LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 1/15 lup. 8-12
  • Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘BYE WAKOLA BINGI, AI YAKUWA’
  • OKUFUMIITIRIZA N’OKUSABA KITUYAMBA OKUSIIMA EMIKISA GYE TULINA
  • NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU
  • ‘NJA KUSANYUKIRA MU YAKUWA’
  • “Mwebazenga Olwa Buli Kintu Kyonna”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Okulongoosa mu Ngeri Gye Tusabamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Osiima Emikisa Gyonna Katonda gy’Akuwa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Osaanidde Okukiraga nti Osiima?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 1/15 lup. 8-12
Abaisiraeri nga bayimbira Yakuwa nga bamwebaza olw’ekyo kye yali abakoledde
Abaisiraeri nga bayimbira Yakuwa nga bamwebaza olw’ekyo kye yali abakoledde

Weebaze Yakuwa, Oweebwe Emikisa

‘Mumwebaze Yakuwa, kubanga mulungi.’​—ZAB. 106:1.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Bwe kituuka ku kwebaza, kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo?

  • Okufumiitiriza n’okusaba biyinza bitya okutuyamba okusiima ebyo Katonda by’atuwa?

  • Okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa kiyinza kitya okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu bye twolekagana nabyo?

1. Lwaki tusaanidde okwebaza Yakuwa?

OKUVA bwe kiri nti Yakuwa ye Mugabi wa “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde,” tusaanidde okumwebaza bulijjo. (Yak. 1:17) Yakuwa ye Musumba waffe era akola ku byetaago byaffe eby’omubiri n’eby’omwoyo. (Zab. 23:1-3) Katonda kye “kiddukiro n’amaanyi gaffe,” naddala mu biseera ebizibu! (Zab. 46:1) Mu butuufu, waliwo ensonga nnyingi ezituleetera okukkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba nti: “Mumwebaze Mukama; kubanga mulungi: kubanga okusaasira kwe kubeerera emirembe gyonna.”​—Zab. 106:1.

Ekyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2015: ‘Mumwebaze Yakuwa, kubanga mulungi.’​—Zabbuli 106:1

2, 3. (a) Kiki ekiyinza okubaawo singa tulekera awo okusiima ebintu Katonda by’atuwa? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?

2 Kikulu nnyo okwebaza Yakuwa. Naye ng’obunnabbi bwe bwalaga, mu nnaku zino ez’enkomerero, abantu abasinga obungi tebeebaza. (2 Tim. 3:2) Bangi tebasiima ebyo bye balina. Batwaliriziddwa omwoyo ogw’okwagala ebintu, ekyo ne kibaleetera obutaba bamativu n’ebyo bye balina. Naffe bwe tuteegendereza tuyinza okwesanga nga tulekedde awo okusiima ebintu Yakuwa by’atuwa. Okufaananako Abaisiraeri ab’edda, ekyo kiyinza okutuleetera okulekera awo okutwala enkolagana yaffe ne Yakuwa ng’ekintu eky’omuwendo era kiyinza okutuleetera okulekera awo okusiima emikisa gy’atuwa.​—Zab. 106:7, 11-13.

3 Ate lowooza ku ekyo ekiyinza okubaawo nga tufunye ebizibu eby’amaanyi. Mu biseera ng’ebyo, tuyinza okuggwaamu amaanyi ne twerabira n’emikisa emingi Yakuwa gy’atuwadde. (Zab. 116:3) Kati olwo kiki ekinaatuyamba okusiima emikisa Yakuwa gy’atuwadde? Era kiki ekinaatuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu? Ka tulabe eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

‘BYE WAKOLA BINGI, AI YAKUWA’

4. Kiki ekinaatuyamba okusiima emikisa Yakuwa gy’atuwa?

4 Bwe tuba ab’okusiima emikisa Yakuwa gy’atuwa, tulina okugifumiitirizaako era tulina n’okulowooza ku ngeri Yakuwa gy’akiraze nti atwagala nnyo. Ekyo omuwandiisi wa Zabbuli bwe yakikola, yakwatibwako nnyo olw’ebintu eby’ekitalo Yakuwa bye yakola.​—Soma Zabbuli 40:5; 107:43.

