LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 6/15 lup. 29-32
  • Okuguma ng’Omwagalwa Wo Akwabulidde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuguma ng’Omwagalwa Wo Akwabulidde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Weetunuulire nga Yakuwa bw’Akutunuulira
  • Engeri Yakuwa gy’Abudaabudamu
  • Engeri Abalala gye Bayinza Okuyambamu
  • Weewale Okwesasuza
  • Osobola Okuguma!
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu ng’Obufumbo Bwo Bulimu Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 6/15 lup. 29-32

Okuguma ng’Omwagalwa Wo Akwabulidde

MARGARITA ne bba, Raúl, baali bamaze emyaka mingi nga baweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna.a Naye amangu ddala nga baakazaala omwana waabwe omubereberye, Raúl yatandika okuddirira mu by’omwoyo. N’ekyavaamu, Raúl yatandika okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu era n’agobebwa mu kibiina Ekikristaayo. Margarita agamba nti: “Ebyo byonna bwe byabaawo, nnawulira ng’eyali agenda okufa. Nnalumwa mu mutima, era nnali simanyi kya kukola.”

Ate ye Jane bwe yali yakafumbirwa, omwami we yamwefuulira. Yatandika okumukuba. Jane agamba nti, “Omulundi gwe yasooka okunkuba, kyaneewuunyisa nnyo era nnawulira nga nswadde. Yagufuula muzze, ng’olumala okunkuba ng’anneetondera musonyiwe. Nnali nkitwala nti ng’Omukristaayo, nnalina okusonyiwa n’okwerabira. Ate era nnali ndowooza nti singa mbuulirako omuntu omulala yenna, ka babe bakadde mu kibiina, nnandibadde ng’amuliddemu olukwe. Yamala emyaka mingi ng’ankuba nga bwe musonyiwa. Okumala ebbanga eryo lyonna, nnali ndowooza nti waliwo kye nnali nsobola okukola okuleetera omwami wange okunjagala. Oluvannyuma bwe yandekaawo ne muwala waffe, nnawulira nti nnali nnemereddwa, era nti nnandibadde nnakola ekisingawo okutaasa obufumbo bwaffe.”

Okufaananako Margarita ne Jane, naawe oyinza okuba ng’olumizibwa mu mutima, oba ng’oyolekagana n’embeera enzibu ey’ebyenfuna, era ng’oddiridde mu by’omwoyo olw’omwami wo obutaba mwesigwa. Oba oyinza okuba omwami naye nga naawe olumizibwa mu mutima era ng’olina ebizibu olwa mukyala wo obutaba mwesigwa. Tewali kubuusabuusa nti, nga Baibuli bwe yalagula, tuli mu ‘biseera ebizibu.’ Obunnabbi buno bulaga nti mu “nnaku ez’oluvannyuma,” amaka mangi gandibadde n’ebizibu eby’amaanyi, nga temukyali kwagala. Abamu ku abo abeeyita abaweereza ba Katonda ebikolwa byabwe byandiraze nti balimba. (2 Tim. 3:1-5) Abakristaayo ab’amazima nabo ebizibu ng’ebyo bibakosa. Kati olwo oyinza kukola ki okuguma ng’omwagalwa wo akwabulidde?

Weetunuulire nga Yakuwa bw’Akutunuulira

Omwagalwa wo bw’akukola ekintu ekibi ennyo, mu kusooka kiyinza okukubeerera ekizibu okukikkiriza. Oyinza n’okulowooza nti ggwe omuleetedde okweyisa bw’atyo.

Naye kijjukire nti ne Yesu, omusajja atuukiridde, omuntu gwe yali ayagala ennyo era ng’amwesiga yamulyamu olukwe. Yesu yalonda mikwano gye egy’oku lusegere, abatume, oluvannyuma lw’okusaba ennyo. Bonna 12 we yabalondera baali baweereza ba Yakuwa abeesigwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Yesu yanakuwala nnyo nga Yuda ‘amuliddemu olukwe.’ (Luk. 6:12-16) Kyokka, Yakuwa teyanenya Yesu olw’ebikolwa bya Yuda.

