LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
    • ESSOMO 4

      Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira

      Kiki ky’osaanidde okukola?

      Soma era yogera nga tosikatira. Bw’osoma era n’oyogera mu ngeri eyo, oba tolembeggerera, era tolya bigambo wadde okulabika ng’anoonya eby’okwogera.

      Lwaki Kikulu?

      Omwogezi bw’aba asikatira, ebirowoozo by’abawuliriza biyinza okuwuguka era ayinza n’okuwa endowooza enkyamu. By’ayogera biyinza obutasikiriza.

      BW’OBA osoma mu ddoboozi eriwulikika, osikattira ng’otuuse ku bigambo ebimu? Oba bw’oba owa emboozi, olumu weesanga nti onoonya ebigambo ebituufu eby’okwogera? Bwe kiba bwe kityo, olina ekizibu mu kwogera n’okusoma. Omuntu bw’ayogera era bw’asoma nga tasikattira, ebigambo bye bivaayo bulungi. Kino tekitegeeza nti tasiriikiriramu ng’ayogera, ayogerera ku sipiidi, oba nti tasooka kulowooza ku by’agenda kwogera. By’ayogera biba binyuma okuwuliriza. Okwogera nga tosikattira kiteekebwako nnyo essira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.

      Ebintu ebitali bimu biyinza okuviirako omuntu okwogera n’okusoma ng’asikattira. Ku nsonga zino wammanga kuliko gye weetaaga okukolako? (1) Obutamanya bigambo bimu. (2) Okusiriikiriramu we kiteetaagisa. (3) Obutategeka. (4) Obutasengeka bulungi by’ogenda kwogera. (5) Okumanya ebigambo ebitono. (6) Okuggumizibwa ebigambo ebingi. (7) Obutamanya mateeka gafuga lulimi.

      Wadde abakuwuliriza mu Kizimbe ky’Obwakabaka tebajja kufuluma olw’okuba oyogera ng’osikattira, ebirowoozo byabwe biyinza okuwuguka. N’ekivaamu, bingi ku ebyo by’oyogera bajja kubisubwa.

      Ku luuyi olulala, kyetaagisa okwegendereza ne tutayogeza malala, oboolyawo ne kiviirako abakuwuliriza okwesittala. Singa abantu bakitwala nti emboozi yo togiwadde mu bwesimbu, ekyo kiyinza okukulemesa okutuuka ku kigendererwa kyo. Wadde omutume Pawulo yali mwogezi alina obumanyirivu, yatuukirira Abakkolinso “mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi,” mu ngeri eyo n’ategulumiza.​—1 Kol. 2:3.

      Eby’Okwewala. Abantu bangi balina omuze ogw’okuddiŋŋana ebigambo nga “ah-ah,” oba “mpozzi” nga boogera. Abalala emirundi mingi bakozesa ebigambo “tulaba nti,” “kwe kugamba” oba “okitegedde,” buli lwe baba boogera. Oyinza n’obutamanya nti otera okukozesa bigambo ng’ebyo. Oyinza okwegezaamu emboozi yo nga waliwo akuwuliriza era n’akubuulira buli lw’obyogera. Oyinza okwewuunya emirundi emmeka gy’obikozesa.

      Abantu abamu batandika okusoma oba okwogera, kyokka nga tebannamaliriza sentensi baddayo emabega ate ne baddamu bye baba bamaze okwogera.

      Ate abalala bwe baba boogera batandika n’ensonga emu ate baba tebannagimalayo, ne batandika ensonga endala. Wadde ng’ebigambo bibadde bivaayo bulungi, omuntu ayinza okutamattama olw’okuba ensonga azikyusa mbagirawo.

      Engeri y’Okulongoosaamu. Bwe kiba nti buli kiseera oba onoonya ebigambo ebituufu eby’okwogera, weetaaga okufuba okuyigayo ebigambo ebirala. Weetegereze ebigambo ebippya by’otomanyi mu Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebirala by’oyinza okuba ng’osoma. Bikebere mu nkuluze, yiga engeri gye byatulwamu, n’amakulu gaabyo era obigatte ku by’omanyi. Bwe watabaawo nkuluze, saba omuntu amanyi obulungi olulimi akuyambe.

      Bwe weemanyiiza okusoma mu ddoboozi eriwulikika kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu ne gy’oyogeramu. Weetegereze ebigambo ebizibu, era bisome mu ddoboozi eriwulikika emirundi egiwerako.

      Okusobola okusoma nga tosikattira, kyetaagisa okutegeera ebigambo ebyetaaga okusomerwa awamu. Emirundi mingi ebigambo byetaaga kusomerwa wamu okusobola okuggyayo ebirowoozo by’omuwandiisi. Weetegereze ebigambo ng’ebyo ebirina okusomerwa awamu. Bwe kiba kinaakuyamba, birambe. Ekiruubirirwa kyo si kusoma busomi bulungi bigambo naye era n’okuggyayo obulungi amakulu. Oluvannyuma lw’okwekkennenya sentensi emu, genda ku eddako okutuusa lw’onoomalako akatundu konna. Weetegereze engeri ebirowoozo gye bikwataganamu. Oluvannyuma weegezeemu ng’osoma mu ddoboozi eriwulikika. Soma akatundu enfunda n’enfunda okutuusa lw’onooba ng’osobola okukasoma nga totamattama oba okusiriikiriramu we kiteetaagisa. Oluvannyuma soma obutundu obulala.

