EKITUNDU 2
“Yakuwa Ayagala Obwenkanya”
Obutali bwenkanya bukyase nnyo mu nsi leero, era abantu banenya Katonda olw’obutali bwenkanya obwo. Kyokka Bayibuli egamba nti: “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28) Mu kitundu kino, tugenda kulaba engeri gy’atuukanye n’ebigambo ebyo ng’awa abantu bonna essuubi.