Kituufu nti mu kiseera kino teri mufumbo n’omu atuukiridde. Omwami n’omukyala bombi bakola ensobi. Omuwandiisi wa Zabbuli yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Bw’onoobalanga ebitali bya butuukirivu, Ai Mukama, aliyimirira aluwa?” (Zab. 130:3) Nga bakoppa Yakuwa, abafumbo basaanidde okusonyiwagana.​—1 Peet. 4:8.

Kyokka, “buli omu ku ffe alyennyonnyolako ku lulwe mu maaso ga Katonda.” (Bar. 14:12) Singa omu ku bafumbo agufuula muze okuyisa obubi munne mu bigambo oba mu bikolwa, oyo y’aba avunaanibwa mu maaso ga Yakuwa. Yakuwa akyawa ebikolwa eby’obukambwe n’okuvuma. N’olwekyo, tewali nsonga yonna yandireetedde mufumbo kuyisa munne mu ngeri eteri ya kwagala era etamuwa kitiibwa. (Zab. 11:5; Bef. 5:33; Bak. 3:6-8) Mu butuufu, singa Omukristaayo agufuula muze okukola ebikolwa eby’obukambwe era n’agaana okwenenya, aba alina okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo. (Bag. 5:19-21; 2 Yok. 9, 10) Omukristaayo omufumbo tasaanidde kulowooza nti aba aliddemu munne olukwe bw’atwala ensonga ng’ezo mu bakadde. Mu butuufu, Yakuwa afaayo nnyo ku abo ababa bakoseddwa olw’ebikolwa ng’ebyo.

Singa omu ku bafumbo ayenda, aba tayonoonye eri munne mu bufumbo yekka naye era aba ayonoonye n’eri Yakuwa. (Mat. 19:4-9; Beb. 13:4) Oyo asigadde nga mwesigwa era ng’akolera ku misingi gya Baibuli, tasaanidde kulowooza nti avunaanibwa olw’ekibi kya munne aba ayenze.

Kijjukire nti Yakuwa amanyi bulungi engeri gy’owuliramu. Yeeyogerako ng’omwami eri eggwanga lya Isiraeri, era Ekigambo kye kiraga bulungi engeri gye yawulirangamu ng’eggwanga eryo likoze obwenzi mu by’omwoyo. (Is. 54:5, 6; Yer. 3:1, 6-10) Ba mukakafu nti Yakuwa alaba amaziga g’okaaba olw’okuba munno mu bufumbo akwabulidde. (Mal. 2:13, 14) Akimanyi nti weetaaga okubudaabudibwa n’okuzzibwamu amaanyi.

Engeri Yakuwa gy’Abudaabudamu

Yakuwa abudaabuda abantu ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Kino tukirabira ku kyokulabirako kya Jane. Agamba nti, “Omulabirizi w’ekitundu yatukyalira mu kiseera we nnali mpulirira nga mpeddemu amaanyi. Yakimanya nti nnali mwennyamivu nnyo olw’okuba omwami wange yali asabye tugattululwe. Yannyamba okufumiitiriza ku byawandiikibwa gamba nga 1 Abakkolinso 7:15. Ebyawandiikibwa awamu n’engeri ey’ekisa gye yayogeramu nange byannyamba okukimanya nti nnali sivunaanyizibwa, ekyo ne kinnyamba okufuna ku mirembe.”b