      Oluvannyuma, yongera ku sipiidi gy’osomerako. Bw’omala okutegeera engeri ebigambo gye bikwataganamu ne binnaabyo mu sentensi, ojja kusobola okubisomera awamu. Kino kijja kulongoosa nnyo mu ngeri gy’osomamu.

      Kiba kirungi okwemanyiiza okusoma nga tosoose kuyitaayita mu by’ogenda okusoma. Ng’ekyokulabirako, nga tosoose kuyisaayisamu maaso, soma ekyawandiikibwa ky’olunaku n’ebikyogerako mu ddoboozi eriwulikika; bw’otyo bw’oba okola buli lunaku. Weemanyiize okusomera awamu ebigambo ebiggyayo amakulu mu kifo ky’okusoma ekimu ekimu.

      Bw’oba ow’okwogera nga tosikattira, kikwetaagisa okusooka okulowooza nga tonnayogera. Kola bw’otyo ng’oyogera bulijjo. Manya ensonga z’oyagala okutegeeza abalala era n’engeri gy’oyagala okuzisengekamu; oluvannyuma olyoke otandike okwogera. Yogera mpola mpola. Bw’obaako ensonga gy’onnyonnyola, gimaleyo nga tonnaba kugenda ku nsonga ndala. Kijja kukuyamba singa okozesa sentensi ennyimpimpi.

      Bw’oba omanyi ky’oyagala okwogera, ebigambo byo bijja kuvaayo bulungi. Emirundi egisinga, tekikwetaagisa kusooka kulonda bigambo by’ogenda kukozesa. Mu butuufu, ekisinga obulungi kwe kuba ng’omanyi bulungi ensonga z’oyagala okutegeeza abalala, olwo byo ebigambo n’obirowoozaako ng’oyogera. Singa ossa omwoyo ku nsonga z’ogenda okubuulira abalala mu kifo ky’ebigambo by’onookozesa, ebigambo bijja kuvaayo bulungi, era ojja kwogera okuviira ddala ku mutima. Naye kasita otandika okulowooza ku bigambo mu kifo ky’ensonga, ojja kutandika okutamattama. Bw’oneemanyiiza okukola bw’otyo, ojja kusobola okwogera nga tosikattira, ate nga kino kyetaagisa nnyo bwe tuba ab’okusoma obulungi.

      Yakuwa bwe yamutuma okumukiikirira eri eggwanga lya Isiraeri ne mu maaso ga Falaawo ow’e Misiri, Musa yawulira nti tasobola. Lwaki? Teyali mwogezi mulungi. (Kuv. 4:10; 6:12) Musa alina bye yeekwasa, kyokka Katonda teyabikkiriza. Yakuwa yatuma Alooni agendere wamu ne Musa ng’omwogezi we, era n’amuyamba okwogera obulungi. Musa yasobola okwogera obulungi eri abantu kinnoomu, ebibinja by’abantu era n’eri eggwanga lyonna. (Ma. 1:1-3; 5:1; 29:2; 31:1, 2, 30; 33:1) Singa okola kyonna ky’osobola okulongoosa mu ngeri gy’oyogeramu ng’eno bwe weesiga Yakuwa, naawe oyinza okwogera mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.

      OKWANŊŊANGA EKIZIBU KY’OKUNANAAGIRA

      Ebintu bingi ebiyinza okuviirako omuntu okunanaagira. Ekiyinza okuyamba omuntu omu okwaŋŋanga ekizibu ky’okunanaagira ate kiyinza obutayamba mulala. Naye okusobola okuvvuunuka ekizibu ekyo, kikulu nnyo obutalekulira.

      Ofuna ekiwuggwe oba okutya ng’olina ky’ogenda okuddamu mu nkuŋŋaana? Saba Yakuwa akuyambe. (Baf. 4:6, 7) Ebirowoozo byo bisse ku kuwa Yakuwa ekitiibwa n’okuyamba abalala. Tosuubira kizibu ekyo kuggwerawo ddala, naye lowooza ku ebyo ebiyinza okukuyamba okukyaŋŋanga. Ng’ogenda olaba emikisa Yakuwa gy’akuwadde era n’engeri ab’oluganda gye bakuzzaamu amaanyi, ojja kwagala okukola ekisingawo osobole okuvvuunuka ekizibu ekyo.

      Essomero ly’Omulimu gwa Katonda lisobola okukuyamba okufuuka omwogezi omulungi. Oyinza okwewuunya engeri gy’osobola okwogera obulungi ng’oli mu maaso g’abantu abatonotono abakuzzaamu amaanyi. Ekyo kijja kukuyamba okwogera n’obuvumu ng’oli awantu awalala wonna.

      Bw’oba ogenda okuwa emboozi, tegeka bulungi. Ebirowoozo bimalire ku ebyo by’oyogera. Yoleka enneewulira etuukana n’ebyo by’oyogera. Singa otandika okunanaagira, fuba okulaba nti odda mu nteeko. Kkakkanya ebinywa by’emba zo. Kozesa sentensi ennyimpimpi. Weewale okukozesa ekigambo nga “um” oba “aa.”

      Abantu abamu abananaagira bwe bamanya ebigambo ebibazibuwalira okwatula, beewala okubikozesa era mu kifo kyabyo bakozesa ebigambo ebirala ebirina amakulu ge gamu. Abalala ebigambo ebibazibuwalira okwatula, babyegezaamu enfunda n’enfunda.

