ETTEREKERO LYAFFE
Baasigala nga Banywevu “mu Kiseera eky’Okugezesebwa”
SSEMATALO I bwe yatandikawo mu 1914, kyeyoleka bulungi nti Abayizi ba Bayibuli baali tebeenyigira mu ntalo. (Is. 2:2-4; Yok. 18:36; Bef. 6:12) Kiki ekyatuuka ku baweereza ba Katonda abaali mu Bungereza mu kiseera ekyo?
Henry Hudson
Mu 1916 etteeka lyayisibwa mu Bungereza nga ligamba nti abasajja bonna abatali bafumbo abali wakati w’emyaka 18 ne 40 baalina okuyingira amagye. Etteeka eryo lyali likkiriza abantu abamu obutayingira magye kasita kiba nti enzikiriza yaabwe oba omuntu waabwe ow’omunda tabakkiriza kukikola. Gavumenti yassaawo obukiiko okusalawo ani eyali asobola okukkirizibwa obutayingira magye.
Mu kiseera kitono, Abayizi ba Bayibuli nga 40 baasibibwa mu makomera g’amagye ate 8 ne batwalibwa mu ddwaniro mu Bufalansa. Ekyo bwe kyabaawo, ab’oluganda mu Bungereza baawandiikira katikkiro wa Bungereza Herbert Asquith ebbaluwa nga beemulugunya olw’engeri bakkiriza bannaabwe gye baali bayisiddwamu, era baateekako n’ekiwandiiko ekyaliko emikono 5,500.
Ab’oluganda omunaana abaali batwaliddwa mu Bufalansa baasalirwa ekibonerezo kya kukubibwa masasi olw’okugaana okukwata emmundu okulwana. Naye ab’oluganda abo bwe baali banaatera okukubibwa amasasi, ekibonerezo kyabwe kyakyusibwa ne basalawo okubasiba emyaka kkumi. Baabakomyawo e Bungereza ne babasibira mu makomera agatali ga magye.
James Frederick Scott
Olutalo bwe lwanyiinyiitira, n’abasajja abafumbo baatandika okuyingizibwa mu magye. Henry Hudson, eyali omusawo era nga Muyizi wa Bayibuli yawozesebwa mu kibuga Manchester ekya Bungereza. Nga Agusito 3, 1916, kkooti yamuvunaana olw’okugaana okuyingira amagye, n’emutanza, era n’emukwasa amagye. Mu kiseera kye kimu, James Frederick Scott, eyalina emyaka 25 era eyali aweereza nga kolopoota naye yali awozesebwa mu Edinburgh, Scotland. Kyokka kkooti yamwejeereza. Gavumenti yasalawo okujulira naye oluvannyuma n’ebivaako ng’eyagala okuteeka essira ku musango omulala ogwali gugenda mu maaso mu London. Herbert Kipps eyali awozesebwa mu London yasingisibwa omusango, n’atanzibwa, era ne bamukwasa amagye.
Ssebutemba wa 1916 we yatuukira, ab’oluganda abawerera ddala 264 be baali bamaze okusaba obutayingizibwa mu magye. Bataano ku bo, bakkirizibwa obutayingira magye, 154 baaweebwa emirimu egy’amaanyi, 23 baaweebwa emirimu mu magye naye nga si gya kukwata mundu, 82 baakwasibwa amagye, era abamu ne bawozesebwa mu kkooti y’amagye era ne basibibwa. Abantu abasinga obungi tebaasanyuka olw’engeri gavumenti gye yayisaamu ab’oluganda abo, era ekyo kyaleetera gavumenti okubakyusa n’ebaggya mu makomera g’amagye n’ebatwala mu makomera agatali ga magye.
Pryce Hughes
Pryce Hughes, oluvannyuma ayaweerezaako ng’omulabirizi w’ettabi lya Bungereza, awamu ne Edgar Clay baalagirwa okukola ku bbibiro ly’amasannyalaze mu Wales. Ate ye Herbert Senior, omu ku b’oluganda omunaana abaakomezebwawo okuva e Bufalansa yasindikibwa mu kkomera ly’e Wakefield mu Yorkshire. Abalala baasindikibwa mu kkomera ly’e Dartmoor. Ekkomera eryo lye lyasinga okubaamu abantu abaasibibwa olw’okugaana okuyingira amagye.
Frank Platt, Omuyizi wa Bayibuli eyali akkiriza okukola emirimu egitali gya kijaasi, yatulugunyizibwa nnyo bwe yagaana okukwata emmundu okulwana. Atkinson Padgett, eyayiga amazima nga yaakamala okwewandiisa mu magye, naye yatulugunyizibwa nnyo.
Herbert Senior
Wadde nga baganda baffe abaaliwo emyaka nga 100 emabega baali tebategeera bulungi kye kitegeeza obutabaako ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, baafuba okusanyusa Yakuwa Katonda. Ab’oluganda aboogeddwako mu kitundu kino baasigala nga beesigwa “mu kiseera eky’okugezesebwa” okw’amaanyi ennyo era baatuteerawo ekyokulabirako ekirungi. (Kub. 3:10)—Okuva mu tterekero lyaffe ery’omu Bungereza.