Margarita, ayogeddwako waggulu, naye yakiraba nti Yakuwa ayamba abantu be ng’ayitira mu kibiina Ekikristaayo. Agamba nti, “Bwe kyeyoleka nti omwami wange teyali mwetegefu kwenenya, nnasengukira mu kibuga ekirala awamu n’abaana bange. Bwe nnatuukayo, nnafuna ennyumba ya bisenge bibiri ne njipangisa. Ku lunaku olwaddako, nga nzenna ndi munakuwavu, nnali nkyasumulula emigugu gyange nnempulira omuntu akonkona ku luggi. Nnali ndowooza nti nnannyini nnyumba y’akonkona, olw’okuba ye yali anninaanye. Kyaneewuunyisa nnyo okulaba nti eyali akonkona ye mukyala eyayigiriza maama wange Baibuli era eyayamba amaka gaffe okuyiga amazima. Yali tasuubira kunsanga mu kitundu ekyo kubanga ekyali kimuleese ku nnyumba eyo kwe kuba nti yali ayigiriza nnannyini nnyumba Baibuli. Nnawulira obuweerero bwa maanyi​—kabula kata nfe essanyu. Nnamunnyonnyola embeera yange era ffembi ne tuyunguka amaziga. Yatukolera enteekateeka tusobole okugenda mu nkuŋŋaana ku lunaku olwo. Ab’oluganda mu kibiina baatwaniriza, era abakadde baakola enteekateeka okunnyamba nsobole okulabirira obulungi abaana bange mu by’omwoyo.”

Engeri Abalala gye Bayinza Okuyambamu

Ab’oluganda mu kibiina Ekikristaayo basobola okuyamba bannaabwe mu ngeri ezitali zimu. Ng’ekyokulabirako, mu mbeera Margarita gye yalimu yali yeetaaga okufuna omulimu. Amaka agamu geewaayo okulabirira abaana be nga bavudde ku ssomero buli lwe kyabanga kyetaagisa.

Margarita agamba nti, “Nsiima nnyo naddala ab’oluganda abeewaayo okumperekerako awamu n’abaana bange mu buweereza bw’ennimiro.” Ab’oluganda mu kibiina bwe bakola batyo, baba bayamba mu ‘kwetikkirako bannaabwe emigugu’ bwe batyo ne baba nga batuukiriza “etteeka lya Kristo.”​—Bag. 6:2.

Abo ababa babonaabona olw’ebibi by’abalala baasima nnyo obuyambi obubaweebwa. Monique, bba gwe yayabulira era n’amuleka mu mabanja agabalirirwamu doola z’Amerika 15,000 n’abaana bana ab’okulabirira, agamba nti: “Baganda bange ne bannyinaze mu by’omwoyo baandaga okwagala. Simanyi ngeri gye nnandyeyimirizzaawo singa tebannyamba. Mpulira nga ddala Yakuwa yampa ab’oluganda abalungi, abaafuba ennyo okuyamba abaana bange. Nfunye essanyu lingi okulaba ng’abaana bange bakulaakulana mu by’omwoyo olw’obuyambi ng’obwo. Bwe nnabanga nneetaaga amagezi, abakadde bannyambanga. Bwe nnabanga nneetaaga omuntu ow’okwogerako naye, baampulirizanga.”​—Mak. 10:29, 30.

Kya lwatu nti ow’omukwano owa nnamaddala amanya ekiseera watasaanidde kwogerera ku bizibu bya munne. (Mub. 3:7) Margarita agamba nti, “Ebiseera ebisinga nnayogeranga ne baganda bange mu kibiina kyange ekipya ku mulimu gw’okubuulira, ku bayizi baffe aba Baibuli, ku baana baffe, ne ku bintu ebirala naye nga tetwogera ku bizibu byange. Nsiima nnyo baganda bange abo okuba nti bannyamba okwerabira ebizibu bye nnayitamu ne ntandika obulamu obupya.”

Weewale Okwesasuza

Oluusi oyinza obutawulira nti ovunaanyizibwa olw’ekibi munno mu bufumbo kye yakola naye ate n’osunguwala olw’okuba ekibi kye kikuleetedde okubonaabona. Singa osiba ekiruyi, kiyinza okukulemesa okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa. Okugeza, oyinza okutandika okulowooza ku ngeri y’okwesasuzaamu munno eyalemererwa okukuuma obwesigwa.