      Bw’otandika okunanaagira ng’obadde olina gw’oyogera naye, toggwaamu maanyi. Oyinza okuleka omuntu gw’onyumya naye okweyongera okwogera okutuusa lw’owulira ng’oteredde. Bwe kiba kyetaagisa, wandiika buwandiisi by’oyagala okumutegeeza.

      ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

      • Bw’oba osoma magazini oba ebitabo, lamba ebigambo ebippya, noonyereza amakulu gaabyo, era bikozese.

      • Weegezeemu okusoma mu ddoboozi eriwulikika eddakiika ttaano oba kkumi buli lunaku.

      • Weeteekereteekere bulungi ebitundu eby’okusoma ebiba bikuweereddwa. Weetegereze ebigambo by’olina okusomera awamu okusobola okuggyayo amakulu. Era weetegereze n’engeri ebirowoozo gye bikwataganamu.

      • Bulijjo bw’oba oyogera, yiga okusooka okulowooza era n’okwogera sentensi mu bujjuvu awatali kusiriikiriramu.

      EKY’OKUKOLA: Weekenneenye Ekyabalamuzi 7:1-25, ng’osoma buli katundu. Kakasa nti otegeera kye kagamba. Ebigambo by’otomanyi bulungi bibuuze omuntu amanyi obulungi olulimi lwo. Yatula buli linnya mu ddoboozi eriwulikika. Oluvannyuma soma akatundu konna mu ddoboozi eriwulikika; fuba okukasoma obulungi. Bw’oba owulira ng’okasomye bulungi, genda ku kalala. Oluvannyuma soma essuula yonna. Ddamu ogisome naye ku sipiidi esingako. Ddamu omulundi omulala gumu, ng’oyongera ku sipiidi we kisaanira​—naye ate toyitiriza nnyo sipiidi kubanga kiyinza okukuviirako okutamattama.

  • Okusiriikiriramu We Kisaanira
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
    • ESSOMO 5

      Okusiriikiriramu We Kisaanira

      Kiki ky’osaanidde okukola?

      Siriikiriramu we kisaanira ng’owa emboozi. Emirundi egimu oyinza okusiriikiriramu okumala akaseera katono nnyo oba n’okendeeza bukendeeza ddoboozi. Okusiriikiriramu kuba kusaanira singa kuba n’ekigendererwa.

      Lwaki Kikulu?

      Okusobola okwogera mu ngeri etegeerekeka kikulu nnyo okusiriikiriramu we kisaanira. Era okusiriikiriramu kusobozesa ensonga enkulu okuvaayo.

      BW’OBA oyogera, kikulu okusiriikiriramu buli lwe kiba kyetaagisa. Okusirikiriramu ng’okwo kwetaagisa k’obe ng’owa emboozi oba ng’oyogera n’omuntu. Bw’otosiriikiriramu, by’oyogera biyinza obutategeerekeka bulungi. Era okusiriikiriramu kusobozesa ensonga enkulu okujjukirwa.

      Omanya otya aweetaagisa okusiriikiramu? Wandisiriikiridde kumala bbanga ki?

      Siriikiriramu ng’Ogoberera Obubonero Obweyambisibwa mu Kuwandiika. Obubonero obwo bukulu nnyo mu lulimi. Buyinza okulaga nti sentensi ekomye oba nti ky’osoma kibuuzo. Mu nnimi ezimu bukozesebwa okulaga awali ebigambo ebijuliziddwa. Obubonero obumu bulaga engeri ebigambo ebimu mu sentensi gye bikwatagana ne binnaabyo. Oli bw’aba yeesomera yekka, obubonero obuli mu ebyo by’asoma aba asobola okubulaba. Naye bw’aba asomera abalala, eddoboozi lye lirina okwoleka amakulu g’obubonero bwonna obuli mu by’asoma. (Okumanya ebisingawo, laba Essomo 1, “Okusoma Obulungi.”) Singa tosiriikiriramu w’oba osanze obubonero ng’obwo, b’osomera bayinza obutategeera by’osoma era n’amakulu gayinza obutavaayo.

      Ng’oggyeko obubonero obwo, engeri ebirowoozo gye bisengekeddwamu mu sentensi nayo esobola okukuyamba okumanya w’osaanidde okusiriikiriramu. Omuyimbi omu omwatiikirivu yagamba: “Si nze nsingayo okukuba piyano. Naye nkizudde nti omuntu bw’asiriikiriramu we kisaanira afuuka mukugu.” N’okwogera bwe kutyo bwe kuli. Bw’osiriikiriramu we kisaanira by’oba oyogera byeyongera okuba ebinyuvu era n’amakulu g’ebyo by’oyogera gajja kuvaayo bulungi.

      Nga weetekateeka okusomera abalala, kiba kya muganyulo okulamba mu by’ogenda okusoma. Saza akasittaze mu kifo w’ogenda okusiriikiramu akatono. Saza obusittaze bubiri mu bifo w’ojja okusiriikiriramu akaseera akawanvuko. Bwe wabaawo ebigambo ebikuzibuwalira okusoma era nga bikuleetera n’okusiriikirira we kiteetaagisa buli lw’oba obisoma, birambe. Ddamu okusoma awali ebigambo ebyo. Aboogezi bangi abalina obumanyirivu bakola bwe batyo.

