LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 9/1 lup. 8-9
  • Tuli Baavu mu by’Omubiri Naye Tuli Bagagga mu by’Omwoyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tuli Baavu mu by’Omubiri Naye Tuli Bagagga mu by’Omwoyo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • ENKYUKAKYUKA EZ’AMAANYI MU BULAMU BWAFFE
  • OKUSOOMOOZEBWA OKULALA
  • TUFUNA ESSANYU
  • OKUSABA KWAFFE KUDDIBWAMU
  • TUKYALI BAGAGGA MU BY’OMWOYO
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 9/1 lup. 8-9
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

EBYAFAAYO

Tuli Baavu mu by’Omubiri Naye Tuli Bagagga mu by’Omwoyo

Byayogerwa Alexander Ursu

Nnazaalibwa mu Ddesemba 1939 ku kyalo ekiyitibwa Cotiujeni, ekiri mu mambuka g’ensi kati eyitibwa Moldova. Jjajja omusajja ne taata baabeeranga mu nnyumba eyali tennaggwa. Baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa ng’emyaka gya 1930 gyakatandika. Maama naye yafuuka Omujulirwa wa Yakuwa oluvannyuma lw’okukiraba nti jjajja yali amanyi Bayibuli okusinga omusaseredooti ow’oku kyalo ekyo.

Bwe nnali nga ndi wa myaka esatu, taata, jjajja omusajja, ne taata omuto baatwalibwa mu nkambi z’abasibe olw’okugaana okuyingira amagye. Taata yekka ye yawonawo. Mu 1947, oluvannyuma lwa ssematalo ow’okubiri, yakomawo awaka ng’amenyese omugongo. Wadde nga yafuna ekizibu ekyo, yasigala munywevu mu kukkiriza.

ENKYUKAKYUKA EZ’AMAANYI MU BULAMU BWAFFE

Bwe nnali nga ndi wa myaka mwenda, nze n’ab’omu maka gaffe awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa abalala bangi mu Moldova twatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Siberia. Nga Jjulaayi 6, 1949, twateekebwa mu biyumba by’eggaali y’omukka mwe baatambulizanga ente. Twatambula mayiro ezisukka mu 4,000, era oluvannyuma lw’ennaku 12, twatuuka mu kitundu ekiyitibwa Lebyazhe eggaali z’omukka we zaasimbanga. Abasirikale ba poliisi ab’omu kitundu ekyo baali batulindiridde. Baatugabanyaamu obubinja obutonotono era amangu ddala ne tutwalibwa mu bifo eby’enjawulo. Ffe twatwalibwa ku kasomero akaali mu kitundu ekyo. Twali bakoowu nnyo era nga tuli mu nnaku ya maanyi. Waliwo omukyala omukadde gwe twali naye eyatandika okuyimba mu ddoboozi erya wansi oluyimba Abajulirwa ba Yakuwa lwe baayiiya mu Ssematalo ow’okubiri. Ffenna twamwegattako mu kuyimba oluyimba olwo olwali lugamba nti:

“Ab’oluganda bangi baawaŋŋangusibwa mu bitundu eby’ewala.

Baatwalibwa ebukiika kkono n’ebuvanjuba.

Baabonyaabonyezebwa nnyo olw’okukola Katonda by’ayagala, era baagumira ebizibu eby’amaanyi.”

Oluvannyuma lw’ekiseera, twatandika okukuŋŋaana awamu okuyiga Bayibuli buli lwa Ssande mu kifo ekyali kyesudde mayiro nga munaana okuva we twali tubeera. Ennaku ezisinga twasimbulanga ku makya nnyo era twayitanga mu muzira omungi ogwali gutukoma mu biwato. Abantu amakumi ataano oba okusingawo, twenyigirizanga mu kasenge akatono. Twantandikanga n’okuyimba oluyimba lumu, bbiri, oba ssatu. Waabangawo eyatukulemberanga mu kusaba, oluvannyuma ne tutandika okukubaganya ebirowoozo ku biri mu Bayibuli. Ekyo twakikolanga okumala essaawa nnamba oba okusingawo. Tweyongeranga okuyimba ennyimba n’okukubaganya ebirowoozo ku ebyo ebiri mu Bayibuli. Enkuŋŋaana ezo zaatuzzangamu nnyo amaanyi.

OKUSOOMOOZEBWA OKULALA

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Nga ndi e Dzhankoy awasimba eggaali z’omukka, awo nga mu 1974

Mu 1960 Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu buwaŋŋanguse baalina eddembe erisingako. Wadde nga twali baavu, nnasobola okukyalako mu Moldova, gye nnasisinkana Nina. Bazadde be ne bajjajjaabe nabo baali Bajulirwa ba Yakuwa. Mu kiseera kitono twafumbiriganwa ne tuddayo e Siberia gye twazaalira muwala waffe, Dina, mu 1964 ne mutabani waffe, Viktor, mu 1966. Nga wayiseewo emyaka ebiri, twasengukira mu Ukraine ne tutandika okubeera mu kayumba akatono mu kibuga Dzhankoy, akeesudde mayiro nga 100 okuva ku kibuga Yalta, eky’omu mu kitundu ekiyitibwa Crimea.

