2 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja buli w’ayagalidde munda w’olutimbe+ mu kifo ekitukuvu,+ mu maaso g’eky’okubikkako ekiri ku Ssanduuko, aleme okufa;+ kubanga nja kulabikiranga mu kire+ waggulu w’eky’okubikkako.+
14 “Anaddiranga ogumu ku musaayi gw’ente ennume+ n’agumansira n’olugalo lwe mu maaso g’eky’okubikkako ku luuyi olw’ebuvanjuba, era ogumu ku musaayi anaagumansiranga n’olugalo lwe emirundi musanvu mu maaso g’eky’okubikkako.+