EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | BAYIBULI—YAWONA OKUSAANAWO
Bayibuli Teyavunda
BUZIBU KI OBWALIWO?: Abantu abaasooka okuwandiika Bayibuli n’abo abaagikoppolola baakozesanga bitoogo n’amaliba g’ensolo. (2 Timoseewo 4:13) Lwaki ebintu ebyo kwe baawandiikanga byali bisobola okuviirako Bayibuli okusaanawo?
Ebitoogo biyulika mangu, biggwaamu mangu langi, era bivunda mangu. Bakakensa Richard Parkinson ne Stephen Quirke abanoonyereza ku byafaayo bya Misiri bagamba nti: ‘Omuzingo ogukoleddwa mu bitoogo gusobola okuvunda amangu ne gusaanawo. Ate era omuzingo ng’ogwo bwe guterekebwa mu kifo ekinnyogovu oba bwe guziikibwa mu ttaka, gusobola okuwumba oba okuliibwa emmese oba ebiwuka, naddala enkuyege.’ Waliwo emizingo egy’ebitoogo egyazuulibwa, era egimu bwe gyateekebwa awaali ekitangaala ekingi oba mu bifo ebirimu ebbugumu, kyagiviirako okwonooneka amangu.
Emizingo egy’amaliba gyo giba migumu okusinga egy’ebitoogo, naye nagyo gyonooneka mangu singa giragajjalirwa oba singa giteekebwa awali ebbugumu eringi, awannyogovu, oba awali ekitangaala ekingi.a Ate era ebiwuka birya nnyo emizingo egy’amaliba. Eyo ye nsonga lwaki ebiwandiiko bingi eby’edda tebikyaliwo. Singa n’ebiwandiiko bya Bayibuli byasaanawo, obubaka obugirimu nabwo bwandibadde tebuliiwo.
ENGERI BAYIBULI GYE YAWONA OKUSAANAWO: Amateeka Katonda ge yawa Abayisirayiri gaali galagira buli kabaka okukoppolola Amateeka, kwe kugamba, ebitabo ebitaano ebisooka mu Bayibuli. (Ekyamateeka 17:18) Ate era abakoppolozi abakugu baakoppolola ebiwandiiko bingi nnyo ne kiba nti ekyasa ekyasooka we kyatuukira, mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu Isirayiri mwonna ne mu kitundu eky’ewala e Masedoniya, mwalimu Ebyawandiikibwa. (Lukka 4:16, 17; Ebikolwa 17:11) Kisobose kitya okuba nti ebimu ku biwandiiko eby’edda ennyo bikyaliwo?
Emizingo egyazuulibwa okumpi n’Ennyanja Enfu gyali gimaze emyaka bikumi na bikumi nga giri mu nsuwa ezaali mu mpuku
Philip W. Comfort eyeekenneenya ebyawandiikibwa eby’Endagaano Empya agamba nti: “Abayudaaya baaterekanga emizingo gy’ebyawandiikibwa mu nsuwa okusobola okubikuuma bireme kwonooneka.” Kirabika Abakristaayo nabo baakozesanga enkola y’emu. N’ekyavaamu, ebiwandiiko bya Bayibuli eby’edda ennyo byazuulibwa mu nsuwa ne mu mpuku, ne mu bitundu ebirimu ebbugumu eringi.
EKIVUDDEMU: Ebiwandiiko bya Bayibuli nkumi na nkumi bikyaliwo, era ng’ebimu biwangadde emyaka egisukka mu 2,000. Tewali kitabo kirala eky’edda kirina biwandiiko bingi bwe bityo era nga biwangadde nnyo.
a Ng’ekyokulabirako, ekiwandiiko ekikakasa nti Amerika yafuna obwetwaze (United States Declaration of Independence) kyawandiikibwa ku ddiba. Naye kati oluvannyuma lw’emyaka egitawera na 250, kikaddiye nnyo era n’ebigambo tebikyalabika bulungi.