Ekitundu 1
‘ALINA AMAANYI MANGI’
Mu kitundu kino tujja kwekenneenya ebiri mu Bayibuli ebyoleka amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda, ag’okuzikiriza, ag’okukuuma, n’ag’okuzza obuggya ebintu. Okutegeera engeri Yakuwa Katonda gy’akozesaamu ‘amaanyi ge amangi,’ kijja kutuyamba okuba abavumu era kijja kwongera okunyweza essuubi lye tulina.—Isaaya 40:26.