      Tekiba kizibu kumanya awakwetaagisa okusiriikiriramu ng’oyogera n’abantu kubanga oba omanyi by’oyagala okubategeeza. Kyokka, singa olina omuze gw’okusiriikiriramu we kiteetaagisiza, by’oyogera tebijja kutegeerekeka. Amagezi agayinza okukuyamba mu nsonga eno osobola okugasanga mu Ssomo 4, “Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira.”

      Siriikiriramu ng’Ova ku Nsonga emu Okudda ku Ndala. Bw’oba ogenda ku nsonga endala, okusiriikiriramu akatono kuyinza okuyamba abakuwuliriza okufumiitiriza ku bye waakogera, era n’okutegeera obulungi ensonga eddako. Nga bwe kiri ekikulu omugoba w’ekidduka okukendeeza ku sipiidi ng’agenda okuweta okuva mu luguudo olumu okudda mu lulala era kikulu nnyo n’omwogezi okusiriikiriramu ng’akyusa okuva ku nsonga emu okudda ku ndala.

      Emu ku nsonga eziremesa aboogezi abamu okusiriikiriramu nga bava ku nsonga emu okudda ku ndala kwe kuba n’eby’okwogera ebingi. Ate abalala eyo eyinza okuba nga ye ngeri gye boogeramu bulijjo. Oboolyawo n’abantu abalala be babeera nabo boogera mu ngeri y’emu. Kyokka omuntu bw’aba nga bw’atyo bw’ayogera, aba tasobola kuyigiriza bulungi. Bw’oba n’ensonga gy’oyagala abalala bawulire era bajjukire, osaanidde okuwaayo ebiseera ebimala okuginnyonnyola obulungi. Kitegeere nti okusiriikiriramu ng’oyogera kikusobozese okuggyayo obulungi ensonga.

      Bw’oba ow’okuwa emboozi nga weeyambisa ensonga enkulu z’owandiise ku lupapula, gitegeke mu ngeri eneekusobozesa okulaba amangu w’olina okusiriikiriramu, ng’ova ku nsonga emu enkulu okudda ku ndala. Emboozi bw’eba ya kusoma busomi, lamba w’oviira ku nsonga emu enkulu okudda ku ndala.

      Bw’oba ova ku nsonga emu okudda ku ndala osiriikirira kiwanvuko okusinga bw’osiriikiriramu ng’ogoberera obubonero obweyambisibwa mu kuwandiika, kyokka ate nga tosiriikirira kiwanvu nnyo. Bw’osiriikirira ekiseera ekiwanvu ennyo kiyinza okuwa abalala ekifaananyi nti tewategese bulungi era nti onoonyereza bunoonyereza kya kwogera.

      Siriikiriramu ng’Olina ky’Oggumiza. Bw’oba olina ekibuuzo oba ekigambo ky’oyagala okuggumiza osobola okusiriikiriramu nga tonnakyogera oba nga waakakyogera. Bw’osiriikiriramu mu ngeri eyo, kisobozesa abawuliriza okwesunga ky’ogenda okwogera oba okufumiitiriza ku by’oyogedde. Okusiriikiriramu okw’ebika ebyo byombi kuba n’ebigendererwa bya njawulo. Salawo ekika ky’oyagala okukozesa. Jjukira nti okusiriikiriramu ng’olina ky’oyagala okuggumiza wandikweyambisizza ku nsonga nkulu zokka. Bwe kitaba kityo, amakulu g’ensonga ezo gayinza obutavaayo.

      Yesu bwe yamala okusoma ekitundu mu kkuŋŋaaniro e Nazaleesi, yeeyambisa enkola eno ey’okusiriikiriramu. Yasoma mu muzingo gwa Isaaya awoogera ku mulimu gwe yaweebwa. Kyokka, nga tannalaga makulu g’ebyo bye yasoma, yazingako omuzingo, n’aguddiza omuweereza era n’atuula. Awo, nga bonna mu kkuŋŋaaniro bamusimbye amaaso, yagamba: ‘Leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiriziddwa.’​—Luk. 4:16-21.

      Siriikiriramu ng’Embeera Zikyetaagisa. Era kiyinza okukwetaagisa okusiriikiriramu bwe wabaawo ebitaataaganya. Omwana akaaba oba ebidduka ebiyitawo biyinza okukwetaagisa okusiriikiriramu ng’obadde oyogera n’omuntu gw’osanze mu buweereza bw’ennimiro. Singa ekiba kitaataaganya mu kifo w’oyogerera tekiba kya maanyi nnyo, oyinza okukangula ku ddoboozi ne weeyongera mu maaso okwogera. Naye singa okutaataaganya kuba kwa maanyi ate nga tekusalako, oteekwa okusiriikiriramu. N’abakuwuliriza bajja kuba tebawulira by’oyogera. N’olwekyo, siriikiriramu buli we kyetaagisa osobole okuyamba abakuwuliriza okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo by’obategeeza.

      Siriikiriramu ng’Olindirira Okukuddamu. Ka kibe nti abakuwuliriza tekibeetaagisa kubaako bye baddamu ng’owa mboozi, kikulu okubawayo akaseera okweddamu mu birowoozo ebibuuzo by’obabuuza. Singa obuuza ebibuuzo ebyetaagisa abakuwuliriza okulowoolereza naye n’otasiriikiriramu kimala, ebibuuzo ebyo tebijja kuba na makulu.