Mu kitundu ekyo ne mu bitundu ebirala ebya Soviet Union, omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogw’okubuulira gwali gwawerebwa. Naye twali tetukugirwa nnyo, era nga tetuyigganyizibwa. Ekyo kyaleetera Abajulirwa ba Yakuwa abamu okuddirira mu by’omwoyo. Baali bagamba nti olw’okuba baabonaabona nnyo nga bakyali mu Siberia, baali balina okukola ennyo nabo basobole okubeerako mu bulamu obweyagaza.

TUFUNA ESSANYU

Nga Maaki 27, 1991, omulimu gwaffe gwakkirizibwa mu butongole mu mawanga gonna agaali gakola Soviet Union. Amangu ddala, enteekateeka zaakolebwa wabeewo olukuŋŋaana olunene olw’ennaku ebbiri mu bitundu eby’enjawulo ebiwerera ddala musanvu. Twali ba kugenda ku olwo olwali lugenda okubeera mu Odessa, eky’omu Ukraine. Lwali lwa kutandika nga 24 Agusito. Nnatuukayo ng’ebula mwezi mulamba nsobole okuyambako mu kuteekateeka ekisaawe olukuŋŋaana olwo mwe lwali lugenda okubeera.

Twakolanga olunaku lwonna, era ekiro twebakanga ku ntebe ez’omu kisaawe. Abakyala bangi Abajulirwa ba Yakuwa baayonja ebifo byonna awasimbibwa ebidduka. Twakuŋŋaanya ebisasiro ebiweza ttani nga 70. Ab’oluganda abaali bakola mu kitongole ky’eby’ensula baatalaaga ekibuga kyonna nga banoonya ebifo ab’oluganda abawerera ddala 15,000 we bandisuze. Twali tukyali awo, ne tufuna amawulire amabi!

Nga 19 Agusito, ng’ebula ennaku ttaano zokka olukuŋŋaana lutuuke, Pulezidenti wa Soviet Union Mikhail Gorbachev yakwatibwa bwe yali agenze okuwummulirako okumpi n’ekibuga Yalta. Ob’obuyinza baasazaamu olukuŋŋaana lwaffe. Ab’oluganda abaali bateeseteese okubeerawo ku lukuŋŋaana olwo baatandika okukubira ab’oluganda abaali ku kakiiko akategesi amasimu nga babuuza nti, “Kati tukole tutya, kubanga tubadde tumaze okusasula ebisale by’entambula?” Oluvannyuma lw’okusaba ennyo ab’oluganda abaali ku kakiiko ako baabagamba nti, “Mumale gajja.”

Tweyongera okuteekateeka n’okusaba. Ab’oluganda abaali bakola mu kitongole eky’eby’entambula baatandika okwaniriza ab’oluganda abaali bava mu bitundu ebitali bimu ebya Soviet Union ne babatwala aw’okusula. Buli ku makya, ab’oluganda abaali ku kakiiko akategesi baagendanga okusisinkana ab’obuyinza ab’omu kibuga ekyo. Kyokka buli lwaggulo, baakomangawo nga tewali kalungi kavuddeyo.

OKUSABA KWAFFE KUDDIBWAMU

Ku Lwokuna nga Agusito 22, ng’ebula ennaku bbiri olukuŋŋaana lutuuke, ab’oluganda abaali ku kakiiko akategesi badda n’amawulire amalungi. Ab’obuyinza baamala ne bakkiriza olukuŋŋaana lubeewo! Twawulira essanyu eritagambika nga tuyimba era nga tusaba essaala eggulawo olukuŋŋaana. Programu y’Olwomukaaga bwe yaggwa, twasigalawo okutuusiza ddala akawungeezi nga tunyumyako ne Bakristaayo bannaffe. Baalina okukkiriza okunywevu era baali bagumidde okugezesebwa okw’amaanyi.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Olukuŋŋaana olunene olwali mu Odessa, mu 1991

Mu myaka egisukka mu 22 egiyiseewo oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwo, wabaddewo enkulaakulana ey’amaanyi. Ebizimbe by’Obwakabaka bingi Abajulirwa ba Yakuwa mwe bakuŋŋaanira bizimbiddwa okwetooloola Ukraine, era omuwendo gw’Abajulirwa ba Yakuwa gulinnye okuva ku 25,000 mu 1991 nga kati tuli 150,000!

TUKYALI BAGAGGA MU BY’OMWOYO

Tukyabeera mu nnyumba y’emu mu kibuga Dzhankoy, kati ekirimu abantu nga 40,000. Wadde nga mu kabuga ako mwalimu Abajulirwa ba Yakuwa batono nnyo we twaviira e Siberia mu 1968, kati kalimu ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa mukaaga.

Amaka gaffe geeyongedde okugaziwa. Tulina abaana, abazzukulu, n’abaana b’abazzukulu, era ffenna tuweerereza wamu Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share