-
Okuva 40:24Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
24 Awo n’ateeka ekikondo ky’ettaala+ mu weema ey’okusisinkaniramu mu maaso g’emmeeza ku luuyi lwa weema entukuvu olw’ebukiikaddyo.
-
-
Eby’Abaleevi 24:4Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
4 Bulijjo ajja kuteekanga ettaala ku kikondo ky’ettaala+ ekya zzaabu omulongoofu, mu maaso ga Yakuwa.
-
-
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 13:11Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
11 Era bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Yakuwa buli ku makya na buli kawungeezi,+ era banyookeza n’obubaani obw’akaloosa;+ n’emigaati egipangibwa*+ giri ku mmeeza eya zzaabu omulongoofu, era bakoleeza ekikondo ky’ettaala ekya zzaabu+ n’ettaala zaakyo buli kawungeezi,+ kubanga tutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe eri Yakuwa Katonda waffe, naye mmwe mwamuvaako.
-