5. Bwe kituuka ku kwebaza, kiki kye tuyigira ku mutume Pawulo?

5 Omutume Pawulo yasiimanga emikisa gye yalina era tulina kye tuyinza okumuyigirako. Yafumiitirizanga ku mikisa gye yalina, era emirundi mingi yakiraganga nti asiima emikisa egyo. Bwe yali tannafuuka Mukristaayo, Pawulo yali ‘muvvoozi, ng’ayigganya abalala, era nga tawa balala kitiibwa.’ Bwe kityo, Pawulo yeebaza Katonda ne Kristo olw’okumulaga ekisa ne bamukwasa obuweereza obw’omuwendo, wadde nga yali yakola ebintu ebibi bingi mu biseera eby’emabega. (Soma 1 Timoseewo 1:12-14.) Ate era Pawulo yasiimanga nnyo Bakristaayo banne era emirundi mingi yeebazanga Yakuwa olw’engeri ennungi bakkiriza banne ze baalina n’olw’obwesigwa bwe baali booleka. (Baf. 1:3-5, 7; 1 Bas. 1:2, 3) Okugatta ku ekyo, Pawulo bwe yafunanga ebizibu eby’amaanyi, yeebazanga nnyo Yakuwa olw’okumuyamba ng’ayitira mu bakkiriza banne. (Bik. 28:15; 2 Kol. 7:5-7) N’olwekyo tekyewuunyisa nti Pawulo yakubiriza Abakristaayo nti: “Mulage nti musiima . . . , mubuuliraganenga ne zabbuli, n’ennyimba ezitendereza Katonda, n’ennyimba ez’eby’omwoyo ezisanyusa.”​—Bak. 3:15-17.

OKUFUMIITIRIZA N’OKUSABA KITUYAMBA OKUSIIMA EMIKISA GYE TULINA

6. Mikisa ki Yakuwa gy’akuwadde?

6 Tuyinza tutya okukoppa Pawulo? Okufaananako Pawulo, naffe tusaanidde okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwadde kinnoomu. (Zab. 116:12) Singa omuntu akubuuza nti, ‘Mikisa ki Yakuwa gy’akuwadde?’ Oyinza kumuddamu otya? Wandyogedde ku nkolagana gy’olina ne Yakuwa? Oba wandyogedde ku ky’okuba nti osobola okusonyiyibwa ebibi olw’okukkiririza mu ssaddaaka ya Kristo? Oyinza okunokolayo amannya ga bakkiriza banno abakuyambye mu biseera ebizibu? Kya lwatu nti bw’oba oli mufumbo, ojja kwogera ku munno mu bufumbo era bw’oba olina abaana nabo ojja kuboogerako. Mu butuufu, emikisa gy’ofunye toyinza kugimenya n’ogimalayo. Bw’ofumiitiriza ku mikisa Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, gy’akuwadde ojja kusiima emikisa egyo era ekyo kijja kukukubiriza okumwebaza.​—Soma Zabbuli 92:1, 2.

7. (a) Lwaki tusaanidde okusaba essaala ez’okwebaza? (b) Okwebaza Yakuwa ng’osaba kinaakuganyula kitya?

7 Okulowooza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa, kijja kutukubiriza okumwebaza nga tusaba. (Zab. 95:2; 100:4, 5) Abantu bangi basaba Katonda ku olwo lwokka nga balina bye baagala abawe oba abakolere. Kyokka ffe tukimanyi bulungi nti bwe tusaba Yakuwa nga tumwebaza olw’ebirungi by’atuwa, kimusanyusa nnyo. Mu Bayibuli mulimu essaala nnyingi abaweereza ba Katonda, gamba nga Kaana ne Keezeekiya, ze baasaba nga bamwebaza. (1 Sam. 2:1-10; Is. 38:9-20) Osaanidde okukoppa abaweereza ba Katonda ng’abo abaasiimanga emikisa Yakuwa gye yabawanga. Weebaze Yakuwa olw’emikisa gyonna gy’akuwadde. (1 Bas. 5:17, 18) Bw’onookola bw’otyo, ojja kuganyulwa nnyo. Ojja kufuna essanyu, ojja kweyongera okwagala Yakuwa, era ojja kweyongera okumusemberera.​—Yak. 4:8.

Omusajja nga yeebaza Yakuwa olw’ekinunulo, olw’okumuwa omwana, olw’okumuwa omukyala, olw’okumuwa emikwano emirungi

Mikisa ki Yakuwa gy’akuwadde? (Laba akatundu 6, 7)

Omusajja nga yeebaza Yakuwa olw’ekinunulo, olw’okumuwa omwana, olw’okumuwa omukyala, olw’okumuwa emikwano emirungi

Mikisa ki Yakuwa gy’akuwadde? (Laba akatundu 6, 7)

