LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 2/15 lup. 11
  • Okufuba Kwaffe Si kwa Bwereere!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okufuba Kwaffe Si kwa Bwereere!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Similar Material
  • Ky’oyinza Okukozesa Mu Kwesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Enteekateeka y’Amaka—Okusoma kw’Amaka
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Engeri gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 2/15 lup. 11

Okufuba Kwaffe Si kwa Bwereere!

OKUSINZA KW’AMAKA kintu kikulu nnyo bwe tuba ab’okukuza abaana ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa n’okubateekamu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) Kyokka bw’oba oli muzadde, okimanyi bulungi nti abaana bakoowa mangu okuyiga. Kati olwo oyinza otya okuyamba abaana bo okussaayo omwoyo ng’obayigiriza? Weetegereze ebintu abazadde abamu bye bakoze.

George abeera mu California, Amerika agamba nti, “Abaana baffe bwe baali bakyali bato, nze ne mukyala wange twafubanga nnyo okufuula okusoma kw’amaka okunyuvu. Oluusi twasomangayo ekitundu mu Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli ne tukizannya nga twambadde ng’abantu aboogerwako mu kitundu ekyo. Era twakolanga n’ebintu ebyetaagisa mu mizannyo ng’egyo, gamba ng’ebitala, emiggo, n’ebisero. Twateranga okuzannya akazannyo ka Bayibuli ke twayitanga ‘teeba nze ani?’ era twayiiyayo n’akazannyo ak’ebibuuzo ebyesigamiziddwa ku Bayibuli ng’ebimu byangu ate ng’ebirala bizibu. Ate era twabangako ebintu bye twakolangako okumala ekiseera, gamba ng’okuzimba eryato lya Nuuwa oba okunoonyereza ku myaka ebintu ebyogerwako mu Bayibuli we byabeererawo. Oluusi twakubanga ebifaananyi eby’abantu oba ebintu ebyogerwako mu Bayibuli. Mu kiseera kino, ekintu kye tukolako kwe kukuba ebifaananyi by’eby’okulwanyisa eby’omwoyo ebyogerwako mu Abeefeso 6:11-17, nga buli omu ku ffe abaako eky’okulwanyisa ky’annyonnyola. Ebyo byonna bituyambye okunyumirwa okusoma kwaffe okw’amaka.”

Debi, maama abeera mu Michigan, Amerika agamba nti: “Nze n’omwami wange twakisanga nga kizibu okuyamba muwala waffe okussaayo omwoyo nga tumuyigiriza bwe yali akyali wa myaka essatu. Naye lumu bwe twali tusoma ebikwata ku Isaaka ne Lebbeeka mu Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli, nnafuna ddole bbiri ne nzizannyisa nga Isaaka ne Lebbeeka. Ku olwo muwala waffe yassaayo nnyo omwoyo! Mu myezi egyaddirira, nnakozesanga ddole ezo okukiikirira abantu ab’enjawulo aboogerwako mu Bayibuli. Buli luvannyuma lw’okusoma ekitundu, muwala waffe yagendanga mu nnyumba n’anoonya ddole ezo oba ebintu ebirala byonna ebyali bisobola okukozesebwa okuzannya ebyo bye twabanga tusomyeko. Yabinoonyanga ng’anoonya eby’obugagga! Twakozesa akabokisi k’engatto n’akagoye akamyufu okukiikirira ennyumba ya Lakabu eyaliko akaguwa akamyufu. Twakozesa kiddole ky’omusota kye twazingirira ku kiti ky’olweyo ekya mita emu n’ekitundu okukiikirira omusota ogw’ekikomo ogwogerwako mu Okubala 21:4-9. Ebintu bye twazannyisanga twabiterekanga mu kisawo ky’engatto. Nga kyatusanyusanga nnyo okulaba nga muwala waffe atinkuula mu kisawo ekyo n’aggyamu ebintu era n’abikozesa okuzannya emizannyo gya Bayibuli!”

Okukuza abaana si kyangu, era n’ekiseera kye tumala nga tuyiga nabo buli wiiki tekimala kubayamba kwagala kuweereza Yakuwa. Naye okusinza kw’amaka kusobola okuteekateeka abaana okuganyulwa mu nteekateeka endala ez’eby’omwoyo. Tewali kubuusabuusa nti, okufuba kwaffe si kwa bwereere!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share