Tetwalina Kutya Kwonna—Yakuwa Yali Wamu Naffe
Byayogerwa Egyptia Petrides
Mu 1972, Abajulirwa wonna mu Cyprus baakuŋŋaanira mu kibuga Nicosia okuwuliriza emboozi ey’enjawulo eyali egenda okuweebwa Nathan H. Knorr, eyali amaze emyaka emingi ng’alabirira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe yandaba yantegeererawo, era nnali sinnaba na kumweyanjulira n’ambuuza nti: “Mawulire ki agafa e Misiri?” Waali wayise emyaka 20 bukya nsisinkana Ow’oluganda Knorr mu kibuga Alexandria ekya Misiri gye nnali mbeera.
NNAZAALIBWA mu kibuga Alexandria nga Jjanwali 23, 1914, era twazaalibwa abaana bana nga nze mukulu. Ekifo we twakulira kyali kumpi nnyo n’ennyanja. Alexandria kyali kibuga kirungi, omwali abantu ab’amawanga agatali gamu era nga kimanyiddwa nnyo olw’ebizimbe byakyo n’ebyafaayo. Abazungu n’Abawalabu baabeeranga wamu, era twakula tumanyi okwogera Oluwalabu, Oluzungu, Olufalansa, Oluyitale, awamu n’Oluyonaani, olwali olulimi lwaffe.
Bwe nnamala okusoma, nnatandika okukolera kampuni etunga engoye ez’emisono gy’Ekifalansa, era nnanyumirwanga okuyiiya n’okutunga ebiteeteeyi by’abakyala abagagga. Nnali nnettanira eby’eddiini era nga nsoma nnyo Baibuli, wadde nga bye nnasomanga nnali sibitegeera bulungi.
Mu kiseera ekyo—awo nga mu 1935—nnasanga omusajja ayitibwa Theodotos Petrides, eyali omutoototo era nga wa ggwanga lya Cyprus. Wadde nga yali musajja mukubi wa bigwo kayingo, yali amanyi bulungi okufumba keeki, emigaati n’ebintu ebiringa ebyo, era yali akolera edduuka erimu ery’amaanyi eribitunda. Nnali mukazi mutono wa nviiri nzirugavu, era Theodotos bwe yandaba yanjagala nnyo. Emirundi mingi yajjanga ku ddirisa lyange n’annyimbira obuyimba bw’Oluyonaani obw’omukwano. Twafumbiriganwa mu Jjuuni nga 30, 1940. Ekyo kyali kiseera kya ssanyu. Twali tubeera ku kizimbe kye kimu ne mmange, era yali abeera ku mwaliro ogwali waggulu w’ogwaffe. Omwana waffe eyasooka, John, yazaalibwa mu 1941.
Tutandika Okuyiga Baibuli
Theodotos yali amaze ekiseera nga si mumativu n’enzikiriza yaffe, era yalina ebintu bingi ebikwata ku Baibuli bye yali yeebuuza. Nnali simanyi nti yali atandise okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa. Lumu bwe nnali ndi awaka n’omwana waffe, wajjawo omukyala n’ampa kaadi eyaliko obubaka okuva mu Baibuli. Nnagisoma olw’okuba nnali ssaagala kumuyisa bubi. Oluvannyuma yampa ebitabo ebinnyonnyola Baibuli. Kyanneewunyisa okulaba nti byali bye bimu n’ebyo Theodotos bye yali yaleese awaka!
Nnamugamba nti, “ebitabo bino mbirina,” era ne mmusaba okuyingira. Nnatandikirawo okubuuza Omujulirwa ono eyali ayitibwa Eleni Nicolaou ebibuuzo. Yali mugumiikiriza era yaddamu ebibuuzo byange byonna nga yeeyambisa Baibuli. Ekyo kyansanyusa nnyo. Nnatandika okutegeera obubaka bwa Baibuli. Bwe twali tusiriikiriddemu katono, Eleni yalaba ekifaananyi kya mwami wange era yaŋŋamba nti, “omwami oyo mmumanyi!” Nneewuunya nti Theodotos yali agenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa naye nga taŋŋambangako wadde nti tugende ffenna! Theodotos bwe yakomawo ku olwo nnamugamba nti: “Tujja kugenda ffenna eri gye wali ku Ssande eyayita!”
