseza obulungi ebintu ebyo: mu maka gaffe, mu by’entambula, n’ebintu bye tukola buli lunaku.
MU MAKA
Twegendereze engeri gye tukozesaamu ebintu ebibugumya oba ebinnyogoza ennyumba. Okunoonyereza okumu okwakolebwa mu nsi emu eya Bulaaya kwalaga nti mu kiseera ky’obutiti, abantu bwe baakendeeza ebbugumu ly’ebyuma ebibugumya ennyumba diguli bbiri zokka, kyakendeeza nnyo amasannyalaze agaakozesebwa mu bbanga ery’omwaka ogumu. Derek, abeera mu Canada, gamba nti: “Okwambala amasweta mu kiseera ky’obutiti kituyamba obutakozesa nku nnyingi mu kyoto.”
Era bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kunnyogoza amayumba mu bitundu eby’ebbugumu. Rodolfo, ow’omu Philippines, yeewala okukozesa mu ngeri ey’ekyeyonoonere ekyuma ekinnyogoza empewo. Lwaki? Agamba nti, “Ekyo kituyamba okukekkereza ssente n’amasannyalaze.”
Bw’oba obugumya oba ng’onnyogoza ennyumba, ggalawo amadirisa n’enzigi.a Ekyo kiyamba mu kukkekkereza amasannyalaze oba enku kubanga empewo eyokya oba ennyogoga eba tefuluma.
Ng’oggyeeko okuggalawo amadirisa n’enzigi, abantu abamu beeyongedde okukekkereza amasannyalaze n’enku nga bateeka mu mayumba gaabwe ebintu ebikuuma ebbugumu oba nga bagassaako amadirisa agaziyiza ebbugumu okufuluma.
Kozesa bbalubu ezikekkereza amasannyalaze. Jennifer, ayogeddwako waggulu agamba nti: “Twalekera awo okukozesa bbalubu ezinywa ennyo emasannyalaze ne tutandika okukozesa bbalubu ezikekkereza amasannyalaze.” Wadde nga bbalubu ezikekkereza amasannyalaze zigula ssente nnyingiko, ku nkomerero ssente z’osaasaanya ng’okozesezza bbalubu ezo ziba ntono.
EBY’ENTAMBULA
Bwe kiba kisoboka, kozesa entambula eya lukale. Andrew, ow’omu Bungereza agamba nti: “Ntera okulinnya eggaali y’omukka oba nvuga kagaali kange nga ŋŋenda okukola.” Ekitabo Energy: What Everyone Needs to Know kigamba nti: “Okutwalira awamu amafuta agakozesebwa ku muntu omu mu ntambula ey’obwa nnannyini gakubisaamu emirundi ng’esatu ago agakozesebwa ku muntu omu ng’akozesezza bbaasi oba eggaali y’omukka.”
Weeteeketeeke bulungi nga tonnatambula. Bwe weeteekateeka obulungi kisobola okukuyamba okukendeeza ku ŋŋendo z’otambula, ekyo ne kikuyamba okukekkereza ssente n’obutoonoona biseera.
Jethro, ow’omu Philippines, yassaawo ekipimo ky’amafuta g’alina okukozesa buli mwezi. Agamba nti: “Ekyo kindeetera okweteekateeka obulungi nga sinnatandika lugendo lwonna.”
BYE TUKOLA BULI LUNAKU
Kendeeza ku mazzi agookya g’okozesa. Okunoonyereza okumu kwalaga nti, “amasannyalaze agakozesebwa mu Australia, ebitundu 27 ku buli kikumi gakozesebwa mu kubugumya mazzi awaka.”
Okuva bwe kiri nti okubugumya amazzi kitwala amasannyalaze, bwe tutakozesa nnyo mazzi gookya kiyamba mu kukekkereza amasannyalaze. Victor, ow’omu South Africa, agamba nti: “Tufuba okulaba nti tetukozesa nnyo mazzi gookya nga tunaaba.” Munnassaayansi ayitibwa Steven Kenway yagamba nti: ‘Obutakozesa nnyo mazzi gookya kirimu emiganyulo esatu. Kikekkereza amasannyalaze, kiganyula kampuni z’amasannyalaze n’amazzi, era kikendeeza ku nsaasaanya y’ab’omu maka.’
Biggyeko. Ggyako amataala, ppaasi, ttivi, kompyuta, n’ebiringa ebyo bw’oba nga tobikozesa. Ebintu ebyo ne bwe tuba tubiggyeeko, biyinza okusigala nga binywa amasannyalaze kasita tuba nga tetuggyeeko swiiki ey’oku kisenge. N’olwekyo abamu basalawo n’okuggya waya zaabyo mu soketi. Fernando, ayogeddwako waggulu, agamba nti: “Nfuba okulaba nga nzigyako amataala era ne nzigya ne waya z’ebintu ebikozesa amasannyalaze mu soketi bwe mba sibikozesa.”
Tuyinza okuba nga tetusobola kukyusa bbeeyi y’amasannyalaze, amafuta, oba amanda, oba nga tetulina kinene kye tusobola kukola ku ngeri okukolebwa kw’ebintu ebyo gye kwonoonamu obutonde, naye tusobola okukozesa obulungi ebintu ebyo. Abantu bangi okwetooloola ensi ekyo basobodde okukikola. Wadde nga kyetaagisa okufuba n’okukola enteekateeka ennungi okusobola okukekkereza ebintu ebyo, kivaamu emiganyulo mingi. Valeria, ow’omu Mexico, agamba nti: “Nkekkereza ssente era nkuuma obutonde.”
a Kikulu okugoberera obulagirizi obuweebwa abakola ebyuma ebinnyogoza oba ebibugumya ennyumba. Ng’ekyokulabirako, ebyuma ebimu biyinza okwetaagisa omuntu okuggulawo amadirisa oba enzigi ng’abitaddeko.