      Kya lwatu, tetusaanidde kusiriikiriramu nga twogera ku platifomu wokka naye era ne bwe tuba tubuulira. Abantu abamu tebasiriikiriramu nga boogera. Ekyo bwe kiba nga kizibu kyo, fuba nnyo okukikolako. Mu ngeri eyo ojja kulongoosa mu ngeri gy’onyumyamu n’abalala era n’engeri gy’obuuliramu. Bw’osiriikiriramu, ojja kusobola okuggumiza ensonga enkulu n’okuyamba abawuliriza okussaayo omwoyo.

      Bw’oba onyumya n’omuntu wabaawo okuwaanyisa ebirowoozo. Abantu bajja kukuwuliriza singa naawe obawuliriza nga boogera. Kino kyetaagisa okusiriikiriramu akaseera akamala basobole okuwa endowooza yaabwe.

      Nga tuli mu buweereza bwaffe obw’omu nnimiro, okubuulira kuvaamu ebirungi singa tukubaganya ebirowoozo n’abantu. Oluvannyuma lw’okulamusa omuntu, Abajulirwa bangi babuuza ekibuuzo. Basiriikiriramu abeeko ky’addamu, era ne bassaayo omwoyo ng’ayogera. Nga bakubaganya naye ebirowoozo, bamuwa emikisa egiwerako okubaako by’addamu. Bakimanyi bulungi nti okusobola okuyamba omuntu kibeetaagisa okutegeera endowooza ye ku nsonga eba eyogerwako.​—Nge. 20:5.

      Kya lwatu, abamu tebajja kuddamu mu ngeri nnungi. Naye ekyo tekyalemesa Yesu kuwa bantu mukisa okubaako kye boogera ka babeere abo abaamuziyizanga. (Mak. 3:1-5) Bw’owa omuntu omukisa okwogera, ayinza okwoleka ekiri ku mutima gwe. Ekimu ku bigendererwa by’obuweereza bwaffe kwe kutuuka ku mutima gw’abantu babeeko kye basalawo ku nsonga enkulu ezisangibwa mu Kigambo kya Katonda.​—Beb. 4:12.

      Kikulu nnyo okusiriikiriramu we kisaanira nga tuli mu buweereza bwaffe. Bwe tusiriikiriramu we kisaanira, bye twogera bitegeerekeka bulungi era bijjukirwa.

      ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

      • Genderera nnyo obubonero obukozesebwa mu kuwandiika ng’osomera abalala.

      • Wuliriza aboogezi abalungi, era weetegereze engeri gye basiriikiriramu.

      • Oluvannyuma lw’okwogera ekintu ky’oyagala abalala okujjukira, siriikiriramu by’oyogera bisobole okubatuuka ku mutima.

      • Ng’onyumya n’abantu, bakubirize okuwa endowooza yaabwe, era wuliriza bye baddamu. Baleke bamaleyo kye boogera. Tobasala kirimi.

      EKY’OKUKOLA: Soma Makko 9:1-13 mu ddoboozi eriwulikika; siriikiriramu awali obubonero obukozesebwa mu kuwandiika. Tosiriikirira kisukkiridde. Oluvannyuma lw’okwegezaamu emirundi egiwerako, saba omuntu akuwulirize ng’osoma era akulage we weetaaga okulongoosamu ku nsonga eno ey’okusiriikiriramu we kyetaagisa.

  • Okuguumiza Ebigambo Ebiggyayo Amakulu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
    • ESSOMO 6

      Okuggumiza Ebigambo Ebiggyayo Amakulu

      Kiki ky’osaanidde okukola?

      Ggumiza ebigambo mu ngeri esobozesa abakuwuliriza okutegeera by’oyogera.

      Lwaki Kikulu?

      Omwogezi bw’aggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu abawuliriza bajja kussaayo omwoyo ku by’ayogera era babeeko kye bakolawo.

      BW’OBA oyogera oba ng’osoma mu ddoboozi eriwulikika, tokoma ku kwatula bulungi bigambo, naye era osaanidde n’okuggumiza n’ebigambo ebiggyayo amakulu.

      Okuggumiza mu ngeri eno, tekitegeeza kubaako bubeezi bigambo by’oggumiza. Wabula ebigambo byennyini ebiggyayo amakulu bye birina okuggumizibwa. Singa ebigambo ebitaggyayo makulu biggumizibwa, abakuwuliriza bayinza obutafuna makulu gennyini ag’ebyo by’oyogerako era kiyinza okuviirako ebirowoozo byabwe okuwugulibwa. Wadde nga by’oyogera biyinza okuba eby’omuganyulo, bw’otoggumiza bigambo biggyayo makulu, abakuwuliriza bayinza obutabiganyulwamu.

      Oyinza okuggumiza ebigambo mu ngeri ezitali zimu, era ezimu ku ezo kisoboka okuzikozeseza awamu, gamba nga: okukangula ku ddoboozi, okwoleka enneewulira etuukana n’ebigambo by’oyogera, okukendeeza ku sipiidi gy’oyogererako, okusiriikiriramu nga tonnaba oba ng’omaze okwogera ebigambo by’oyagala okuggumiza, n’okukozesa ebitundu byo eby’omubiri ng’oyogera. Mu nnimi ezimu, oyinza okuggumiza ekintu ng’okyusa mu mpulikika y’eddoboozi. Osaanidde okwekenneenya obulungi by’ogenda okwogerako ng’osalawo engeri gy’onookozesa okuggumiza.

