Okusoma Bayibuli Kinzizizzaamu Nnyo Amaanyi Mu Bulamu Bwange
Byayogerwa Marceau Leroy
“OLUBEREBERYE Katonda yatonda eggulu n’ensi.” Ebyo bye bigambo bye nnasooka okusoma bwe nnali ntandika okusoma Bayibuli mu nkukutu mu kisenge kyange. Lwaki nnali ngisoma mu nkukutu? Nnali nkimanyi nti kitange eyali takkiririza mu Katonda teyandisanyuse kundaba nga nsoma Bayibuli.
Nnali sisomanga ku Bayibuli, era ebigambo ebyo ebiri mu Olubereberye 1:1 byankwatako nnyo. Ebigambo ebyo byali biraga bulungi ensonga lwaki obutonde butegekeddwa bulungi nnyo! Nnasoma Bayibuli okuva ku ssaawa bbiri ez’ekiro okutuuka ku ssaawa kkumi ez’ekiro. Bwe ntyo nnatandika okusoma Ekigambo kya Katonda, ekintu kye mbadde nkola buli lunaku. Kati ka mbabuulire engeri okusoma Bayibuli gye kinnyambyemu okufuna amaanyi mu bulamu bwange.
“Ojja Kuba Olina Okukisoma Buli Lunaku”
Nnazaalibwa mu 1926, mu Vermelles, ekitundu omusimibwa amanda, ekiri mu bukiika kkono bwa Bufalansa. Mu kiseera kya ssematalo ow’okubiri, amanda gaali geetaagibwa nnyo mu ggwanga. Olw’okuba nnali nkola mu kirombe ky’amanda, saakakibwa kuyingira magye. Kyokka, olw’okuba nnali njagala okuba mu bulamu obusingako obulungi, nnatandika okusoma eby’amasannyalaze, ekintu ekyannyamba okukiraba nti waliwo amateeka agafuga obutonde. Bwe nnali wa myaka 21, waliwo muyizi munnange eyampa Bayibuli gye nnasooka okuba nayo, n’aŋŋamba nti, “Kino kye kitabo buli muntu ky’asaanidde okusoma.” We nnamalirako Bayibuli omulundi ogwasooka, nnali sikyalinamu kubuusabuusa kwonna nti ddala Bayibuli Kigambo kya Katonda, okubikkulirwa kwe yawa abantu.
Olw’okuba nnali ndowooza nti ne baliraanwa bange baali bajja kwagala okusoma Bayibuli, nnafunayo Bayibuli endala munaana. Kyokka, kyaneewuunyisa nnyo okulaba nti bansekerera busekerezi era ne batandika n’okunjigganya. Abamu ku b’eŋŋanda zange baŋŋamba nti, “Kasita otandika okusoma ekitabo ekyo, ojja kuba olina okukisoma buli lunaku!” Era bwe kityo bwe kyali, nnatandika okusoma Bayibuli buli lunaku era ekyo sikyejjusangako. Okusoma Bayibuli yafuuka mpisa yange.
Baliraanwa bange bwe baakiraba nti nnali njagala nnyo okusoma Bayibuli, baampa ebitabo Abajulirwa ba Yakuwa bye baali babawadde. Obutabo, gamba nga One World, One Governmenta (kalagiddwa mu kifaananyi nga kali mu Lufalansa) bwannyamba okulaba ensonga lwaki Bayibuli eraga nti Obwakabaka bwa Katonda bwe bwokka obusobola okugonjoola ebizibu by’abantu. (Mat. 6:10) Nnali mumalirivu okubuulirako abalala ku ssuubi eryo.
Omu ku bantu be nnasooka okuwa Bayibuli n’agikkiriza yali Noël, eyali mukwano gwange okuviira ddala mu buto. Olw’okuba yali Mukatuliki, yakola enteekateeka tusisinkane omusajja eyali asomerera obusaseredooti. Nnawulira nga ntiddemu, naye okusinziira ku Zabbuli 115:4-8 ne Matayo 23:9, 10 nnali nkimanyi bulungi nti Katonda tayagala tukozese bifaananyi mu kusinza era tayagala tuwe bakulembeze b’amadiini bitiibwa bya njawulo. Kino kyannyamba okuba omuvumu ne nsobola okulwanirira enzikiriza yange gye nnali nnaakayingira. N’ekyavaamu, Noël yakkiriza amazima, n’okutuusa leero akyaweereza Yakuwa n’obwesigwa.
