Lwamukaaga, Agusito 9
Omuntu yenna bw’aba ayagala okungoberera, alekere awo okwetwala yekka asitule omuti gwe ogw’okubonaabona buli lunaku, angobererenga.—Luk. 9:23.
Oboolyawo oyigganyizibwa ab’eŋŋanda zo, oba olina ebintu bye weefiiriza okusobola okukulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Bwe kiba kityo, ba mukakafu nti Yakuwa alaba era amanyi byonna by’omukoledde. (Beb. 6:10) Oyinza okuba ng’olabye okutuukirizibwa kw’ebigambo bya Yesu bino: “Tewali muntu eyaleka ennyumba, baganda be, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana, oba ebibanja ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi ataliweebwa emirundi 100 mu kiseera kino—amayumba, baganda be, bannyina, bamaama, abaana, ebibanja, awamu n’okuyigganyizibwa—era n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.” (Mak. 10:29, 30) Mu butuufu, emikisa gy’ofunye gisingira wala ekintu kyonna kye weefiiriza.—Zab. 37:4. w24.03 9 ¶5
Ssande, Agusito 10
Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.—Nge. 17:17.
Abakristaayo abaali babeera mu Buyudaaya bwe baagwirwa enjala ey’amaanyi, bakkiriza bannaabwe mu kibiina ky’e Antiyokiya baali bamalirivu ‘buli omu ku bo okusinziira ku busobozi bwe, okuwaayo obuyambi buweerezebwe eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya.’ (Bik. 11:27-30) Wadde ng’ab’oluganda abaali bakoseddwa enjala baali babeera wala nnyo, ab’oluganda ab’omu Antiyokiya baali bamalirivu okubayamba. (1 Yok. 3:17, 18) Naffe twoleka obusaasizi bwe tukimanyaako nti bakkiriza bannaffe bakoseddwa akatyabaga. Tubaako kye tukolawo mu bwangu, oboolyawo nga tubuuza abakadde obanga tusobola okuyambako ku projekiti emu, nga tubaako kye tuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna, oba nga tusabira abo ababa bakoseddwa akatyabaga. Bakkiriza bannaffe bayinza okuba nga bajja kwetaaga okuyambibwako okufuna ebyetaago by’obulamu. Bulijjo ka tweyongere okulaga abalala obusaasizi. Bwe tunaakola bwe tutyo, Kabaka waffe Yesu Kristo bw’anajja okutuukiriza omusango Yakuwa gwe yasala, ajja kutugamba nti: ‘Mujje musikire Obwakabaka.’—Mat. 25:34-40. w23.07 4 ¶9-10; 6 ¶12
Bbalaza, Agusito 11
Obutali bukakanyavu bwammwe ka bweyoleke eri abantu bonna.—Baf. 4:5.
Yesu yakoppa Yakuwa mu butaba mukakanyavu. Yatumibwa ku nsi okubuulira “endiga ezaabula ez’ennyumba ya Isirayiri.” Kyokka teyali mukakanyavu ng’atuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Lumu omukazi ataali Muyisirayiri yamusaba okuwonya muwala we eyali “atawaanyizibwa dayimooni.” Yesu yasaasira omukyala oyo n’awonya muwala we. (Mat. 15:21-28) Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Bwe waali waakayita ekiseera kitono ng’atandise obuweereza bwe ku nsi, Yesu yagamba nti: ‘Buli anneegaana, nange ndimwegaana.’ (Mat. 10:33) Naye yeegaana Peetero oluvannyuma lwa Peetero okumwegaana emirundi esatu? Nedda. Yesu yakiraba nti Peetero yali yeenenyezza era nti yalina okukkiriza okw’amaanyi. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabikira Peetero era kirabika n’amukakasa nti yali amusonyiye era nti yali akyamwagala. (Luk. 24:33, 34) Yakuwa ne Yesu si bakakanyavu. Ate ffe? Yakuwa atusuubira obutaba bakakanyavu. w23.07 21 ¶6-7