LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 9/15 lup. 7-11
  • Fuba Okunoonya Omukisa gwa Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Fuba Okunoonya Omukisa gwa Yakuwa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Abawulize Bafuna Emikisa
  • Okukuumira Ebirowoozo Byaffe ku Ebyo Katonda by’Ayagala
  • Okunoonya Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu
  • Okola Kyonna Ekisoboka Okufuna Omukisa?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Weeyongere Okulwanirira Omukisa gwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Engeri Yakuwa Gy’akozesaamu Omwoyo Omutukuvu Okutuukiriza Ekigendererwa Kye
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 9/15 lup. 7-11

Fuba Okunoonya Omukisa gwa Yakuwa

“[Katonda] y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”​—BEB. 11:6.

1, 2. (a) Abantu banoonya batya emikisa gya Katonda? (b) Lwaki twetaaga okufuna omukisa gwa Yakuwa?

ABANTU bangi balowooza nti okuba n’ebintu nga ssente, amayumba, emmotoka, kye kiraga nti omuntu alina omukisa gwa Katonda. Abakulembeze b’amadiini agatali gamu batera okusabira abantu, ebisolo, n’ebintu ebirala omukisa. Abantu abamu batindigga eŋŋendo okugenda mu bifo ebitwalibwa okuba ebitukuvu nga basuubira okufunayo omukisa. Bannabyabufuzi batera okusaba Katonda awe ensi zaabwe omukisa. Naye ddala kiba kituufu okunoonya omukisa mu ngeri eyo? Ddala basobola okugufuna? Baani abafuna omukisa gwa Katonda, era lwaki?

2 Yakuwa yalagula nti mu nnaku ez’oluvannyuma, wandibaddewo abantu abayonjo era ab’emirembe okuva mu mawanga gonna, abandibuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna wadde nga bakyayibwa era nga baziyizibwa. (Is. 2:2-4; Mat. 24:14; Kub. 7:9, 14) Ffe abakkirizza okuba abamu ku bantu abo, twetaaga omukisa gwa Katonda kubanga awatali mukisa ogwo tetusobola kutuuka ku buwanguzi. (Zab. 127:1) Naye tuyinza tutya okufuna omukisa gwa Katonda?

Abawulize Bafuna Emikisa

3. Abaisiraeri bwe bandisigadde nga bawulize, bandifunye ki?

3 Soma Engero 10:6, 7. Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, Yakuwa yakiraga nti bandifunye emikisa mingi bwe bandigondedde eddoboozi lye. (Ma. 28:1, 2) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yandiwadde abantu abawulize emikisa gye mu bujjuvu.

4. Okugondera Katonda awatali kuwalirizibwa kizingiramu ki?

4 Kiki ekyandikubirizza Abaisiraeri okuba abawulize? Amateeka ga Katonda gaalaga nti abantu be bwe bandigaanyi okumuweereza “n’essanyu era n’omutima ogujaguza,” ekyo kyandimunyiizizza. (Soma Ekyamateeka 28:45-47.) Yakuwa tayagala tumugondere lwa buwaze, kubanga ekyo ebisolo ne badayimooni nabyo bisobola okukikola nga biwaliriziddwa. (Mak. 1:27; Yak. 3:3) Omuntu bw’agondera Katonda awatali kuwalirizibwa kiba kiraga nti amwagala. Kino akikola nga musanyufu olw’okuba aba akkiriza nti amateeka ga Yakuwa si mugugu era nti “y’awa empeera abo abafuba okumunoonya.”​—Beb. 11:6; 1 Yok. 5:3.

5. Okukkiririza mu kisuubizo kya Yakuwa kyandiyambye kitya omuntu okugondera etteeka eriri mu Ekyamateeka 15:7, 8?

5 Lowooza ku ngeri omuntu gye yandyoleseemu obuwulize ng’obwo ng’agondera etteeka eriri mu Ekyamateeka 15:7, 8. (Soma.) Kyo kituufu nti singa omuntu yagonderanga etteeka eryo olw’obuwaze kyandiviiriddeko abaavu okufuna obuweerero, naye ddala ekyo kyandireeseewo enkolagana ennungi mu bantu ba Katonda? N’ekisinga obukulu, ekyo kyandiraze nti omuntu oyo akkiriza nti Yakuwa asobola okulabirira abaweereza be era nti asiima enkizo ey’okukoppa Katonda omugabi? N’akatono! Katonda yeetegerezanga omutima gw’omuntu omugabi era yasuubizanga okumuwa omukisa mu byonna bye yandikoze. (Ma. 15:10) Okukkiririza mu kisuubizo ekyo kyandireetedde omuntu okubaako ky’akolawo ekyo ne kimuviiramu emikisa mingi.​—Nge. 28:20.

