LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w17 Maayi lup. 31-32
  • ‘Twavaawo nga Tuli Bamalirivu Nnyo’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Twavaawo nga Tuli Bamalirivu Nnyo’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
w17 Maayi lup. 31-32
Abantu nga bali ku lukuŋŋaana olunene mu Cedar Point, Ohio, mu 1922

ETTEREKERO LYAFFE

‘Twavaawo nga Tuli Bamalirivu Nnyo’

KU LWOKUTAANO ku makya abantu nga 8,000 be baali bamaze okuyingira mu kizimbe omwali olukuŋŋaana olunene olwaliwo mu Ssebutemba 1922. Wadde obudde bwali bukyali bwa ku makya, ebbugumu lyali lingi munda mu kizimbe. Ssentebe yalangirira nti mu kitundu ekyo eky’oku makya ekyali ekikulu ennyo, omuntu yenna yali wa ddembe okufuluma naye yali tajja kukkirizibwa kuddamu kuyingira mu kizimbe.

Ennyimba ez’okutendereza zaasooka ne ziyimbibwa era oluvannyuma Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yagenda ku katuuti. Abantu abasinga obungi baali bulindaala nga balindirira ekiddako. Ate abalala abatonotono baali bayimiridde nga bawejjawejja olw’ebbugumu eringi. Omwogezi yabagamba nti batuule wansi bawulirize. Simanyi obanga waliwo omuntu n’omu eyasobola okulaba olugoye olwali luzingiddwako obulungi nga lulengejja waggulu ku siteegi.

Ow’oluganda Rutherford yayogera ku mutwe ogugamba nti, “Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.” Yamala essaawa ng’emu n’ekitundu ng’annyonnyola engeri bannabbi ab’edda gye baalangirira n’obuvumu okujja kw’Obwakabaka. Bwe yali anaatera okumaliriza, yabuuza nti, “Mukkiriza nti Kabaka ow’ekitiibwa atandise okufuga?” Abantu bonna baddamu mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Yee!”

Ow’oluganda Rutherford yayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti: “Muddeeyo mubuulire, mmwe abaana ba Katonda asingayo okuba waggulu! Mulabe, Kabaka afuga! Mmwe b’alonze okumanyisa abalala ebimukwatako. N’olwekyo, mulangirire, mulangirire, mulangirire.”

Mu kaseera ako, olugoye olwali luzingiddwa nga lulengejjera waggulu lweyanjuluza, era lwaliko ebigambo ebigamba nti: “Mulangirire Kabaka n’obwakabaka bwe.”

Ray Bopp yagamba nti: “Abantu bonna baacamuka nnyo.” Anna Gardner ye yagamba nti: “Abantu bwe baakuba mu ngalo ne bayimusa amaloboozi, emirabba gyenyeenya.” Fred Twarosh yagamba nti: “Abantu bonna baayimuka omulundi gumu.” Ate ye Evangelos Scouffas yagamba nti: “Waali ng’awaaliwo amaanyi agaatusitula mu bifo byaffe. Twayimirira nga tukulukusa amaziga ag’essanyu.”

Abantu abasinga obungi abaaliwo ku lukuŋŋaana olwo baali baatandika dda okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Naye kati baali bawulira nga bazziddwamu nnyo amaanyi. Ethel Bennecoff yagamba nti: “Abayizi ba Bayibuli baava ku lukuŋŋaana olwo nga bamalirivu nnyo okubuulira.” Odessa Tuck, mu kiseera ekyo eyalina emyaka 18, yava ku lukuŋŋaana olwo nga mumalirivu okugenda yonna Yakuwa gye yandimutumye. Yagamba nti: “Nnali simanyi wa Yakuwa gye yandintumye. Naye kye nnali mmanyi kiri nti nnali njagala okubeera nga Isaaya eyagamba nti: “Nzuuno! Ntuma!” (Isa. 6:8) Ralph Leffler yagamba nti: “Kumpi olwo lwe lunaku abantu ba Katonda lwe baatandikira ddala okukola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira kati ogubunye mu nsi yonna.”