      Ng’osalawo ebigambo ebisaanidde okuggumizibwa, lowooza ku bino wammanga. (1) Ebigambo ebirina okuggumizibwa mu sentensi tebisinziira ku bigambo birala biri mu sentensi eyo yokka, naye era ne ku sentensi endala eziriraanyeewo. (2) Oyinza okuggumiza ng’otandika ensonga endala oba ng’ogenda kukyusa mu ngeri gy’onnyonnyolamu. Era, okuggumiza kuyinza okulaga nti ofundikira ensonga gy’obadde onnyonnyola. (3) Waliwo ebigambo omwogezi by’ayinza okuggumiza okusobola okulaga engeri gy’atwalamu ensonga. (4) Era oyinza okuggumiza ebigambo ebimu okusobola okuggyayo ensonga enkulu.

      Okusobola okuggumiza obulungi ebigambo ebiggyayo amakulu, omwogezi oba omuntu asoma mu lujjudde ateekwa okuba ng’ategeera bulungi by’agenda okwogera oba okusoma era ng’ayagala abamuwuliriza nabo babitegeere bulungi. Ku bikwata ku kuyigiriza okwaliwo mu kiseera kya Ezera, Nekkemiya 8:8 wagamba: ‘Ne basoma mu kitabo amateeka ga Katonda mu ddoboozi eriwulikika; ne bannyonnyola amakulu abantu basobole okutegeera ebisomeddwa.’ Kya lwatu nti abo abaasoma era ne bannyonnyola Amateeka ga Katonda baali bategeera bulungi obukulu bw’okuyamba ababawuliriza okutegeera ebyali bisomebwa, okubijjukira era n’okubikozesa mu bulamu bwabwe.

      Kiki Ekiyinza Okuleetawo Ekizibu. Abantu abasinga obungi bwe baba banyumya n’abalala boogera mu ngeri etegeerekeka. Kyokka, bwe baba basoma ebintu ebyawandiikibwa omuntu omulala, kiyinza obutabanguyira kumanya bigambo oba nsonga za kuggumiza. Naye singa bategeera bulungi bye bagenda okusoma, baba basobola okuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu. Ekyo kyetaagisa okutegeka obulungi. N’olwekyo, bw’obaako ne by’ogenda okusomera abalala, bitegeke bulungi.

      Abantu abamu babaako ebigambo bye baggumiza ‘buli luvannyuma lwa kaseera’ ne we kiteetaagisiza mu kifo ky’okuggumiza ebyo byokka ebiggyayo amakulu. Abalala baggumiza obugambo obuyunzi we kiteetaagisiza. Okuggumiza ebigambo ebitaggyayo makulu, kiyinza okuwugula ebirowoozo by’abawuliriza.

      Aboogezi abamu bakangula nnyo eddoboozi nga balina kye baggumiza ne kireetera ababawuliriza okuwulira ng’abanenyezebwa. Kya lwatu ebivaamu tebiba birungi. Singa toggumiza mu ngeri esaana, kiyinza okuwa ekifaananyi nti tossa kitiibwa mu bakuwuliriza. Ekisingako obulungi kwe kwogera mu ngeri eyoleka okwagala era n’okufuba n’okuyamba abawuliriza okulaba nti eby’ogerwako biva mu Byawandiikibwa era bya muganyulo.

      Engeri y’Okulongoosaamu. Emirundi mingi omuntu ayinza obutakimanya nti alina ekizibu mu kuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu. Omuntu omulala aba alina okukimutegeeza. Bw’oba weetaaga okulongoosaamu ku nsonga eno, akubiriza essomero ajja kukuyamba. Era oyinza okusaba omwogezi omulungi akuyambe. Musabe akuwulirize ng’osoma oba ng’oyogera era akuwe amagezi ku ngeri gy’oyinza okulongoosaamu.

      Akuwabula ayinza okukugamba okwegezaamu ng’osoma ekitundu mu Omunaala gw’Omukuumi. Awatali kubuusabuusa ajja kukugamba weetegereze bulungi sentensi ezirimu osobole okumanya ebigambo ebyetaaga okuggumizibwa okusobola okuggyayo amakulu. Ayinza okukujjukiza okwegendereza ennyo ebigambo ebimu ebiwandiikiddwa mu lukono (italics). Jjukira ate nti ebigambo ebimu ebiri mu sentensi olina kubisomera wamu okusobola okuggyayo amakulu. Emirundi mingi, ebigambo ebiwerako biba bisaanidde okuggumizibwa wamu so si kigambo kimu kimu. Mu nnimi ezimu, kiyinza okwetaagisa abayizi okuyiga amateeka agakwata ku kuggumiza ebigambo.

      Okusobola okweyongera okuyiga okuggumiza we kyetaagisa, akuwabula ayinza okukukubiriza obutatunuulira sentensi emu yokka naye n’endala eziriraanyewo. Nsonga ki enkulu eri mu katundu konna? Ensonga ezo zandikuyambye zitya okumanya ebigambo by’olina okuggumiza mu sentensi? Weetegereze omutwe omukulu n’omutwe omutono oguli mu nnukuta enkwafu eziri waggulu w’obutundu obwo okwesigamiziddwa by’oyogerako. Emitwe egyo giyinza gitya okukuyamba okumanya ebigambo by’olina okuggumiza? Ebyo byonna olina okubirowoozaako. Naye weegendereze obutaggumiza bigambo bingi.