Mu lukuŋŋaana lwe nnasooka okugendamu waaliyo abantu nga kkumi era baali bayiga ku kitabo kya Mikka. Buli kye baayogera nnakitegeera bulungi! Okuva olwo, George Petraki ne mukazi we Katerini baatandika okutuyigiriza Baibuli buli Lwakutaano olw’eggulo. Kitange ne bato bange abasinga baanyiiga nnyo okukimanya nti twali tuyiga n’Abajulirwa ba Yakuwa, naye muganda wange omu teyafaayo, wadde nga teyafuuka mujulirwa. Kyokka, ye maama yayiga Baibuli era yakkiriza amazima. Mu 1942, ffenna basatu, nze, maama wange, ne Theodotos, twewaayo eri Yakuwa, era ne tubatizibwa mu nnyanja mu Alexandria.
Obulamu Bwaffe Bukyuka
Ssematalo II yatandika mu 1939, era n’anyinyittira. Emyaka gya 1940 we gyatandikira, amagye agalwanira mu tanka agaali gaduumirwa Erwin Rommel Omugirimaani gaali gatuuse mu kibuga El Alamein ekyatuli okumpi, ate nga Alexandria kyo kyali kikubyeko abajaasi ba Bungereza. Twatereka emmere enkalu nnyingi. Mu kiseera ekyo, mukama wa Theodotos yamusaba okuddukanya edduuka eppya lye yali agguddewo mu Port Taufiq okuliraana ekyondo ky’e Suez, era bwe tutyo twasenguka ne tudda eyo. Abajulirwa babiri abaali bamanyi Oluyonaani baatunoonya gye twali tusengukidde. Baali tebamanyi we tubeera, naye baagenda babuulira nnyumba ku nnyumba okutuusa lwe baatuzuula.
Nga tuli e Port Taufiq, twayiga Baibuli ne Stavros Kypraios ne mukyala we Giula, awamu n’abaana baabwe Totos ne Georgia, era bonna baafuuka mikwano gyaffe nnyo. Olw’okuba Stavros yali ayagala nnyo okuyiga Baibuli, essaawa z’omu nnyumba ye zonna yazizzanga emabega, era ekyo kyatuviirako eggaali y’omukka okutuleka ne tuwalirizibwa okusula ewuwe. Twayiganga Baibuli okutuuka ekiro mu ttumbi.
Bwe twali twakamala emyezi 18 e Port Taufiq, maama wange yalwala era kino kyatuwaliriza okuddayo mu Alexandria. Mama yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa mu 1947. Ne ku mulundi ogwo, Yakuwa yatugumya okuyitira mu mikwano gyaffe Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo. Oluusi twakyazanga abaminsani abaabanga bagenda okuweereza mu nsi endala, emmeeri kwe baabanga batambulira bwe zaabanga ziyimiriddeko mu Alexandria.
Ebiseera eby’Essanyu n’Eby’Ennaku
Mu 1952, nnazaala mutabani waffe ow’okubiri, James. Twali tukimanyi nti kikulu okukuliza abaana baffe mu mbeera ezibayamba okukulaakulana mu by’omwoyo, n’olwekyo twakyazanga abaweereza ab’ekiseera kyonna era mu maka gaffe mwabeerangamu enkuŋŋaana z’ekibiina. Kino kyayamba mutabani waffe omukulu, John, okwagala ennyo obubaka bwa Baibuli, era yafuuka payoniya nga akyali mu myaka gye egy’obutiini. Okusobola okumaliriza emisomo gye, yasomanga kiro.
Waayita ekiseera kitono ne kizuulibwa nti Theodotos yalina obulwadde bw’omutima obubi ennyo era yaweebwa amagezi okuleka omulimu ogwo. Mu kiseera ekyo mutabani waffe James yalina emyaka ena gyokka. Twali tugenda kukola tutya? Yakuwa teyasuubiza nti: “Totya, kubanga nze ndi wamu naawe”? (Is. 41:10) Teebereza essanyu lye twafuna mu 1956 bwe twasabibwa okuweereza nga bapayoniya mu Ismailia, okumpi n’Omukutu gw’e Suez! Emyaka egyaddirira gyali gya butabanguko mu Misiri, era ab’oluganda baali beetaaga okuzzibwamu amaanyi.
Mu 1960 twawalirizibwa okuva e Misiri nga kumpi tetututte kantu konna. Twasengukira mu Cyprus, ekizinga baze gye yali ava. Mu kiseera kino Theodotos yali mulwadde nnyo nga takyasobola kukola. Kyokka, ow’oluganda omu ne mukyala we baatufunira aw’okusula mu emu ku nnyumba zaabwe. Kya nnaku nti baze yafa nga wayise emyaka ebiri, ne nsigala bw’omu ne mutabani wange omuto, James. John, nga naye yali asengukidde mu Cyprus, yali yawasa era ng’alina okulabirira amaka ge.
