LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 12/1 lup. 5
  • Owuliziganya ne Katonda?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Owuliziganya ne Katonda?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Engeri gy’Oyinza Okusembereramu Katonda
    Okumanya Okukulembera Okutuuka mu Bulamu Obutaggwaawo
  • Tuukirira Katonda ng’Oyitira mu Kusaba
    Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?
  • Olina Enkolagana ey’Oku Lusegere ne Yakuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • ‘Bye Mwagala Mubitegeezenga Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 12/1 lup. 5
Omusajja ng’ayogera ne mukwano gwe ku ssimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | OSOBOLA OKUBEERA MUKWANO GWA KATONDA

Owuliziganya ne Katonda?

Ab’omukwano ka babe nga boogerera ku ssimu, nga beeweereza mesegi ku ssimu oba ku Intaneeti, oba nga beewandiikira mabaluwa, bafuba okuwuliziganya buli lwe baba bafunye akakisa. Mu ngeri y’emu, naffe okusobola okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda, tusaanidde okuwuliziganya naye buli lunaku. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Tusobola okwogera ne Katonda okuyitira mu kusaba. Kyokka, bwe tuba tusaba Katonda tetusaanidde kuba ng’aboogera n’omuntu gwe twenkana naye. Bwe tuba tusaba tusaanidde okukijjukira nti tuba twogera ne Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Ekyo kyandituleetedde okumusaba nga tuli bawombeefu. Katonda bw’aba ow’okuwulira okusaba kwaffe waliwo ebintu ebirala bye tusaanidde okukola. Ka tulabe ebimu ku byo.

Ekisooka, tusaanidde kusaba Yakuwa Katonda yekka, so si Yesu, “abatukuvu,” oba ebifaananyi. (Okuva 20:4, 5) Bayibuli egamba nti: “Mu buli nsonga mutegeezenga Katonda bye mwetaaga, nga musabanga, nga mwegayiriranga, era nga mwebazanga.” (Abafiripi 4:6) Eky’okubiri, essaala tulina okuziyisa mu linnya lya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. Yesu kennyini yagamba nti: “Tewali ajja eri Kitange okuggyako ng’ayitidde mu nze.” (Yokaana 14:6) Eky’okusatu, essaala zaffe zirina okuba nga zituukagana n’ebyo Katonda by’ayagala. Bayibuli egamba nti: “Bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”a​—1 Yokaana 5:14.

Ab’omukwano bafuba okuwuliziganya buli kiseera

Omukwano tegusobola kuwangaala singa omuntu omu yekka y’aba ayogera buli kiseera. Kiba kirungi singa buli omu awa munne akakisa okwogera. Mu ngeri y’emu, tusaanidde okuleka Katonda ayogere naffe era tusaanidde okumuwuliriza. Omanyi engeri Katonda gy’ayogera naffe?

Leero, Yakuwa Katonda ayogera naffe ng’ayitira mu Kigambo kye Bayibuli. (2 Timoseewo 3:16, 17) Lwaki tugamba bwe tutyo? Ka tugambe nti mukwano gwo akuwandiikidde ebbaluwa ng’alina ky’akugamba. Okkiriza ky’akugambye wadde ng’aba tayogedde naawe butereevu. Mu ngeri y’emu, bw’osoma Bayibuli Katonda aba ayogera naawe. Gina gwe twogeddeko mu kitundu ekisoose agamba nti, “Bwe mba njagala Katonda antwale nga mukwano gwe, nnina okusoma ‘ebbaluwa’ gye yatuwandiikira, nga ye Bayibuli.” Agattako nti, “Okusoma Bayibuli buli lunaku kinnyambye okuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.” Oleka Katonda okwogera naawe ng’osoma Bayibuli buli lunaku? Bw’onookola bw’otyo, ojja kuba n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.

a Okumanya ebisingawo ku ngeri y’okusabamu Katonda, laba essuula 17 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share