Nnakyalirako ne mwannyinaze. Omwami we yalina ebitabo ebikwata ku by’obusamize era nga dayimooni zimutawaanya nnyo. Wadde nga mu kusooka nnawulira nga ntiddemu, ebyawandiikibwa gamba nga Abebbulaniya 1:14 byannyamba okukiraba nti nnalina obuyambi bwa bamalayika ba Yakuwa. Mukoddomi wange bwe yakolera ku misingi gya Bayibuli ne yeggyako ebintu byonna ebyalina akakwate n’eby’obusamize, yasobola okuva mu bufuge bwa badayimooni. Mukoddomi wange ne mwannyinaze baatandika okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.
Mu 1947, Arthur Emiot, Omujulirwa eyali avudde mu Amerika, yankyalira mu maka gange. Nnasanyuka nnyo okumulaba era ne musaba andagirire Abajulirwa ba Yakuwa gye baali bakuŋŋaanira. Yaŋŋamba nti waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abaali bakuŋŋaanira mu Liévin, ekifo ekyali mayiro mukaaga okuva we nnali mbeera. Mu kiseera ekyo kyali kizibu okugula wadde akagaali, era okumala emyezi egiwerako, nnatambuzanga bigere okugenda mu nkuŋŋaana. Omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa mu Bufalansa gwali gumaze emyaka munaana nga guwereddwa. Waaliwo Abajulirwa 2,380 bokka mu ggwanga lyonna—nga bangi ku bo baali nzaalwa ya Poland. Naye nga Ssebutemba 1, 1947, omulimu gwaffe gwaddamu okukkirizibwa mu mateeka mu Bufalansa. Ofiisi y’ettabi yazzibwawo mu Villa Guibert ekiri mu kibuga Paris. Olw’okuba tewaaliwo payoniya wadde omu bw’ati mu Bufalansa, mu Informant (kati akayitibwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka) aka Ddesemba 1947 mwafulumiramu ekitundu ekyakubiriza ab’oluganda okufuuka bapayoniya aba bulijjo, abaabuuliranga okumala essaawa 150 buli mwezi. (Mu 1949 essaawa ezo zaakendeezebwako ne zidda ku 100.) Nga nzikiriziganya bulungi n’ebigambo bya Yesu ebiri mu Yokaana 17:17, awagamba nti “ekigambo [kya Katonda] ge mazima,” nnabatizibwa mu 1948, era mu Ddesemba 1949, nnatandika okuweereza nga payoniya.
Nva mu Kkomera ne Nzirayo e Dunkerque
Mu kibuga Agen ekiri mu bukiika ddyo bwa Bufalansa gye nnasooka okusindikibwa okuweereza, nnamalayo akaseera katono. Olw’okuba nnali sikyakola mu kirombe, nnasabibwa okuyingira amagye. Nnagaana okugayingira, bwe ntyo ne nsibibwa mu kkomera. Wadde nga nnali sikkirizibwa kuba na Bayibuli, nnasobola okufuna empapula ezimu ez’omu kitabo kya Zabbuli. Okuzisoma kyanzizaamu nnyo amaanyi. Bwe nnateebwa, nneebuuza: Nve mu buweereza obw’ekiseera kyonna nsobole okwezimbira amaka gange n’okwekolera ssente? Ne ku mulundi guno, ebyo bye nnasoma mu Bayibuli byannyamba nnyo. Nnafumiitiriza ku bigambo bya Pawulo ebiri mu Abafiripi 4:11-13: “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.” Nnasalawo okweyongera okuweereza nga payoniya. Mu 1950, nnasindikibwa okuweereza mu Dunkerque, ekibuga gye nnali nnaweererezaako emabegako.
Ku lunaku lwe nnatuukirayo, nnali sirina kintu kyonna. Ekibuga ekyo kyali kyonooneddwa nnyo Ssematalo II, era kyali kizibu okufuna aw’okusula. Nnasalawo okukyalirako amaka ge nnali nnabuulirako edda, era omukyala w’awaka yasanyuka nnyo okundaba n’agamba nti: “Bannange, Mw. Leroy, bakutadde! Omwami wange yagamba nti singa waaliwo abantu bangi abalinga ggwe, mu nsi temwandibaddemu ntalo.” Baalina ennyumba mwe baasuzanga abalambuzi, bwe kityo banzikiriza okusula mu nnyumba eyo okutuusa ekiseera ky’abalambuzi lwe kyandituuse. Ku lunaku olwo lwennyini, Evans, muganda wa Arthur Emiot, yanfunira omulimu.b Yali akola ng’omutaputa ku mwalo era yali anoonya omuntu asobola okukuuma emmeeri ekiro. Yantwala eri omu ku bakungu abakola ku mmeeri. We nnaviira mu kkomera, nnali nkozze nnyo. Evans bwe yamubuulira ensonga lwaki nnali mukovvu bwe ntyo, omukungu oyo yaŋŋamba nfuneyo eky’okulya mu firiiji ye. Mu lunaku lumu lwokka, nnafuna aw’okusula, omulimu, n’emmere! Mu butuufu, nneeyongera okulaba obutuufu bw’ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 6:25-33.
