LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 7/1 lup. 27-29
  • Endowooza gy’Oba Nayo ku Muntu nga Waakamulaba Eba Ntuufu?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Endowooza gy’Oba Nayo ku Muntu nga Waakamulaba Eba Ntuufu?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Endabika ey’Okungulu
  • Endabika ey’Okungulu Eyinza Okukubuzaabuza
  • Abamu Baakyusa Endowooza Yaabwe
  • “Atunuulira Mutima”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Tolamula Balala ng’Osinziira ku Ndabika ey’Okungulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Okusiima Vidiyo The Bible—Its Power in Your Life
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Katonda Alonda Dawudi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 7/1 lup. 27-29

Endowooza gy’Oba Nayo ku Muntu nga Waakamulaba Eba Ntuufu?

OMUSAWO omu yali atudde mu ddiiro lye ng’alaba programu ku ttivi minisita omu mu gavumenti ya Ireland kwe yali ayogerera. Bwe yeetegereza obulungi minisita oyo, yamulaba ng’aliko akantu ku lususu akalaga nti ayinza okuba alina kansa w’olususu. Yawa minisita oyo amagezi agende alabe omusawo mu bwangu ddala.

Minisita bwe baamukebera, kyazuulibwa nti ddala yali alina kansa. Omusawo oyo eyasooka okumulaba yali alina “eriiso eryogi” mu by’ekisawo oba obusobozi obw’okumanya obulwadde bw’omuntu ng’omutunuulidde butunuulizi. Kyokka, abamu muli bawulira nti balina “eriiso eryogi,” bwe kituuka ku kumanya enneeyisa y’omuntu, n’engeri ze gamba ng’obwesigwa.

Okumala ebyasa bingi, bannasayansi bagezezzaako okunoonyereza engeri gye basobola okumanya ekyo omuntu ky’ali nga basinziira ku ndabika ye. Enkola eyo gye bavumbudde bagiyita physiognomy, era ng’ekitabo ekiyitibwa Encyclopædia Britannica bwe kiba kigyogerako kigamba nti “Ono ye sayansi akwata ku kumanya engeri z’omuntu ezisobola okweyolekera ku ndabika ye ey’oku maaso oba enfaanana y’omubiri gwe.” Mu kyasa 19, abakugu mu kwekenneenya embeera z’abantu, gamba nga Francis Galton, eyali omu ku b’eŋŋanda za Charles Darwin, n’abakugu mu kwekenneenya obuzzi bw’emisango, gamba nga Cesare Lombroso ow’omu Yitale, nabo baagunjawo endowooza ezifaananako bwe zityo oluvannyuma lw’ekiseera ne zidibizibwa.

Naye era ne mu kiseera kino, abantu bangi balowooza nti endabika y’omuntu esobola okukulaga ekyo ky’ali. Ekyo kituufu?

Endabika ey’Okungulu

Ekyokulabirako ekimu ekirungi ekiraga nti endabika y’omuntu ey’okungulu tesobola kulagira ddala ky’ali, kiri mu Bayibuli mu kitabo kya Samwiri Ekisooka. Yakuwa Katonda yatuma nnabbi Samwiri mu maka ga Yese, afuke amafuta ku omu ku batabani be kimanyike nti y’oyo eyali agenda okufuuka kabaka wa Isiraeri. Tusoma nti: ‘Awo olwatuuka nga [batabani ba Yese] batuuse n’atunuulira Eriyaabu n’ayogera nti: “Mazima Mukama gw’afukako amafuta ali mu maaso ge.” Naye Mukama n’agamba Samwiri nti: “Totunuulira maaso ge newakubadde embala ye bw’eri empanvu; kubanga mmugaanye: kubanga Mukama talaba ng’abantu bwe balaba: kubanga abantu batunuulira okufaanana okw’okungulu, naye Mukama atunuulira mutima.” ’ Batabani ba Yese abalala omukaaga bwe baaleetebwa nabo Yakuwa yabagaana. Oluvannyuma, okwawukana ku ekyo Samwiri ne Yese kye baali balowooza, Katonda yalonda Dawudi omwana ow’omunaana, nga ye yali ow’okufuuka kabaka. Dawudi yali mulenzi muto gwe baali batalowoozezzaako na kuleeta mu maaso ga Samwiri.​—1 Samwiri 16:​6-​12.