6. Abebbulaniya 11:6 watukakasa ki?

6 Ng’oggyeko okukkiririza mu Yakuwa ng’oyo awa abaweereza be empeera, Abebbulaniya 11:6 walaga engeri endala gye twetaaga okuba nayo okusobola okufuna omukisa gwa Katonda. Weetegereze nti Yakuwa awa empeera abo “abafuba okumunoonya.” Ekigambo ekyavvuunulwa ‘okufuba okumunoonya,’ kirina amakulu ag’okunyiikira n’okukozesa amaanyi amangi. Ng’ekyo kiraga bulungi ekyo kye tulina okukola okusobola okufuna omukisa! Omukisa ogwo guva eri Katonda omu ow’amazima, “atayinza kulimba.” (Tit. 1:2) Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Katonda azze akiraga nti ebisuubizo bye byesigika. Ekigambo kye tekiremererwa; bulijjo kituukirira. (Is. 55:11) N’olwekyo, tusobola okuba abakakafu nti bwe twoleka okukkiriza okwa nnamaddala, ajja kutuwa empeera.

7. Tusobola tutya okufuna omukisa gwa Katonda okuyitira mu “zzadde” lya Ibulayimu?

7 Yesu Kristo ‘ly’ezzadde’ ekkulu erya Ibulayimu. Abakristaayo abaafukibwako amafuta be balala abali mu “zzadde” eryasuubizibwa. Baaweebwa omulimu ‘gw’okulangirira obulungi bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.’ (Bag. 3:7-9, 14, 16, 26-29; 1 Peet. 2:9) Tetusobola kufuna nkolagana nnungi na Yakuwa singa tugaana okukkiriza abo Yesu b’alonze okulabirira ebintu bye. Awatali buyambi bwa ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ tetwandisobodde kutegeera makulu g’ebyo bye tusoma mu Kigambo kya Katonda era n’engeri y’okubikozesaamu mu bulamu bwaffe. (Mat. 24:45-47) Bwe tukolera ku ebyo bye tuyiga mu Byawandiikibwa, tusobola okufuna omukisa gwa Katonda.

Okukuumira Ebirowoozo Byaffe ku Ebyo Katonda by’Ayagala

8, 9. Yakobo yalaga atya nti yali akkiririza mu kisuubizo kya Katonda?

8 Bwe tulowooza ku ky’okufuba ennyo okufuna omukisa gwa Katonda kitujjukiza omusajja ow’edda Yakobo. Wadde nga yali tamanyi ngeri Katonda gye yandituukirizzaamu kisuubizo kye eri Ibulayimu, yali akkiriza nti Yakuwa yandifudde bazzukulu ba Ibulayimu eggwanga eddene. Bwe kityo, mu 1781 ng’Embala Eno Tennatandika (E.E.T.), Yakobo yagenda e Kalani asobole okufunayo omukazi ow’okuwasa. Yali tanoonya bunoonya mukazi alabika obulungi ow’okubeera naye; wabula, yali anoonya omuweereza wa Yakuwa afaayo ku by’omwoyo eyandibadde maama wa baana be omulungi.

9 Yakobo yasisinkana omu ku b’eŋŋanda ze Laakeeri. Yamwagala nnyo era yakkiriza okukolera Labbaani, taata wa Laakeeri, okumala emyaka musanvu asobole okumumuwa amuwase. Luno terwali lugero bugero olukwata ku baagalana. Yakobo ateekwa okuba nga yali amanyi ekisuubizo Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna kye yawa jjajjaawe Ibulayimu awamu ne kitaawe Isaaka. (Lub. 18:18; 22:17, 18; 26:3-5, 24, 25) Ekisuubizo kino, Isaaka naye yakitegeezaako mutabani we Yakobo ng’agamba nti: “Katonda Omuyinza w’[E]bintu [B]yonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky’amawanga; era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, gwe n’ezzadde lyo awamu naawe; osikire ensi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu.” (Lub. 28:3, 4) N’olwekyo, okuba nti Yakobo yafuba okunoonya omukyala omulungi kyalaga nti yali akkiririza mu ebyo Yakuwa bye yayogera.

10. Lwaki Yakuwa yawa Yakobo omukisa?

10 Yakobo yali tanoonya bya bugagga ebyandimuyambye okuyimirizaawo ab’omu maka ge. Ebirowoozo bye yali abitadde ku kisuubizo kya Yakuwa ekikwata ku bazzukulu ba Ibulayimu n’engeri gye kyandituukiriziddwamu. Yakobo yali mumalirivu okukola kyonna ky’asobola okufuna omukisa gwa Yakuwa wadde nga tekyali kyangu. Endowooza ye eyo teyakyuka okutuusiza ddala mu bukadde, era bw’atyo Yakuwa yamuwa omukisa.​—Soma Olubereberye 32:24-29.