      K’obe ng’emboozi yo ogenda kugisoma busomi oba nedda, akuwabula ajja kukukubiriza okuggumiza ebigambo okusinziira ku nsonga gy’oba onnyonnyola. Olina okumanya ebitundu mu mboozi yo w’okyusiza okuva ku nsonga emu okudda ku ndala. Abakuwuliriza bajja kugoberera bulungi singa obaako ebigambo by’oyogera ebiraga nti kati ogenda ku nsonga ndala. Oyinza okukikola ng’okozesa ebigambo nga, okusookera ddala, ekyo nga kiwedde, nga tukomekkereza, ne bwe kityo.

      Akuwabula ajja kukulaga ebigambo by’osaanidde okusoma oba okwogera okusobola okwoleka enneewulira. Okukola kino kiyinza okukwetaagisa okuggumiza ebigambo nga ddala ddala, awatali kubuusabuusa, tekiteeberezeka, ne kikulu nnyo. Okuggumiza ebigambo ng’ebyo kiyinza okuyamba abakuwuliriza okutegeera obulungi ebyo by’oyogera. Ebirala ebikwata ku nsonga eno bijja kwogerwako mu Ssomo 11, “Okwoleka Omukwano n’Enneewulira.”

      Ng’akuyamba okulongoosa mu ngeri gy’oggumizaamu, omuwabuzi ajja kukukubiriza okumanya obulungi ensonga enkulu z’oyagala abakuwuliriza okujjukira. Kino kijja kwongera okwekenneenyezebwa mu Ssomo 7, “Okuggumiza Ensonga Enkulu,” ne mu Ssomo 37, “Okuggyayo Obulungi Ensonga Enkulu.”

      Bw’oba ofuba okulongoosa mu ngeri gy’obuuliramu genderera nnyo engeri gy’osomamu ebyawandiikibwa. Weebuuze, ‘Lwaki ŋŋenda kusoma ekyawandiikibwa kino?’ Bw’oba osomesa, tekimala okwatula obwatuzi obulungi ebigambo. N’okusoma ekyawandiikibwa ng’oyoleka bwolesi nneewulira etuukirawo kiyinza obutamala. Bw’oba oddamu ekibuuzo oba ng’olina ensonga gy’onnyonnyola, kiba kirungi okuggumiza ebigambo ebiwagira ky’oyogerako mu kyawandiikibwa ky’oba osoma. Bwe kitaba kityo, omuntu gw’osomera ayinza obutafuna makulu.

      Okuva bwe kiri nti ebigambo ebiggyayo amakulu birina okuggumizibwa, omwogezi atalina bumanyirivu ayinza okuggumiza ebigambo ebyo ekisukkiridde. Kifaananako omuntu ayiga obuyizi okukuba ekivuga. Bw’agenda yeegezaamu, atandika okukuba obulungi ekivuga era ‘n’ennyimba’ ze ziba nnungi.

      Wadde ng’oyize ebimu ku ebyo ebikwata ku ngeri y’okuggumizaamu, ojja kwongera okuganyulwa bw’oneetegereza aboogezi abalina obumanyirivu. Ojja kutegeera engeri endala ennungi ez’okuggumizaamu era n’emiganyulo egiri mu kuggumiza mu ngeri ezo ez’enjawulo. Okuyiga okuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu ne gy’oyogeramu.

      Toba mumativu na kumanyayo ebitonotono ebikwata ku kuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu. Okusobola okuba omwogezi omulungi, olina okweyongera okuyiga ebikwata ku kuggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu okutuusa lw’oba ng’osobola okukikolera ddala obulungi.

      ENGERI Y’OKUKIKOLAMU

      • Weetegereze ebigambo ebikulu n’ebigambo by’olina okusomera awamu mu buli sentensi okusobola okuggyayo amakulu. Sentensi endala eziriraanyeewo zikuyamba okumanya ebigambo ebyo.

      • Baako ebigambo by’okuggumiza okulaga (1) nti ova ku nsonga emu okudda ku ndala ne (2) engeri gy’otwalamu by’oyogera.

      • Bw’oba osoma ebyawandiikibwa, ggumiza ebigambo ebiwagira ensonga gy’oyogerako.

      EBY’OKUKOLA: (1) Funayo ebyawandiikibwa bibiri by’otera okukozesa mu buweereza bw’ennimiro. Manya engeri gy’oyagala okukozesaamu ebyawandiikibwa ebyo. Bisome ng’oggumiza ekigambo oba ebigambo ebiwagira ensonga ezo. (2) Soma Abebbulaniya 1:1-14. Lwaki ebigambo “bannabbi” (luny. 1), “Mwana” (luny. 2), ne “bamalayika” (enny. 4, 5) biteekwa okuggumizibwa mu ngeri ey’enjawulo okusobola okunnyonnyola obulungi ensonga enkulu eri mu ssuula eno? Weegezeemu okusoma essuula eno mu ddoboozi eriwulikika ng’oggumiza ebigambo ebiggyayo amakulu.