Ne leero bwe kityo bwe kiri. Emyaka mitono emabega, kakensa mu kwekenneenya obuzzi bw’emisango mu Bugirimaani, yakola okunoonyereza okwalimu abayizi 500 abaali basomerera eby’amateeka. Baabaleetera “abagenyi” 12 be baali batamanyi. Mu bo mwalimu omuduumizi wa poliisi, omuwaabi atali wa gavumenti, omuwanika wa yunivasite, omukwanaganya w’abantu aba bulijjo, ba puliida, abakungu ba kkooti, n’abamenyi b’amateeka basatu. Abayizi baali ba kuteeba omulimu gwa buli omu ku bagenyi abo, nga kw’otadde n’okuteeba abamenyi b’amateeka, n’emisango gye bazza. Kino baali ba kukikola nga basinziira ku ndabika y’abagenyi abo n’ebintu bye baali banyumirwa okukola.

Biki ebyavaamu? Abayizi nga 75 ku buli kikumi be baateeba abamenyi b’amateeka abasatu. Naye okutwalira awamu, abayizi 60 ku buli kikumi baateebereza abagenyi abalala mwenda okuba abamenyi b’amateeka wadde nga tebaalina musango gwonna. Omuyizi 1 ku bayizi 7, yateebereza nti Omuwaabi atali wa gavumenti akukusa ebiragalalagala, ate omuyizi 1 ku bayizi 3 yateebereza omuduumizi wa poliisi okuba omubbi! Okulowooleza omuntu ekintu ng’osinziira ku ndabika ye, kiyinza obutaba kituufu. Lwaki?

Endabika ey’Okungulu Eyinza Okukubuzaabuza

Bwe tuba tusisinkanye omuntu ku mulundi ogusooka, tutera okulowooleza omuntu oyo ebintu ebitali bimu nga tusinziira ku ebyo bye twali tulabyeko. Ng’oggyeko endabika ye, tuyinza okumulowooleza ekintu nga tusinziira ku nsi mw’azaalibwa, eggwanga lye, engeri abantu gye bamutwalamu, oba eddiini ye.

Singa tukizuula nti ekyo kye tubadde tulowooleza omuntu kituufu, tusanyuka era ne kituleetera okwongera okulowooza nti endowooza gye tusooka okuba nayo ku muntu lwe tuba tusoose okumusisinkana, bulijjo eba ntuufu. Naye, bwe tukizuula nti endowooza yaffe ebadde nkyamu, tweyisa tutya? Bwe tuba abeesimbu, tweggyamu endowooza ng’eyo ne tufaayo okumanyira ddala ekituufu. Kyokka, amalala bwe gatulemesa okukyusa endowooza yaffe enkyamu, kiyinza okukosa abalala.

Okulowooleza omuntu ekintu ng’osinziira ku ndabika ye, kiyinza okuba eky’akabi gy’oli n’eri omuntu oyo. Ng’ekyokulabirako, mu kyasa ekyasooka, Abayudaaya bangi baagaana okukkiriza nti Yesu ye yali Masiya eyasuubizibwa. Lwaki? Baali bamaze okufuna endowooza enkyamu ku Yesu olw’okuba yali mwana wa mubazzi. Wadde nga baawuniikirira nnyo olw’amagezi ga Yesu n’eby’amagero bye yakola, tebaamukkiririzaamu. Olw’endowooza yaabwe eyo enkyamu, Yesu yabaleka n’agenda okubuulira abantu abalala, era yabagamba nti: “Nnabbi assibwamu ekitiibwa wonna okuggyako mu kitundu ky’ewaabwe ne mu nnyumba ye.”​—Matayo 13:​54-​58.