8. Kiki ekiyinza okutuleetera okulekera awo okusiima ebintu Yakuwa by’atukoledde?

8 Lwaki tusaanidde okufuba okulaba nti tetulekera awo kusiima bintu Yakuwa by’atukoledde? Olw’okuba twasikira obutali butuukirivu, emirundi mingi twoleka omwoyo ogw’obutasiima. Lowooza ku kino: Bazadde baffe abaasooka, Adamu ne Kaawa, baaweebwa olusuku olulabika obulungi ennyo. Baalina byonna bye baali beetaaga era nga balina n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna. (Lub. 1:28) Naye tebaasiima mikisa egyo. Baayoleka omululu era ekyo ne kibaviirako okufiirwa buli kimu. (Lub. 3:6, 7, 17-19) Olw’okuba tuli mu bantu abatasiima, naffe tuyinza okwesanga nga tulekedde awo okusiima ebintu Yakuwa by’atukoledde. Tusobola okutandika okulagajjalira enkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza n’okulekera awo okusiima oluganda olw’ensi yonna lwe tulina. Era tusobola n’okutandika okwemalira ku bintu ebiri mu ensi eno eneetera okuzikirizibwa. (1 Yok. 2:15-17) Okusobola okwewala ekyo okututuukako, tusaanidde okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa n’okumwebaza obutayosa olw’enkizo gye tulina okuba nti tuli bantu be.​—Soma Zabbuli 27:4.

NGA TWOLEKAGANA N’EBIZIBU

9. Bwe tufuna ebizibu, lwaki tusaanidde okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa?

9 Bwe tuba nga tusiima ebintu Yakuwa by’atuwa, kijja kutuyamba okugumira ebizibu eby’amaanyi bye tuyinza okwolekagana nabyo. Tuyinza okuyisibwa obubi ennyo singa munnaffe mu bufumbo afuuka atali mwesigwa, singa tufuna obulwadde obw’amaanyi, singa tufiirwa omuntu waffe, oba singa tukosebwa akatyabaga. Mu biseera ng’ebyo, okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa kisobola okutubudaabuda n’okutuyamba okuguma. Lowooza ku byokulabirako bino wammanga.

10. Mwannyinaffe Irina aganyuddwa atya mu kufumiitiriza ku mikisa gy’alina?

10 Irina,a mwannyinaffe aweereza nga payoniya owa bulijjo mu America, omwami we eyali aweereza ng’omukadde yafuuka atali mwesigwa n’amwabulira awamu n’abaana baabwe. Kiki ekyayamba Irina okusigala ng’aweereza Yakuwa n’obwesigwa? Agamba nti: “Nsiima nnyo engeri Yakuwa gy’andabiriramu. Buli lunaku nfumiitiriza ku mikisa gye nnina, era ekyo kinnyambye okusiima enkizo gye nnina okuba nti Kitaffe ow’omu ggulu ammanyi, ankuuma, era anjagala nnyo. Nkimanyi nti tayinza kunjabulira.” Wadde nga Irina ayolekaganye n’ebizibu bingi, asobodde okusigala nga musanyufu. Ekyo kimuyambye okugumira ebizibu era kimuyambye okuzzaamu abalala amaanyi.

11. Kiki ekyayamba Kyung-sook okugumira obulwadde obw’amaanyi?

11 Kyung-sook, abeera mu Asiya, yamala emyaka egisukka mu 20 ng’aweereza nga payoniya awamu n’omwami we. Lumu, yakeberebwa ne kizuulibwa nti yalina kkansa w’omu mawuggwe. Omusawo yamugamba nti yali asigazzaayo ebbanga eriri wakati w’emyezi esatu n’omukaaga afe. Ekyo kyewuunyisa nnyo mwannyinaffe oyo n’omwami we okuva bwe kiri nti baali balowooza nti baali balamu bulungi. Kyung-sook yagamba nti: ‘Bwe nnakimanya nti nnalina obulwadde obwo, nnatya nnyo.’ Kiki ekimuyambye okuguma? Agamba nti: “Buli kiro nga sinnaba kwebaka, nsaba Yakuwa mu ddoboozi ery’omwanguka ne nnokolayo ebintu bitaano by’aba ankoledde olunaku olwo. Oluvannyuma lw’okusaba, mpulira nga nzizeemu amaanyi era nga ndi mwetegefu okwongera okulaga Yakuwa nti mwagala.” Kyung-sook aganyuddwa atya mu kusaba Yakuwa ekiro? Agamba nti: “Nkizudde nti Yakuwa atuwanirira nga tuli mu mbeera enzibu era nti emikisa gy’atuwa mingi nnyo okusinga ebizibu bye tufuna.”

Sheryl ne mwannyina John, bwe baawonawo

Ng’ali ne mwannyina John, bwe baawonawo (Laba akatundu 13)

Sheryl ne mwannyina John, bwe baawonawo

Ng’ali ne mwannyina John, bwe baawonawo (Laba akatundu 13)

