-
Okuva 30:1-5Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
-
-
30 “Ojja kukola ekyoto eky’okwoterezangako obubaani;+ ojja kukikola mu mbaawo z’omuti gwa sita.+ 2 Enjuyi zaakyo ennya zijja kuba nga zenkanankana; obuwanvu kijja kuba omukono* gumu, obugazi omukono gumu, n’obugulumivu emikono ebiri. Amayembe gaakyo gajja kuba ga muti gumu nakyo.+ 3 Ojja kukibikkako zzaabu omulongoofu kungulu waakyo ne ku njuyi zaakyo zonna ne ku mayembe gaakyo, era okisseeko omuge ogwa zzaabu. 4 Ojja kukikolera empeta bbiri eza zzaabu, oziteeke wansi w’omuge gwakyo ku njuyi bbiri ezitunuuliganye, ziwanirire emisituliro egy’okukisituza. 5 Ojja kukola emisituliro mu mbaawo z’omuti gwa sita ogibikkeko zzaabu.
-