Bw’okizuula nti otandise okulowooza ku ky’okwesasuza, okulowooza ku kyokulabirako kya Yoswa ne Kalebu kiyinza okukuyamba. Abasajja bano abeesigwa baateeka obulamu bwabwe mu kabi ne bagenda okuketta Ensi Ensuubize. Abakessi abalala tebaalina kukkiriza era baaleetera abantu okujeemera Yakuwa. Yoswa ne Kalebu bwe baagezaako okukubiriza Abaisiraeri okwesiga Yakuwa, abamu ku bo baayagala okubakuba amayinja. (Kubal. 13:25–14:10) Olw’obujeemu bw’Abaisiraeri, Yoswa ne Kalebu beesanga nga bamaze emyaka 40 mu ddungu, si lwa nsobi zaabwe naye lwa nsobi z’abalala.

Wadde ng’ekyo kirabika tekyasanyusa Yoswa ne Kalebu, tebakkiriza bibi bya baganda baabwe kubaleetera kusunguwala. Ebirowoozo byabwe baabimalira ku kuweereza Yakuwa. Ku nkomerero y’emyaka 40 gye baamala mu ddungu, Yoswa ne Kalebu, awamu n’Abaleevi, baasobola okuwonawo mu mulembe ogwo era ne bayingira mu Nsi Ensuubize.​—Kubal. 14:28-30; Yos. 14:6-12.

Ebikolwa bya munno mu bufumbo atali mwesigwa biyinza okukuleetera okubonaabona okumala ekiseera ekiwanvu. Obufumbo bwammwe ne bwe bukoma, oyinza okweyongera okulumwa mu mutima era n’okufuna obuzibu bw’eby’enfuna. Kyokka, mu kifo ky’okumalira ebirowoozo byo ku bintu ng’ebyo, kijjukire nti Yakuwa amanyi bulungi engeri y’okukwatamu abantu abamenya amateeka ge mu bugenderevu, nga ekyokulabirako ky’Abaisiraeri abataali beesigwa mu ddungu bwe kiraga.​—Beb. 10:30, 31; 13:4.

Osobola Okuguma!

Mu kifo ky’okukkiriza ebirowoozo ebibi okukumalamu amaanyi, fuba okufumiitiriza ku bintu ebikwata ku Yakuwa. Jane agamba nti, “Nnakizuula nti okuwuliriza Watchtower ne Awake! nga zisomebwa ku butambi kyannyamba okuguma. Enkuŋŋaana nazo zanzizaamu nnyo amaanyi. Okwenyigira mu bujjuvu mu nkuŋŋaana kyannyamba obutalowooza nnyo ku bizibu byange. Mu ngeri y’emu, omulimu gw’okubuulira nagwo gwannyamba nnyo. Okuyamba abalala okuzimba okukkiriza kwabwe mu Yakuwa, nange kyannyamba okunyweza okukkiriza kwange. Era okufaayo ku byetaago by’abayizi bange aba Baibuli kyannyamba okuteeka ebirowoozo byange ku bintu ebisinga obukulu.”

Monique, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Okubeerangawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okufuba okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro kinnyambye okuguma. Nze n’abaana bange tufunye enkolagana ey’okulusegere era tufunye emikwano mingi mu kibiina. Ebyo bye mpiseemu binnyambye okumanya obunafu bwange. Wadde nga ngezeseddwa nnyo, Yakuwa annyambye okuguma.”

Naawe osobola okugumira okugezesebwa ng’okwo. Wadde ng’oyinza okuwulira ennaku ey’amaanyi ng’omwagalwa wo akwabulidde, fuba okukolera ku bigambo bya Pawulo bino ebyaluŋŋamizibwa: “Tetulekuliranga kukola birungi, kubanga ekiseera bwe kirituuka tulikungula singa tetukoowa.”​—Bag. 6:9.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

b Okumanya ebisingawo ku bikwata ku kwawukana n’okugattululwa, laba akatabo “Weekumirenga mu Kwagala kwa Katonda,” olupapula 125-130, 219-221.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Abo ababa balekeddwawo bannaabwe mu bufumbo basiima nnyo abo ababayambako mu buweereza bw’ennimiro

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share