12. Kiki ekyayamba Jason okuguma oluvannyuma lw’okufiirwa mukyala we?

12 Jason amaze emyaka egisukka mu 30 mu buweereza obw’ekiseera kyonna era nga kati aweereza ku ofiisi y’ettabi emu mu Afirika. Agamba nti: “Emyaka musanvu emabega, nnafiirwa mukyala wange, era ennaku yajula okunzita. Bwe ndowooza ku bulumi obw’amaanyi bwe yayitamu ng’alumwa ekirwadde kya kkansa, kindeetera ennaku ey’amaanyi.” Kiki ekiyambye Jason okuguma? Agamba nti, “Lumu bwe nnalowooza ku biseera ebirungi bye nnamalanga nga ndi wamu ne mukyala wange, nnasaba Yakuwa ne mmwebaza, era ekyo kyannyamba okufuna obuweerero. Okuva olwo nnatandika okwebaza Yakuwa obutayosa olw’okutuwa ebiseera ebyo ebirungi. Ekyo kinnyambye okuguma. Nkyawulira ennaku ku mutima olw’okufiirwa mukyala wange, naye okwebaza Yakuwa olw’okumpa omukyala eyali omulungi ennyo n’olw’okumpa enkizo okumuweereza nga ndi wamu ne mukyala wange oyo eyali anjagala ennyo, kinzizzaamu nnyo amaanyi.”

“Ndi musanyufu nnyo okuba nti Yakuwa ye Katonda wange.”​—Sheryl

13. Kiki ekyayamba Sheryl okuguma ng’afiiriddwa abantu be?

13 Omuyaga ogw’amaanyi bwe gwakuba Philippines mu 2013, Sheryl, eyali ow’emyaka 13 mu kiseera ekyo yafiirwa kumpi buli kimu. Taata we, maama we, baganda be ababiri, ne mwannyina baafiira mu muyaga ogwo, era n’ennyumba yaabwe n’esaanawo. Kiki ekiyambye Sheryl okugumira embeera eyo? Ekimuyambye kwe kuba nti asiima nnyo ebyo Yakuwa by’amukolera n’emikisa gy’amuwa. Agamba nti: “Nnalaba ebintu byonna ab’oluganda bye baakola okutuyamba n’okutubudaabuda mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo. Nkimanyi nti ab’oluganda bonna okwetooloola ensi baali bansabira. Bulijjo Yakuwa atuwa byonna bye twetaaga.” Mu butuufu, okufumiitiriza ku mikisa gye tufuna kijja kutuyamba okugumira ebizibu. Okusiima ebintu Yakuwa by’atukolera kijja kutuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu wadde nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu.​—Bef. 5:20; soma Abafiripi 4:6, 7.

‘NJA KUSANYUKIRA MU YAKUWA’

14. Ssuubi ki lye tulina? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

14 Okuva edda n’edda, abantu ba Yakuwa babadde bakiraga nti basiima emikisa gy’abawa. Ng’ekyokulabirako, oluvannyuma lw’okununulibwa okuva mu mukono gwa Falaawo n’eggye lye ku Nnyanja Emmyufu, Abaisiraeri baayimba ennyimba nga batendereza Yakuwa era nga bamwebaza. (Kuv. 15:1-21) Leero, ogumu ku mikisa egy’ekitalo gye tulina kwe kuba nti tulina essuubi ekkakafu nti tujja kununulibwa okuva mu bintu byonna ebituleetera ennaku n’okubonaabona. (Zab. 37:9-11; Is. 25:8; 33:24) Lowooza ku ngeri gye tunaawuliramu nga Yakuwa azikirizza abalabe be bonna era ng’atuyingizza mu nsi empya ey’emirembe n’obutuukirivu. Mu butuufu, tujja kwebaza nnyo Yakuwa olw’emikisa gy’anaaba atuwadde.​—Kub. 20:1-3; 21:3, 4.

15. Kiki ky’omaliridde okukola mu mwaka 2015 gwonna?

15 Twesunga nnyo okufuna emikisa okuva eri Yakuwa mu mwaka guno ogwa 2015. Kya lwatu nti tujja kwolekagana n’ebizibu ebitali bimu. Ka kibe ki ekinaatutuukako, tuli bakakafu nti Yakuwa tajja kutwabulira. (Ma. 31:8; Zab. 9:9, 10) Ajja kweyongera okutuwa byonna bye twetaaga okusobola okumuweereza n’obwesigwa. N’olwekyo, ka tube bamalirivu okusigala nga tulina endowooza ng’eya nnabbi Kaabakuuku, eyagamba nti: “Omutiini newakubadde nga [tegumulisa], so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala; ne bwe bateganira omuzeyituuni obwereere, ennimiro ne zitaleeta mmere yonna; embuzi nga zimaliddwawo ku kisibo, so nga tewali nte mu biraalo: era naye ndisanyukira Mukama, ndijaguliza Katonda ow’obulokozi bwange.” (Kaab. 3:17, 18) Mu mwaka guno gwonna, ka tube bamalirivu okufumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’atuwa era tukolere ku kyawandiikibwa kyaffe eky’omwaka 2015, ekigamba nti: ‘Mumwebaze Yakuwa, kubanga mulungi.’​—Zab. 106:1.

a Amannya agamu mu kitundu kino gakyusiddwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share