11. Ebyo bye tumanyi ku kigendererwa kya Katonda byanditukubiriza kukola ki?

11 Okufaananako Yakobo, naffe tetumanyidde ddala ngeri kigendererwa kya Yakuwa gye kinaatuukirizibwamu. Naye okusoma Ekigambo kya Katonda, kituyamba okutegeera ebimu ku bintu ebikwata ku ‘lunaku lwa Yakuwa.’ (2 Peet. 3:10, 17) Ng’ekyokulabirako, tetumanyidde ddala ddi olunaku olwo lwe lunajja, naye tukimanyi nti luli kumpi. Tukkiriziganya n’ekyo Ekigambo kya Katonda kye kigamba nti bwe tuwa obujulirwa mu bujjuvu mu kaseera kano akatono akasigaddeyo, tujja kwerokola ffekka awamu n’abo abatuwuliriza.​—1 Tim. 4:16.

12. Tuyinza kuba bakakafu ku ki?

12 Tukimanyi nti enkomerero esobola okujja essaawa yonna; Yakuwa tajja kulinda buli muntu yenna ali ku nsi kusooka kufuna bujulirwa alyoke aleete enkomerero. (Mat. 10:23) Kyokka, tufuna obulagirizi obulungi ku ngeri y’okukolamu omulimu gwaffe ogw’okubuulira. Twoleka okukkiriza nga tukola kyonna ekisoboka okwenyigira mu mulimu guno. Ebitundu mwe tubuulira binaavangamu ebibala buli kiseera? Ekyo tuyinza tutya okukimanya nga tekinnabaawo? (Soma Omubuulizi 11:5, 6.) Omulimu gwaffe kwe kubuulira, nga tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kutuwa omukisa gwe. (1 Kol. 3:6, 7) Tusobola okuba abakakafu nti alaba okufuba kwaffe, era ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu, ajja kutuwa obulagirizi bwe twetaaga.​—Zab. 32:8.

Okunoonya Obulagirizi bw’Omwoyo Omutukuvu

13, 14. Obusobozi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu obw’okuyamba abaweereza be bweyolese butya?

13 Watya singa tuwulira nti tetulina bisaanyizo kutuukiriza buvunaanyizibwa bwe tuba tuweereddwa oba omulimu gw’okubuulira? Tusaanidde okusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutusobozese okutuukiriza obuweereza bwaffe. (Soma Lukka 11:13.) Omwoyo gwa Katonda gusobola okuyamba abantu okutuukiriza obuvunaanyizibwa obuba bubaweereddwa wadde nga bayinza okuba nga tebalina bumanyirivu. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’Abaisiraeri okuva e Misiri, omwoyo gwa Katonda gwasobozesa abasumba n’abaddu abo okuwangula abalabe baabwe wadde nga baali tebalina bumanyirivu mu bya ntalo. (Kuv. 17:8-13) Ate era omwoyo ogwo gwe gumu gwasobozesa Bezaaleeri ne Okoliyaabu okukola omulimu Katonda gwe yabawa ogw’okuzimba weema ey’okusisinkanirangamu.​—Kuv. 31:2-6; 35:30-35.

14 Omwoyo ogwo ogw’amaanyi guyambye abaweereza ba Katonda mu kiseera kyaffe okukola ku byetaago by’ekibiina nga beekubira ebitabo byabwe. Mu 1927, Ow’oluganda R. J. Martin eyali akulira omulimu gw’okukuba ebitabo yawandiika ebbaluwa eyannyonnyola ekyo kye baali batuuseeko mu mulimu gw’okukuba ebitabo. Yawandiika nti: “Mu kiseera ekituufu, Mukama waffe yaggulawo oluggi; twafuna ekyuma ekinene ekikuba ebitabo wadde nga twali tetumanyi ngeri gye kyakolebwamu wadde okukikozesa. Naye Mukama waffe amanyi okuyamba abo abamwemalirako. . . . Mu wiiki ntono ddala, twali tusobola bulungi okukikozesa era n’okutuusa kati kikyakola bulungi. Ekyuma ekyo tukikozesa omulimu n’abo abaakikola gwe baali batasuubira nti kisobola okukola.” Yakuwa yeeyongedde okuwa omukisa okufuba okwo n’okutuusiza ddala leero.

