LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • rr lup. 10
  • 1A Okusinza Kye Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 1A Okusinza Kye Ki?
  • Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
  • Similar Material
  • Abakristaayo Bafuna Essanyu mu Kuweereza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2000
  • Okusinza okw’Amazima Kujja Kukuyamba Okweyongera Okuba Omusanyufu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Koppa Yesu—Sinza Katonda mu Ngeri gy’Asiima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Kusinza kw’Ani Katonda kw’Akkiriza?
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
See More
Yakuwa Azzaawo Okusinza Okulongoofu!
rr lup. 10
Nga basomera wamu ekitabo Okusinza Okulongoofu

AKASANDUUKO 1A

Okusinza Kye Ki?

Ekigambo “okusinza” kisobola okutegeeza “ekikolwa ekyoleka okussa ekitiibwa mu katonda n’okumwagala.” Mu Bayibuli ebigambo ebyavvuunulwa “okusinza” era bisobola okutegeeza okussa ennyo ekitiibwa mu bitonde oba okubigondera. (Mat. 28:9) Era ebigambo ebyo bisobola okutegeeza ekikolwa abantu kye bakolera Katonda oba ekintu kyonna kye batwala okuba katonda. (Yok. 4:23, 24) Ebigambo ebyo bivvuunulwa okusinziira ku ekyo ekiba kyogerwako.

Yakuwa Katonda, Omutonzi era Omufuzi w’Obutonde Bwonna, ye yekka gwe tusaanidde okwemalirako. (Kub. 4:10, 11) Tuba tusinza Yakuwa bwe tussa ekitiibwa mu bufuzi bwe era bwe tussa ekitiibwa mu linnya lye. (Zab. 86:9; Mat. 6:9, 10) Obufuzi bwa Yakuwa n’erinnya lye byogerwako nnyo mu kitabo kya Ezeekyeri. Ebigambo “Yakuwa, Mukama Afuga Byonna” birabika emirundi 217 mu kitabo kya Ezeekyeri mwokka, ate ebigambo ‘bajja kumanya nti nze Yakuwa,’ birabika emirundi 55.​—Ezk. 2:4; 6:7.

Kyokka okusinza kwaffe si kye kintu ekikoma obukomi mu nneewulira, wabula kulina okweyolekera mu bikolwa. (Yak. 2:26) Bwe twewaayo eri Yakuwa, tweyama okumugondera ng’Omufuzi waffe mu mbeera zaffe zonna ez’obulamu era tweyama okussa ennyo ekitiibwa mu linnya lye. Kijjukire nti Yesu bwe yali addamu Sitaani mu kikemo eky’okusatu, okusinza yakukwataganya ‘n’okuweereza.’ (Mat. 4:10) Abantu ba Yakuwa twagala nnyo okuweereza Yakuwa.a (Ma. 10:12) Tuweereza Katonda nga twenyigira mu mirimu egirina akakwate n’okusinza kwaffe era ng’ekyo kizingiramu okwefiiriza. Mirimu ki egyo?

Ng’aliko ky’addamu mu lukuŋŋaana; nga bayonja ekifo awagenda okubeera olukuŋŋaana olunene

Okuweereza Katonda kuzingiramu ebintu bingi, era byonna Yakuwa abitwala nga bya muwendo. Bwe tubuulira abalala, bwe twenyigira mu nkuŋŋaana, bwe tuzimba ebifo mwe tusinziza era ne tubirabirira, tuba tuweereza Katonda. Ate era tuba tuweereza Katonda bwe twenyigira mu kusinza kw’amaka, bwe tuwagira omulimu ogw’okudduukirira bakkiriza bannaffe ababa mu bwetaavu, bwe tukola nga bannakyewa ku nkuŋŋaana zaffe ennene, oba bwe tuweereza ku Beseri. (Beb. 13:16; Yak. 1:27) Bwe tukulembeza okusinza okulongoofu mu bulamu bwaffe, tuba ‘tuweereza Katonda emisana n’ekiro.’ Kitusanyusa nnyo okuweereza Yakuwa Katonda waffe!​—Kub. 7:15.

Genda ku ssuula 1, akatundu 9

a Ekimu ku bigambo by’Olwebbulaniya ekisobola okuvvuunulwa “okusinza” era kitegeeza “okuweereza.” N’olwekyo okusinza kuzingiramu okuweereza.​—Kuv. 3:12, obugambo obuli wansi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share