N’olwekyo, tekyewuunyisa nti olukuŋŋaana olwo olunene olwali mu Cedar Point, Ohio mu 1922, lwa byafaayo nnyo eri abantu ba Yakuwa! George Gangas yagamba nti, “Olukuŋŋaana olwo lwandeetera okuba omumalirivu obutasubwa lukuŋŋaana lwonna olunene.” Mu butuufu talina lukuŋŋaana na lumu lwe yasubwa. Julia Wilcox yagamba nti: “Olukuŋŋaana olunene olwali mu Cedar Point mu 1922 buli lwe balwogerako mu bitabo byaffe, kindeetera essanyu lingi. Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunsobozesa okulubeerako.”

Bangi ku ffe tulina enkuŋŋaana ennene ze tujjukira ezaatukwatako ennyo era ezaatuleetera okwongera okwagala Katonda waffe Yakuwa awamu ne Kabaka waffe Yesu. Bwe tuzifumiitirizaako, naffe twebaza nnyo Yakuwa olw’okutusobozesa okuzibaako.

Ennukuta Ezaatuleetera Okwebuuza Ebibuuzo Bingi

Ennukuta “ADV” zaali zitimbiddwa buli wamu, ku miti, ku bizimbe, era zaali ne ku kapapula ka programu! Bangi ku abo abaali bazze ku lukuŋŋaana olwo baali beebuuza kye zitegeeza.a

“Ku buli mpagi ne ku miryango kwaliko bukaadi obweru nga buliko ennukuta ADV nga ziri mu langi enzirugavu. Twebuuzanga amakulu g’ennukuta ezo naye tewali n’omu eyali amanyi makulu gaazo, era n’abo abaali bamanyi tebaatubuulira.”​—Edith Brenisen.

a Ekintu ekirala ekyewuunyisa ku nnukuta ezo kiri nti n’okutuusa leero tetulina kifaananyi kyonna mu tterekero lyaffe ekyakubibwa mu kiseera ekyo nga kiraga ennukuta ezo.

Essaala Eyaddibwamu mu Ngeri Eyeewuunyisa

Arthur ne Nellie baatuuka bukyali basobole okufuna ebifo ebirungi. Arthur yagamba nti: “Nnali nzisaayo omwoyo ku buli kigambo ekyali kyogerwa.” Naye yali akyali awo olubuto ne lutandika okumuluma. Yasituka okuva mu kizimbe nga tayagala, kubanga yali akimanyi nti bw’afuluma yali tajja kukkirizibwa kuddamu kuyingira. Omu ku baali baaniriza abagenyi yamugamba nti, “Oyinza otya okufuluma mu kaseera nga kano?” Naye ekyo Arthur yali tayinza kukyebeera.

Arthur bwe yali akomawo okuva gye yali agenze, yawulira abantu munda mu kizimbe nga baleekaana. Bwe yali anoonya akafo we yali ayinza okuwulirira ebyali bigenda mu maaso munda, yalaba we yali asobola okuyita n’alinnya waggulu ku kasolya, era waaliwo ffuuti nga 16. Bwe yalinnya waggulu yagenda mu kifo awaali wayingirira ekitangaala awaali eddirisa eriggule.

Eyo waggulu Arthur yasangayo ab’oluganda abawerako nga balingiza omwogezi naye nga basobeddwa. Baali babalagidde okwetegeka okusala obuguwa obuwerako omulundi gumu olugoye okusobola okwezingulula. Naye ekyo okusobola okukikola, baali beetaagayo akambe akalala kamu. Arthur yali akalina? Ekyewuunyisa kiri nti yali akalina. Arthur n’ab’oluganda abo buli omu yeetegeka okusala obuguwa ng’ekiseera kituuse okubusala. Ow’oluganda Rutherford bwe yayogera omulundi ogw’okubiri nti “Mulangirire!” baasala obuguwa obwo.

Abo abaali munda mu kizimbe baagamba nti olugoye olwo olwali mu langi essatu lwezingulula bulungi, era mu makkati lwaliko ekifaananyi kya Yesu.

Oluvannyuma ab’oluganda abo baabuulira Arthur nti bwe baamala okulinnya waggulu ku kasolya eddaala lye baalinnyirako ne litwalibwa. Baali tebasobola kukka kufuna buyambi, bwe kityo baasaba Yakuwa abasindikire ow’oluganda alina akambe. Ab’oluganda abo baali bakakafu nti Yakuwa yali azzeemu essaala yaabwe mu ngeri eyeewuunyisa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share