-
Olubereberye 41:30, 31Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 Naye egyo bwe giriggwaako waliddawo emyaka musanvu egy’enjala. Ekyengera ky’omu nsi ya Misiri kiryerabirwa, era n’enjala eriba ya maanyi nnyo mu nsi.+ 31 Abantu tebalijjukira nti waali wabaddewo ekyengera mu nsi olw’enjala erikiddirira, kubanga eriba ya maanyi nnyo.
-