Abayudaaya baali bamaze ebyasa bingi nga balindirira Masiya. Abo abaagaana okukkiriza nti Yesu ye yali Masiya olw’endowooza enkyamu gye baali bafunye, baafiirwa enkolagana yaabwe ne Katonda. (Matayo 23:​37-​39) Abayigirizwa ba Yesu nabo baayisibwa mu ngeri y’emu. Baali bantu ba wansi, bavubi, era baali banyoomebwa abantu abayivu n’abakulembeze b’eddiini eyali emanyiddwa ennyo mu kiseera ekyo. N’olwekyo, bangi baali balowooza nti abayigirizwa abo tebaalina kintu kyonna kikulu kye bayinza kubabuulira. Abo abeeyongera okuba n’endowooza enkyamu ku bayigirizwa ba Yesu baafiirwa omukisa ogw’okufuuka abagoberezi b’Omwana wa Katonda.​​—⁠Yokaana 1:​10-​12.

Abamu Baakyusa Endowooza Yaabwe

Abamu ku abo abaaliwo mu kiseera kya Yesu abaali abawombeefu, baakyusa endowooza yaabwe bwe baalaba ebyo Yesu bye yakola. (Yokaana 7:​45-​52) Mu abo mwalimu ab’eŋŋanda za Yesu abawerako, mu kusooka abaali batakkiriza nti omu ku b’omu maka gaabwe yali Masiya. (Yokaana 7:5) Naye, oluvannyuma lw’ekiseera bakyusa endowooza yaabwe ne bamukkiririzaamu. (Ebikolwa 1:​14; 1 Abakkolinso 9:5; Abaggalatiya 1:​19) Mu ngeri y’emu, nga wayiseewo emyaka egiwerako, abamu ku Bayudaaya abaali mu Rooma baali baagala okuwuliriza Pawulo kennyini mu kifo ky’okukkiririza mu ŋŋambo ezaali zisaasaanyizibwa abalabe b’Abakristaayo. Oluvannyuma lw’okumuwuliriza, abamu ku bo baafuuka bakkiriza.​—Ebikolwa 28:​22-​24.

Leero, abantu bangi balina endowooza enkyamu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Lwaki? Si lwa kuba nti baba balina obukakafu obulaga nti enzikiriza z’Abajulirwa ba Yakuwa n’ebyo bye bakola tebyesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Wabula tebakikkiriza nti Abajulirwa ba Yakuwa bayigiriza amazima agali mu Bayibuli. Eno ye ndowooza yennyini abantu b’omu kyasa ekyasooka gye baalina ku Bakristaayo ab’edda.

Tekyewuunyisa nti abantu boogera bubi ku abo abafuba okugoberera ekyokulabirako kya Yesu. Lwaki? Kubanga Yesu yagamba abagoberezi be ab’amazima nti: “Mulikyayibwa abantu bonna ku lw’erinnya lyange.” Naye yabagumya ng’abagamba nti: “Oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero y’alirokolebwa.”​—Matayo 10:22.

Nga bagondera ekiragiro kya Yesu, leero Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okutuusa amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ku bantu okwetooloola ensi yonna. (Matayo 28:​19, 20) Abo abagaana okuwuliriza beefiiriza akakisa ak’okufuna obulamu obutaggwawo. (Yokaana 17:3) Ggwe onookola ki? Onoomala gatwalirizibwa endowooza gy’osoose okufuna ng’olabye Abajulirwa ba Yakuwa, oba onoonoonyereza ekituufu? Jjukira nti: Endabika ey’okungulu esobola okukubuzaabuza, era endowooza gy’osooka okufuna ng’olabye omuntu esobola okuba enkyamu; naye bw’onoonyereza n’omanya ekituufu, oganyulwa.​—Ebikolwa 17:​10-​12.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]

Endowooza enkyamu Abayudaaya bangi gye baalina ku Yesu, yabaleetera obutakkiriza nti ye yali Masiya

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Endowooza gy’olina ku Bajulirwa ba Yakuwa yeesigamiziddwa ku bukakafu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share