EKITUNDU EKY’OKUBIRI
“Ekifo Kyange Ekitukuvu Mwakifuula Ekitali Kirongoofu”—Okusinza okw’Amazima Kwonoonebwa
OMULAMWA: Yuda ne Yerusaalemi byonooneka mu by’omwoyo ne mu mpisa
Yakuwa yali ayagala nnyo Abayisirayiri, ng’abatwala ‘ng’ekintu eky’omuwendo.’ (Kuv. 19:5, obugambo obuli wansi.) Naye Abayisirayiri tebaasiima kwagala Yakuwa kwe yabalaga, wabula baasalawo okusinziza bakatonda ab’obulimba mu yeekaalu ye! Baanakuwaza nnyo Yakuwa era baaleeta ekivume ku linnya lye. Kiki ekyaviirako Abayisirayiri okwonooneka bwe batyo? Kiki kye tuyigira ku bunnabbi bwa Ezeekyeri obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi? Era biki bye tuyigira ku ngeri Isirayiri gye yakolaganamu n’amawanga agaali gagyetoolodde?