  • Okuggumiza Ensonga Enkulu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
    • ESSOMO 7

      Okuggumiza Ensonga Enkulu

      Kiki ky’osaanidde okukola?

      Bw’oba osoma mu ddoboozi eriwulikika, ggumiza ensonga enkulu eziri mu ebyo by’osoma, so si buli sentensi.

      Lwaki Kikulu?

      Abakuwuliriza bajja kusobola okujjukira obubaka bwo singa oggumiza ensonga enkulu.

      OMUSOMI omulungi talowooza ku sentensi eyo yokka gy’aba asoma oba akatundu mw’eri. Wabula, alowooza ne ku nsonga enkulu eziri mu kitundu ky’aba asoma. Ekyo kimuyamba okumanya wa w’alina okuggumiza.

      Singa ekyo takikola, ensonga enkulu tezijja kweyoleka bulungi ng’asoma. Ate era bw’aba amalirizza okusoma, kiyinza okuzibuwalira abawuliriza okujjukira ensonga enkulu ezibaddemu.

      Okuggumiza ensonga enkulu kisobozesa amakulu g’ekyawandiikibwa ekiba kisomebwa okuvaayo obulungi. Ate era amakulu gajja kuvaayo bulungi singa tuggumiza ensonga enkulu nga tusoma obutundu mu katabo nga tuyigiriza omuntu Baibuli oba nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kikulu nnyo okuggumiza ensonga enkulu ng’owa emboozi ey’okusoma obusomi, gamba ng’ezo eziweebwa ku nkuŋŋaana zaffe ennene.

      Engeri y’Okuggumizaamu. Mu ssomero ly’omulimu gwa Katonda, oyinza okuweebwa ekitundu eky’okusoma okuva mu Baibuli. Kiki ekirina okuggumizibwa? Bwe wabaawo ensonga enkulu okwesigamiziddwa ebyo by’ogenda okusoma, kiba kirungi okugiggumiza obulungi ng’osoma.

      Ka kibeere nti ogenda kusoma kitontome, lugero oba ekintu ekirala, abakuwuliriza bajja kuganyulwa nnyo singa osoma bulungi. (2 Tim. 3:16, 17) Okusobola okusoma obulungi olina okulowooza ku kitundu ky’ogenda okusoma era n’abakuwuliriza.

      Bw’oba ng’ogenda kusoma obutundu mu katabo ng’oyigiriza omuyizi wa Baibuli oba mu lukuŋŋaana lw’ekibiina, nsonga ki enkulu z’olina okuggumiza? Eby’okuddamu mu bibuuzo by’oba otwala ng’ensonga enkulu ezeetaaga okuggumizibwa. Ate era ggumiza ensonga ezikwatagana n’emitwe emitono egiri mu kitundu ky’osoma.

      Tekiba kirungi okusoma obusomi buli mboozi gy’owa mu kibiina. Kyokka, obw’olumu, emboozi ez’okusoma obusomi ziweebwa mu nkuŋŋaana ennene, abawuliriza ne basobola okufuna obubaka bwe bumu ddala mu nkuŋŋaana zonna ennene. Okusobola okuggumiza ensonga enkulu mu mboozi ng’eyo, omwogezi alina okusooka okugiyitamu n’obwegendereza. Nsonga ki enkulu ezigirimu? Alina okuzitegeera. Ensonga enkulu si bye bintu ye by’awulira nti bimusanyusa. Wabula bye birowoozo ebikulu emboozi yonna kwe yeesigamiziddwa. Emirundi egimu ensonga enkulu mu mboozi ez’okusoma obusomi y’eyanjula ebigenda okuttottolebwa. Emirundi egisinga, ensonga enkulu zirambikibwa oluvannyuma lw’okuwa obujulizi obuziwagira. Oluvannyuma lw’okutegeera we ziri, omwogezi asaanidde okuzisazaako. Zitera kuba ntono, nga tezisukka nnya oba ttaano. Kati olwo aba alina okwegezaamu, ng’asoma mu ngeri eneesobozesa abawuliriza okuzitegeera. Awo we ziri walina okweyoleka obulungi. Singa awa emboozi ng’aggumiza awali ensonga enkulu, abawuliriza tebajja kuzeerabira. Omwogezi yandibadde n’ekiruubirirwa ekyo.

      Waliwo engeri nnyingi omwogezi gy’ayinza okuggumizaamu by’asoma ne kisobozesa abawuliriza okutegeera ensonga enkulu. Ayinza okwongeramu ebbugumu, okukyusa ku sipiidi gy’ayogererako, okwoleka enneewulira etuukana n’ebigambo by’asoma, okukozesa obubonero obutuukirawo, oba okukozesa n’engeri endala nnyingi.

      EBINTU BY’OLINA OKUJJUKIRA

      • Weekenneenye by’ogenda okusoma osobole okumanya wa awali ensonga enkulu. Zisazeeko.

      • Bw’oba ng’osoma mu ddoboozi eriwulikika, yoleka ebbugumu, kyusakyusa mu ddoboozi, laga enneewulira etuukirawo, osobole okuggyayo ensonga enkulu.

      EKY’OKUKOLA: Londayo obutundu butaano okuva mu kitundu ekinaasomebwa mu Omunaala gw’Omukuumi. Saza ku by’okuddamu mu butundu obwo. Busome mu ngeri eneesobozesa abakuwuliriza okuzuula amangu eby’okuddamu.

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share