Ekyamateeka 24:8 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 8 “Bwe wabalukangawo endwadde y’ebigenge,* mufubanga nnyo okukola byonna bakabona Abaleevi bye banaabalagiranga.+ Mufubanga okukolera ddala nga bwe nnalagira bakabona. Ezeekyeri 44:23 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 23 “‘Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo eriwo wakati w’ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo, n’enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.+ Malaki 2:7 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 7 Kabona y’asaanidde okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, era abantu basaanidde okunoonya amateeka* okuva mu kamwa ke,+ kubanga ye mubaka wa Yakuwa ow’eggye. Lukka 17:14 Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya 14 Bwe yabalaba n’abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.”+ Bwe baali bagenda ne balongooka.+
8 “Bwe wabalukangawo endwadde y’ebigenge,* mufubanga nnyo okukola byonna bakabona Abaleevi bye banaabalagiranga.+ Mufubanga okukolera ddala nga bwe nnalagira bakabona.
23 “‘Bakabona banaayigirizanga abantu bange enjawulo eriwo wakati w’ekintu ekitukuvu n’ekya bulijjo, n’enjawulo eriwo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.+
7 Kabona y’asaanidde okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda, era abantu basaanidde okunoonya amateeka* okuva mu kamwa ke,+ kubanga ye mubaka wa Yakuwa ow’eggye.
14 Bwe yabalaba n’abagamba nti: “Mugende mweyanjule eri bakabona.”+ Bwe baali bagenda ne balongooka.+