15. Abaruumi 8:11 luyinza lutya okuzzaamu amaanyi abo aboolekagana n’okukemebwa?

15 Omwoyo gwa Yakuwa gukola mu ngeri ezitali zimu. Yakuwa mwetegefu okuguwa abaweereza be bonna gusobole okubayamba okwaŋŋanga ebizibu bye boolekagana nabyo. Kiri kitya singa twolekagana n’okukemebwa okw’amaanyi? Ebigambo bya Pawulo ebiri mu Abaruumi 7:21, 25 ne 8:11 bisobola okutuzzaamu amaanyi. Yee, “omwoyo gw’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu” gusobola okutuwa amaanyi ne tulwanyisa okwegomba kw’omubiri. Wadde ng’ebigambo ebyo Pawulo yabiwandiikira Bakristaayo abaafukibwako amafuta, bikwata ku baweereza ba Katonda bonna. Ffenna tufuna obulamu bwe tukkiririza mu Kristo, ne tufuba okwewala okwegomba okubi, era ne tufuba okugoberera obulagirizi bw’omwoyo.

16. Tulina kukola ki okusobola okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu?

16 Katonda ayinza okutuwa omwoyo gwe omutukuvu singa tetubaako kye tukolawo? Nedda. Ng’oggyeko okugusaba, tuteekwa okufuba okweriisa Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa. (Nge. 2:1-6) Okugatta ku ekyo, omwoyo gwa Katonda gukolera mu kibiina Ekikristaayo. N’olwekyo, bwe tubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa tuba tulaga nti twagala ‘okuwulira omwoyo kye gugamba ebibiina.’ (Kub. 3:6) Ate era, tulina okukolera ku ebyo bye tuyiga. Engero 1:23 wagamba nti: “Mukyuke olw’okunenya kwange: Laba, naafukanga omwoyo gwange gye muli.” Mu butuufu, Katonda awa omwoyo gwe omutukuvu “abo abamugondera ng’omufuzi.”​—Bik. 5:32.

17. Engeri Katonda gy’awa okufuba kwaffe omukisa eyinza kugeraageranyizibwa ku ki?

17 Wadde nga kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okufuna omukisa gwa Katonda, kikulu okukijjukira nti okufuba kwaffe si kye kyokka ekisinziirwako okufuna ebirungi byonna Yakuwa by’awa abantu be. Engeri Katonda gy’awa okufuba kwaffe omukisa eyinza kugeraageranyizibwa ku ngeri emibiri gyaffe gye giganyulwa mu mmere gye tulya. Katonda yakola emibiri gyaffe mu ngeri etusobozesa okuwomerwa emmere n’okugifunamu ekiriisa. Era y’atuwa emmere gye tulya. Tetumanyidde ddala ngeri mmere gy’efunamu kiriisa, era abasinga obungi ku ffe tetusobola kunnyonnyola ngeri mibiri gyaffe gye gifunamu maanyi okuva mu mmere gye tulya. Kye tumanyi kiri nti omubiri gwaffe gwetaaga emmere era naffe tufuba okugirya. Bwe tulya emmere erimu ekiriisa, emibiri gyaffe giganyulwa nnyo. Mu ngeri y’emu, Yakuwa ataddewo ebintu bye twetaaga okukola okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, era atuyamba okusobola okubituukiriza. Kya lwatu nti akola kinene nnyo mu kutuyamba okubituukiriza era agwanidde okutenderezebwa. Wadde kiri kityo, naffe tulina okufuba okukola by’ayagala tusobole okufuna omukisa gwe.​—Kag. 2:18, 19.

18. Kiki ky’omaliridde okukola, era lwaki?

18 N’olwekyo, fuba okukola kyonna ky’osobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwonna obuba bukuweereddwa. Bulijjo weesige Yakuwa okukuyamba. (Mak. 11:23, 24) Bw’okola bw’otyo, ba mukakafu nti “buli anoonya, azuula.” (Mat. 7:8) Abaafukibwako amafuta bajja kuweebwa “engule ey’obulamu” mu ggulu. (Yak. 1:12) Abagoberezi ba Kristo ‘ab’endiga endala,’ abafuba okufuna omukisa okuyitira mu zzadde lya Ibulayimu, bajja kuba basanyufu okuwulira Kristo ng’agamba nti: “Mujje mmwe Kitange be yawa omukisa, musikire obwakabaka obwabateekerwateekerwa okuva ku ntandikwa y’ensi.” (Yok. 10:16; Mat. 25:34) Yee, ‘abo abaweebwa Katonda omukisa balisikira ensi, era banaagibeerangamu emirembe gyonna.’​—Zab. 37:22, 29.

Osobola Okunnyonnyola?

• Obuwulize obwa nnamaddala buzingiramu ki?

• Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna omukisa gwa Katonda?

• Tuyinza tutya okufuna omwoyo gwa Katonda omutukuvu, era gusobola gutya okutuyamba?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Yakobo yameggana ne malayika okusobola okufuna omukisa gwa Yakuwa

Naawe ofuba okunoonya omukisa gwe?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Omwoyo gwa Katonda gwayamba Bezaaleeri ne Okoliyaabu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share