Yiga Okuva mu Kigambo kya Katonda
Bayibuli Eyogera ku Binaabaawo mu Biseera eby’Omu Maaso?
Ekitundu kino kirimu ebibuuzo by’oyinza okuba nga wali weebuuzizzaako era kiraga w’oyinza okusanga eby’okuddamu mu Bayibuli yo. Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu nnyo okukubaganya naawe ebirowoozo ku by’okuddamu bino.
1. Bayibuli eyogera ekyo kyennyini ekinaabaawo?
Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ye yekka asobola okumanya ebintu byonna ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. (Amosi 3:7) Ng’ekyokulabirako, ng’ekyabulayo ekiseera kiwanvu nnyo yayogera ku kujja kwa Masiya oba Kristo. Masiya yandivudde mu lunyiriri lwa Ibulayimu, omusajja eyali omwesigwa. Yandibadde mufuzi eyandisobozesezza abantu abeesigwa okufuna obulamu obutuukiridde omutali kulwala. (Olubereberye 22:18; Isaaya 53:4, 5) Masiya eyasuubizibwa yali wa kuzaalibwa mu Besirekemu.—Soma Mikka 5:2.
Yesu ye yali Masiya. Ng’ekyabulayo ebyasa ebisukka mu musanvu, Bayibuli yalaga nti Masiya yandizaaliddwa omukazi embeerera era nti Masiya yandinyoomeddwa. Yandiwaddeyo obulamu bwe ku lw’ebibi by’abantu, era yandiziikiddwa n’abagagga. (Isaaya 7:14; 53:3, 9, 12) Ng’ekyabulayo ebyasa ebisukka mu 5, Bayibuli yalaga nti Masiya yandiyingidde Yerusaalemi nga yeebagadde endogoyi, era nti oyo eyandimuliddemu olukwe bandimuwadde empeera ya bitundu bya ffeeza 30. Obunnabbi obwo bwonna bwatuukirira.—Soma Zekkaliya 9:9; 11:12.
2. Bayibuli eraga ekiseera kyennyini obunnabbi lwe bulina okutuukirizibwa?
Ng’ekyabulayo ebyasa ebisukka mu 5, Bayibuli yayogera ku mwaka gwennyini Masiya mwe yandirabikidde. Ekiseera ekyandiyiseewo okutuuka Masiya lwe yandirabise baakibalira mu wiiki ez’akabonero, nga buli “wiiki” erimu emyaka musanvu. Wiiki 7 bw’ozigatta ku wiiki 62, ziba wiiki 69 ez’akabonero, era nga gye myaka 483. Emyaka egyo gyatandika ddi? Okusinziira ku Bayibuli, emyaka egyo gyatandika ng’omuweereza wa Katonda ayitibwa Nekkemiya azzeeyo e Yerusaalemi okuddamu okuzimba ekibuga ekyo. Ebyafaayo bya Buperusi biraga nti Nekkemiya yaddayo e Yerusaalemi mu mwaka gwa 455 E.E.T. (ng’Embala Eno Tennatandika) (Nekkemiya 2:1-5) Emyaka 483 gyaggwako mu mwaka gwa 29 E.E. (Embala Eno), era ng’ogwo gwe mwaka gwennyini Yesu gwe yabatirizibwamu n’afuuka Masiya.—Soma Danyeri 9:25.
3. Waliwo obunnabbi bwa Bayibuli obutuukirizibwa kati?
Yesu yayogera ku bintu ebyandibaddewo mu kiseera kyaffe. Ekimu ku byo kwe kubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda, obujja okuyamba abantu abaagala Katonda mu nsi yonna okufuna obuweerero. Obwakabaka obwo bujja kuzikiriza enteekateeka y’ensi eno embi.—Soma Matayo 24:14, 21, 22.
Obunnabbi bwa Bayibuli bwogera ku ebyo ebyandibaddewo ng’enkomerero y’enteekateeka eno ey’ebintu enaatera okutuuka. Bayibuli yalaga nti abantu bandibadde boonoona ensi, wadde ng’abasinga obungi tebandisuubidde kintu ng’ekyo mu mulembe guno ogukulaakulanye. Abantu bandyeyongedde okubonaabona olw’entalo, ebbula ly’emmere, musisi, n’endwadde. (Lukka 21:11; Okubikkulirwa 11:18) Empisa z’abantu zandyonoonese. Mu biseera bino ebizibu, abagoberezi ba Yesu bandibuulidde amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda mu mawanga gonna.—Soma Matayo 24:3, 7, 8; 2 Timoseewo 3:1-5.
4. Obulamu bunaaba butya mu biseera eby’omu maaso?
Waliwo ebintu ebirungi Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna by’ajja okukolera abantu abeesigwa. Yesu Kristo, nga ye Masiya, ng’ali wamu n’abantu 144,000 abalondebwa okuva ku nsi, bajja kufuga ensi nga basinziira mu ggulu. Be bajja okuba abafuzi mu gavumenti y’Obwakabaka bwa Katonda, era bajja kufugira emyaka lukumi. Abafu bajja kuzuukizibwa era abaliba bagwanidde bajja kuweebwa obulamu obutaggwawo. Okugatta ku ekyo, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuwonya abantu bonna. Endwadde n’okufa bijja kuggwawo.—Soma Okubikkulirwa 5:10; 20:6, 12; 21:4, 5.
Okumanya ebisingawo, laba olupapula 23-25 n’olupapula 197-201 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akalagiddwa wano.