Ekiseera ky’abalambuzi bwe kyatandika, nze ne Simon Apolinarski gwe nnali mpeereza naye nga payoniya twalina okunoonya aw’okusula awalala. Kyokka twali tumaliridde okusigala nga tubuulira mu kitundu ekyo. Waliwo omwami eyatuwa aw’okusula mu kiyumba ky’embalaasi, era essubi lye twakozesanga ng’omufaliso. Obudde obw’emisana bwonna twabanga mu kubuulira. Twabuulirako omwami oyo eyatuwa ekiyumba mwe twasulanga, era y’omu ku bantu abangi abakkiriza amazima. Waayita ekiseera kitono ekitundu ne kifulumira mu lupapula lw’amawulire nga kirabula abantu b’omu Dunkerque nti waaliwo Abajulirwa ba Yakuwa bangi abaali mu kitundu ekyo era nti baalina okubeewala. Naye ekituufu kyali nti nze ne Simon awamu n’ababuulizi abalala abatonotono ffe ffekka Abajulirwa abaali mu kitundu ekyo! Mu kiseera ekyo ekizibu, okufumiitiriza ku ssuubi lyaffe awamu n’engeri Yakuwa gye yali atulabiriddemu kyatuzzaamu nnyo amaanyi. We bankyusiza mu 1952, mu Dunkerque mwalimu ababuulizi abanyiikivu nga 30.
Nfuna Amaanyi Okusobola Okwetikka Obuvunaanyizibwa Obulala
Oluvannyuma lw’okumala ekiseera kitono mu kibuga Amiens, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo e Boulogne-Billancourt, ekiri mu kibuga Paris. Nnalina abayizi ba Bayibuli bangi era abamu ku bo oluvannyuma baayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna abalala ne bafuuka abaminsani. Omuvubuka omu ayitibwa Guy Mabilat, yayiga amazima era oluvannyuma yaweereza ng’omulabirizi w’ekitundu n’oluvannyuma ng’omulabirizi wa disitulikiti. Nga wayise ekiseera, yaweebwa obuvunaanyizibwa okulabirira omulimu gw’okuzimba ekizimbe omukubirwa ebitabo ku Beseri ey’omu Louviers, ekifo ekyesudde mayiro nga 60 okuva mu kibuga Paris. Okukozesa Bayibuli entakera nga mbuulira kyasobozesa Ekigambo kya Katonda okusimba amakanda mu mutima gwange, ne kinnyamba okufuna essanyu era ne kinnyamba okulongoosa mu ngeri gye njigirizaamu.
Mu 1953, nga sikisuubira, nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu mu Alsace-Lorraine, ekitundu ekyali kyafugibwako Bugirimaani emirundi ebiri wakati wa 1871 ne 1945. Bwe kityo, nnalina okuyiga Olugirimaani. We nnatandikira okuweereza ng’omulabirizi w’ekitundu, mu Alsace-Lorraine ebintu, gamba ng’emmotoka, ttivi, ne typewriter byali bitono nnyo, ate era tewaaliyo buleediyo butono wadde kompyuta. Wadde kyali kityo, ssabeeranga munakuwavu era saawuliranga kiwuubaalo. Mu butuufu, ekyo kye kiseera ekikyasinze okuba eky’essanyu mu bulamu bwange. Olw’okuba tewaaliwo bintu bingi ebyali bisobola okuwugula omuntu okuva ku kuweereza Yakuwa nga bwe kiri leero, kyannyanguyira okukolera ku magezi agali mu Bayibuli agakwata ku kuba ‘n’eriiso eriraba awamu.’Mat. 6:19-22.
Siyinza kwerabira lukuŋŋaana olunene olwaliwo mu 1955 mu kibuga Paris olwalina omutwe, “Obwakabaka Obuwanguzi.” Ku lukuŋŋaana olwo, kwe nnasisinkanira Irène Kolanski, eyafuuka mukyala wange, eyali yayingira obuweereza obw’ekiseera kyonna omwaka gumu nga nze sinnaba kubuyingira. Bazadde be abaali enzaalwa ya Poland baali bamaze ebbanga ddene nga baweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Ow’oluganda Adolf Weber yali yabakyalirako nga bali mu Bufalansa. Yali yakolako mu nnimiro z’Ow’oluganda Russell naye nga kati yali azze mu Bulaaya okubuulira amawulire amalungi. Mu 1956, nnawasa Irène era nnatambulanga naye nga nkyalira ebibiina. Irène ampagidde nnyo mu myaka gyonna gye mbadde naye.
Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, waliwo ekintu ekirala ekyaliwo nga sikisuubira—nnalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Kyokka olw’okuba waaliwo ab’oluganda batono abaalina ebisaanyizo okuweereza ng’abalabirizi b’ebitundu, nneeyongera okukyalira ebibiina ebimu. Mu kiseera ekyo nnalina eby’okukola bingi! Ng’oggyeko okubuulira essaawa 100 buli mwezi, buli wiiki nnalinanga okuwa emboozi, okukyalira ebibinja bisatu, okukebera ebiwandiiko by’ebibiina, n’okukola alipoota. Nnasobola ntya okufuna ebiseera okusoma Ekigambo kya Katonda? Nnafuna Bayibuli enkadde, ne ngisalamu empapula ne ntambulanga n’ezimu ku zo. Buli lwe nnabangako omuntu gwe nninda, nnaggyangayo empapula zange ezo ne nsoma. Ebyo bye nnasomanga mu kiseera ekyo ekitono kye nnabanga nfunye, byanzizzangamu nnyo amaanyi ne nneeyongera okwemalira ku buweereza bwange.
Mu 1967, nze ne Irène twayitibwa okuweereza mu maka ga Beseri e Boulogne-Billancourt. Nnasabibwa okuweereza mu Kitongole ky’Obuweereza, era nga kati mmaze emyaka 40, nga ndi mu kitongole ekyo. Ekimu ku bintu ebisinga okunnyumira mu mirimu gye nkola kwe kuddamu ebibuuzo ebibuuzibwa ebikwata ku Bayibuli. Nga nnyumirwa nnyo okunoonyereza mu Kigambo kya Katonda ‘n’okulwanirira amawulire amalungi’! (Baf. 1:7) Ate era nnyumirwa nnyo okukubiriza okusinza kw’oku makya ku Beseri okubaawo nga tetunnaba kulya kya nkya. Mu 1976, nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi mu Bufalansa.
Ekkubo ly’Obulamu Erisingayo Obulungi
Wadde nga njolekaganye n’ebizibu bingi, ekizibu ekikyasinzeeyo okuba eky’amaanyi kwe kuba nti obukadde n’obulwadde bitulemesa, nze ne Irène, okukola ekyo kye twandyagadde okukola mu buweereza bwaffe. Wadde kiri kityo, okusomera awamu Ekigambo kya Katonda kituyambye okukuuma essuubi lyaffe nga ddamu. Tukozesa bbaasi ne tugenda okwegatta ku kibiina kyaffe okubuulirako abalala ku ssuubi lyaffe eryo era ekyo kituleetera essanyu lingi. Emyaka nze ne mukyala wange gye tumaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna bw’ogigatta awamu gisukka mu 120. Bwe tulowooza ku mikisa gye tufunye mu myaka egyo, kituleetera okukubiriza buli omu ayagala okufuna essanyu n’obumativu mu bulamu okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Kabaka Dawudi we yawandiikira ebigambo ebiri mu Zabbuli 37:25 yali ‘akaddiye,’ naye okufaananako Dawudi nange “sirabanga mutuukirivu ng’alekeddwa.”
Mu bulamu bwange bwonna, Yakuwa anzizizzaamu nnyo amaanyi ng’ayitira mu Kigambo kye. Emyaka egisukka mu 60 emabega, ab’eŋŋanda zange baŋŋamba nti bwe nnanditandise okusoma Bayibuli, sandirekedde awo kugisoma. Baali batuufu. Okusoma Bayibuli kye kintu kye mbadde nkola obulamu bwange bwonna, era ekyo sikyejjusangako!
[Obugambo obuli wansi]
a Kaakubibwa mu 1944, naye kati tekakyafulumizibwa.
b Okumanya ebisingawo ebikwata ku Evans Emiot, laba Watchtower eya Jjanwali 1, 1999, olupapula 22 ne 23.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Nga ndi ne Simon
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Nga mpeereza ng’omulabirizi wa disitulikiti
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Bayibuli eringa eyo gye nnasooka okufuna
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Ku lunaku lw’embaga yaffe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Nze ne Irène tunyumirwa nnyo okusoma Ekigambo kya Katonda