Yakuwa Atulabirira mu Biseera Ebizibu
Stavros Kairis ne mukyala we Dora baatuwa aw’okusula mu nnyumba yaabwe. Nnafukamira ne nneebaza Yakuwa olw’okutulabirira nate nga tuli mu bwetaavu. (Zab. 145:16) Stavros ne Dora bwe baasalawo okutunda ennyumba yaabwe bazimbe endala okuli n’Ekizimbe ky’Obwakabaka, nze ne James baatuteerako ebisenge bibiri eby’okusulamu.
Oluvannyuma James yawasa, era ye ne mukyala we baaweereza nga bapayoniya okutuusa lwe baazaala omwana waabwe asooka ku bana be balina. Mu 1974, nga wayise emyaka ebiri bukya Ow’oluganda Knorr atukyalira, waabalukawo obusambattuko mu Cyprus.a Abantu bangi, omwali n’Abajulirwa, badduka mu mayumba gaabwe ne bagenda mu nsi endala. Mutabani wange John yali omu ku abo. Yasibako n’agenda e Canada ne mukyala we wamu n’abaana baabwe abasatu. Wadde kyali kityo, twasanyuka okulaba nti waaliwo okweyongerayongera mu muwendo gw’ababuulizi b’Obwakabaka mu Cyprus.
Bwe nnatandika okufuna pensoni, nnasobola okwongera ku biseera bye mmala mu buweereza bw’ennimiro. Naye gye buvuddeko awo, nnasannyalala era kino kyanviirako okugenda okubeera ne mutabani wange James mu maka ge. Bwe waayita ekiseera, embeera yange yeeyongera okuba embi era nnamala wiiki eziwera mu ddwaliro, n’oluvannyuma nnatwalibwa mu kifo ekirabirira bannamukadde. Wadde nga buli kiseera mba mu bulumi, mbuulira abasawo, abakozi, abalwadde n’abagenyi. Ebiseera byange bingi mbikozesa okwesomesa era ab’oluganda bannyamba okugenda mu Lukuŋŋaana lw’Okusoma Ekitabo oluli okumpi ne we mbeera.
Mbudaabudibwa mu Myaka gy’Obukadde
Nsanyuka nnyo bwe mpulira ebikwata ku b’oluganda nze ne Theodotos be twayamba okuyiga amazima. Bangi ku baana baabwe n’abazzukulu bali mu buweereza obw’ekiseera kyonna—abamu baweereza mu Bungereza, Buyonaani, Australia, Canada, ne Switzerland. Kati Mutabani wange John ne mukyala we, wamu ne mutabani waabwe, babeera Canada. Muwala waabwe omukulu ne bba bombi bapayoniya. Muwala waabwe Linda asembayo obuto ne bbaawe Joshua Snape, baayitibwa mu Ssomero lya Gireyaadi mu mugigi 124.
Mutabani wange James ne mukyala we kati babeera Bugirimaani. Babiri ku batabani baabwe baweereza ku Beseri—omu ali Asene mu Buyonaani, ate omulala ali Selters mu Bugirimaani. Mutabani waabwe asembayo, ne muwala waabwe ne bbaawe, baweereza nga bapayoniya mu Bugirimaani.
Nga tujja kuba na bingi nnyo eby’okubuulira mmange ne baze omwagalwa Theodotos nga bazuukidde! Bajja kufa essanyu bwe banaamanya emikisa emingi egyava mu kuteekerawo ab’omu nnyumba yaabwe ekyokulabirako ekirungi.b
[Obugambo obuli wansi]
a Laba Awake! eya Okitobba 22, 1974, olupapula 12-15.
b Ekitundu kino kyali tekinnakubibwa mu kyapa, Mwannyinaffe Petrides n’afa nga wa myaka 93.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 24]
Ne ku mulundi ogwo, Yakuwa yatugumya okuyitira mu mikwano gyaffe Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Nga ndi ne Theodotos mu 1938
[Mmaapu eri ku lupapula 24]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
CYPRUS
NICOSIA
ENNYANJA MEDITERENIYANI
MISIRI
CAIRO
Alexandria
El Alamein
Ismailia
Suez
Port Taufiq
Suez Canal
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Based on NASA/Visible Earth imagery
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Mutabani wange John ne mukyala we
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Mutabani wange James ne mukyala we